TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Gye nayitanga ng’abammanyi balowooza ndi muzimu - Muteesa

Gye nayitanga ng’abammanyi balowooza ndi muzimu - Muteesa

By Edward Sserinnya

Added 20th May 2016

Nawulira olugambo nti Nnaabagereka ne muganda we Sarah baali babasibye ate nga babatulugunyizza, wabula obutuufu bwabyo ggwe nange.

Lancaster1 703x422

Olukiiko lwe Lancaster mu 1961, olwakola Ssemateeka w’okwefuga. Owookusatu ku kkono ye Ben Kiwanuka.

Mu kitabo kye ‘Okuvvoola Obwakabaka bwange (The desecration of my Kingdom) Ssekabaka Sir Edward Muteesa II anyumya amagye ga Obote bwe gaalumba Olubiri lwe ne batuusa okumuwangangusa. Olwaleero anyumya bwe yava e Lubaga ng’atoloka amagye ga Obote

Twalina okusalwo okukwata oludda Ebugwanjuba, ng’eno mayiro 300 gye twalina okusanga ensalo ya Uganda ne Congo oba e Bukiikaddyo ng’eyo waliyo ensalo ya Burundi.

Okukwata okudda ku ya Congo kyali kikalubamu, ate eya Burundi nga waddewaddeko naye twamalirira ne tukwata ekkubo erituggusa e Congo.

Twatandika okutambula, wabula siyinza kunnyonnyola lugendo lwange kuba terwaliko kkubo ddambulukufu olw’okutya okuttibwa n’abo Obote be yandirowoozezza nti baliko kye bannyambye!

 njole ya uteesa lwe yakomezebwako mu uganda mu Enjole ya Muteesa lwe yakomezebwako mu Buganda mu

 

Naye kye nsobola okwogera, saayitira Tanzania nga Obote bwe yabityebeka oluvannyuma.

Ekirungi ebimu ku bitundu nali mbimanyi, kale ensi nali ngimanyi bulungi, ssinga tekyali ekyo sirowooza nti nandisobodde okufuluma eggwanga.

Ensi yonna yali mu kusoberwa, abantu nga badduka okuva e Kampala okwetegula ekibambulira. Endabika yange, ssinga nali Kabaka wa Buganda kyokka, kyandibadde kizibu okuntegeera. Wabula olw’okuba nali Pulezidenti wa Uganda wadde nali nfaanana bulala abalabe nga basobola okubaako obubonero bwe balaba ne bantegeera, kale nalina okwegendereza.

Baasooka kukwata muganda wange David (Ssimbwa), kuba twali tufaanagana, bwe baamukwata balowooza nti bakutte nze. Era baawulirwa nga boogera ‘Yooyo yennyini’ olwo gwe baali batadde ku loole ne bamuggyako ne bamutwala mu Land Rover, wabula oluvannyuma bakizuula nti ssaali nze nga bakoze nsobi, baamunyoola omukono ne bagumenya ne bamutwala mu kkomera!

We mpandiikidde bino nga tateebwanga.

Twatambulanga misana, kuba ekiro twakiraba nga kyabulabe olw’ensonga baasuulanga ebimotoka by’amagye n’okuyoola abantu.

Nali neesulidde ekikooti ekyeru nga kinene nzenna mbulidde muli, ate ekyankola obubi ssaasobola kufuna kirevu kya kimpatiira, wadde gwali gutyo naye twafubanga okulaba nga tubuzaabuza endabika oli nga kizibu okututegeera, nga n’enviiri nzisaze nzimazeeko ng’afiiriddwa!

Olumu Land Rover bbiri ezaali zikubyeko abaserikale zaatuyimiriza ne batuubuza, ‘Mwe baani, era mulaga wa?’ Twababuulira amannya amafu, era ne tubagamba nti ‘Tugenda wala’ baatulanga okutambula mu budde obukyamu, era ne batuleka ne beeyongerayo.

Oluvannyuma waliwo mukwano gwaffe eyatusanga n’atutwalako, era ono yatwanguyiza olugendo mwattu. Twasanga poliisi ng’etadde emisanvu mu kkubo, dereeva waffe bwe yagiraba n’akyusa lumu mmotoka n’avuga nga tudda gye tuva, nali ndowooza bajja kutugoberera naye tebaakikola.

Ssinga tweyongerayo oba nali ngenda kubagamba ntya! Nti, ‘Nze Kabaka wa Buganda, eggwanga erisangibwa mu Uganda, twogera Luganda, ffe tusinga obungi mu Uganda’ okwo tekwali kweyokerera mukira?

Nali mpulidde olugambo nti Nnaabagereka ne muganda we Sarah baali babasibye ate nga babatulugunyizza, wabula obutuufu bwabyo ggwe nange.

Kumpi buli omu baali bagamba mufu, kuba bangi baali babuzeewo, naye nga twogera kuno na kuli nali simanyi oba batugoberera, ye abatugoberera baali batuuse wa?

Kye namanya bwe tuba twali tufuna amawulire amafu, ate ku Obote ge yafuna ku ffe go gaalinga mafu nnyo ate nga gajjuddde okusoberwa. Kuba ate mikwano gyange ebweru wa Uganda baakola omulimu munene okubuzaabuza Obote ne basajja be, nga bawa amawulire amakyamu ku nze.

Abamu nga bagamba nti ndi Nairobi, abalala bandabyeko mu Addis Ababa ekya Ethiopia ate abandi Burundi okwo kw’ogatta abagamba nti baali banzise. Kati n’asoberwa ky’atwala ne ky’aleka!

Okufulumirawo nalaba nga kikalubamu, nasooka ne ndowooza okwekweka Obote balowooze nti siriimu mu ggwanga oba nti nafa. Nabuuza omusajja omu okubaako musajjamukulu gw’andagirira.

Mu kunziramu yambuuza nti, ‘Waawulidde ku mawulire amapya agali mu kitundu?’ ko nze nedda, mawulire ki? ‘Kabaka yasuze kuno ekiro ekikeesezza leero. Yafunye n’omukazi omulalaa kuba ababe bonna battiddwa. Naye kati kye mpulidde azzeeyo ate kulumba e Kampala okwesasuza’ Natunuuulira omusajja nga simumala, nasalawo okweyongerayo gye nali ndaga!

Twanoonya ekifo we tuyinza okusula, wabula ekisulo ekyali okumpi baali bakiteekedde omuliro.

Emmere kyali kimu ku bizibu byaffe, nzijukira okugwa ku Apo ekiyiifuyiifu gye nali nsigazzaawo kw’ezo ze baali batuwadde, nalyako kitundu endala ne ngitereka okugirya oluvannyuma, wabula waliwo we twafuna enkenene ne zitutaasaako enjala.

 Sir Edward Muteesa II

Wadde twali mu nnaku, naye waliwo ebiseera we twasanyukangamu. Nzijukira bwe twatuuka mu maka g’omwami omu eyatukyaza, zaali ssaawa 1:00 ey’akawungeezi. Twasanga omukulu yasse akayana era n’alagira bakyala be n’abakozi mu maka omwo batutegekere ekyeggulo.

Okutya okusisinkana abantu gye twagendanga tekwali kutulyamu lukwe, wadde nga nakyo kyali kisoboka, wabula ennyaniriza ey’amaanyi ng’abamu baagala n’okutemya ku bannaabwe ku kyalo nga bwe bakyazizza Kabaka, kale embeera eno n’abamu okwagala okuleeta ebirabo yali ejja kutukwasa mangu era twagyewala.

Abamu baayagala n’okunkwatako, ate nga bakkiriza nti okunkwatako kujja kwongera okumpa emikisa ntambule bulungi!

Ndowooza ne bano bandibadde bandabanga omuzimu, lwakuba bo baali tebalabye ggulire lya Daily Express okwali kufulumiddwa omutwe ‘Kabaka Freddie mufu’ kyokka abamu baali balowooza nti nafa era balaba muzimu.

Nzijukira akalenzi akamu akaagaanira ddala okukkiriza kye kalaba, mu ddakiika 10 kaakiddamu enfunda eziwera, ‘Nedda oli mufu’ tekisoboka kuba ng’oli mulamu.

Mmotoka za basajja ba Obote ezaali zinnoonya zaakonkomalira ku nguudo ez’enjawulo, kino kyaleeta olugendo lwange okuba olw’akasoobo wadde gwali gutyo naye nalina okweyongerayo. Enkya linda ekyaddirira. Bikyusiddwa EDWARD SSERINNYA

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi