TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Nabuuka mirambo gya basajja bange nga ntoloka mu Lubiri - Muteesa

Nabuuka mirambo gya basajja bange nga ntoloka mu Lubiri - Muteesa

By Edward Sserinnya

Added 18th May 2016

Twabalula mmotoka z’abalabe, luno lwe lulumba lwe twasooka okukola ku basajja ba Obote ne lubanoga, kuba bwe twakuba mmotoka ezaaliwo, endala bbiri ne zisimbula ne zigenda awo ne zirekawo ekyanya era twalaba nga wano tusobola okutolokerawo.

Muteesassekabaka1 703x422

Ssekabaka Muteesa mu 1963 nga yaakafuulibwa Pulezidenti wa Uganda.

Mu kitabo kye ‘Okuvvoola Obwakabaka bwange (The desecration of my Kingdom) Ssekabaka Sir Edward Muteesa II anyumya amagye ga Obote bwe gaalumba Olubiri lwe ne batuusa okumuwaηηangusa.

AMANGU ddala ng’enkuba emaze okukya, gayidi waffe (atusomera ekkubo) yatuyita okubaako kye tulaba, era nze nalaba ekintu ekyanneewunyisa.

Nalaba ekibinja ky’abakazi okwali ne mwannyinaze ne mukazi wange okwo gattako abayambi b’omu Lubiri, baali batambula mpolampola nga badda ku ludda lwa Wankaaki gye twali tulwanira.

Saamanya kiki kye baaliko, kuba ate nali sibalabyeko okuva lwe twatandika okulwana. Nagezaako okubayita nga ndowooza banampulira naye tekyasoboka kuba nabayita mu ngeri ya kimpoowooze olw’okutya abalabe okuwulira. Baasigala batambula okutuusa lwe baabulirayo.

Nga wayise akaseera katono, nawulira okubwatuka eyo gye baali balaze, nawoggana nga ηηamba ‘Tekisoboka!’, nali siyinza kumanya kyaddako wabula oluvannyuma nakimanya nti baabakkiriza ne bayitawo ne babakwata ne babatwala mu kkomera.

Nga wayise akaseera katono, baddamu ne batulumba ku Wankaaki era ne tubatimpula ne tubawangula.

Ebyokulwanyisa byaffe naddala amasasi byatandika okukendeera, awo ekyaddako nalina kunoonya kkubo mwe tuyinza kutolokera.

Ku ludda lw’Obukiikakkono, abakuumi baali bakuba amasasi obutasalako, nga bano be baatuyamba okutubikkirira ne batuwa obukuumi ne tusobola okutambula ne tusemberera ggeeti y’obukiikaddyo n’ekigendererwa ky’okulumba mmotoka ezaali ku kkubo ebweru wa bbugwe.

Twabalula mmotoka z’abalabe, luno lwe lulumba lwe twasooka okukola ku basajja ba Obote ne lubanoga, kuba bwe twakuba mmotoka ezaaliwo, endala bbiri ne zisimbula ne zigenda awo ne zirekawo ekyanya era twalaba nga wano tusobola okutolokerawo.

Wadde omwagaanya gwali gulabise, naye akalembereza kano kaali kaakumala bbanga ki? Ffenna twali mu kuteebereza.

Abantu mwenda twatuuka ku kisenge ky’obutoffaali obumyufu, naye twalina okukubawo akalyango akatono mwe tusobola okuyita. Waaliwo okubwatuka kw’amasasi, tugenda okulaba omuwala ng’ajja adduka okuva ku ludda lw’abalabe ng’akaaba nga yenna bw’ajugumira, ono si mulala ye Katie Ssenoga eyali omusomesa mu kasomero ka nassale.

Namubuuza, ‘Kiki ky’okola wano?’ kyokka tewaali kiseera kyonna kya kwonoona, wabula okweyongerayo. Olw’okutya kwe yalimu, ssinga yalina emmundu ndowooza yanditukubye ffenna amasasi!

Twamala eddakiika 10 ez’omuwendo nga tunoonya okukuba omuwaatwa we tusobola okuyita.

Kino kyalema olw’obugumu bw’ekisenge ne tulaba nga tugenda kumala ebiseera bingi, era okukkakkana nga tuwalampye kisenge ky’Olubiri okubuuka okugwa ebweru.

Ekisenge kyali kiwanvu nga kiwezaako ffuuti 12, twalina okwepanga nga tulinnya ku bibagabega bya bannaffe, naye kino abakuumi baali bakimanyi bulungi okukikola. Nalinnya ne mbuuka okugwa wansi, wabula nakikola bubi era nagwira enkizi yange ne nfuna obuzibu era nakyejjusa okumala omwezi mulamba, kuba nali mbuuse ng’atali kkomando!

Okukozesa obwangu kyali kikulu, olw’ensonga nti, buli ddakiika gye musuula yali eyinza okuvaamu okufiirwa obulamu.

Twadduka kiwalazima ne tuyingira olusuku lw’ebitooke olwali ebweru w’Olubiri, naye awo twaddukanga tubuuka mirambo naye nga tetumanyi oba batulaba oba nedda.

Twasooka ne tusirikamu, wabula obukuba nga bukyavaamu obutondo, ate emabega waffe ng’emmundu egenda mu maaso n’okuseka.

Mukama yakola ekyamagero, laba bwe zireeta takisi bbiri ezaali zivugibwa mu ngeri ey’ekisaazisaazi nga tolaba oba ziri ku bwangu. Nneewaayo ne ηηamba kannyimirize mmotoka zino naye nga simanyi oba zijjudde maggye oba nedda!

Nakukunukayo ne nzikuba omukono, mu mbeera y’ekijja kijje. Zaayimirira n’okwesiisa ng’olowooza abazivuga bali mu nsi ejjudde emirembe, nga tubagalidde ebyokulwanyisa, twazirinnya ne tubalagira bavuge nga badda ku ludda lw’Abaminsani okuliraana Lutikko y’Abakatoliki e Lubaga.

Twalinnya buli omu agwa ku munne, kuba twalowooza kino kijja kutuyamba, oli bw’alengera mmotoka tasobola kumanya oba mulimu abantu, naye amazima nkitwala nti twali baamukisa obutabaawo atuyimiriza mu kkubo.

Tetwalina ssente, nga takisi etutuusizza twasindika omugoba waayo ewa mukwano gwange amusasule, awo we nalabira nga kyabulabe omuntu okuba mukwano gwange, ggwe ate okukuweereza amabanja g’otomanyi!

Abaminsani baatwaniriza, olwo ne tutandika okwegabanyaamu. Baatuuwa akadagala akakkakkanya obulumi ne nkasiiga ku mugongo ate ne twongera okufuuyira ku ngoye zaffe nga tulowooza nti bayinza okujja nga batunoonya n’embwa.

Twamalawo essaawa ntono, era tetwalinda budde kukya ne tutandika okweyongerayo wadde twali tukooye naye twatambulayo mayiro ng’emu, wabula twali tufuuse baabulabe eri buli muntu eyatukwatirwanga ekisa. Anti Obote yali amaze okuyisa ekiragiro okuntwala gy’ali nga ndi mulamu oba mufu!

Mu kiseera kino twali abantu basatu, George Maalo eyali omukuumi wange, Capt. Jehoasti Katende nange. Nafunamu ku kadde akakoleeza omunwe gwa sigala ne ngufuuweeta nga bwe tuyiiya ekiddako. Gayidi yaηηamba nti, ‘eryato lyange ku nnyanja lyali lisesebbuddwa!

Kino kyali kitegeeza nti ekkubo ly’okutoloka nga nzira e Bukiikaddyo lyali lizibiddwa, ate n’ekkubo erigenda e Nairobi ate eryo tekwali kabuuza nga nalyo ffu! Olwo nalina kukwata ludda lwa Bukiikakkono ate ku lino saalinako mikwano giri awo, kati olwo nalina kukwata. Enkya linda ekyaddirira.

Bikyusiddwa EDWARD SSERINNYA.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala0 220x290

Boogedde ebikankana mu kuziika...

DR. David Mugimu eyafudde ng’alumiriza abaserikale okumunyagako obulindo bw’ensimbi, eggulo yaziikiddwa e Kagganda...

Occc 220x290

Abagagga 36 baggyiddwaako abaserikale...

ABAGAGGA mu bitundu bya Kampala, Wakiso, Mukono, n’awalala baggyidwaako abaserikale abaabaweebwa eyali akulira...

Nyimba 220x290

Balaze embalirira y’ensimbi z’emisinde...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga yeebazizza minisitule y’ebyobulamu olw’okukwata obulungi ebintu Obwakabaka bye bwagiwa...

Mknsamia4 220x290

Omubaka gwe yazaalamu omwana n'agaana...

Omubaka wa palamenti agaanye okuwa obuyambi omuwala gwe yaggya mu bbaala n’amuzaalamu omwana-yeekubidde enduulu...

Bba 220x290

Bba w’omuserikale bamukwatidde...

BBA w'omuserikale wa Poliisi bamukwatidde mu bubbi ng’amenya edduuka abatuuze ne bamukuba ne bamwasa omutwe ne...