TOP
  • Home
  • Emboozi
  • ‘Okulumba Olubiri, Obote yali yamala dda okuggya Muteesa ku Bwapulezidenti’

‘Okulumba Olubiri, Obote yali yamala dda okuggya Muteesa ku Bwapulezidenti’

By Herbert Musoke

Added 16th May 2016

Grace Ibingira eyali minisita wa Ssemateeka mu gavumenti eya wakati yangamba nti Obote agamba nti "Abaganda tebamutegeera." Namubuuza nti, Ssinga Muteesa y'aba akyadde e Lango, Abalango bayinza okumussaamu ekitiibwa? Abaganda ekitiibwa kye baali bawa Muteesa tekyali kya bwapulezidenti wabula Kabaka waabwe.

Muteesa1 703x422

Kabaka Muteesa nga yaakafuulibwa Pulezidenti wa Uganda eyasooka.

Giweze emyaka 50 bukya magye ga Obote galumba Lubiri lw’e Mmengo ekyavaako ebizibu ebingi mu Buganda ne Uganda.

Wiiki enjo, tutunuulidde engeri ekikolwa kino gye kyakyusakyusaamu ebyobufuzi era HERBERT MUSOKE yayogedde n’eyali Katikkiro wa Buganda mu 1966, Jehoash Mayanja Nkangi n’alambika bwe byali.  

OBOTE okulumba Olubiri n'okuwera obukulembeze bw'ennono mu Uganda yalina obuggya ku Kabaka Edward Muteesa II olw'engeri abantu be gye baamulabangamu n'ekitiibwa kye baamuwanga.  

Kabaka bwe yafuuka Pulezidenti wa Uganda eyasooka, bwe yabanga agenda mu Palamenti ng'okimanya ali mu mayiro nga ttaano nti ajja olw'emizira n'enduulu ebyakubwanga.  Wabula ye Obote ng'atuuka kuyingira mu kizimbe nga tewali amunyeze wadde okumukubira akaluulu, ekyamunyiizanga ng'agamba nti Abaganda tebamutegeera.  Kyataamanya nti n'Abazungu era baayisibwanga mu ngeri y'emu naye bo tekyabayigulanga ttama!  

 ayanja kangi Mayanja Nkangi

 

Mu 1963 twali tulondeddwa abantu 24 okubeera abakiise okuva mu kibiina kya Kabaka Yekka (KY). Twali ne Mw. Kalema kyokka ye n'asala eddiiro okudda mu UPC.  

Lumu yajja n'aηηamba nti, 'Katikkiro si musannyufu, nti Abaganda tebamutegeera'.  Nasigala neewuunaganya engeri gy'ayagala okutegeerwa.

Nga wayise ennaku, Grace Ibingira eyali minisita wa Ssemateeka mu gavumenti eya wakati naye yaηηamba ekintu kye kimu.  

Namubuuza nti, Ssinga Muteesa y'aba akyadde e Lango, Abalango bayinza okumussaamu ekitiibwa? Abaganda ekitiibwa kye baali bawa Muteesa tekyali kya bwapulezidenti wabula Kabaka waabwe.  

OKULUMBA OLUBIRI

Olukwe lwa Obote lwatandika tetunnafuna bwetwaze anti abakiise okuva mu UPC, DP, KY ne Katikikito Michael Kintu bwe baali bateesa ku bwetwaze gye yakutulira ddiiru y'okutta omukago n'ekibiina kya KY.  S

saaliyo kyokka abaaliyo baatutegeeza nti, eyali omuwandiisi wa gavumenti z'amatwale bwe yategeeza nti amasaza (Bugangaizi ne Buyaga) agaatwalibwa Bunyoro okuva ku Buganda gajja kukubwako akalulu, kyanyiiza Katikkiro Kintu era yamubuuza nti 'Ekkooti yange gye nnyambadde osobola okugikubako akalulu nga yange?' era yasalawo obutadda mu lukiiko e Lancaster.  

Oluvannyuma lw'omuwandiisi okukizuula nti Buganda yali nkulu mu nteeseganya zino, yasaba Kabaka Muteesa okwogera ne Katikkiro we okudda mu lukiiko.   Waaliwo ensonga ya Federo nga Buganda eyagala okubeerako obuyinza bw'esigaza okwekolera ku nsonga zaayo.

Obote yategeeza nti agenda kuwagira Buganda ku bya Federo kyokka nayo erina okumuwagira ng'okulonda ebifo eby'obuvunaanyizibwa kutuuse mu National Assembly kubanga Ben Kiwanuka owa DP yali tayagala nfuga ya Federo.  

Awo we waava Buganda okufuna Federo mu ndagaano ya 1962 n'eweebwa minisitule nnya okwali ey'ebyenjigiriza, obugagga bw'omu ttaka, gavumenti ezeebitundu n'ebyobulamu okugatta ku zaaliwo ku ntandikwa okuli Katikikiro, Omulamuzi n’omuwanika.  

Buganda yali efuna busuulu okuva mu gavumenyi eya wakati nga tulina ne poliisi eyaffe.  Bwe badda kuno ne tugenda mu kulonda, UPC yafuna obululu 26 ebweru wa Buganda ate DP n'efuna 37 nga Buganda erina abalonzi 24 kyokka nga baali bamaze okukkiriziganya ne Obote okutta omukago n'okumuwagira mu kulonda era wano Obote w’aliira obwakatikkiro kubanga bwe yagatta obululu bwa Buganda 24 ku bubwe 26 n'amegga Ben Kiwanuka owa DP.  

OKUSAANYAAWO BUGANDA

Eyali avunaanyizibwa ku matwale ga Bungereza yawandiika ng'agamba nti, 'Bungereza egenda era mmwe mulina okwerondera Pulezidenti wammwe anaasookera ddala.’ Kabaka Muteesa yali tabeerangako na kirowoozo kya kubeera pulezidenti kubanga Obwakabaka bwe bwali bumubala.  

Wabula Obote olw'okuba yalina olukwe lwe, yamutumira Abby Mayanja, Balaki Kirya, Grace Ibingira n'abalala abaasisinkana Muteesa ne Katikkiro we Michael Kintu mu Lubiri e Bamunaanika ne bamutegeeza nti bandyagadde Kabaka Muteesa okubeera Pulezidenti wa Uganda asooka.

 Katikkiiro Kintu kino yakiwakanya era n'asaba Kabaka obutakikkiriza kyokka tewali amanyi ngeri gye baakuba Kabaka kalimi n'akkiriza kufuuka Pulezidentu wa Uganda era n'atwalibwa n'alayizibwa ku bwapulezidenti!  

Byonna bimanyibwa Obote amaze okulumba Olubiri nti lwali lukwe lwe yali aluse obulungi anti yagamba nti, ‘Bwe nalaba Muteesa ng'akutte Bayibuli alayira, ne mmanya nti mmulina'.  

OKUSIKA OMUGWA WAKATI WA BUGANDA NE OBOTE

Mu May wa 1966, Daudi Ocheng eyalina omukwano ne Buganda yantuukirira, olwo nga nfuuse Katikkiro wa Buganda n'antegeeza nti Obote n'omuduumizi w'amagye (Amin) baali baliko ebikolwa by'obulabbayi bwe baali beenyigiddemu.  

Nga looya namubuuza oba alina obujulizi ye kwe kuηηamba nti tunuulira akawunti zaabwe kubanga tumanyi ssente ze bafuna naye kuliko obutitimbe bwa ssente.   Nze kwe kumugamba nti bw'obeera olina obujulizi twala ekiteeso mu Palamenti banoonyerezebweko. Bwe yatuuka mu Palamenti bangi ku bakiise baakiwagira era ne kiyisibwa.  

Waayita ennaku mbale Obote ne yeefuulira Kabaka nti takyali Pulezidenti ng'amuwambisa amagye ne Kyabazinga Nadiope eyali omumyuka wa Pulezidenti n’afuumuulwa wadde yali wa UPC.  

Twatuula mu Lukiiko lwa Buganda ne tuyisa ekiteeso nga tusaba Obote okudda ku byakkiriziganyizibwako mu ndagaano y'ameefuga mu 1962.  

Mbeera ndi ewange, waliwo omukiise omu n'ankubira essimu nti, 'Pulezidenti' (Obote) yali ampita kyokka nga tambuulira lwaki ampita, nze kwe kumugamba nti 'mugambe ampandiikire mu butongole nja kujja.' Ssaagendayo, kye ssaamanya nti Katonda ye yali ampugula ebizibu bye nali ηηenda okugwamu.  

Nkangi anyumya: Nakeera ne ntegeeza Kabaka ebyali bibaddewo kyokka enkeera Obote n'agenda mu Palamenti n'ayisa Ssemateeka gwe yassa mu busanduuko bw'ababaka, ng'aggya ku Muteesa obwapulezidenti.

 Era yagamba nti, 'Oyo Katikkiro Mayanja Nkangi alowooza y'asinga amagezi. Namuyise mmutegeeze ku nsonga eno n'agaana". Wano we namanyira nti Katonda yanjogereramu obutagenda kumusisinkana kubanga ssinga yalaga nga bwe twekobaanye okuggya ku Kanaka Obwapulezidenti.  

Mukama waakisa kubanga ye kennyini yategeeza Obuganda nti mu byonna bye yakola ssaalimu era ne minisitule ze twali tufunye mu ndagaano ya 1962 yaziggyawo.  EMMANDUSO

EMMANDUSO YA BYONNA

 Obote yakolanga ebisoomooza Abaganda bamuddize olwo asobole okulumba Kabaka kyokka nga byonna bigwa butaka. Yateranga okuweereza jjipu z'amagye okuli emmundu ne zeetooloola Olubiri, bwe wataabeerangawo anyega olwo ne zidda gye zivudde.  

Lumu nali ηηenze e Makindye, kati awali enkambi y’amagye naye nga mu biseera ebyo gaali maka gw’Obwapulezidenti, mmotoka y'amagye n'ejja nga kuliko abaserikale ne Kabaka Muteesa eyali mu kkanzu yokka ng'akutte emmundu n'ava mu kisenge gye twali n'ayimirira ku lubalaza olwo mmotoka n'etuyitako n'oluvannyuma n'edda n'egenda nga tewali kye bakoze kuba ne Kabaka talina kye yakola.

 Nga 21 May, 1966 Sipiika w'Olukiiko lwa Buganda yaluyita bukubirire nga tatuwadde nsonga era bwe twali mu Lukiiko, George Kaggwa eyali akiikirira essaza lya Kooki, n’aleeta ekiseeso nti Buganda eragire Obote ssinga tazza Kabaka ku bwapulezidenti ng’endagaano bwe yali, aggye gavumenti ye ku ttaka lya Buganda.  

Bwe nawulira kino, nasaba Sipiika tuwummulemu ku ssaawa nga 6:30 ez’omu ttuntu, tuddemu okutuuka ku 8:00 nga njagala njogeremu ne Kaggwa kubanga nali ndaba obulabe obutwolekedde.  Namutegeeza nti njagala tulongoose mu kiteeso tugambe nti, "Ssinga Obote agaana okudda ku biri mu ndagaano ya 1962, Buganda ejja kuddamu okwerowooza".

Twakkiriziganya ku kino, kye ssaamanya nti abantu baali bamaze okwekyawa olwo nze ne nsigala mu ofiisi yange ku Butikkiro.  

Okugenda okudda mu lukiiko, munnange gwe twali tukkiriziganyizza naye ye yasooka okuwakanya ekiteeso ky'okugamba nti Buganda ejja kuddamu okwerowooza era ekiteeso ky'okulagira Obote okuggya gavumenti ye ku ttaka lya Buganda ne kiyita.

Jjukira nti gavumenti eya wakati yali ewa Buganda 1/- nga busuulu olw'okukozesa ettaka lyayo ekitegeeza nti yali ekkiriza nti ettaka kw'ekolera epangisa lipangise si lyayo.  Nga wayise ennaku bandeetera ebbaluwa okwali amannya g'abakungu ba Buganda bataano nga bano baali ba masaza abaali basinga’ okubeera abavumu eri Kabaka waabwe okwali Ssekiboobo, Pookino n'abalala nga balagiddwa okukwatibwa.  

Nayita Olukiiko lwa bannamawulire okutegeeza Obuganda nti bubeere bukkakkamu embeera ejja kutereera wabula nga nkyayogera, Omulangira Ssimbwa yandeetera akabaluwa ng'antegeeza nti Kabaka yali aweerezza Obote ebbaluwa ng'amutegeeza nti asse mu nkola Olukiiko kye lwayisizza.  

Eno ye yali emmanduso kubanga okumala ekiseera Obote yali anoonya w'atandikira okukuba Kabaka era bwe yalaba kino n'ategeeza nti kuno kwali kujeema.   Naye ddala bwe kibeera nga Obuganda bwe bwali bujeemye nga bwe yategeeza, obukulembeze bw'ennono obulala nga Obwakyabazinga, Omukama, Obugabe, Obumbere n'abalala yaggyawo bwaki?  

Nga waliwo Buganda lwe yaweereza Abangereza ekiteeso ky'okwekutulako naye tebagamba kulumba Lubiri!  

AMASASI GAATONNYA NGA NKUBA

Ku ssaawa nga 10:00 nga bukya nagenda mu Lubiri okulaba Kabaka wabula nategeezebwa nti waaliwo amawulire nti Obote yali aweerezza abaserikale nga beebunguludde Olubiri!  Nadda mu Butikkiro, ku ssaawa nga 1:00 ey’oku makya, amasasi ne gatandika okukuba amabaati nga galinga nkuba.  

Kaggo Kigozi eyali okumpi awo yaleekaana nti, ‘Katikkiro ofa’ olwo ne nziruka mu nnyumba okugwa ku Lubaga Road ne ndyoka nzira mu ofiisi ne nsigala okutunuulira mu ddirisa nga ndaba amasasi bwe geesooza mu Lubiri.  

Nnina be nategeeza okukwatagana n'Abaamasaza okukunga abalwanyi mu Masaza bajje bayambe Kabaka kyokka kye ssaamanya nti eyali omumyuka wa Ssekiboobo yali mbega wa Obote nga byonna bye tuteesa by'atwala era be twali tusuubira okuyamba bonna baatandika okuyiggibwa.  

Amasasi gaavuga okutuukira ddala ku ssaawa 9:00 ez'akawungeezi enkuba we yatandikira okutonnya olwo ne gasiriikiriramu.   Wano we nasisinkanira omukyala eyantegeeza nti Kabaka yali adduse mu Lubiri!  

Twalina poliisi eyaffe nga Buganda eyali eduumirwa omungereza Chilvers. Ono yankubira ssimu n’ambuuza kye nkyakola mu Butikkiro nga baamuwadde dda ebiragiro ebinkwata era n'ampa amagezi okudduka mbule.

Nasooka kwekweka Kagoma. Nga ndi eno Obote yali ku leediyo n'agamba nti wonna we tunaasisinkana Maanja Nkangi wagenda kukwata omuliro.  Waliwo omwami Muhamad Ssensonga eyali ddereeva mu minisitule y'ebyemirimu (Works) eyajja n'antegeeza nti sikyasobola kubeera mu Buganda.

Ono yali aleese n'emmotoka ya minisitule ne ngirinnya, emabenga ng'eriyo ebikozesebwa mu kuzimba omuli ebitiiyo, amayinja, enkumbi n'ebirala.  

Bino yali abitwala Mbale era twatandika olugendo kyokka nga kumpi buli yaadi 100 waliwo loodibbulooka naye olw'okuba nti mmotoka yali ya Gavumenti baabuuzanga bitono ne batuleka okugenda.  

Nga tutuuse ku bbibiro by'amasannyalaze e Jinja, omuserikale yajja n'annyimirira ku mutwe n'abuuza ddereeva nti 'Weewe Onapereka Niini? Nga ye ddereeva asirise talina ky'anyega.  Yabuuza katono n'agenda emabega okukebera ekiriwo era agenda okubikkula ng’eriyo mayinja, bitiiyo n'ebirala n'atuleka ne tweyongerayo.

Obunkenke bwali mu Buganda kyokka nga bw’obuuka ensalo teri bunkenke. Bwe twabuuka ensalo za Buganda Lamek Ntambi n’annyongerayo mu Kenya okutuuka mu ffaamu y'Omuyindi Sdarudini Kar.  

Enkeera yali annambuza ffaamu muganda we n’ajja misinde nga bw'aweekeera n'ategeeza nti Nkangi alina okuva wano kubanga Obote akimanyi nti ali wano!  Ono yanzirusa n'antwala mu wooteeri ya Muky. Aldina Visram. Ono twali tumuyita Namubiru kubanga yali agundidde mu Buganda nga yalondebwa n'okubeera omukiise.  

Namala wiiki nga bbiri nga sivudde mu kasenge kange. Waliwo Abaganda okwali Peter Mpanga, abaali mu kkampuni y'ennyonyi ey'amawanga g'obuvannjuba bwa Afrika ne bakola enteekateeka okunzigya mu Kenya nga bagamba nti nayo nali sikyalina bukuumi bumala.

Bankolera ku byonna okugenda e Bungereza era wano we nakimanyira nti ne Kabaka yali amaze okutuuka e Bungereza ng'ayitira e Burundi.   Mukulu wange Grace Lumala yandeetera Pasitooti yange eyali eraga nti ndi minisita kubanga nagenda okuva mu bwaminisita mu Gavumentyi ya wakati ng'ekyaliko.  

Olw'endabika yange, bwe natuuka ku kisaawe e Bungereza Omuzungu yasooka n'anziza mu kasenge nga yeebuuza minisita yenna asaakaatidde amalevu, anti n’engoye tezaali nnyonjo.  

Bino byonna bigenda okubeerawo nga Ddamula akuumibwa mwannyinaze Yozefiina Nassaka eyali Lubuga wange era naye bwe yafa n'amukwasa mukulu wange Grace Lumala eyagikweka mu kisenge.  Ddamula yaggyibwayo mu kiseera nga ngikwasa Katikkiro Mulwanyammuli ng’Obwakaba buddiziddwaawo.  

Ndi musanyufu nti Kabaka Mutebi, Katonda yamusobozesa okutuula ku Nnamulondo nga nkyali mulamu era nze ebyange bye njagala mu bulamu nabifuna!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi