TOP
  • Home
  • Tunuulira
  • Bw’ofumba nga balo tomwanjudde oyinza okuviiramu awo

Bw’ofumba nga balo tomwanjudde oyinza okuviiramu awo

By Musasi wa Bukedde

Added 21st November 2016

Omukyala amanyiddwa mu mateeka si y’afumbye emyaka emingi oba azadde ennyo abaana! Omukyala mu mateeka y’oyo eyayanjula omwami we mu bakadde be, oba eyasiba empeta mu ddiini, eyawoowebwa mu y’Ekisiraamu oba okufumbirwa mu ddiini y’Ekihindu.

Mikolo1 703x422

Emikolo gy’okwanjula ginyuma naye gikakasa abafumbo ku bwannannyini bw’ebintu ebimu ng’ettaka ly’abafumbo.

Mu mboozi esembayo ennyonnyola ebikwata ku ttaka nga bwe biwandiikiddwa mu kitabo ky’omupoliisi Emilian Kayima ekiyitibwa Taasa Ettaka lyo, tukuleetedde engeri abafumbo gye bayinza okukozesa amateeka okukuuma ettaka lyabwe wamu n’okwewala abafere okukubba mu ttaka.

ABAFUMBO N’EBYOBUGAGGA NG’ETTAKA

Omukyala amanyiddwa mu mateeka si y’afumbye emyaka emingi oba azadde ennyo abaana! Omukyala mu mateeka y’oyo eyayanjula omwami we mu bakadde be, oba eyasiba empeta mu ddiini, eyawoowebwa mu y’Ekisiraamu oba okufumbirwa mu ddiini y’Ekihindu.

Waliwo n’abagenda mu ofiisi ekola ku kuwandiisa obufumbo ne basiba empeta (baabuyitanga bufumbo bwa Ddiisi).

Bano abali mu mateeka tebasobola kusindiikirizibwa ng’ekyonziira abafumbo ne bwe babeera basowaganye.

Noolwekyo omukazi yenna agwanidde okulaba ng’atukuza obufumbo bwe bubeere mu mateeka, okusinga okulowooza ekya leero nti kasita omwami wange anjagala.

Abazadde basaanidde okukomya omuze gw’okusalira abalenzi olufuubanja lw’ebintu ababeera bawasizza bawala baabwe nga bajja okwanjulwa.

Omukazi ali mu mateeka, bba tasobola kumutundira mu maka gaabwe, wadde okusinga amaka gaabwe mu bbanka ng’omukazi tamanyi. Abooluganda lw’omusajja tebasobola wadde okumugobaganya mu maka.

Abafumbo basobola bulungi okutunda ebyobugagga byabwe nga tebeebuuzizza ku baana wadde abeekika. Waliwo abatera okugamba nti balina okwebuuza ku mwana omukulu, kyokka beerimba kuba tekiri mu mateeka.

Abaana basaanidde okukomya okusojja bazadde baabwe olw’okutunda ebyobugagga byabwe bye baakolerera. Omuzadde osaanidde otegeke omwana ng’omukuza n’empisa era omusomese, olwo ng’ebibye biwedde kasita omukuza.

 batuuze be ampunge nga beemagaza oluvannyuma lwokuweebwa amabaluwa agabagoba ku ttaka Abatuuze b’e Nampunge nga beemagaza oluvannyuma lw’okuweebwa amabaluwa agabagoba ku ttaka.

 

OBUKULU BW’EBIWANDIIKO MU BULAMU BWAFFE

Abantu abamu naddala abeewola ssente mu bamannerenda, batera okukola ensobi ne bawandiika “ntunze” mu ndagaano.

Bano obasanga bakaaba nti namusingira busingizi ate ng’endagaano eyogera kirala. Lwaki oteeka omukono ku ndagaano eri mu lulimi lw’otomanyi kusoma?

Ne bwe lubeera lulimi lwo, kyokka nga tolwekakasa funa omuntu gwe weesiga akusomeremu.

Mannerenda mulimu abatalina lukusa lubasobozesa kukola mulimu ogwo, era ky’ova osanga nga bakuwandiisizza ebintu ekifuulannenge. Tokkiriza kuteeka mukono ku kintu kyonna ky’omanyi nti kyabulimba.

Abamu bamanyi n’okubawa ebiwandiiko ebikalu ne babalagira okuteekako ebinkumu, olwo olumala nga bawandiikako bye baagadde. Kizibu okwewakana kuba wateekako omukono ng’obikkirizza.

WATYA NG’ENDAGAANO ZIMBUZEEKO KWE NAGULIRA?

Osaanye oloope ku poliisi, oluvannyuma ogende mu kkooti ofune ekiragiro ekikukkiriza okufuna ekirala. Genda ofune ekiwandiiko ekirala, bwe kibeera kyapa bakiyita “Special Certificate of Title” , ekivvuunulwa nti kyapa kyanjawulo.

Bw’ebeera ndagaano eyakuguza eyasooka asobola okukuwandiikira endala ng’alaga nti eyasooka yabula.

Okussa omukono ku ndagaano gy’ototegedde oba gy’oteetegerezza bulungi kyabulabe nnyo era kittira ddala abantu ne babaziika. Abamu bafundikira basibiddwa oluvannyuma lw’okweyimirira abantu.

ENDAGAANO ENTUUFU NG’OGULA EKIBANJA YANDIBADDE ETYA?

Endagaano ennungi yandibadde yeeyogerera. Omuntu omulala bw’aba agirabye alina okubeera ng’ategeera bulungi eyaguze, eyatunze n’ekintu ekyaguliddwa.

Ssinga abantu abawera ababiri basoma endagaano ne wabeerako bye batategeera manya nti erimu ebikyamu era osaana otereeze ekitategeerekeka bulungi.

Endagaano ennungi ebeerako atunda, ky’atunda ne bwe kyenkana, we kiri, ye yakifuna atya era wa? Eyongera n’eraga ennaku z’omwezi, ekifo we baagikoledde, gwe baguza, asasudde atya era asasulidde wa?

Eyongera n’ennyonnyola obunene bw’ekifo era n’ettaanya bulungi oba ng’oweereddwa obuyinza okuva nga mugisizzaako omukono.

Eraga abajulizi ababaddewo era buli omu alina okussaako omukono oba ekinkumu oba byombi. Musaanidde endagaano okugissaako emikono ku mpapula zonna ezibeera ziwandiikiddwaako okutangira abalabbayi okugijingirira.

Endagaano erina okubeera mu lulimi atunda n’agula bombi lwe bategeera obulungi. Omuguzi bw’abeera tamazeeyo ssente ezisigaddeyo zirina okuteekebwa mu ndagaano.

Omuntu yenna ssinga obeera omuwadde obuyinza (powers of attorney) olina okumukugira ku by’atalina kukola.

 mupoliisi milian ayima eyawandiise ekitabo Omupoliisi Emilian Kayima eyawandiise ekitabo.

 

LWAKI BAMUVABULAAYA BABBIBWA NNYO KU TTAKA?

Mu kiseera kino Bamuvabulaaya babbibwa nnyo abafere, kino kiva mu kubeera nti babeera n’obudde butono obwekenneenya ensonga ate nga kikulu okufuuza buli kacica akwata ku ttaka.

Obukuluppya, obulimba, n’akalimi akawoomerera mu Bannayuganda bangi naddala abagula n’okutunda ettaka.

Enkola y’amateeka ga Uganda, bamuvabulaaya bangi tebagimanyi, era kibatawaanya nnyo ate nga mulimu abeefuula nti bategeera nnyo. Balowooza nti ebintu biringa gye bakakkalabiza emirimu ekibasuula mu buzibu.

Enguzi efuuse baanabaliwo. Eno efumbekedde mu bantu ssekinnoomu ne mu bitongole ekulemesa okuyambibwa ne bw’obeera onyigiriziddwa.

Amakampuni mangi agatunda ettaka ga bicupuli, tegalina layisinsi era tegalina ttaka wadde yiika emu bw’eti.

Bangi ku bali mu mulimu guno tebalina nsonyi wadde okulumirirwa omuntu yenna. Oluva e Bulaaya otuukira ku bano nga bakuyisaawo.

Emisango girwawo, obwesigwa butono ate ensimbi zoonooneka nnyo mu misango n’okunoonyereza ekinyiiza ennyo bamuvabulaaya ne babyeviirako.

Emilian Kayima, omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano awabudde abantu nti amagezi muliro, bwe gizikira oguggya ku mulala noolwekyo weetaaga okusoma ebitabo nga Ssemateeka w’eggwanga, Etteeka ly’ettaka, etteeka erifuga ebyapa, Akeezimbira akafulumira mu lupapula lwa Bukedde buli Lwamukaaga kuba mubeeramu ebikwata ku ttaka n’obuzimbi.

Ekitabo kya Emilian Kayima ekiyitibwa Taasa ettaka lyo kitundibwa mu maduuka agatunda ebitabo wonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Web2 220x290

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo...

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo

Reb1 220x290

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde...

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde lwaki ebimu ku biwandiiko bya Bbanka ezaatundibwa tebabirina

Lip2 220x290

Aba Takis bawuttudde omusirikale...

Aba Takis bawuttudde omusirikale

Mah 220x290

Basajjabalaba awadde ekiragiro...

Basajjabalaba awadde ekiragiro ku bizimbe ebyatwalibwa Muhangi Drake Lubega ne Mansoor Young ne bamwanukula

Po1 220x290

Abatemu bateeze omukazi ne bamutemaatema...

Abatemu bateeze omukazi ne bamutemaatema ne bamutta n'omwana