TOP
  • Home
  • Emboozi
  • ‘Omuwala omu yandaba n’antonera omukuufu’

‘Omuwala omu yandaba n’antonera omukuufu’

By Edward Sserinnya

Added 20th May 2016

Mu mwezi emirundi gye twakyusa engoye gyali mibale, wabula twatuuka ekiseera nga tulina okusooka okumanya ekiri mu maaso nga tetunneeyongerayo. Olumu ng’osindika ababaka balabe bakomewo bakubuulire ne batadda!

Siredwardmuteesa1 703x422

Sir Edward Muteesa II

Mu kitabo kye ‘Okuvvoola Obwakabaka bwange (The desecration of my Kingdom) Ssekabaka Sir Edward Muteesa II anyumya amagye ga Obote bwe gaalumba Olubiri lwe ne batuusa okumuwangangusa.

Olwaleero anyumya engeri gye yatuuka ku nsalo ya Uganda ne DR Congo.

Wadde ng’emmotoka zaali nnyingi ku nguudo, ate mwattu tekyabanga kizibu okuzeebalama. Kuba abaserikale abaabanga ku kkubo baali tebalina mawulire matuufu, kino kyabaleetera nabo obutassaayo mwoyo nnyo ne batatuteekako nnyo birowoozo.

Okusobola okufuna obubudamu mu bitundu nga tulina okwetegereza n’okwekenneenya ekitundu, nga mubaamu abantu be musooka okusindika mu nsiko.

Lumu tuba tutambula ekiro ne tusanga omwala, wabula ekitundu nali nkimanyi era nga kyangu okusaba obuyambi.

 aminisita ba uganda mu 1962 nga balindirira abaka mu maaso ga ulange Baminisita ba Buganda mu 1962 nga balindirira Kabaka mu maaso ga Bulange.

 

Wabula nga tumaze okusala, ekyalo kye twagendako twatuukira mu maka agamu ne tukonkona, nnyinimu yatusaba okumweyanjulira nga tanaggulawo bwe twakikola olwo n’abandulawo oluggi.

Mu mwezi emirundi gye twakyusa engoye gyali mibale, wabula twatuuka ekiseera nga tulina okusooka okumanya ekiri mu maaso nga tetunneeyongerayo. Olumu ng’osindika ababaka balabe bakomewo bakubuulire ne batadda!

Kino kyatuyisanga bubi kuba olwo twalina okutambula nga tetumanyi kiri mu maaso n’olumu okudda emabega ekyakeereyesa olugendo.

Waliwo lwe twalaba loole y’amagye ng’ejja, ne tugyewugula ne twekukuma mu nsiko. Naye twali twasazeewo dda okusuula ebyokulwanyisa byaffe kuba twali tukizudde nga ssinga tetukikola kiba kyekwaso ekimala okutukwata ne batusiba nga batusanze nabyo.

Twasulanga mu nsiko, nga nze mmanyi tewali alina kyakulwanyisa. Naye nneewunya Katende okuba nga ye ebimu ku byokulwanyisa bye yali tabisudde nga yasigazaako ebimu!

Twateekangawo ettundubaali ne twebaka. Mu bukoowu obw’ekitalo, kyaddaaki twatuuka ku nsalo ya Uganda ne Congo.

Wano twasangawo abasajja babiri abakadde n’omuwala nga batyaba enku. Bajja ne boogerako naffe, omuwala kwe kumpa omukuufu gw’olujegere, naye ate munnange teyantegeera.

Okusala ku nsalo tekwali kwangu, kuba abasajja ba Obote baali awo nga beebuga, nga ssinga bantegeera baali bankwatirawo bampeeyo mu mikono gya mukama waabwe. Amagye ga Congo gaatukwata, wabula ate nabo nga tebamanyi kye balina kutukolera.

Naye nga waliwo kopolo omu nga buli kiseera yeebuuza mu ngeri erimu okwekengeera nti, ‘Naye mmwe b’ani?’ Era nga kirabika ayinza okutuleka ne tugenda oba okututta! Nakizuula nti obulamu bwaffe buli mu katyabaga era tetulina kwetuulako.

Kopolo ono yayongera okuwa ebiragiro mu Lukongo era ebyo saabitegeera, twasulawo ekiro kimu naye nneebaka kitono. Ku makya yawa ebiragiro bye saamanya n’atambula n’agenda n’atuleka awo.

Okuva wano okugenda okuyingira Burundi twalimba amannya, bwe baagawulira nti ga Kiganda, ne tubalimba nti tulina abeemikwano be tugenda okukyalira.

Beetegereza nnyo ebiwandiiko byaffe, nze nakwekanga amaaso nga saagala bandabe era Katonda n’annyamba ne mpitawo.

Twayingira Bujumbura, eno nali   ku nsiri naye obukoowu, omuntu amaze omwezi kumpi nga talya, enjala n’obukoowu okwo gattako okwebaka ekitono nga sisobola kuba mulamu.

Mu nnaku ssatu enteekateeka zonna zaali ziwedde, nalinnya ennyonnyi eyali tesooka kuyitirako mu Uganda ng’ezisinga bwe zaakolanga, wabula egenda obutereevu ku kisaawe kya Brussels e Budaaki.

Eno gye nalina okufunira endala entwala e London ekya Bungereza. Wano we twasisinkana ne muganda wange Henry, nali nsembye okumulaba ng’olutalo terunnabaawo, wabula yambuuza ekibuuzo kimu ‘Okola ki wano!’

Okuva olwo nange mbadde nebuuza ekibuuzo ekyo.

Wabula njagadde okugattamu ebimu ku bigambo ebyali mu bbaluwa bbiri, omu ku baserikale bange ze yawandiikira mukwano gwange Omuzungu e Bungereza.

Yaziwandiika June 04, 1966 ng’asinziira e Kenya gye yali atolokedde. Amannya g’abantu abali mu bbaluwa eno agamu ngalese ebbali olw’okutangira ebiyinza okuddirira, wabula n’omuwandiisi sijja kugateekamu olw’ebyokwerinda n’ebigambo ebimu ebiyinza okuleetawo omuntu okuteebereza n’amanya omuwandiisi nabyo mbirese bbali.

Enkya lindirira ekyali mu bbaluwa. Bikyusiddwa EDWARD SSERINNYA.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA