TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Engeri amasomero gye gakola ssente mu bintu bye basaba abayizi

Engeri amasomero gye gakola ssente mu bintu bye basaba abayizi

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd May 2016

Waliwo ebintu bingi ebisabibwa abazadde naddala abayingiza abayizi abapya ku masomero nga tebigasa bayizi okuggyako okuyamba mu kuzimba masomero gaabwe n’okugaziya enfuna yaabwe.

Ream1 703x422

Abayizi nga bawaayo empapula n’enkumbi eri omusomesa.

Bya JOANITA NANGONZI

AMASOMERO mangi agasaba abazadde ebintu ebiba byetaagibwa abayizi ku ssomero. Ebintu ebisabibwa ebimu bibeera bya kukozesebwa bayizi ebirala nga bya basomesa oba okukola emirimu ku ssomero.

Wabula waliwo ebintu bingi ebisabibwa abazadde naddala abayingiza abayizi abapya ku masomero nga tebigasa bayizi okuggyako okuyamba mu kuzimba masomero gaabwe n’okugaziya enfuna yaabwe.

Janet Nakanjakko ow’e Nansana: Waliwo amasomero agasaba abayizi naddala abapya obusawo bwa sseminti. Ekyewuunyisa wayita omwaka nga tolabye kizimbe kisituka ku ssomero lino. Kino kitegeeza bayinza okuba nga bamutunda ne beefuniramu ssente oba nga balina ebintu byabwe ebirala bye bazimba. Tusaba mutugambire ku masomero gano galeme kutunyigiriza.

 bayizi nga beera Abayizi nga beera.

 

Aminah Nansamba, Kasubi: Abasomesa naddala aba nassale basaba ssente ezisusse. Siraba nsonga lwaki bategeka emikolo egyo nga baakutusaba ssente. Kimanyiddwa nti omwana bw’ayita alina okugenda mu kibiina ekiddako. Noolwekyo n’aba nassale ne bwe batabateerawo kabaga baba balina okugenda mu kibiina ekiddako bwe baba bayise. Mu kuteekateeka bakusaba nga emitwalo 6 okutungira omwana gawuni n’enkofiira nga nnyingi bw’ogeraagerana n’olugoye lwe batungamu. Emikolo bwe giggwa bassaako okukuguza ekifaanayi ky’omwana ekinene kyokka nga tewabagamba.

Margaret Namusisi, Kyebando: Amasomero gayitirizza okutunyigiriza ku ssente z’okulambula. Babasaba 50,000/- ne bakulagira okusibirira omwana ate ne mu mmotoka bagenda babapakidde kuba teri poliisi ebakwata. Abaana oluusi babatwala na mu bifo bya kumpi. Omwana bayinza okumusaasaanyizaako 5,000/- endala ziba zidda wa? Bakukaka okusasula ez’omuyizi wa nassale okutikkirwa

BABRA Nakayenga, Nateete: Bamanyi okusaba enjeyo n’ekikookooma. Bino abayizi balina okubikozesa. Enjeyo bazikozesa naye abayizi bagamba nti mu kaabuyonjo oluusi tebaayo bikookooma. Oba nga babawa ebikookooma bitono ate nga baabasaba nnene. Bulaasi ezikuuta babawaayo nga emirundi esatu mu kusoma. Ezimu tebazikozesa kyokka ne babasaba endala mu ttaamu eddako.

Shamim Nalukwago, Bukesa: Nneewuunya amasomero okustusaba ssente z’enkulaakulana ate nga ga bwannannyini nti ku magoba ge bakola kwe baba balina okukulaakulanya bizinensi zaabwe. Balina n’enkola y’okusaba empapupa buli ttaamu. Ekyewuunyisa abayizi tolaba bwe bakozesa ku mpapula. Olwo ezo zonna ziraga wa? Mulimu abagamba nti bazizza mu maduuka ne bazitunda.

 

 

 

Sharon Nalukenge, Bulaga: Amasomero mulimu agasaba abayizi okugula ebitabo abasomesa bye beekubidde ng’omuyizi alina kuwandiika muli. Kino kitegeeza omwana bw’otomugulira aba tajja kusoma. Wano baba beekolera ssente olwo ebitabo eby’okuwandiikamu nga twagula bya bwereere. Batusaba ne ssente z’ebisabika. Nandirowoozezza nti ebyo essomero birina okubiwa abayizi wabula buli kimu kiri wakati wa 1,000/- ne 2,000/-. Bamanyi okulagira abayizi okusasula ssente z’obujjanjabi buli omu 20,000/- buli lusoma.

Babra Ndagire, Kyengera: Amasomero gasaba abayizi ab’ebisulo emiti gya ssabbuuni etaano buli ttaamu kyokka nga tebamubawa yenna kumukozesa. Oluusi omuyizi awalirizibwa n’okumuwaayo ow’enjawulo gw’assa mu keesi. Waliwo abasaba ssukaali n’obuwunga nga buli muyizi ajja ne kkiro ttaano ku buli kimu. Nsuubira bino birina kuva ku fiizi abayizi ze basasula.  

Minisitule terina buyinza ku bisabibwa bayizi

Patrick Muinda omwogezi wa minisita w’ebyenjigiriza agamba nti ebintu ebisabibwa amasomero ag’enjawulo bisooka kuteesebwako mu lukiiko olufuzi oba abakulembera essomero.

Mu lukiiko olwo kutuulako abakiise ab’enjawulo okubeera akiikirira abayizi, abasomesa, Gavumenti, bannannyini ssomero era ssinga liba lya kkanisa kubaako omukiise okuva ku kkanisa. Bano be batunuulira ebyetaago ebinaakozesebwa ku ssomero era ne batema empenda ku ngeri gye babifunamu.

Ekitongole ky’ebyenjiriza tekisobola kuyingirira na kugaana masomero kusaba byetaago bye basaba kubanga tetujja kusobola kubibawa.

Enkizo eri ku masomero ga Bonna Basome. Ekirala ekiyinza okuvaako ab’ebyenjigiriza okuyingira mu nsonga zino kiba nti ssinga ebisabibwa abazadde biba bimenya amateeka.

Wabula abazadde abamu bagamba nti ebintu ebimu ebisabibwa abamasomero bisukka obungi ate ebimu abayizi tebabikozesa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20181214at173512 220x290

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza...

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza abawagizi baayo mu kisaawe e Namboole omupiira gye guyindidde!

Mosesmakoyaniowakibogakuddyongattunkaneambrosenaturindaowantinda 220x290

Kiboga ewaga mu Big League

TTIIMU ya Kiboga FC eyaakesogga Big League eremedde ku Proline FC okugisuuza entikko y’ekibinja kya Rwenzori ekitaddewo...

Hib1 220x290

Omulamuzi atabukidde abakakiiko...

Omulamuzi atabukidde abakakiiko k'ebyettaka e Lwengo

Reb2 220x290

Maneja w’ebbaala ya Casablanca...

Maneja w’ebbaala ya Casablanca asindikiddwa ku limanda

Deb1 220x290

Abakola ebimansulo e Kyetora balabuddwa...

Abakola ebimansulo e Kyetora balabuddwa