TOP

Avuze Nkangi okumala emyaka 38 ayogedde

By Kizito Musoke

Added 8th March 2017

Ebbanga lyonna lye mmuvugidde, twafunako akabenje omulundi gumu bwe twatomeragana n’emmotoka ya Charles Muhangi bwe twali tuva e Masaka kyokka tewali yakosebwa, wadde ng’emmotoka yayonooneka.

Nkangi1 703x422

Omugenzi Mayanja Nkangi

Bya KIZITO MUSOKE

MAYANJA Nkangi w’afiiridde ng’ali mu kuwandiika kitabo, ekibadde tekinnaggwa ekikwata ku byafaayo bya Buganda naddala engeri amagye gye gaalumbamu olubiri mu 1966 n’engeri Obwakabaka gye buzze butambula okutuusa mu kiseera kino.

Christopher Kato Nsubuga, abadde ddereeva wa Nkangi okumala emyaka 38 yategeezezza nti ekitabo kya Nkangi kimutwalidde obudde bungi, era buli kaseera k’abadde afuna ng’awandiika.

Kyokka ekibi atuuse kufa nga takimalirizza, era tekinnnamanyika oba nga aba famire banaasobola okukifulumya w’atali.

Kato yagambye nti yamanya Nkangi mu 1964 ng’afuuse Katikkiro wa Buganda ng’eyamumutuusaako yali mukulu we Ereneo Bwanika.

Ono Nkangi yali amuyita kkojjaawe nga ye yabasisinkanya n’atandika okwogera naye.

Kyokka mu 1979 nga Nkangi akomyewo mu Uganda baddamu okukwatagana nga mu kiseera ekyo Kato yali tateredde kuba entalo zaali zimuyisizza bubi.

Kato agamba: “Mu kumpa omulimu, Nkangi yasooka kumbuuza linnya lyange ne kye neddira n’ambuuza nti, okakasa onoonvuga?

Namuddamu nti omulimu nja kugukola.

Yanzija Namayumba mu Busiro gye nali mbeera mu kiseera ekyo.

Aba minisitule y’ebyentambula baali bangaanyi okumuvuga nga beekwasa nti sirina bbaluwa ya S.4.

Kyokka Nkangi yabaddamu nti tebambuuza bbaluwa, wabula bangezese. Olwangezesa nga mmanyi, ne banvaako.

Ekimu ku bye mmukakasaako, simanyi oba eriyo abadde ayagala Obwakabaka okumusinga.

Abadde tayinza kwogera ku Kabaka kibi wadde Buganda ne bwe mubeera mu kyama.

Abadde musajja wa njawulo, nga bwe yeesiga omuntu amwesigira ddala.

 
 subuga abadde ddereeva wa kangi nganyumya Nsubuga abadde ddereeva wa Nkangi ng’anyumya.

 

 

Siryerabira ekiseera Nkangi we yeesimbirangawo e Masaka, nga nze gw’akwasa ensawo ya ssente.

Bwe yalinga aginsaba abeereko omuntu gw’awa ssente ng’ansaba mu buwombeefu nti, “ssebo nsaba ku nsawo yo”.

Abadde asanyukira nnyo okumubuulira amazima. Nga tafaayo ne bw’okola ekimunyiiza kasita omubuulira ekituufu ekikulemesezza.

Abadde awoomerwa caayi ne sooda, nga takozesa kitamiiza kyonna.

Abadde ayagala nnyo ennyama n’ettooke, kyokka ng’asanyukira nnyo amuwadde oluwombo naddala nga si lusiike. Bwe yalulyanga ng’akomawo mu mmotoka ng’alutenda.

Abadde akwata obudde era ekiseera ky’amaze mu Gavumenti ne ku mirimu gye nga ssaawa zigenda okuwera 2.00 nga yatuuse dda ku mulimu.

Abadde tanyumirwa biduula era simutwalangako mu ndongo oba ekifo ekisanyukirwamu.

Obudde bw’okukola bulijjo bwe buggwaako nga tetulina lukiiko lwe tugendamu nga tuvuga kudda waka.

Ebbanga lyonna lye mmuvugidde, twafunako akabenje omulundi gumu bwe twatomeragana n’emmotoka ya Charles Muhangi bwe twali tuva e Masaka kyokka tewali yakosebwa, wadde ng’emmotoka yayonooneka.

‘Talidde ku nguzi’

Ronald Nsubuga Balimwezo, meeya w’e Nakawa yategeezezza nti Nkangi okuweereza emyaka egisoba mu 50, kyokka nga takwatibwangako mu buli bwa nguzi kiraga omuntu ow’enjawulo.

Amujjukira olw’okuleeta ekiteeso ekyatandikawo Kyambogo yunivasite egunjudde abangi.

Bidandi Ssali ne Mayanja Nkangi be bantu abaamusikiriza okuyingira ebyobufuzi, era yasabye buli muntu okumuyigirako okulumirirwa ensi ye.

 

EBIYAMBYE NKANGI OKUWANGAALA

 • Abadde asoma nnyo ebitabo era ng’alina n’etterekero ly’ebitabo mu kisenge kye. Obudde bwe obw’eddembe abadde abumala asoma. Kino kimuyambye okwekuuma nga mumanyi era tawunzeeko ng’abakadde abamu.
 • Abadde muyonjo mu by’alya, ennyambala n’ebifo byonna by’abeeramu. Kino kimuyambye obutalumbibwa ndwadde eziva ku bucaafu era n’abeera mulamu.
 • Saudah Gwokyalya, eyasikira maama wa Nkangi yagambye nti obulamu bwa Nkangi takakaalukanye nnyo. Yasomera mu masomero malungi era abadde mu bifo eby’obuvunaanyizibwa, ekikuumye omubiri gwe nga mulamu bulungi.
 • Ekimu ku kintu ky’abadde talekaayo, ke kamwenyumwenyu era ng’abeera musanyufu buli kadde. Kino kibadde kimuyamba obuteekuumira mu birowoozo kuba essanyu ddagala lya birowoozo. Abadde amanyi okukuba gw’anyumya naye akayi ku ttaka ng’asanyuse.
 • Abadde atya Katonda era nga mulokole mu kkanisa ya Uganda era buli ky’ayogera ng’ajuliza Bayibuli.
 • Tanywedde ku kintu kyonna kitamiiza obulamu bwe bwonna.
 • Abadde amatira amangu nga talulunkana na bya nsi. Abamu babadde batuuka n’okumujerega kuba aludde mu bifo eby’amaanyi, kyokka nga tabalirwa mu bagagga.
 • Abadde tayagalira ddala kwesembereza kintu kitali kikye. Kino kimuyambye obutabeera na mpalana mu bantu.
 • Mukyala Gwokyala yagambye nti talyerabira eyali omukozi wa Nkangi bwe yamunyumiza bwe baakyusa Gavumenti n’alagira omukozi atwale ssente ze yalina mu boobuyinza. Omukozi yakanda kumugamba nti ‘mukama wange Gavumenti baagiwambye n’amuddamu nti, “wadde baagiwambye, kyokka Uganda teyavuddewo” era n’azizzaayo!
 • Abadde akyogera lunye nti amazima gafuula omuntu ow’eddembe era ng’agalaga ne mu by’akola. Kino kimuwadde emirembe mu bulamu bwe.
 • Abadde assa mu buli muntu ekitiibwa ne bw’abeera muto ku ye.

 

Mayanja Nkangi abadde tayinza kwogera ku Kabaka kibi wadde Buganda ne bwe mubeera mu kyama.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...