TOP

Ziizino ensonga ezitulemesa okweterekera

By MICHAEL SSEBBOWA

Added 13th July 2016

ENNAKU zino nneesibye ku kwerekereza nga tuterekera ebiseera eby’omu maaso ekintu mpozzi ky’oyinza okugamba nti tekinyuma, kyokka ate nga mwattu era ebintu ebisinga obukulu mu bulamu bwe biri.

Shilling703422 703x422

ENNAKU zino nneesibye ku kwerekereza nga tuterekera ebiseera eby’omu maaso ekintu mpozzi ky’oyinza okugamba nti tekinyuma, kyokka ate nga mwattu era ebintu ebisinga obukulu mu bulamu bwe biri.

Abayizi bangi tebaayagalanga kusoma oba okuyiga okubala, kyokka abaakulemerako ne bakuyiga obulamu bwabwe obw’okusoma bwabanguyira ate era bangi ensi bagiyiseemu bulungi.

Ssinga ffenna tugiyiga ensonga eno ojja kwesanga ng’obulamu bwaffe bukyuse kuba tujja kuba n’obusobozi obukyusa obulamu.

Ekyo nno munnange kye kiruubirirwa kyange nange kye nnasalawo okukola mu nsi. Abasomi bange bave mu mbeera gye balimu bagende ku esingako.

Wiiki eyise nakoonyeeko katono era mu ngeri ya lukwakwayo ku nsoga ezitugaana okutereka mpozzi amaanyi ne ngassa ku ngeri ennyangu mwe tuyinza okuyita okweterekera ensimbi eziyinza okutuyamba mu maaso eyo.

Ku luno njagala amaanyi kugassa ku nsonga ezitulemesa okukola ekyo buli muntu ky’alaba nga ky’ekisaanidde kyokka ne kiba nga kikolebwa abantu batono ddala, era ensonga ezo ze zino:

1 Tetulina ssente: Kino kye kyekwaso ekisooka. Nkiyise kyekwaso kuba era kyekwaso. Buli asobola okugula ennyama ku wiikendi, buli asobola okunywa ku mwenge, buli asobola okuweerera omwana, buli asobola okubaako ky’akolerera n’akigula kitegeeza nti asobola okwerekereza n’atereka, kyokka ekitulemesa okutereka kuba tusaasaanya ekisusse ssente ne zituggwaako. Okusaasaanya ekisusse kitegeeza nti, bw’ofuna omutwalo olowooza ku buli ky’oyagala era n’ogusaanyaawo so nga ne bw’otandigufunye tewandifudde.

2 Okusuubira okususse: Bangi buli kiseera tulowooza nti tunaatera okufuna ssente ennyingi nti era tewali nsonga lwaki twerumya nga tutereka ssente. Omu aba alowooza nti bw’amaliriza koosi gy’asoma agenda kufuna omulimu ogusingako, omulala alowooza nti bw’anaatandika okusuubula ebweru ssente ajja kuba na nnyingi, omulala agamba nti abaana bange bwe banaamala okusoma bajja kufuna emirimu bandabirire, omulala agamba nti omwami wange mugagga, ate omulala asuubira kufumbirwa musajja mugagga. Byonna bino biyinza obutabaawo oba ensi eyinza okukyukamu katono ne weesanga ng’oli mu mbeera enzibu ddala.

3 Okulwawo okutandika: Bangi twalwawo okumanya obukulu bw’okutereka ssente, kubanga tetwakiyiga okuva obuto ate ekyennaku ne mu masomero gye tusomera tebakisomesa, so singa omwana ava buto nga yeelekereza n’atereka ssente bwe ziwera n’azikolamu ekinene, kimukuliramu era ateekwa buteekwa okukikola ng’akuze. N’olwekyo tusomese abaana baffe bajja kukikola okusinga ffe era bajja kubeera n’obulamu obweyagaza okusinga ffe.

4 Okubeera mu mabanja buli kiseera: Kino nno kireetebwa kulemwa kutambulira mu nnyingiza yaffe. Ne tuba nga buli kiseera tuli mu mabanja. Omuntu ali mu mabanja buli kiseera tayinza kutereka kuba buli ezijja ate z’afulumya. Ky’olina okukola kwe kumira ppini n’osalawo okugumira mu nfunayo n’okomya okwewolaawola kuba olumu n’ebitwewoza tebiba bya kufa na kuwona.

5 Okulemwa okumanya ebisinga obukulu mu bulamu bwaffe: Kino kikwatagana ne kye twogeddeko waggulu, nga bwe twewolera ebitali bikulu era bwe twesanga nga tusaasaanya ssente ku bitatugasa.

Tulemwa okwawula bye twagala ku bye twetaaga. Okugeza amata tugetaaga, so ng’ate bbiya tumwagala.

Bye twagala tusobola okubyesonyiwa ne tutereka ssente ezo ne zituyamba mu maaso eyo oba okuzissa mu bizinensi olwo ne tusinga kusaasaanya ku bye twetaaga.

6 Okucamuka: Olumu tuba tumaliridde okutereka ssente zaffe tusobole okuzikolamu ebisinga okutugasa gye bujja, kyokka tuba tuli awo ne wajjawo eky’amangu. Olumu nno kiba kya magezi, kyokka nga si kye kibadde mu nteekateeka zo.

Oyinza okuba ng’obadde otereka ssente zo okugula ettaka kyokka ne wajjawo atunda emmotoka eya layisi. Oyinza okuba ng’obadde otegeka okuzimba kyokka ne wajjawo akuguza ettaka erya ssente entono.

Ebyo nno kale, naye oyinza okuba ng’ocamukidde ku kintu nga ttivvi oba leediyo ne kirya ssente z’obadde oterese ate nga mu myaka mitono eyo ejja kuba evudde ku mulembe ng’oyagala ndala.

Ebyo n’ebirala ye kanaaluzaala atulemesa okweterekera, kyokka nga byonna okubyewala eddagala liri limu, lya kukola bajeti ekulambika ku by’ossaako ssente ne by’olina okuterekera ssente osobole okutuukiriza ebiruubirirwa byo mu bulamu.

ENGERO Z’ABAGAGGA: Kawuulu kagezi, kagenda okunywa ogw’obusogozi nga kamaze okweyalira. Twongere okuwuliziganya ku Whatsapp ku 0772407125.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”