TOP
  • Home
  • Emboozi
  • MPANGA: Ekkomera ly’Abaganda gye baasibiranga abasibe ab’omutawaana

MPANGA: Ekkomera ly’Abaganda gye baasibiranga abasibe ab’omutawaana

By Musasi wa Bukedde

Added 26th May 2016

E Luzira, ekiggwa kya Mpanga kiri ku kasozi mu Kamwanyi zooni. Ekiggwa kya mategula, olinnya amadaala nga 15 okutuuka waggulu mu kiggwa, omuli entebe emu yokka ng’eyaliiriddwaako eddiba ly’engo.

Mpanga1 703x422

Ekiggwa kya Mpanga ekisangibwa e Luzira.

Bya MUWANDIISI WAFFE

BW’OBA onyiize nnyo ntwala e Mpanga! Bwe batyo bwe baayogeranga ng’omuntu anyiize nnyo oba nga yeekyaye takyafaayo ku kiddirira!

Mpanga lye baali boogerako lyali kkomera gye baasibiranga abajeemu ne bamawale ab’omutawaana, wamu n’abaddu emyaka nga 200 egiyise.

Ekkomera lino lisangibwa Luzira okumpi n’ekkomera lya Gavumenti eddene, era Mpanga ye yazaala ekkomera ly’e Luzira!

Nnaalongo Nakate Namaalwa y’akulira ekkomera lino, Abaganda lye baafuula ekiggwa gye bagenda okusinza okusaba okusumululwa n’okulambula. Yakulira Luzira, naye kati mutuuze w’e Kitende ku lw’e Ntebe.

Musuubuzi mututumufu, alina kkampuni ya Emara Foods & Beverages esangibwa e Kitende, ekola juyisi ow’emiyembe ne wayini mu nnaanansi ne grapes (mizabbibu). Emizabbibu agisuubula Pakwach.

Mulimi wa lusuku, kasooli n’eddagala e Ssisa n’e Mpambire. Era ye nnanyini Emro supamaketi e Kitende.

 naalongo amaalwa akuuma ekiggwa kya panga Nnaalongo Namaalwa akuuma ekiggwa kya Mpanga.

 

“Nze sikola mulimu gumu, ekimu bwe kisala ate ekirala kinziza engulu,” bw’agamba. Agamba nti obusuubuzi yabutandikira Luzira mu siteegi 6 we yalina edduuka eriguza abaserikale, abapoliisi n’Abazungu era okuva olwo tayawukananga na dduuka.

“Nasuubulanga Nairobi nga ntunda byonna okuva ku mata g’obuwunga, soda Masaba abantu gwe baali bettanira, omuceere gwe nasuubulanga e Busembatya, buli kyonna ekyabulanga mu Kampala ng’okisanga wange.

Nze nasooka okukola supamaketi e Kitende mu 1992 naye nga lyasooka kuba dduuka lya bulijjo. Obusuubuzi luli ng’okozesa ssente ntono naye kati okozesa nnyingi. Naye ekirungi bwe bakuseera ng’osuubula naawe oseera baguzi.

Naye bw’oba oyagala okufunamu tolina kuseera nnyo kuba bajja kukuddukako ebintu biremere mu masa,” bw’agamba.

Kyokka abantu b’e Luzira bamanyi Nnaalongo Namaalwa okuva mu 1978 ng’akuuma ekiggwa ky’Omusambwa Mpanga ogukuuma Luzira era okwava erinnya ly’ekitundu kino.

Okusinziira ku kitabo Bassekabaka ba Buganda ekya Sir Apollo Kaggwa, Mpanga gwe musambwa ogwakomya okusuubula abaddu mu Buganda kubanga baabayisanga Luzira ne babalinnyisa obwato okubatwala e Tanzania n’awalala.

Ebyafaayo biraga nti omusambwa guno gwakutula enjegere z’abasibe, ne gulwanyisa Abazungu abaali batwala abasibe Abaddugavu nga babasazeeko n’ennamba.

Olwo Abazungu ne basibirwa kati awali ekkomera ly’e Luzira eryatandikibwa mu 1927.

Olwo abantu bwe baayogeranga ku batabaazi abaasuuza Abazungu abaddu baagambanga nti, “Abasajja bano babadde bazira! Olaba babasuuza Abaddugavu ababadde batwalibwa!’ Kino kye baafuulafuula oluvannyuma lw’ebbanga ekyalo ne kiyitibwa Luzira!

E Luzira, ekiggwa kya Mpanga kiri ku kasozi mu Kamwanyi zooni. Ekiggwa kya mategula, olinnya amadaala nga 15 okutuuka waggulu mu kiggwa, omuli entebe emu yokka ng’eyaliiriddwaako eddiba ly’engo.

Ku mabbali we wali ekiggwa ky’omusambwa Nnaalongo, Nnaalongo Namaalwa gw’agamba nti gw’asamirira wamu n’abalongo baakwo.

“Kino kifo kitukuvu, bw’ojja wano ng’olina ekikusibye kyonna omuli ebizibu ebya buli kika owonerawo. Wano we basumululira enjegere. Tojja kusangawo ‘mayembe’ ganyeenya oba agoogerera mu nsuwa nga bataddemu mmota okufera abantu.

Wano tewasibwa, ayagala y’ajja n’akola ebibye n’agenda. Bw’ojja wano toyinza kusigala kye kimu kuba waliwo amaanyi ag’enjawulo,” Nnaalongo Namaalwa bw’agamba.

Ekifo kinnyogoga nnyo, naye mmita nga ssatu ng’okivuddemu ate wookya! Oba ndowooza kiri ku nnyanja, ku kasozi ng’oyinza okilengera emyalo egiriwo nga Gaba, Mulungu n’emirala!

Nnaalongo Namaalwa agamba: Waliwo ebika ebyasibwa, nga byajeema mu ntalo z’eddiini ne biwagira Abazungu. Abazzukulu baabyo bali ku njegere, oli ne bw’agaggawala atya era ekitwala obugagga tokiraba.

Abalala bookya ebyobuwangwa naye era tebatereera. Naye oli bw’ajja wano, ayinza okunaaba ku mazzi g’ennyanja oba okunoga eddagala wonna ku nnyanja oba ku kizinga nga bwe kimulagirwa n’agenda n’awona.

Abantu bakimanye nti si buli kiseera nti olina kuwona na ddagala. Mu nsi muno mulimu amaanyi, naye kisinziira oganoonyezza wa?,” bw’agamba.

E Luzira abantu bangi bagenda ne bayooyoota ekiggwa kya Mpanga, era kiyonjo nnyo. Omutuuze John Katumba agamba nti omumenyi w’amateeka yenna bw’azza omusango n’agezaako ne yeesaaza mu mbuga ya Mpanga ne bwe buba ddi bamukwata.

Ajjukira olunaku Omulangira omu bwe yagezaako okusendawo embuga ya Mpanga, n’afuna ebizibu ebingi omuli emmotoka ye okukola akabenje, okukubwa emiggo egyabulako akatono okumutta era bwe bwakya teyagiddira!

Okumpi n’embuga we wali oluzzi lwa Muteesa, naye waliwo Omuzungu eyagula we luli n’aluziba!

Nnaalongo Namaalwa bamuzaala Bbiina, kitaawe y’e Andereya Ssempijja. Agamba nti kuva buto ng’ali mu mbuga ya Mpanga. Ayagala okulirambula akuba 0705491200.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?