TOP
  • Home
  • Akezimbira
  • Zimba ennyumba mu bitundutundu nga tokosezza mutindo

Zimba ennyumba mu bitundutundu nga tokosezza mutindo

By Kizito Musoke

Added 28th January 2017

EMBEERA y’ebyenfuna mu ggwanga gy’ekomye okwekanama, n’abantu okukaluubirizibwa okukola ebintu ebimu omuli n’abazimba.

Akeezimbira1 703x422

Abasajja nga basiiga ennyumba langi.

Bya Kizito Musoke ne Ponsiano Nsimbi

EMBEERA y’ebyenfuna mu ggwanga gy’ekomye okwekanama, n’abantu okukaluubirizibwa okukola ebintu ebimu omuli n’abazimba.

Kati abantu ennyumba tebakyasobola kuzizimba mulundi gumu ne ziggwa. Kye bakola kwe kuzimba mu mitendera okutuusa lwe bazimaliriza kyokka nga zitwala obudde.

Ying. Vincent Katende owa Treasure Consults and Contractors agamba nti ekimu ku bisinga okuleetera abantu obuzibu obunene nga bazimba bwe butasooka kubalirira nnyingiza yaabwe.

Omuntu afuna ssente ez’olumu nga za muzindo, kyandibadde kirungi n’azimba lumu ennyumba n’agimala okusinga okulowooza nti ayinza okufuna endala.

Tomanya omukisa gujja lumu, bwotagukozesa bulungi wandisemba. Kyokka ennyumba bw’ebeera ng’erabiriddwa bulungi abakugu nga bazimba kiyamba obutakaluubirizibwa na situleesi.

Katende agamba nti tolina kukeera ku makya n’ogamba nti ennyumba k’ogiyimirize, wabula olina okuba nga wakiteeka dda mu ntegeka.

 nnyumba teyeetaaga kukomererako miti nemala ebbanga eddene nga totaddeko mabaati Ennyumba teyeetaaga kukomererako miti n’emala ebbanga eddene nga totaddeko mabaati.

 

Ennyumba kirungi okuyimirira ng’omaze okuzimba omusingi, okuyiwa bbiimu, okusereka n’okutungirira.

Alowooza okuzimba ennyumba mu bitundu, sooka olowooze ku ky’okutuukirira omukugu, kuba akuyamba okumanya ssente ze weetaaga okuzimba buli mutendera n’osobola okweteekateeka obulungi.

Katende tawagira nkola ya bantu ey’okuzimba ennyumba ennene n’agituusa mu kkubo n’emulemerera.

Agamba nti kyandibadde kirungi n’ozimbako ekitundu n’okimaliriza bulungi nga tosoose kulowooza ku kya kusima musingi kuggwaayo.

EBIRUNGI BY’OKUZIMBA ENNYUMBA MU BITUNDU

l Okuzimba mu bitundu kirwisaawo okufuna ekirooto ky’ennyumba yo. Kyokka wadde okumaliriza okuzimba kitwala ssente nnyingi, wano toziwulira kuba zigenda mu bitundu.

Bwobeera ne pulaani y’ennyumba ey’omulembe kyangu okugizimba nga tokiwuliddeemu era nga ne bwe bakugamba ssente ze wakozesa weebuuza gye wazijja.

.Ennyumba gy’ozimbye mu bitundu ebeera nnyangu ya kukolamu nkyukakyuka. Okugeza oyinza okuba nga wagisitula ekisenge n’eddiiro kyokka mu maaso osobola okukiraba nti ekisenge wakola kitono ne kikuyamba okugaziya ebirala.

.Kiyamba azimba okwetegeka n’asobola okunoonya ssente z’okumaliriza ennyumba. Bulijjo bwogezaako okupapirira nga tolina ssente, kiyinza okukusuula mu buzibu n’ofuna n’ebbanja eriyinza okukulema okusasula ne bakutwalako poloti n’ennyumba yo.

Okusula mu nnyumba etannaba kuggwa kikuyamba okufissa ssente ze wandibadde okozesa okupangisa n’oziteeka ku nnyumba n’esobola okwanguwa okuggwa.

James Mugerwa, omukubi wa pulaani yategeezezza nti okuzimba empola kirina engeri gye kigumyamu ennyumba.

Waliwo emitendera nga bbiimu egyetaagisa ennyumba okusooka okuyimiriramu okumala akabanga nga ssinga ogipapira olw’okuba olina ssente, enju eyinza obutaguma bulungi.

EBIZIBU BY’OKUZIMBA ENNYUMBA MU BITUNDU

Ky’olina okumanya nti okuzimba ennyumba mu bitundu kyetaagisa obukugu obwenjawulo n’okukozesa ebikozesebwa ebifaanagana. Kyangu nnyo okuva ku pulaani y’ennyumba, buli lwe muwummulamu ate ekiyinza okutta obulungi bw’ennyumba era kyangu ennyumba obutakwatagana buli lw’ogiyimiriza.

Abantu abamu bamanyi okufuna obugayaavu nga bayingidde ennyumba nga bagamba nti kasita tebalina ababanja. Osanga ennyumba esuliddwamu emyaka 10 ng’emmanju tebaakubayo pulasita wadde ng’emiryango etemagana.

Abamu ebisenge bibalema okulongoosa kuba babeera babisulamu.

Ate bw’obala obulungi, okutwaliza awamu okuzimba mu bitundu kubeera kwa buseere bwogeraageranya n’azimbye olumu.

Ebizimbisibwa nga seminti birinnya buli olukya, omuwendo gw’obigulirako leero ate enkya bibeera ku bbeeyi ndala ng’ate n’ebizimbisibwa bwe bibeerawo ebbanga eddene byonooneka.

Ebizimbisibwa bibeera bizibu okutereka mu nnyumba ezimbibwa mu bitundu. Ne bw’oba otaddewo omukuumi kyangu okutendewalirwa ne bamulabiriza ne bamunyaga oba ye kennyini okubitunda. Kibeera kirungi n’ogula ebintu ebimala omutendera gw’oyagala okuzimba byokka.

Jamilah Nakaayi ow’e Wakaliga yagambye nti yazimba ennyumba ye n’asooka agikomya ku madirisa. Kyokka obuzibu bwe yafuna buli lwe yafunanga ssente ng’ayagala okuddamu okuzimba ng’abazimbi bamutegeeza nga bwe bakyalina emirimu emirala. Kyamuviirangako okuzikozesa ebirala era ennyumba yagizimbira ebbanga ddene.

Ate Daudi Katamba yagambye nti ennyumba bw’emala ekiseera ekiwanvu, eyonoonebwa ebintu ng’enkuba erimu kibuyaga, omusana ogw’amaanyi, ebisolo n’abantu ab’effujjo.

Ye Samuel Malagala ow’e Namungoona yagambye nti yafuna obuzibu ababbi bwe baasalawo okukolera mu nnyumba ye buli kyambyone. Baaganzikangamu abakazi n’okunyweramu enjaga. Olw’okuba ennyumba yatwala ekiseera nga tennaggwa, abatuuze abamu baali bakimutaddeko nti yandiba ng’alina ky’amanyi ku bikolobero bino.

AMAGEZI ERI AZIMBA MU BITUNDU

Muhammad Idris Nsereko owa 3M Design and Construction Company agamba nti bw’osalawo okutandika okuzimba omusingi, kakasa anti ogumaliriza lumu.

Bw’omala okusima omusingi yiwamu ettaka olikkatire bulungi era oyiwe ne siraabu. Kino kiyamba omusingi okunywera obulungi nga ne bwe wayitawo ebbanga eddene tegusagaasagana. 

Ebisenge by’ennyumba kirungi obituuse ku mutendera gwa lingi bbiimu. Ennyumba okugirwisa ku madirisa eyinza okumenyeka bbulooka ne zeeyawula ekikosa obugumu bw’ennyumba.

Bw’obeera ogenda kusereka weewale okukomerera emiti n’omala ekiseera nga tonnaba kuteekako mabaati. Emiti gino kyangu okukosebwa omusana n’enkuba.

Ky’olina okukola kwe kutandika okwetegekera amabaati ng’ogagula mu bitundu okuviira ddala ng’enju ekyali ku musingi. Kozesa emiti egiteekeddwaako eddagala obutawumba.

Olina okwegendereza ennyumba obutakosebwa nkuba naddala mukoka akulukuta.

Kirungi oleme kulwawo kukuba pulasita ku nnyumba awamu n’okuwugula amazzi agatambula obutalegama ku nnyumba.

Ennyumba olina okugiteekako obukuumi, kuba kyangu kya kubba ebikozesebwa ebyateekebwa ku nnyumba yennyini naddala ng’eri wala ne w’osula. Kyokka bw’olaba ng’ennyumba esussa emyaka etaano ng’ogizimba, fuba okuddamu okukola ekibalo n’okwetereeza mu nsaasaanya.

Olina okukakasa nti ebizimbisibwa byenkana omutindo okusobola okukwatagana obulungi n’ebyasooka okuzimbisibwa. Bbulooka okuzigula ku mukubi omu, oba nga zaakolebwa mu kifo kimu okusinga okugula ku buli gw’olabye.

Ying. Fred Juuko Wavamunno agamba nti ebintu nga seminti wandibadde otuukirira ‘hard ware’ ez’omulembe n’obawa ssente mu bitundu. Bw’otuuka okuzimba era bakukkiriza okumuggyayo mu bitundu. Kino kikuyamba obutayonooneka.

Faayo ku mutindo gw’ebizimbisibwa. Olwokuba obeera ogenda kutwala ekiseera ekiwerako nga tonnaba kunyiriza nnyumba ng’eri mu musana, ebipimo byandibadde biwera bulungi obutayonoonebwa mangu mbeera ya budde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...

Jmcweb 220x290

Kyetume ekutudde JMC Hippos

Kyetume evudde emabega n'ewangula JMC Hippos mu Big League mu ddakiika ezisembayo

Joshuaweb 220x290

Cheptegei ataddewo likodi ng'awangula...

Joshua Cheptegei ataddewo likodi y'ensi yonna empya, ng'awangula kiromita 15 mu misinde gya 2018 NN Seven Hills...

2016manujoseshout1 220x290

Veron ayogedde lwaki ManU evumbeera...

Veron akubye ebituli mu kisanja kya Mourinho mu ManU.

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.