TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Amin lwe yadibaga ebyenfuna abantu ne badda mu magendo!

Amin lwe yadibaga ebyenfuna abantu ne badda mu magendo!

By Edward Sserinnya

Added 28th October 2016

Amin eyali akaziddwaako erya ‘Majegere ya Afrika’ yakyogera nga lunnye nti, kaagobye Abayindi olutalo lw’ebyenfuna alulinnyeeko n’agamba ‘Kati Abaddugavu kababukale mu bizinensi zaabwe awatali abakuba ku mukono’

Magendo11 703x422

Amin ku kkono mu byambalo by’amagye ng’ayogera n’akakiiko akaali kagaba bizinensi ez’enjawulo.

OMUNTU bw’owulira abantu abalemedde e South Sudan, amasasi gye gasiiba gaseka n’okulaba abo abatikka emmaali mu Kisenyi ne ku Arua ppaaka nga balumba ng’enjogera y’ennaku zino bw’eri obatenda emitima emigumu n’okubeewuunya.

Abeewuunya aba tamanyi byafaayo by’abasuubuzi ba Uganda omuli ne Pulezidenti wa Uganda lwe yalagirako babakube amasasi n’okubatuuzaako ennyonyi nnamunkanga ne bafiira mu nnyanja kyokka abasigadde ne bagenda mu maaso n’obusuubuzi buno obw’omusaayi!

Okuva leero EDWARD SSERINNYA agenda kukutuusaako engeri abantu gye baatundanga obulamu nga batambuza amagendo era gy’anaamalira ng’akuttottoledde n’amagendo agaliwo leero. Abantu abaamira ppini olowooza batandise ku mulembe guno?

Bw’oba okirowooza bw’otyo tomanyi biki byaliwo ku mulembe gwa Idi Amin ogw ‘amagendo’ wakati wa 1973 ku 1979.

Ataagalabako oyinza okulemwa okugeraageranya obulumi abantu bwe baayitamu naye kitwalire mu mbeera y’olutalo lw’amagye agalina emmundu, ennyonyi ennwaanyi n’amaato amalwanyi nga galumba omuntu waabulijjo atalina wadde ekikongoliro!

Olwo lwe lutalo lw’Amagedo olwali wakati w’amagye ga Amin ng’agalemesa abantu okutwala ebyamaguzi n’okubiyingiza mu ggwanga olw’okubalanga okutunda ebintu ebweru ne bafiiriza gavumenti ssente ze yandiyingizza, bo abantu baabulijjo ne bazezza.

Kyokka Amin bwe yayisa ekiragiro, ky’okuttirawo awatali kubuuza oyo yenna alabibwako ng’akukusa amagendo oba okukwatibwa nago kino kyassa obulamu bw’abantu naddala abaatambuliranga ku nnyanja mu katyabaga nga bateebereza buteebereza nti otambuza magendo olwo ne bakuwereekereza amasasi.

 ulezidenti di min ne ajor ob stles Pulezidenti Idi Amin ne Major Bob Astles.

 

Amagendo kye ki?

Amagendo by’ebyamaguzi ebikukuse okuyingira oba okufuluma eggwanga. Abeenyigiranga mu busuubuzi bw’ebyamaguzi bino ebikukuse nga bayitibwa Bannamagendo nga n’omulimu gwo baguyita kukola magendo. Amagendo era gaabanga ebintu ebitakkirizibwa kutundibwa oba omuntu ng’atunda ebintu by’atakkirizibwa kutunda.

Gaatandika gatya?

Al Haji Nasser Ntege Ssebaggala, eyeerabirako n’agage ku busuubuzi bw’amagendo agamba: Amin we yatwalira obukulembeze bwa Uganda nga January 25, 1971 okuva ku mukama we Milton Obote buli kimu kyali kitambula bulungi era n’awagirwa n’amawanga okwali Bungereza, Yisirayiri n’amalala.

Yisirayiri yakola kinene okuyamba Amin naddala okumuwa ebyokulwanyisa era olwo abo be baali batendeka amagye gaffe.

Amin eyatandikira mu ky’oyinza okuyita ‘Hani muunu’ yagimalamu akaseera katono, n’atabuka n’abaali mikwano gye Abazungu nga kino ky’ava ku kugoba Bayindi.

Teyakoma awo n’Abayisirayiri n’abeefuulira oluvannyuma lw’okugoba Abayindi, olwo Gaddafi n’afuuka mukwano gwe.

Mu 1972 yalangirira kye yayita olutalo lw’ebyenfuna lwe yagamba nti lugenderera kuzza byabusuubuzi mu mikono gy’Abaddugavu era kuno kwe yasinziira okugoba Abayindi ng’ayagala Abaddugavu bafuuke bamafutamingi, bannaggagga.

Abazungu mu kunyiiga, olwo ne bateeka ku Uganda nnatti, nga zino zaakosa nnyo ebyenfuna, Uganda n’etuuka ekiseera nga tekyasuubula butereevu mu mawanga g’Abazungu, ng’amawanga ga Bulaaya gasibidde Uganda ekikookolo.

Okuva awo ebintu byatandika okwonoonekera Amin ebyenfuna bya Uganda ne biserebera ddala, olwo ebyamaguzi ng’emmwaanyi, ppamba, kooko, ekikomo n’ebirala nga Uganda tekyabitunda butereevu mu mawanga ga Bulaaya wabula ng’ebiyisa mu nsi ndala ezibigitundirayo.

Okwo kw’ogatta amawanga gano agamu okugaana okuwola Uganda.

 ohn usira the amyuka ssentebe wa ugisu ooperative nion John Musira the amyuka ssentebe wa Bugisu Cooperative Union.

 

Ekyavaako Amagendo

Sulaiman Luyimbaazi Luswa kansala w’abakadde mu munisipaali y’e Makindye azze agoberera ebyafaayo bya Uganda, wuuno annyonnyola:

Obuzibu we buva Amin kwe kugoba Abayindi mu 1972, amakolero gonna ge baali bakolamu yasalawo okugawa Bannayuganda okugaddukanya, wabula tebaalina bukugu busobola kugaddukanya.

Tosaanye kwerabira nti, mu kiseera ekyo ebintu byonna ebyali bikozesebwa mu maka nga bikolebwa wano mu makolero g’Abayindi, olw’obutaba na bukugu buddukanya makolero, ekyaddako kwali kugwa kwa makolero agasinga, olwo ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo nga ssukaali, omunnyo, ssabbuuni n’ebirala ne bifuuka bya kkekkwa.

Amin yayagala okusigala ng’alaga ensi nti wadde baamusibako nnatti naye akyasobola okweyimirizaawo.

Gavumenti yagaana abantu okwegulira ebintu ebweru, olwo n’esalawo yo okukwata ebintu ng’ebitunzanga abantu kyokka ng’ebapimirako bupimizi, basobole okubikekkereza bireme kuggwaawo mangu.  

Gavumenti yalonda abantu babale mu buli kitundu nga bano be baatundanga ebikozesebwa mu maka nga ssabbuuni, omunnyo, ssukaali n’ebirala era baabitundanga buli Lwakutaano nga byakusimbira nnyiriri.

Nga bwe biggwawo nga tonnafuna ate ng’olinda Olwokutaano olujja! Abantu lwe baayozesa amapaapaali

Embeera embi ly’essomero ly’okuyiiya, n’embeera eno yayigiriza abantu ba wano okwozesa ebikoola by’amapaapaali oba okusekula ebibajjo by’omugavu n’okuba ekyovu kyabyo n’obikozesa mu kifo kya ssabbuuni, okunnyika evvu ne baliggyamu amazzi ne bagukozesa ng’omunnyo n’okusekula ebikajjo amazzi ago ne bagafumbamu caayi!

Ekyaddirira bantu kwekyawa olwo amagendo ne gatandika, abantu ne batandika okukusa ebintu nga babiyingiza wano, ate olw’okuba baali tebakkirizibwa kubitunda ne babitundiranga wansi w’ebitanda.

 ebaggala Sebaggala

 

OKUKUSA EMMWAANYI

Emmwaanyi za Uganda ezaali zissiddwaako nnatti, abantu baayiiya okuzikukusa ne bazitunda mu mawanga ag’omuliraano olwo gano ne gazitunda nga ezaago.

Ky’olina okujjukira nti mu biseera ebyo buli ggwanga lyaweebwanga obungi bw’emmwaanyi lye lirina okutunda ku katale k’ensi yonna ng’obungi bwe baliwa businziira ku bungi bw’emmwaanyi ze bakungula.

Olw’ebizibu Uganda bye yalina mu byenfuna yali erina okutunda emmwaanyi ezisinga ku mutemwa ogwagiweebwa kyokka nga kino kirina kukolebwa Gavumenti si bantu baabulijjo.

Mu katabo ka Drum akaafuluma mu 1974, mu kiseera kino Uganda yali yeesigamye ku kugula ebintu e Kenya ate nga bya buseere era nga bitundibwa mu mbeera ya ‘Gula oba oyagala, oba toyagala togula’ okugeza essaati e Kenya egula 30/-, nga mu Uganda bagitunda 105/- ate essuuti eyagulanga 80/- nga wano bagitunda 285/- enjawulo eyo mu kiseera ekyo yali nnene ddala.

Amin eyali akaziddwaako erya ‘Majegere ya Afrika’ yakyogera nga lunnye nti, kaagobye Abayindi olutalo lw’ebyenfuna alulinnyeeko n’agamba ‘Kati Abaddugavu kababukale mu bizinensi zaabwe awatali abakuba ku mukono’.

Abantu abaasinga okufuna mu mbeera eno baali bakulu mu magye n’abakungu mu gavumenti, abantu nga bafuna si lwa kukola nnyo wabula okubaako n’olujegere olubayunga ku gavumenti.

Mu nnaku eno abantu gye baayigira n’obuyiiya nti oyinza okusekula ebipapajjo by’omugavu n’oyaza engoye, ebikoola by’amapaali nabyo byoza n’ebintu ebirala Amin ku kkono mu byambalo by’amagye ng’ayogera n’akakiiko akaali kagaba bizinensi ez’enjawulo.

Pulezidenti Idi Amin ne Major Bob Astles. John Musira the amyuka ssentebe wa Bugisu Cooperative Union. olw’ebbula lya ssabuuni!

Sebaggala alaze embeera eyaliwo Hajji Nasser Ntage Ssebagala annyumya: Akalya amaggwa ke kamanya bwe kagakyusa ne Amin yatetenkanya okulaba ng’atambuza eggwanga mu mbeera enzibu bweti.

Mu kuwa bizinensi z’ Abayindi Abaddugavu, nange nafunamu kuba Amin yampa edduuka lya New Fabricano ku luguudo lwa Kampala, bino byonna byali bikyusa ebyenfuna by’eggwanga.

Amagendo agaasinga okwenyigirwamu ennyo gaali ga mmwaanyi era nga zitundibwa Kenya, era okusinga zaayitanga ku mazzi okuggyako abo abagagga ennyo abaagayisanga ku nsalo naddala eya Uganda ne Congo oba Uganda ne Rwanda.

Abaavu abaatwalanga kkiro 100 ku 500, abo nga bayisa ku nnyanja nga bakozesa amaato!

 uyimbaazi Luyimbaazi

 

Naye nga bwe bakukwatako ng’eyiyo basima (entaana) kubanga Amin yali ayisizza etteeka nti akwatibwa n’amagendo attibwe buttibwa awatali kuwoza. Mu kuyisa etteeka lino, yatondawo n’ekitongole ekirwanyisa amagendo ekya Anti-Smuggling nga kikulirwa Omuzungu Lt. Maj. Bob Astles, kino kyalina amaato ku nnyanja nga kibeera kirawuna ennyanja yonna, nga kirina n’ennyonyi nnamunkanga nayo eyakozesebwanga mu kulawuna ennyanja Nalubaale.

John Musiira amyuka Ssentebe wa Bugisu Cooperative Union agamba, nti okuva mu 1976 okutuuka ku 1980 waabangayo amaka mangi agataalyanga munnyo.

Gavumenti ye yaguzanga abantu ebintu, kyokka ng’ekukomako ku bintu by’okugula si nsonga olina ssente mmeka Ssukaali nga togula kusussa kkiro bbiri, ssabbuuni nga wa bitole era bye wafunanga ng’olina okubikozesa wiiki nnamba okutuuka lwe baddamu okutunda anti baatundanga buli Lwakutaano. Kyokka jjukira byabanga bya nnyiriri era waabangawo abataafunanga!

Ebintu ebyakolanga mu bulamu obwabulijjo nga bigulibwa aba Foods and Beverages olwo ne babisaasaanya mu bantu abassibwawo okubitunda mu bitundu eby’enjawulo. Mu mbeera efaanana bw’eti amagendo mwe gaasimbira amakanda.

Enkya tukuleetera abaaliwo nga boogera engeri Amagendo gye gaatambulangamu, okuyingira n’okufuluma Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sema 220x290

Mesach ekivvulu kimuwuuba

OMUYIMBI Mesach Ssemakula amanyiddwa nga Golden Papa kati gwe baawadde n’ekitiibwa kya ‘‘Sir’’ bw’oba omunoonya...

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....