TOP
  • Home
  • Emboozi
  • 'Baze nnamufunira muto wange aleme kulookalooka na bumpwakipwaki bw'ebbali'

'Baze nnamufunira muto wange aleme kulookalooka na bumpwakipwaki bw'ebbali'

By Musasi wa Bukedde

Added 12th June 2016

“OMWAMI wange bwe natandika okumwekengera nti yandingattako omulala, ne nsalawo ndeete muto wange waakiri tufumbe ffembi naye si kuleeta webbali!” Bwatyo Betty Nakibuule,33, ow’e Bukatira mu Nakaseke anyumya ku ngeri gye yagabanyaamu laavu ya bba Besweri Mukiibi (kati omugenzi) ne muto we era kati bwe bali ku bwannamwandu mu nju emu.

Nafuna1 703x422

Abooluganda Nakibuule ku kkono ne Nalwadda.

“OMWAMI wange bwe natandika okumwekengera nti yandingattako omulala, ne nsalawo ndeete muto wange waakiri tufumbe ffembi naye si kuleeta webbali!” Bwatyo Betty Nakibuule,33, ow’e Bukatira mu Nakaseke anyumya ku ngeri gye yagabanyaamu laavu ya bba Besweri Mukiibi (kati omugenzi) ne muto we era kati bwe bali ku bwannamwandu mu nju emu.

Nakibuule agamba:

Nga mmalirizza okusoma, nafumbirwa Mukiibi ng’ono yali mukwano gwange wa dda. Ebiseera ebyo yali maneja ku faamu emu gye yava n’afuna obwassentebe bw’ekyalo era we yafi ira mu 2011 nga ye ssentebe era nga tukola gwa bulimi.

Twazaala abaana baffe wabula ku mwana owookuna nasalawo okuleeta muto wange Teddy Nalwadda mu luwummula lwe olwa S.4 annyambeko ku mirimu ate ne ssente ezimwongerayo zaali zibuze.

Oluvannyuma lw’akabanga, nalowooza ku ngeri abasajja gye bawasaawasa. Natuuza omwami wange ne mmusaba nti bw’aba waakufuna munnange waakiri, afunemu muto wange mu kifo ky’okuwasa abebbali.

Yakisemba n’aηηamba nti kasita nze nali nneesaliddewo. Saamanya nti omwami yali yafunamu dda ekirowoozo eri muto wange kuba waliwo lwe nabasanga mu nju nga beemoola ate ne nfuna obuggya.

 ukiibi eyawasa abooluganda akibuule ku kkono ne alwadda Mukiibi eyawasa abooluganda Nakibuule ku kkono ne Nalwadda.

 

Nakangula ku ddoboozi ne mbuuza omwami wange kye yali agezaako okukola n’antegeeza nti nze namulagira era okuva olwo baagenda mu maaso n’omukwano gwabwe mu nnyumba emu mwe nsula.

Ku ssaawa eyo muto wange namukyawa olw’okunjagalira omusajja naye oluvannyuma ne nkita.

Naguma ne sisiba mugugu ne twawula ebisenge naye emmere nga tufumba mu ntamu emu.

Yadde nali nakkiriza muto wange okuba muggya wange, natyamu nti omusajja ayinza okumutwalira ddala ne nnyongera kusindika baana okukkakkana nga ndi mu munaana. Muto wange simulinaako buzibu era twafuuka balongo, ndaba ffenna tuli bannamwandu.

Nze nali metulooni ku mukolo gwe ogw’okwanjula bbaffe nga n’embaga empeta ffembi yagitusiba lumu. Wadde omwami waffe yafa, naye Katonda gw’aleeta yenna ku luno twawula, sikkiriza kuddamu kufuna musajja omu na muto, wange sikyabisobola!

 maka gomugenzi ukiibi abooluganda mwe bafumba Amaka g’omugenzi Mukiibi abooluganda mwe bafumba

 

MUKYALA MUTO BY’AGAMBA

Teddy Nalwadda muto wa Nakibuule aluva ku ntono: Mukulu wange yafumbirwa nkyasoma, bwe natuula S.4 ne nsoma amasomo g’obusawo. Mukulu wange yansaba mu luwummula mmulerere ku baana.

Nali nnaatera okudda ku ssomero bbaffe n’atandika okumperereza annyambeko ku fi izi nange kye nakkiriza kuba zaali zitandise okukaluubiriza bazadde bange.

Mu myaka egyo nali nnyirira ng’ekinya ng’onjiwako n’amata n’oganywa! Lumu bbaffe yampita ambuulire engeri gy’anampaamu fi izi awo baaba we yatusangira nga twemoola.

Yasitula oluyombo omwami n’amuddamu nti okusinga okugenda ebweru k’awase nze. Baaba yasirika, oluvannyuma yakyuka n’ayagala okunnyombesa ne mmwesooka ne mmwetondera.

Ensonyi zankwata ne mbaviira kyokka ebyembi mulamu yali amaze okwegatta nange. Nga nzize ku ssomero, waayita wiiki bbiri ne tufuna abasawo abakebera embuto nze okunkebera nga ndulina ne bangoba.

Awaka bambuuza nnannyini lubuto ne mbategeeza nti lwa mulamu wange, taata n’ayita mukulu wange amutegeeze.

Kino kyamuyisa bubi naye yamala n’aguma n’akkiriza omwami waffe ampase nfumbe naye okusinga okugenda wabweru.

Ssenga yatutuuza n’atubuulirira okwewala ebizibu bye tuyinza okusanga mu bufumbo bw’ababiri. Omwami waffe yali tatujuza, omukwano abadde agutuwa kyenkanyi. Yatugaana okwawula ssepiki nga tufumbira wamu naye nga twawula bisenge.”

 naalongo akanjakko Nnaalongo Nakanjakko

 

ABOOLUGANDA BYE BOOGERA

Ben Sserwadda omuko: Wadde nga nalya enkoko bbiri naye kye baakola sikiwagira era bwe bakiddamu tebatawaananga okumpita.

Bannyinaze okufumbirwa omusajja omu kikyamu, kati bonna bannamwandu abaana abakyali abato.

Waakiri ssinga baali balina abasajja ab’enjawulo omu bwe yandifudde ow’omulala n’asigalawo n’alabirira ku baana ba munne.

 nyazaala waabwe Nnyazaala waabwe

 

Christine Nakyejwe, Nnyazaala Nali wange mutabani n’ajja n’antegeeza nga bw’ayagala muto wa mukyala we.

Namubuuza engeri gy’anaagenda mu bakadde n’aηηamba nti kyawedde dda era n’asaba okumuwerekerako, nange kye nakola ate nandigaanidde wa!

Nakirowoozaamu ne ηηamba kasita bonna baana ba mu nju emu ate balina empisa.

DOKITA AWABUDDE

Dr. Rashid Lasiou omukugu mu kujjanjaba endwadde z’abakyala mu NRSL clinic agamba: Abooluganda okufumbirwa omusajja omu kirimu ebizibu ntoko okuviira ddala ku mpisa bayinza okufuna abaana abaliko obulemun’ebirala.

Omu obuwuka obwo asobola okubutambuliza mu musaayi ne bukwata famire yonna. Endwadde endala eziyinza okukwatibwa famire kuliko ssukaali, puleesa, kabotongo, siriimu, sicklecell n’endala.

Okwewala kino omusajja ayinza okusooka okukebezza endwadde ezitambulira mu musaayi mu bakyala bombi.

BYABANGA BITYA MU BUGANDA EY’EDDA

Nnaalongo Leokadiya Nakanjakko ow’e Kisimu annyonnyola: Ku mulembe ogw’edda, abaana ab’obuwala bassengaabwe be baasembezanga ku lusegere be baabatwaliranga babbaabwe.

Edda omwami ke kaamutandanga n’asiima muganda wa mukyala we nga naye amuweebwa kasita abazadde b’omuwala bakkiriza.

Awo nga ssenga akola ogugwe ogw’okubuulirira. Okuggyako ng’omusajja yatakkirizza kukuwasa awatali ekyo, naawe wafuukanga mukyala mu maka wadde nga tekinyuma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bike3 220x290

Aba ddigi balwanira bubonero

Abavuzi bajja mu nsiike eno nga bali ku lutalo lw’akulwanira bubonero bubatuusa ku buwanguzi kuba kumpi buli mutendera...

Img3669webuse 220x290

Okwennyamira kwali kunnessizza...

Okusosolebwa n'okuyisibwamu emimwa kwe nayitamu olw'okuzaalibwa n'akawuka ka siriimu byannennyamiza katono nnette...

Ondup 220x290

Mbabazi asuddewo Onduparaka

Oluvannyuma lw'okubanja okumala ebanga, Livingstone Mbabazi asudde Onduparaka.

Ura12 220x290

Ssimu ne Ssimbwa basisinkanye mu...

Sizoni ewedde e Namboole URA yamegga Express ggoolo 1-0 eyateebwa Ronald Kigongo wabula omutendesi Ssimwogerere...

Cancerdrbalagadde2webuse 220x290

Abaana abafuna obulwadde bwa kookolo...

Abaana abalwala kookolo beeyongedde wadde nga ssinga bafunye mangu obujjanjabi bawona