TOP
  • Home
  • Ekitambula
  • ‘Natandisa 80,000/- okubajja kati nkozesa abavubuka 18’

‘Natandisa 80,000/- okubajja kati nkozesa abavubuka 18’

By Vivien Nakitende

Added 13th July 2016

EBYEMIKONO biyinza okubbulula abavubuka mu nvuba y’obwavu n’okumalawo ebbula ly’emirimu.

Wanda1 703x422

Ssebuggwawo (wakati) n’abamu ku bavubuka b’akozesa.

EBYEMIKONO biyinza okubbulula abavubuka mu nvuba y’obwavu n’okumalawo ebbula ly’emirimu.

Abeenyigidde mu mirimu gy’emikono bangi bagamba tebejjusa kuba bye bakola babifunamu.

Isma Ssebuggwawo ow’e Makindye nga y’akulira abavubuka 18 abeegattira mu kibiina kya 'Voice of Youth' ekisangibwa mu zooni ya Lusaka e Makindye, anyumya bw’akulaakulanidde mu bizinensi y’ebyemikono gye yatandika ne 80,000/-.

“Bwe nali nkyasoma siniya esooka mu Turkish International School e Kansanga mu 1998, awaka we twali tubeera mu Kalittunsi mu Kisenyi, twafuna abasajja Bannakenya bana abaasenga ku mayumba agatuliraanye.

Bano baali babajja ebisolo eby’enjawulo mu miti era nabeegomba engeri gye baabikolangamu era nga buli lwe nkomawo okuva ku ssomero mbayambako okuwawula ebibajje byabwe.

Mu 1999 nga ndi mu siniya eyookubiri, ssente z’okusoma zaggwaawo era bazadde bange abagenzi Rehema Nabukenya ne Muhammad Lubuzi Numba ne bahhamba eby’okusoma mbiveeko.

Saalina kyakukola era okusoma ne nkuta ne ntandika okubeera ne Bannakenya bano nga mbayambako ku mulimu gw’okubajja ebisolo byabwe nga nange bwe njiga.

Nabeera nabo okutuuka mu 2003 bwe baddayo e Kenya, naye baalinga bansasulayo 3,000/- buli lunaku. Bwe baagenda nali nkyali muto era nalowooza ku ky’okukola ne ndaba nga tewali kirala okuggyako okwongera mu maaso okubajja ebintu bino era ne mmalirira okubitwala mu maaso nzekka.

 

Ntandika ne 80,000/- Bannakenya nga bamaze okuddayo, natandika okuyiiya era ebiseera ebyo nali nkuhhaanyizzaawo 80,000/- ku ezo ze baali bansasula.

Zino nagulako emiti gya 15,000/-, obubazzi busatu obukozesebwa mu kubajja bwa 21,000/-, akambe ka 2,000/- ne fayiro ewawula ebibajje ya 8,000/- ne ntandika okutwala omulimu guno mu maaso n’okunoonya akatale.

Nagenda njiiya mpola okwongeramu ebipya n’amagezi agange okuva ku ago ge nafuna ku Bannakenya omulimu ne gutandika okukula.

Abavubuka abalala banneegomba ne banneegattako era kati tuwera 18 ne bizinensi eri mu bukadde obusukka mu butaano.

Ebintu bye tukola tugoberera engeri Abaganda abaasooka gye baayambalangamu, gye beekuumangamu n’enneeyisa yaabwe bwe yali.

Tubajja abasajja abali mu maato nga bavuba, abali ku byoto, ebimuli by’omu nnyumba, fuleemu z’ebifaananyi, ebisolo, obukwata ebisumuluzo n’ebirala. Tukola n’okusinziira ku kasitoma ky’ayagala.

Ebikozesebwa n’akatale Nkozesa emiti gy’ensambya ne Jacaranda nga gino ngigula ku batunda enku mu Kampala era tugigula wakati wa 4,000/- ne 50,000/- okusinziira ku bunene bwagyo. Kiri kityo kuba oluusi tubajja ebibajje ebyenkana omuntu ebyetaaga emiti eminene.

Eddagala ly’ensansa lye tukozesa okusiiga tuligula mu St. Balikuddembe (Owino ) nga tutera kugula lya 20,000/- era litwala ebbanga okusinziira ku bye tulina okusiiga.

Omusambya ogwa 4,000/- gusobola okuvaamu obusajja obutono 40 obutundibwa ku 2,500/- buli kamu.

Ate omunene ogwa 50,000/- gusobola okuvaamu obusajja 250. Obusajja tubutunda wakati wa 2,500/- ne 300,000/-.

Obukwata ebisumuluzo bwa 1,000/-, obwato buli wakati wa 5,000/- ne 30,000/- ku bbeeyi ey’okusuubuza.

Tusobola okukola ebintu eby’enjawulo okusinziira ku muntu ky’aba ayagadde Ebintu bino tubitundirako mu bbajjiro lyaffe wano e Makindye ate tulina n’omudaala mu katale akatunda ebyemikono e Makindye ku Molly and Paul akabeerawo buli Lwakutaano.

Tutambula ne mu myoleso egy’enjawulo okwetooloola eggwanga n’ebifo awatundirwa ebiruke okuli: National Theatre, ku Equator e Masaka, ku Uganda Museum ne Buganda Road Craft Village.

Okusoomoozebwa Abantu be tuwa ebintu byaffe abasinga babitwalira ku mabanja kyokka tebaagala kutusasula ate bwe batusasula bakikola mu musoolesoole ne tutaganyulwamu. Abantu baagala kugula layisi ate nga ffe tuteekamu ssente nnyingi. N’akatale kaffe kakyali katono ate ng’ebintu tubikola mu bungi weebiri.

Ebirungi bye tufunyeemu

1 Nfunyeemu emikwano wano n’ebweru w’eggwanga mu bantu be tusuubuza ebintu byaffe.

2 Nzimbyemu amaka n’abaana bange babiri basoma n’okubaliisa.

3 Nguzeemu pikipiki enkolera bodaboda ne nfunamu ku ssente ezivubiriza omulimu.

4 Nguzeemu poloti gye hhenda okuzimbamu amaka.

5 Mpadde abavubuka emirimu era basobola okweyimirizaawo ne bateetaba mu bumenyi bw’amateeka.

Ebiruubirirwa l Njagala okukola omukutu (Website) ku yintaneeti nteekeko bye tukola tusobole okufuna ku katale okuva ku mawanga ag’ebweru.

l Okufunayo mmotoka etuyambako okutambuza ebintu byaffe mu myoleso egy’enjawulo.

l Okukola edduuka eddene mu kibuga okutundiramu ebintu byaffe.

l Njagala okuzimba ebbajjiro ery’omulembe n’okuteekako essomero okusomesa abavubuka ebyemikono.

l Nnina n’essuubi okwetabako mu myoleso egy’ensi yonna mu nsi ez’enjawulo nga Dubai, Amerika n’endala. Nkubiriza bavubuka bannange balekere awo okunyooma emirimu kuba buli kimu kisobola okugejja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Crisps4webuse 220x290

Kulisipu ze nsiika mu ndiizi mwe...

Okusoma ebya bizinensi nalina kusiika kulisipu za ndiizi ne nsoboa okusasula fiizi.

Kamunguluze 220x290

Bamuggunze eng'uumi n'awunga

TONY Bellew baamuwumizza ekikonde 'tonziriranga', ne kitakoma ku kumusubya musipi, wabula ne kimuleka ng'awunze....

Suzanmuwonge 220x290

Engeri Susan Muwonge gy’alidde...

Mu mpaka ezaawedde eggulo e Mbale, Super Lady (musomesa), yawangudde Mbale Rally bwe yavugidde essaawa 01:33:38...

Toronto 220x290

Mutabani wa Mesach ekintu akiwanise...

Katende ali ku misomo mu Toronto University mu Canada gye yalagidde obukugu mu kucanga omupiira era empaka zaagenze...

Ssekamatte1 220x290

Muwala ki ono akozesa Ssekamatte...

MU basajja abalidde obulamu, Grace Ssekamatte gwe baakazaako erya ‘Kirikitya’ tomubuusa maaso.