TOP
  • Home
  • Emboozi
  • By’olina okumanya ku liiizi z’e ttaka lya Kabaka

By’olina okumanya ku liiizi z’e ttaka lya Kabaka

By Herbert Musoke

Added 21st April 2017

Ntabaazi, yagambye nti wabaddewo abantu abakozesa olukujjukujju okusengula byalo na byalo olw’okuba tebamanyi mateeka na mitendera gye balina kuyitamu.

Bijja1 703x422

Abalina ebiggya ku ttaka lya Kabaka banaakola batya?

Bya HERBERT MUSOKE

KU Lwokubiri lwa wiiki eno, Mmengo yatongozza enkola eyatuumiddwa “Ekyapa mu ngalo”, ey’okuwa abantu bonna abalina ebibanja ku ttaka lya Kabaka liizi ey’emyaka 49.

Bano be bantu abali ku bibanja byabwe kwe babeera n’okukolera, nga tebayise mu nkola ya kwegula.

Abagenda okusooka okuganyulwa mu nteekateeka eno be bantu emitwalo 13 abasangiddwa nga beewandiisa ng’abasenze abatuufu ku ttaka lya Kabaka, wabula n’abatannaba kwewandiisa baweereddwa omukisa okwewandiisa baganyulwe mu ntegeka y’okuwa abantu ebyapa ku bwereere.

Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yabadde atongoza enkola eno yategeezezza nti etandikirawo okukola era yaakumala emyezi mukaaga ng’ebyapa bya liizi biweebwa abo abaasooka okwewandiisa.

Yagambye nti abantu baakufuna omukisa okukulaakulanya ebifo byabwe nga bakola emirimu egy’enjawulo awatali kutya kwonna n’okubanguyiza mu kusasula ensimbi ezigendera ku liizi mu nkola ey’obwerufu.

Okufuna ekyapa kino, omuntu waakusasulayo ensimbi entonotono okusobozesa obuweereeza buno okutambuzibwa obulungi nga kinaasinziira ku kitundu oli gy’abeera.

Akulira Buganda Land Board (BLB) David Kyewalabye Male yagambye nti okuwandiisa okw’ekikungo eri abali ku ttaka lya Kabaka kwatandika mu 2015 era abantu 130,000 abagenda okusooka okulowoozebwako mwe baava.

Yagasseeko nti n’abatannaba kwewandiisa, oluggi luggule bagende mu ofiisi za Buganda Land Board ezibaliraanye beewandiise nabo bafune ekyapa.

 kulira uganda and oard  yewalabye ale  kkono minisita we mengo alusimbi  mu gaalubindi nabakungu be mengo nga bakutte ebyapa avumenti bye yaddiza abaka Akulira Buganda Land Board ( Kyewalabye Male ( kkono), minisita w’e Mmengo Walusimbi ( mu gaalubindi) n’abakungu b’e Mmengo nga bakutte ebyapa Gavumenti bye yaddiza Kabaka.

 

Okwewandiisa okw’ekikungo n’okupunta kubaddenga kwa 600,000/- mu bibuga ate mu byalo 100,000/- kyokka oluvannyuma lw’okwewandiisa okw’ekikungo okuggwaako, Mmengo yagambye nti abatanneewandiisa baakusasula ebisale ebyali byagerekebwa edda nga mu kibuga (Busiro ne Kyaddondo) baakusasula 1,200,000/- ate mu byalo basasule 250,000/- ku buli kibanja.

Kino kyawudde mu bantu omuli n’abakungu mu Buganda ng’abamu bawagira enteekateka gye bagamba nti yaakuyamba okumalawo ekibbattaka mu Buganda n’okutumbula enkulaakulana okutandikira mu maka ne Buganda yonna okutwaliza awamu.

Wabula abalala baagambye nti kino kyakusaanyaawo Buganda kuba abagwira abalina ssente baakusaba liizi ku ttaka erisinga balimaamire olwo Abaganda abatalina ssente bafuuke emmomboze! omulamwa gw’ettaka Dr. Adam Kimala, Katikkiro w’Emmamba Kakoboza, yagambye nti Mmengo evudde ku mulamwa okutandika okugaba liizi ku ttaka lya Buganda kuba eyo si nkola ya Buganda eyalagiranga buli musajja akuze okuweebwa ekibanja nga kino kyamuwanga ebbanja okulabirira mukazi we ne famire n’okukola emirimu gy’Obwakabaka.

“Mu Buganda ettaka lyonna lya Kabaka, n’abantu bonna ba Kabaka kye bava bayitibwa abasajja n’abazaana ba Kabaka.

Omuntu bw’amala okufuna ekibanja mu Buganda abeera talina asobola kumugoba ku ttaka eryo”, Ono agamba nti ekibanja kisikirwa ssinga omuzadde abeera afudde, tekiggwaako, bwe butaka bw’omunaku era bangi baziikako abantu baabwe.

“Ekibanja tekiggwaako era bwe tulizza mu nkola y’Abangereza eya liizi, etteeka ligamba nti ssinga liizi eggwaako, ettaka liddira nnannyini ttaka n’ebintu byonna ebikiriko wabula osobola okuggyako by’osobola.

Baataddeko eky’ebiggya kuba bakiraba ssinga obireka ojja kusigaza akakwate ku ttaka eryo naye ebiggya tebimala gasengulwa”, Dr. Kimala bw’agamba.

Abuuza nti kati ekibanja bw’okissa mu nkola ya liizi eggwaako mu myaka 49, ebeera ekyali nkola ya Kiganda?

Ate waliwo enkola nti ssinga basisinkana n’ettaka nga ddene, bakusalirako ne bakulekera yiika emu olwo eddala ne baligabira abagwira abatawa busuulu, nvujjo, abatakola bulungibwansi n’ebirala eby’enkola ya Buganda. Wano Obuganda bubeera tebusaanyiziddwaawo?

Dr. Kimala agamba nti obuzibu bwonna buvudde ku bali ku kitongole kino ekya Buganda Land Board okukola ebintu nga tebasoose kwebuuza ku Bataka abamanyi ennono n’obulombolombo mu Buganda ku ngeri ensonga z’ettaka bwe zaakwatibwanga engeri gye baagala okuzza enkola eyaliwo eya nnannyini ttaka okumanya owekibanja.

“Nze ndowooza nti okukola obulungi ku nsonga eno bandibadde baleeta ensonga eno mu Lukiiko lwa Buganda era Abaamasaza n’ab’Obusolya baweebwe obudde okugikubaganyaako ebirowoozo n’okuvaayo n’eddoboozi ery’awamu nga bw’eri enkola ya Buganda nti ensonga yonna esooka kukubaganyizibwako birowoozo okulaba engeri gye tuva mu nkola ebaddewo ey’ebibanja okudda mu y’Abangereza eya liizi!”, Dr. Kimala bwe yagambye.

Wabula owessaza Ssekiboobo Alex Benjamin Kogongo, yagambye nti si kya buwaze okufuna liizi naye kyandibadde kirungi omuntu okwewandiisa kuba kino kiyamba abantu okugenda mu bitongole bya ssente nga bbanka okufuna ssente eziwera okubaako by’akola.

“Tulina okukimanya nti owettaka n’oweekibanja, omu bw’abeerako ky’ayagala okukolera ku ttaka lino, alina okusooka okutegeeza ku mulala.

Kino kitegeeza nti ssinga liizi eggwaako, nnannyini ttaka olina kusooka kuwa wa kibanja mukisa okuzza obuggya liizi ye nga tannaba kwogerezeganya na muntu mulala yenna”, Kigongo bwe yagambye.

Yagambye nti enteekateeka eno eruubirirwamu kuyamba bantu ba Buganda okunyweza obusenze bwabwe baleme kusindiikirizibwa ku ttaka nga waliwo omugagga ayagala okubagobaganya ku ttaka kubanga ebbaluwa ebaweebwa okuva e Mmengo ejula kwenkana kyapa okuva mu gavumenti eya wakati.

“Ffenna tulina okukkiriza nti waliwo abantu abeesenza ku ttaka ly’Obwakabaka nga tebamanyiddwa, abalala bazze bagula era nga nnannyini ttaka (Kabaka) tabanyi nga guno gwe mukisa bonna okutereeza obusenze bwabwe bamanyibwe n’okwanguya enteekateeka za Buganda ez’enkulaakulana”, Kingongo bwe yannyonnyodde.

Owessaza lya Buweekula, Luweekula Immaculate Nantaayi Kafeero, yagambye nti okusooka twanditandise n’okwerula empenda z’ettaka lya Buganda lyonna kuba Abaamasaza abasinga tebamanyi ttaka lino mu bitundu byabwe we lisangibwa.

“Tumaze akaseera nga tubasaba okutuwa olukalala lw’ettaka lya Buganda lye tulowooza nti ng’Abamasaza tulirinako obuvunaanyziibwa ku lw’Obuganda ng’atwala ebitundu ebyo kyokka n’okutuuka essaawa ya leero tewali wa Ssaza n’omu yali afunye lukalala luno ekitulese nga tetulina we tutandikira”, Luweekula Nantaayi bwe yagambye.

Agamba nti ekitongole kya Buganda Land Board, emirimu gyakyo kigikola mu kyama n’okukukuta kuba n’ebya liizi waliwo abantu abaatandika okuziweebwa kyokka nga bawulira mpulire wadde nga ziri mu bitundu byabwe.

“Bingi ebikolebwa mu bitundu byaffe nga ffe Abamasaza tetubimanyi kuba n’ettaka ly’ebitebe by’Amasaza n’Amagombolola lingi liweddewo, abalitunda bali mu BLB, bwe tubagamba okulekawo ettaka tusobole okukolerako ebisobola okuvaamu ssente ku Masaza n’amagombolola tebakkiriza”, Nantaayi bwe yennyamidde.

Ayongerako nti ng’Abamasaza baagambiddwa nti bwe kinaatuuka ku ttaka eririnaanye amasaza n’amagombolola bagenda kubeerangawo okubaako kye boogera ku nsonga zaalyo ssinga wabeerawo omuntu asabye okuliweebwako liizi kyokka eddala tetumanyi bwe binaatambula.

Wabula Omutaka Namwama, Joseph Nsereko ow’ekika ky’Ekkobe yagambye nti enkola ya nnannyini ttaka okumanya abasenze abali ku ttaka lye yavaawo oluvannyuma lw’Obwakabaka okutaataaganyizibwa era abantu abali ku ttaka ly’Obwakabaka bakitwale nti guno gwe mukisa gwe balina okutereeza obusenze bwabwe.

Omutaka Namwama agamba nti bangi baafuna ettaka mu ngeri ya mankwetu okugeza nga bakolagana n’Abaamasaza, ab’Amagombolola, Abatongole n’abalala abaali mu buyinza mu kiseera ekyo ng’Obwakabaka tebuliiwo nga balina n’abbaluwa okuva eri abantu bano abaabalowoozesanga nti ettaka lye babaguza lyabwe lya bwannannyini nga na kati kye balowooza so nga ttaka lya Bwakabaka eryazzibwayo.

Owessaza Kasujju, Jjingo Mark Byekwaso Kaberenge II, yagambye nti wandibaddewo okukkaanya ku njuyi zombi kubanga Obwakabaka buliwo ku lwa bantu ate nga n’abantu baliwo ku lwa Bwakabaka ekitegeeza nti buli omu yeetaaga munne.

“Obuzibu obuliwo, ekitongole kya BLB kyemaliridde nga ffe Abaamasaza tetukirinaako buyinza okuggyako okuwabula ssinga baba batutuukiridde naye ebiseera ebisinga ebikolebwa naffe bitutegeezebwa byaggwa okukubaganyizibwako ebirowoozo,” bwe yagambye.

Owessaza Kangaawo Freddie Ntege Ssekamere yagambye nti aba BLB bwe baali babanjulira enteekateeka zino baabategeeza nti bo balina kuba batunuulizi era nga tebalina kye bakwatako!

“Enteekateeka si mbi kubanga okumanya abeebibanja kiyamba okuteekateeka eby’omu maaso kyokka enkola eyitibwamu okuwandiisa abantu y’esaanira okuddamu okutunuulira okulaba nga tenyigiriza bantu n’okubaleeta endowooza nti Obwakabaka bubatulugunya.

Mu kiseera kino emikono gyaffe misibe, tetulina kye tusobola kukola okuggyako nze kye nkola kwe kuwandiika lipoota erimu okwemulugunya abantu bange kwe bandeetera olwo ne ngiweereza minisita wange owa gavumenti ezeebitundu, awo we nkoma,” Kkangaawo bwe yagambye.

Omutaka Kayiira Gajuule ow’ekika ky’Embogo era omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka, naye yagambye nti Abataka tebamanyi bigenda mu maaso ku nteekateeka eno naye abantu basaanye obuteeraliikirira kubanga Kabaka tagoba bantu be.

Owessaza lya Buluuli, Kimbugwe Gerald Kyanjo yagambye nti Kabaka alengeredde wala n’alaba ng’ekibbattaka kisimbye amakanda mu Buganda n’ayiiyaawo engeri abantu gye bayinza okwekuumira ku ttaka.

“Bwe kiba nti yasiimye okuwa abantu ba Buganda liizi ya myaka 49, kuba bakyogeredde nnyo okukiremesa nga bagamba nti BLB ebba abantu.

Tubadde tukubiriza abantu mu Buluuli okwewandiisa okufuna obwannannyini ku ttaka ng’ababadde beesisiggirizza bayinza okuggalirwa ebweru”, Kyanja bw’agamba.

Kimbugwe Kyanjo yagambye nti abantu bonna basaanira okuwagira enteekateeka eno kuba yaleeteddwa Ssaabasajja okuyamba abantu be okubeera n’emirembe n’okubaako bye bakolera ku ttaka ebibakulaakulanya.

 

Ayongerako nti abantu bandibadde batereeza n’okunyweza obwannannyini ku ttaka kubanga bafiirwa n’okulemererwa okukola eby’amaanyi kubanga waliwo ebintu ebireetebwa Buganda ne Gavumenti ya wakati gamba ssinga oluguudo luba lwakuyita mu kibanja kyo nga kikwetaagisa okuleeta obukakafu, ekitegeeza nti ssinga toba nabwo obeera ofiirwa ng’ekibanja bakitwalira bwereere.

Lumaama owessaza lya Kabula, Francis Mugumya Ntabaazi, yagambye nti wabaddewo abantu abakozesa olukujjukujju okusengula byalo na byalo olw’okuba tebamanyi mateeka na mitendera gye balina kuyitamu.

Noolwekyo okwewandiisa ku ttaka ly’Obwakabaka kirungi ddala kuba kino kya kuyamba abantu okubeera n’obwannannyini okumalawo okugobaganyizibwa ku ttaka olw’okuba abeera n’ebiwandiiko ebimukakasa.

“Mu mbeera eno kyetaagisa okusooka okusomesebwa ku nsonga zino okutandikira ku bakulembeze kuba waliwo abalina kye bamanyi nga tebasobola kutegeeza bantu lwaki balina okwewandiisa.

Abantu abamu batya nti emyaka gino 49 bwe giggwaako baakugobwa naddala nga mu kitongole ky’ebyettaka eyingiddeyo enkola ya ‘akwata munne atuga butuzi”.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lum1 220x290

LUMAAMA Francis alabudde abantu...

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

Seg1 220x290

Omusibe afiiridde mu kaduukulu...

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Mus1 220x290

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo...

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Kub1 220x290

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde...

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

Mob1 220x290

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza...

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini