TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Emmundu n’abajaasi twalina batono naye twalwanirawo - Muteesa

Emmundu n’abajaasi twalina batono naye twalwanirawo - Muteesa

By Edward Sserinnya

Added 17th May 2016

Obudde nga busaasaana ku ssaawa 11:30, nazuukusibwa omusinde gw’emmundu mu ngeri ey’ekyekango. Nasiriikirira ne ntandika okufumintiriza, ku kiri mu Lubiri lwange n’ebweru waalwo.

Muteesakingbb 703x422

Muteesa e Bungereza

OKUVA ne leero, Bukedde Online agenda kukutuusaako ebimu ku bigambo Kabaka, Freddie Walugembe Muteesa II mu kitabo kye ‘Okuvvoola Obwakabaka bwange (The desecration of my Kingdom) Anyumya bwe baalumba Olubiri lwe ne batuusa okumuwangangusa.

Obudde nga busaasaana ku ssaawa 11:30, nazuukusibwa omusinde gw’emmundu mu ngeri ey’ekyekango. Nasiriikirira ne ntandika okufumintiriza, ku kiri mu Lubiri lwange n’ebweru waalwo.

Mu bwangu nafunayo amasaati, empale n’engatto za swedi eza bbuutu. Natandika okuyiiya amagezi agafuluma Olubiri.

Nasooka kulya kkava mu kalimiro akaalimu enzikiza mmita nga 200 ku 300 okuva mu kifo we nali n’okutandika okunoonya omuduumizi w’amagye gange.

Amagye ga Uganda ‘Uganda Army’ gaali galumbye Olubiri lwange wansi w’ebiragiro bya Katikkiro wa Uganda, Dr. Milton Obote. Kyokka kino kyanneewunyisa kitono kuba nali mmaze okukitegeerako wiiki eziyise nti bajja kulumba Olubiri, naye ekyanneewunyisa kwe kuba nga baali tebalulumbye ebiro ebyali biyise!

Ate ne wiiki ezaali ziyise ennyonyi zaali zeetawula ku Lubiri mu ngeri ey’ekimpoowooze okulaba nga bwe zikuba ebifaananyi n’okuketta.

 uteesa ngablamusa ku bataka Muteesa ng'ablamusa ku bataka

 

Bino byali bikolebwa kuyamba magye kwongera kufuna bukodyo ku ngeri gye bagenda okulumbamu Olubiri. Waaliwo abantu okuva mu Kampala n’ebitundu ebiriraanyeewo, abaali bazze ku Lubiri eggulolimu nga tebamanyi kiki kigenda kubaawo, era okubwatuka kw’emmundu kwe kwabagumbulula.

Abakuumi abasinga n’abaami bange abamu baali bakwatiddwa nga baggaliddwa eggulolimu.

Ssemateeka yali ampa abakuumi 300, kyokka nalina 120 bokka, ate lwe baalumba Olubiri bangi ku bano tebaaliwo.

Twalina emmundu ntono kuba buli muserikale yalina emmundu emu. Era mu Lubiri temwalimu tterekero lya byakulwanyisa nga Obote bwe yakitegeeza oluvannyuma era ng’amagye lye gaali ganoonya.

Twagenda mu maaso n’okusalinkiriza nga tuyita mu nnimiro nga tudda ku ludda lw’Obugwanjuba bw’Olubiri ku ggeeti ya Nnaalongo okulaba ng’eno waakiri tugikuuma bw’eba nga tennawambibwa oba okukubibwa.

Ate eyo twatuuka? Kuba tuba ng’abagisemberera ate ne tulengerayo abasajja basatu abatunula enkaliriza nga ddala abalina kye beetegereza.

Wabula obuzibu bwe twalina, tewali yali amanyi bungi bw’amagye gatulumbye, naye twali tulowooza nti bandiba nga basoba mu 1,000. Wano tetwalina kutuula era twagenda mu maaso n’okutetenkanya.

Omukisa gwe twalina, wadde baali bangi, naye nze ow’amagye amatono ate agange gaalina obumanyirivu okubasinga. Okusinziira ku bye baali bangamba abaali bava gye bakubye emmundu nange bye nalaba, nali sirabanga ku bantu battiddwa mu bungi bwe batyo.

Okumanya abasajja ba Obote baali beewuunyisa, baddira obusiisira obwali mu Lubiri ne babukumako omuliro kyokka ate ne badda mu kitangaala ne beeteeka mu tageti zaffe olwo naffe ne tukuba emmome!

Omulyango gwa Ssaabagabo baali bamaze okuguwamba, wabula ng’olutalo lugenda mu maaso ate oludda olw’Obuvanjuba olwo twali tumaze okulweddiza.

Kyali kimanyiddwa nti njagala nnyo okubeera mu Lubiri olukadde, olutonotono, olwazimbwa mu ngeri y’obuwangwa bw’Ekiddugavu ate nga wakwata enzikiza. Olubiri luno lwali mabega w’ekizimbe ekyazimbwa Abazungu ekitemagana, nga ngudde kkava, nagenda okulaba nga batuuka nga ku kisenge we baali bansuubira, kino kyandaga nti kirabika ate baali baagala kusaanyaawo nze.

Nabawulira nga boogera mu Luzungu olw’ebitege nti ‘Ebyokwerinda bye biri bulungi’ Oluvannyuma nalengerera mu ddirisa nga ndaba bakebera mu mpapula zange nga n’ezimu ziwandagala.

Tetwalina mbavu zizzaayo muliro, wabula twalya kkava mu buti bwa kalittunsi obwali bubisse omulyango gwa Nnaalongo okwali oluggi olw’embaawo ne tusirika bwe cce. Tewali muntu yajja kuyitira mu ggeeti eyo.

Abasajja ba Obote beefunyirira mu kusaanyaawo ebisenge mu bizimbe, ndowooza kino baakikola kuba baalina ebiboozi byabwe bye baali bagamba nti omwo mulimu etterekero ly’ebyokulwanyisa n’ekikwate nti Bakabaka baba n’empuku mwe bakukulira ebintu byabwe!

Nawulira ekiniga nga kinzita, ate bwe nalaba nga bookya obusiisira obwali mu Lubiri ne nnyongera okwewuunya abajega bano, kuba ate obwo amagye bwali bugakoze ki? Awo nga sirabawo kyali kyetaagisa kubukolako nnumba za kinnamagye!

Kyannuma okuwulira omukadde ng’akaaba, ono baali bamwokedde mu nsiisira emu. Kapiteeni w’abakuumi bange Maj. Kibirige yabula, ndowooza y’omu ku baalufiiramu.

Bino byannyongera obusungu, era mu ngeri etaali nnungi, natambula ne nzirayo nzekka mu nnimiro z’Olubiri, nakuba omu ku bajaasi essasi, wadde nga yandiko wala. Kino kyanzikakkanya omutima n’okuweereza omulabe obubaka nti naffe waliwo kye tusobola okukola, era nakakasa nga kino nabo kyabatisaamu, olwo ate ne nzirayo mu buti.

Amasasi n’obukompola obutonotono bwali buvuga okutuuka eyo ku ssaawa nga 6:00 ogw’ekiro. Ekiro enkuba yatandika okutonnya, ne tugenda tweggama ku kiraalo ky’ente, naye wano twalimu matiitiiri kuba kyali kya ssubi nga tutya nti essaawa yonna omulabe ayinza okukyokya.

Enkuba yafukumuka, era okumanya yatonnya n’eremesa n’okulwana okugenda mu maaso ng’owulira nkuba yokka y’eyiika, ndowooza n’abasajja ba Obote baali balina we beekukumye.

Wadde ng’ekiraalo kyali kifo kituufu okwekukumamu, naye ate ng’omutima ogugumiramu twali tetugulina, twasalawo okukifuluma nga n’enkuba ekyatonnyerera ne tudda ku ludda olw’Obukiikakkono. Abamu wano baacamuukirira nga balowooza nti tumaze okutoloka, naye wa!

Amagye gaali gakyatwebunguludde ate nga tetunnaba kutereeza kkubo we tulina kuyita okufuluma Olubiri.

Mu kusooka nalowooza nti, tugenda kulwana tufulume, wabula tebyali byangu. Ekirala kyali kikyannuma, ku mmeeza nali ndeseeyo empeta yange n’essaawa bbiri, nga nnina obuvumu bwokuddayo okubifuna. Twakimanya nti ebintu byali byongedde okukaawa, naye twalina okumalirira tulemereko okulaba nga tulemesa abalabe, twalina okufuluma mubumalirivu awatali kudda mabega.

Bikyusiddwa EDWARD SSERINNYA.  Enkya lindirira ekyaddako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dppyu9fx4aaygnu 220x290

Museveni ayozazyozezza Cranes okuwangula...

PULEZIDENTI Museveni ayozaayozezza Cranes olw’okuwangulira Lesotho ku bugenyi ku ggoolo 2- 0 n’agamba nti alina...

Luba 220x290

Amataba gasse mwenda mu Arua n'e...

ABANTU musanvu bafiridde mugga Enyau ogusangibwa okumpi ne Arua mu West Nile oluvannyuma lw’okwanjaala ne gubatwala...

Wana 220x290

Kadaga agumizza Bannayuganda abali...

SIPIIKA Rebecca Kadaga asisinkanye Bannayuganda ababeera e Switzerland n’abasomooza okuweereza ezimu ku ssente...

Daki 220x290

Nnansi w'olubuto gwe baapacca oluyi...

DOKITA omusajja agambibwa okukuba omukazi omuzaalisa eyali olubuto oluyi ng’amulanga kulagajjalira omulwadde...

Mbu 220x290

Tubalinze mu Mbuutu y’Embuutikizi...

Abayimbi abagenda okuyimba mu kivvulu kya Bukedde FaMa Embuutu y’Embuutikizi kalakata bakoowodde abaddigize okujja...