TOP
  • Home
  • Emboozi
  • ‘Obote yabulako katono okuwera ebika by’Abaganda’

‘Obote yabulako katono okuwera ebika by’Abaganda’

By Musasi wa Bukedde

Added 20th May 2016

OBOTE olwamala okulumba Olubiri, yatuma omuntu n’ajja e Mmengo n’akuηηaanya ebiwandiiko byonna ebikwata ku byobugagga bwa Buganda okumala emyezi ebiri. Baηηamba nti yali Muganda naye ssaamutegeera.

Adlubowa1 703x422

Obote (ku kkono) ne A.D Lubowa mu biseera eby’essanyu ng’ensi tennatabanguka.

GIWEZE emyaka 50 bukya magye ga Obote galumba Olubiri lw’e Mmengo ekyataataaganya ebintu mu Buganda ne Uganda yonna.

Omulamuzi wa Buganda eyasembayo, A.D Lubowa anyumya ekyaddirira nga Obote aggyeewo Obwakabaka.

OBOTE olwamala okulumba Olubiri, yatuma omuntu n’ajja e Mmengo n’akuηηaanya ebiwandiiko byonna ebikwata ku byobugagga bwa Buganda okumala emyezi ebiri. Baηηamba nti yali Muganda naye ssaamutegeera.

Bw’ojjukira ebyaliwo toyagala kuddamu kubyogerako kubanga teyandibadde Obote n’atukola kye yakola, waali wakyaliwo omwagaanya okuteesa ne tugonjoola ensonga. Buganda yalina poliisi lwaki teyawanyisa bajaasi ba Obote?

Kino ky’ekibuuzo bangi kye baabuuzanga naye weebuuze, Poliisi ng’erwanyisa eggye? Yalimu abaserikale 300 bokka, Poliisi ya Buganda teyalina byakulwanyisa biyinza kulwanyisa ggye.

Ate bangi tebaasuubira kyagwawo, Buganda mu biseera ebyo yali ya mirembe, emmundu zaali ntono nnyo ate nga nkola nkadde era teewali yamanya nti wanaabeerawo okulwana okw’engeri eno.

Amagye ga Obote gaatandika okulwana nga bukya. Baalumba Ssaabasajja eyalina abakuumi ne basajja be abatono abaagezaako okulwanysa omulabe. Ekyaliwo nga toyinza kukyefaanaanyiriza.

Nze nali mbeera ku nnyumba y’Omulamuzi wa Buganda ng’oyambuka e Lubaga ku Klezia ne tulengera nga bookya ensiisira ezaali mu Lubiri kyokka tetwamanya oba gaali masasi oba kwaliko n’okukasuka bbomu entono, twalaba bintu ebyaka mu bbanga.

Enkuba we yatonnyera mu ttuntu nga Kabaka alabye nti basajja be bakendedde naye we yaviira mu Lubiri naye nze ssaalimu, siyinza kunyumya bingi ku byali mu Lubiri. Nze kye ssaalaba ntya okukyogerako oba ab’enkwe baaliwo siyinza kukinnyonnyola.

  ubowa AD Lubowa

 

ENKYUKAKYUKA MU BY’OBUFUZI

Kabaka gwe mutwe gwa Buganda, omuntu yenna bwe bamutemako omutwe ebitundu by’omubiri ebirala bibeera tebikyasobola kubeera na mugaso. Kabaka ng’avuddewo buli kintu kyonna kyafa.

Omukulu oyo eyasindika abaserikale byonna bye baakola byasattulula Buganda eyali ezimbiddwa ku Ssemateeka: Obuyinza bwa Kabaka, obuyinza bw’Olukiiko lwa Buganda bwe baabiggyaawo ekigendererwa ekikulu kwali kuzikiriza.

Yaggyawo obuyinza bwa Buganda okubaga amateeka agakwata ku bintu byayo ebikulu ng’amateeka g’ettaka. Buganda lyali ggwanga eryetongodde ng’erangirira n’ennaku ez’okuwummula. Nze nali minisita wa gavumenti ezeebitundu we baabangirawo Munisipaali y’e Mmengo nga Kampala si mugazi nga bw’ali kati.

Munisipaali y’e Mmengo mu Kampala wakati yakomanga awo ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa emmanju wa paviriyono y’ekisaawe ky’e Nakivubo.

Ensalo za munisipaali y’e Mmengo zaali zirambikiddwa wamu n’eza Buganda kubanga Buganda yali wamu, nga teriimu zino disitulikiti.

Obote olwamala okuwamba n’atandika okusalaasala Buganda obulere n’atondawo disitulikiti okwali Mpigi, Masaka n’endala sso nga luli Kabaka yalamulanga ayita mu Masaza, amagombolola, emiruka okutuuka ku batongole ku byalo.

Olunaku lw’okulumba Olubiri nze nali Omulamuzi wa Buganda omukulu eyasembayo, nali mu maka gange e Lubaga ne mpulira amasasi nga gavuga.

Obulamu bw’abakungu bwasannyalala, buli omu n’asirikira gye yali nga Kabaka adduse, Katikkiro awaηηanguse, olwo abasigadde mubeera mukyakola ki!

Okulumba Olubiri kyali kya ntiisa nnyo, tekyandibaddewo, omuntu atajjukira akola bingi bwe tudda mu buntu omuntu nga Milton Obote, Buganda gwe yateeka mu buyinza ng’emuwadde ababaka 27! Omuntu alina amagezi teyandikikoze.

Bannabyabufuzi bantu bazibu nnyo, mpulira muli nga kinnuma okusaanyaawo Buganda n’Obwakabaka. Bw’omala okutta omuntu kiki ekisingako awo ky’oyinza okwongerako! Kimu kyokka ky’ataasobola kukola kwali kukwata ku bika bya Buganda kubanga tebyali mu Ssemateeka.

Kabaka ng’avuddewo, ssaddamu kumulaba naye namuwandiikirako ebbaluwa bbiri n’azifuna n’antumira mwami Senkubuge eyali omukungu w’ebyenjigiriza eyabeeranga e Bungereza. Bwe yajja namusisinkana ku klezia ya Christ The King n’ategeeza nti Kabaka y’amutumye okundaba, mmutegeeze oba ebbaluwa ze yaddamu zantuukako kyokka zirabika baazikwatira mu kkubo ssaazifuna.

Ebbaluwa zange naziwandiika nga nziyisa mu Martin Flegg eyali munnamateeka wa Kabaka. Ekiseera kino Kabaka waali, Buganda w’eri naye luli twalingawo mu Ssemateeka nga n’ensalo za Buganda zirambikiddwa.

Omulembe guno zirambikibwa mu nsonga za Buganda ssemasonga ettaano. Ssemateeka wa 1995 talambulula Buganda nga bwe yali mu Ssemateeka wa 1962. Ng’oyita mu Ssemateeka Buganda teri nga bwe yali naye katusabe osanga tuliddawo nga bwe twali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Johnfb 220x290

Njagala alina empisa

Njagala eyeetegese okukola obufumbo, alina empisa n’omulimu gw’obuvunaanyizibwa okuva ku myaka 30 n’okweyongerayo....

Newsengalogob 220x290

Lwaki toyagala kwegatta?

Ate okomawo ng‛obudde bugenze, kati yeebuuza obaomulimu gw‛okola gwe guleese embeera eno. Kati alowooza edduuka...

Newsengalogob 220x290

Nvaamu ekisu

LWAKI nvaamu ekisu nga neegasse n’omusajja?

Newsengalogob 220x290

Namukwatira mu bwenzi

MUKYALA wange namukwata lubona n’omusajja naye namusonyiwa.

Newsengalogob 220x290

Takyantuusa ku ntikko

omwami wange takyantuusa ku ntikko