TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ebintu by’otoyinza kwerabira ku Mayanja Nkangi

Ebintu by’otoyinza kwerabira ku Mayanja Nkangi

By Edward Sserinnya

Added 8th March 2017

Nkangi afudde yeenyumiriza mu kuba nti yakuuma akalombolombo kano n’alaga abantu abatono abaali bakuηηaanidde e Bungereza Kabaka waabwe oluvannyuma lwa Muteesa okukisa omukono.

Mayanjankangi1 703x422

Omugenzi Mayanja Nkangi

Bya EDWARD SSERINNYA

MU bulamu bw’omugenzi Jehoash Mayanja Nkangi, alina ebintu bina by’azze asinga okunyumyako n’okwenyumirizaaamu.

Nga buli lw’ofuna omukisa okwogerako naye akyogera lunye nti tagenda kubyerabira.

Ekyewuunyisa kiri nti bw’onyumya n’ababadde bamumanyi era bye basinga okwogerako nti tebigenda kubava ku mwoyo!

 

LWE YATOLOKERA MU KIBOOKISI

Ng’amaze okudduka ekibambulira mu Lubiri e Mmengo nga May 24 1966, Nkangi ebizibu byamweyongera kuba Obote mu kiseera ekyo yali amutaddeko olukongoolo n’amuyisaako n’ekiragiro okumuleeta nga mulamu oba nga mufu!

Mikwano gye baamuwa amagezi adduke awonye obulamu.

Nga tannafa yantegeeza bwati: ‘Nzijukira nga waaliwo loole eyali ennindiridde okuntolosa okuva e Kagoma.

Gwali mupango gwa mikwano gyange okuntolosa, loole eno yaliko seminti, amayinja n’omusenyu.

Nafuna omuwaatwa mu nsawo za sseminti wakati mu bibookisi ebyalimu ne mbulira muli.

Loole yali ya minisitule y’ebyemirimu naye yatambulanga esikondoka!

Twasanganga loodibbulooka ng’abaserikale baaza naye olw’okuba emabega sseminti yali abunye nga kizibu okuwenjula okundaba.

Bwe twatuuka e Busia ku nsalo, waaliwo mukwano gwange eyantwala ku faamu ye, kyokka eno nayo bandabula nti abaserikale bannoonya gye nava ne bannyamba okuyingira Nairobi, awo mukwano gwange Peter Mpagi n’annyamba okunkolera ku by’okweyongerayo e Bungereza.

YAWONYA ABANTU OKUFA KU LUBIRI

Obote okulumba Olubiri lw’e Mmengo tekyagwa bugwi. Okumala ennaku, abajaasi baali balawuna, beekuηηaanya nga n’obunyonyi bw’amagye mu bbanga bwetawula bwe buzungira waggulu ku Lubiri lwa Beene.

Kino Abaganda bwe baakimanya ne beekolamu omulimu okujja bakuume ku Lubiri okutaasa Kabaka waabwe. Baali bamalirivu obutavaawo waakiri okufa naye.

N’abajaasi bwe baakwata abaami ba Kabaka abakulu okwali ne Ssekiboobo, abaali bamanyi eby’entalo, abavumu era abaali basobola okukunga abantu okulwana, era Abaganda bangi baakuηηaanira ku Lubiri.

Nkangi ye yayambako olwa May 23 okwogera n’abantu abangi abaali bakuηηaanye n’abasaba obutalwana, era olw’okuba baali bawulidde eddoboozi ly’omuntu omukulu mu Buganda ng’oyo, bangi baagumbulukuka ne badda ewaabwe.

Ssinga tegwali bwe gutyo osanga bangi bandifudde. Bangi baalina majambiya na mafumu sso ng’abajaasi ba Obote baalina mmundu ez’omulembe. 

 

ENGERI GYE YAKWEKAMU DDAMULA

Oyinza okulowooza nti mu kavuvuηηano n’okuwaηηangusibwa Nkangi osanga yandyerabidde Ddamula, omuggo ogulaga obukulembeze bwa Katikkiro wa Buganda nga ‘Kabaka w’ebweru’. Naye kino Nkangi teyakikola.

Bangi osanga bandigusudde, bandigufumbisizza emmere oba okuguleka enkuyege ne zigulya.

Ekiseera wakati wa 1966 ne 1980, Abaganda bangi baakyusa amannya gaabwe nga bawalanibwa, noolwekyo si kyangu kuba nga Ddamula yali waakukuumibwa naye kino Nkangi yakikola.

Ebbanga Nkangi lye yamala ng’ali Bungereza ate nga n’Obwakabaka tebuliiwo ery’emyaka 27 nga kuliko n’emyaka ebiri gye yali Katikkiro ng’Obwakabaka weebuli Ddamula yagikuuma bulungi era n’agikomyawo ng'Obwakabaka bumaze okuddawo.

Oba oli awo omuntu omulala yandiremeddwa okugikuuma, wabula Nkangi yatuukiriza obuvunaanyizibwa buno era abadde akyogera lunye.

LWE YALAGA ABANTU KABAKA

Mu Buganda kya buwangwa Nnamulondo tesula nga tekuli Kabaka.

Nkangi afudde yeenyumiriza mu kuba nti yakuuma akalombolombo kano n’alaga abantu abatono abaali bakuηηaanidde e Bungereza Kabaka waabwe oluvannyuma lwa Muteesa okukisa omukono.

Kabaka Muteesa II bwe yakisa omukono e Bungereza, Nkangi nga bali wamu ne Maj. Katende yakulembera omulimu gw’okubikka akabugo era wano Nkangi n’alangirira nti, ‘Mutebi ye Kabaka wange’ wadde Mutebi yasigala ng’akyayitibwa Ssaabataka okutuusa lwe baamutikkira mu 1993.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...