TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Obote ne Amin beewonya kuwoza misango gya masanga ne Zaabu

Obote ne Amin beewonya kuwoza misango gya masanga ne Zaabu

By Edward Sserinnya

Added 23rd May 2016

Kampala yenna yali ku bunkenke, nawulira nti waliwo amagye ge baali bayiye mu Kampala kyokka nga gano gakkiririza mu Obote, amagye agaali gatamukkiririzaamu nga gaggyiddwaamu.

Kabakamutebigettyimages 703x422

Idi Amin ne Ssaabataka Mutebi bwe yali akomyewo okulambula ku bantu be mu myaka gya 1970.

Mu kitabo kye ‘Okuvvoola Obwakabaka bwange (The desecration of my Kingdom) Ssekabaka Sir Edward Muteesa II anyumya amagye ga Obote bwe gaalumba Olubiri lwe ne batuusa okumuwaηηangusa.

Olwaleero anyumya ku ngeri Obote ne Amin bwe baagezaako okwewonya okuwoza emisango gy’okubba amasanga ne Zaabu e DR. Congo.

OKUVA ku lukuηηaana luno, olwo ne lutandika okuyiting’ana mbu guno gwe mukolo gwe nali ntegese okumuttirako, nti era olukwe nali ndutandikidde na kumulemesa okwogera nti bera teba kuba ‘sipiiki’ eno nali mmumaze nti ye yamutaasa!

Kati ‘sipiiki’ oba etaasa etya omuntu anaatemulwa? Kino kyannema okutegeera.

Omwezi ogwali guddako nalina okukuza amazaalibwa gange, nali nneetaaga bandi ya miritale olwo ate guno nagwo gwali musango ye nalina kutuukirira ani? Ggwe nange!

Nga February 01, 1966 Obote yagenda ku lugendo e Bukiikakkono, yali waakumalayo ennaku 11. Wabula olugendo luno terwali lwa bwetaavu kiri awo, naye Obote yaluteekawo mu bugenderevu kuba yali amaze okukitegeera nti Daudi Ochieng yali waakuleeta ebiteeso mu Lukiiko nga tayagala kubyanukula oba teyalina byakuddamu kye yava yapanga olugendo lw’ekimpatiira.

Ekiteeso kya Ochieng kyakkirizibwa, yaleeta ebintu bibiri ebyogerwako: Ekimu kyali kyogera ku bakungu ba Gavumenti abaali balina olukwe n’abakungu mu magye okuggyawo Ssemateeka eyaliwo!

Era mu ddiiru eno waliwo baminisita basatu abafunye omusimbi mu ngeri y’amasanga ne Zaabu okuva e Congo. Kuno kwaliko Obote, kizibwe wa Obote Nekyon ne Felix Onama okwo gattako minisita w’ebyokwerinda, bonna abaali bava ku ludda lwa Bukiikakkono. Ku bonna abaali boogerwako Onama yekka ye yaliwo, kyokka ebyogerwako n’abyegaana.

Ekiteeso ekirala kyali kya kuyimiriza Amin ku mirimu olw’emivuyo gya ssente egyali gimwogerwako. Amin yali mujaasi mukambwe ate yali mukubi wa bikonde. Nali mwetegerezza embeera ze kuba yaliko mu Lubiri. Obote yali yamugaana okunsemberera nga tamaze kufuna lukusa kuva wuwe, naye kino kyali kizibu kubanga nze nali omuduumizi we ow’oku ntikko kale ng’olumu tekyewalika.

Endowooza ya ssente ku Amin yali eyo abamagye abasinga gye baloota, bw’oba olina ssente zisaasaanye ate ezisigaddewo ziteeke mu bbanka ku akawunti etali mu mannya go, bino ne Amin bye yakolanga era nga kizibu okulaba ku sitaatimenti ya Amin eva mu bbanka n’oba n’okwemulugunya kuba akawunti ye teyabangako nsimbi.

Kati okumulumiriza ku by’okubba ssente ng’olowooza obujulizi ogenda kubwesigamya ku bya akawunti wabanga omala bya mu bulago.

Omu ku bantu abaali batudde emabega mu lukiiko ate nga muwagizi wa Obote, yalaga nga bwe kitali kya bwenkanya kutandika kwogera ku Obote kyokka nga taliiwo.

Onama yagamba nti okusinziira ku biriwo bisobozesa bulungi okuwummuza Amin, era yaweebwa oluwummula olutali lugere.

Ochieng yali abeera nange mu nnyumba emu entonotono okuliraana Kampala, ng’eno mu kusooka yali nnyumba ya Gavana. Nawuliriza obutambi n’okusoma ebyava mu nkiiko ez’enjawulo ne mbyekkaanya bulungi olwo ne ntandika okubigatta n’olugambo olwali lutambula wonna, sseewuunya ku bye nawulira, kyokka engeri gye byali byogerwamu munnange nga bisesa!

Olukiiko lwali lusanyufu n’okuteekawo okubuuliriza, kuba mwalimu abaagala enjawukana okugenda mu maaso ate abamu nga baagala okulaba Obote ng’ali mu katyabaga.

Kampala yenna yali ku bunkenke, nawulira nti waliwo amagye ge baali bayiye mu Kampala kyokka nga gano gakkiririza mu Obote, amagye agaali gatamukkiririzaamu nga gaggyiddwaamu.

Kano kaali kakodyo nga ssinga wagwawo ekintu kyonna obuyinza buba mu mikono gya Obote, naye nali nkiteebereza buteebereza. Obote teyakomawo mu kiseera we yalina okukomerawo.

Mu kiti kyange nga Pulezidenti, nayogera ne Ssaabalamuzi ku kabi akaali kasemberedde okubalukawo ekiseera kyonna. Mu mbeera eno kye nava njogerako ne Kaminsona wa Bungereza n’ababaka b’amawanga ga Afrika babe bulindaala, ssinga wabaawo obusambatukko batuweereze ku magye gazze embeera mu nteeko, ate kino nakikola kubeebuuzaako oba nga banaakisobola.

Naye ssaayita magye kuva bweru kujja kuyingira mu Uganda, nalina kirowoozo nti bayinza okujja mu mbeera ennungi ate ne Obote kino yali akikkiriza emyaka ebiri emabega.

Kyandabikiranga awagenda okubaawo okuvuunika gavumenti, kuba nze nali sikkiriza magye kujja mu Uganda. Nasalawo okwebuuza ku kabineeti, naye n’ewabula okuwereeza abakuumi banone Obote akomewo mu Kampala.

Bwe yatuuka e Kampala, mu kuwa obubaka Obote yasimbako olukongoolo nga bwe namuweerezza amagye gamukwate, wabula neewuunya kuba bye yali ayogera yali tabimanyiiko wabula ng’afa googera.

Wabula yawera nga bw’ajja okubaako ky’akola ku kino. Ate yali asoose kutya kudda Kampala ng’alowooza bajja kumutuusaako obulabe. Enkya lindirira ekyaddako.

BIKYUSIDDWA EDWARD SSERINNYA.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!