TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Obote lwe yakola omuyiggo mu Buganda okwokya Mujaguzo

Obote lwe yakola omuyiggo mu Buganda okwokya Mujaguzo

By Musasi wa Bukedde

Added 28th April 2016

Mu byali byettanirwa okusaanyizibwawo mwe mwali ehhoma Mujaguzo. Anti mukwano gwa Obote ayitibwa Kaseera Kibirango Omukunja eyali bindakyalakya yali amaze okwanika ebyama bya Mujaguzo nti y’engoma essa Kabaka ku Nnamulondo. Omuyiggo gwa Mujaguzo gwatandika esaanyizibwewo.

Mujaguzo 703x422

Mujaguzo

Bya NDUGWA GRACE SSEMAKULA

Okuviira ddala ku lwa May 24, 1966 amagye ga Milton Obote lwe gaazinda Kabaka Muteesa mu Lubiri lwe olw’e Mmengo ebigendererwa ebikulu byali bibiri: Kumutta ate n’okusaanyaawo ebintu by’Obwakabaka bwa Buganda.

Amagye gaali galaajana mu buswavu nti ‘Kabaka ametoloka’ ekitegeeza nti Kabaka yali abatebuse n’abaddukako.

Kale Kabaka bw’aba yali abatebuse n’afuluma Olubiri nga mulamu, leka ebintu by’Obwakabaka bye biba bizikirizibwa.

Mu byali byettanirwa okusaanyizibwawo mwe mwali ehhoma Mujaguzo. Anti mukwano gwa Obote ayitibwa Kaseera Kibirango Omukunja eyali bindakyalakya yali amaze okwanika ebyama bya Mujaguzo nti y’engoma essa Kabaka ku Nnamulondo. Omuyiggo gwa Mujaguzo gwatandika esaanyizibwewo.

Wabula era bindakyalakya omuyiggo yaguleetamu omukoosi ate bwe yasamwassamwa n’agamba nti Mujaguzo ziri bbiri: Waliwo eyitibwa Kawulugumo ekubibwa Aboolugave ate n’eyitibwa Namanyonyi ekubibwa Aboobutiko.

abaka ne dugwa omuwandiisi Kabaka ne Ndugwa (omuwandiisi)

 

Abaamagye abaazinda Kabaka mu Lubiri lw’e Mmengo nabo baali bakyalombojja ebikolobero bye baakolayo, baagamba nti baali bookezza ehhoma z’Obwakabaka.

Abaffe mu bikumi by’ehhoma ezaayokerwa mu Lubiri e Mmengo mwe mwali ne Mujaguzo ezaali ziyiggibwa? Nedda. Bindakyalakya kino yali takikkiriza, yali akimanyi nti buli Mujaguzo erina Olubiri olwayo olutongole.

Ebigambo yabissaako omutwe n’amagulu n’atuuka n’okubityebeka nga Kawuula Sembuuze Sematiko, Mujaguzo Kawulugumo bwe yali agikwese mu maka ge ag’e Mutundwe.

Mangu ago amaka ga Kawuula gaazindibwa ne gaazibwa kyokka yasangibwayo obugoma bubiri obwa nnamunjoloba naye nga yo eya Mujaguzo mmye!

Kabaka Muteesa bwe yakisa omukono, Obote yasanyuka ate n’afuna n’entiisa. Yafuna entiisa kubanga Engoma Mujaguzo yali ekyabuze.

Waaliwo ebiraga nti Obwakabaka bwa Buganda bwakuddamu okutinta. Okutya kwa Obote kwali kwa nsonga kuba newankubadde ensujju yali evuddewo naye byo ebiryo byali bikyaliwo. Bwatyo Kabaka Muwenda Mutebi yakomawo, Mujaguzo n’ekukunulwayo gye yali ekukuliddwa n’emuvugira n’afuuka Kabaka wa Buganda owa 36.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top11 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ensigo...

Obadde okimanyi nti butto w’ensigo z’amapaapaali akola ku maaso ne kookolo ? Soma wano mu mboozi z'omukenkufu

Wat12 220x290

Kajjansi ekyusizza ekisaawe okuwandula...

Kajjansi ekyusizza ekisaawe okuwandula Vipers mu Stambic Cup

Kot1 220x290

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti...

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti Getrude Nakabira afudde

Faz1 220x290

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu...

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu luwummula n'akomyawo faaza Musaala

Lip2 220x290

Mungobye ku kyalo naye nja kufa...

Mungobye ku kyalo naye nja kufa n’omuntu