TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Paasita yansaba 1,000,000/- ate okugulu kwange ne kutemwako

Paasita yansaba 1,000,000/- ate okugulu kwange ne kutemwako

By Musasi wa Bukedde

Added 11th June 2017

Oluvannyuma nategeezebwa nti nalina okusasula akakadde kalamba era nti kino kyali kyankunsobozesa okussuuka amangu, kyokka mu kiseera kino nafuukira ddala mulema kuba okugulu kwatemebwako!

Menta1 703x422

Musimenta

 

 Bya SARAH ZAWEDDE NE PROSSY NABABINGE

BAYIBULI egamba nti, ng’enkomerero eneetera okutuuka, wajja kubaawo Bannabbi ab’obulimba.

Ku mulembe guno we tusinze okufuna abasumba abagamba bawonya siriimu, basabira omuntu n’agaggawala n’ebirala bingi abaffe bino n’ebirala bingi tebiranga nkomerero?

MATAYO 24:24 Kubanga walijja bakristo ab’obulimba, ne bannabbi ab’obulimba, nabo balikola obubonero obukulu n’ebyamagero; n’okukyamya bakyamye n’abalonde, oba nga kiyinzika. Baabano balaga bye batuuseeko oluvannyuma lw’okukwatagana n’abasumba nga bano.

 SIMON MUSIMENTA (37) n’okutuusa olwaleero akyatenda omusumba eyayingirira obufumbo bwa bakadde be ne busaanawo era kitaawe yagenda okufa ng’akyamutenda.

Kitange Patrick Tibebaaga Turyomurugyendo ne Merable Turyomurugyendo baali bafumbo abaagattibwa mu Kkanisa nga batuuze mu Kiyaga Zooni e Bwaise.

Taata yakolanga mu kitongole ky’emisolo okuva mu 1973 wabula omulimu gwaggwawo mu 1994.

Kino kyawa maama oluwenda okuganza Omusumba Mugarura ng’agamba nti taata yali talina ssente zimala kumulabirira.

Baalina ekkanisa mwe basabira e Ntinda ng’eno baagisengula ne bagizza ewaffe e Bwaise mu 1999.

Maama yagoba taata mu maka olwo ne batandika okugakuηηaanyizaamu abantu okusabiramu nga bakuba enkuη− ηaana n’ebyoto.

Mugarura yeeyama okutuweerera kyokka byonna teyabituukiriza baganda bange ne bawanduka mu masomero.

Mu kiseera kino taata yabaloopa ku poliisi e Kawempe ne babalabula obutaddamu kusaalimbira mu maka gano.

Baalemerawo, poliisi n’ebakwata, Mugarura ataaliwo nga bakwata maama ne banne ye yabalondoola okusobola okubayimbula oluvannyuma lw’omwezi.

Baddamu ne bawamba amaka gaffe olwo Mugarura n’asitula abantu be ne batandika okubeera ewaffe.

Ono mukyala we yali yafa. Olw’okuba nali sikkirizaganya na maama by’akola twatabuka n’angoba.

Mu kiseera ekyo muto wange Alex Twine yalwala okumala emyezi mukaaga kyokka tebaamutwala mu ddwaaliro okuggyako okumusabira ewa Mugarura era yafi ira mu maka ge nga September 17, 2006.

Ekyewuunyisa taata tebaamubikira ne bamuziika ku bukojja e Ibanda. Maama bwe yagenda mu kyalo teyadda, taata kwe kweddiza amaka era n’awasa omukyala omulala.

Mu 2008, Mugarura yafa ate maama n’akuba enkyukira n’adda ne yeegayirira taata amuzze mu maka n’amukkiriza era ne bafumba babiri mu nnyumba emu.

Taata yalwala kookolo, n’afa olwo oli omukyala engeri gy’ataamulinaamu mwana ne yeegoba awaka naye ng’amaka gaffe gayise mu bingi lwa musumba oli.

 amukasa Namukasa

ROBINAH NAMUKASA (KYEBANDO)

Emirimu gyange nga gitandise okutaataagana, nasalawo ηηendeko ew’omusumba ku luguudo lw’e Salaama ansabireko ndabe ng’omulimu gwange teguggwaawo.

Nga tuli eno n’abantu abalala twafuna okusabirwa era mu ngeri y’emu twalagirwa tugule amazzi g’omukisa agaali gatundibwa.

Gano twagambibwa nti osobola okuganywa nga bw’osaba by’oyagala wamu n’akatambaala nga kano okeesiba ku mukono n’osaba by’oyagala.

Bino byonna nabikola kyokka ekyanneewuunyisa mu budde obwo emirimu gyange ne gisaanawo era ne nzira mu kyalo nga n’ekyokukola sikiraba.

ALEX MPINGA (MASAKA)

Oluvannyuma lw’okutambula mu basawo ab’enjawulo nga balemererwa okugulu okwali kuntawaanya, mikwano gyange bantwala ew’omusumba, omu e Kampala gwe baηηamba nti talina ky’alemwa.

Bwe natuukayo naweebwa ekitabo mwe nneewandiisa n’ebbaasa okuteekamu omutemwa gw’ensimbi okusobozesa okutuuka ku musumba. Nasooka kusasula 100,000/- kyokka saafuna nkyukakyuka yonna

. Oluvannyuma nategeezebwa nti nalina okusasula akakadde kalamba era nti kino kyali kyankunsobozesa okussuuka amangu, kyokka mu kiseera kino nafuukira ddala mulema kuba okugulu kwatemebwako!

JESSICA NAKIMULI (SSEMBABULE):

Muwala wange yalumbibwa obulwadde ne tutambula mu basawo naye ne bulema. Baatulagirira ew’omusumba omu nti ajja kutusabira awone.

Olw’obutaagala kutulaga ku ntimbe za ttivvi, nasasula emitwalo 10 kyokka ne tutasobola kumulaba kwolwo nti akooye era ng’abantu abasigalidde yali waakubalaba omulundi oguddako.

Twetooloola ku kkanisa emirundi nga mukaaga okutuusa lwe nabikoowa nga mwe muli ne ssente ze nali nsaasaanyizza ne nsala malala.

 usisi

Musisi

JOHN BOSCO MUSISI (MASAKA)

Waliwo ew’omusumba e Lubaga gye nagendanga mu mubiri ono yansabira ne ntereera kyokka bwe waayita ebbanga nga sinnaddayo, nagwirwa olumbe lwe saamanya ne ntandika mpolampola okusannyalala bwentyo ne nnemera eno mu kyalo.

PAASITA BY’AGAMBA

PAASITA Solomon Male agamba: Abantu bangi bantuukiridde nga beemulugunya ku basumba abafere ababasensedde nga babanyazeeko ebintu byabwe ne batuuka okubavuwaza . Abasumba bano tewali kye batafereramu.

Bafera abakazi ne babaawukanya ku baami baabwe baganza bakabasajja, babatunza ebintu byabwe nga babagamba mulimu sitaani era ssente ne bazibatwalira okuzisabira kyokka tebaddamu kuzirabako, babanyagako ebyobugagga nga babategeeza nga bwe bagenda okuwona endwadde.

 bakkiriza nga basinza ano abamu bawuliriza kigambo abalala basoma ayibuli Abakkiriza nga basinza. Wano abamu bawuliriza kigambo abalala basoma Bayibuli.

Babakaka okusiga ssente n’ebyobuggaga byabwe mu ngeri etetegeerekeka ne babaavuwaza.

Abamu ku bagoberezi babafera nga babalimba nga bwe bawonye endwadde nga siriimu nga bayita mu kukolagana n’abasawo Abazungu be bafera nabo ne babawa alipoota enfu nga bwe bawonye obulwadde ekireetedde endwadde okusaasaana mu kkanisa.

Bakwata abakazi n’abaana ne babasiiga endwadde. Babazaalamu abaana nga babafera okubawasa kyokka nga babalimba ne babasuulawo.

Ssinga abantu bonna baggwaamu ekiwuggwe eky’okutya abasumba bano ababatuusizzaako obulabe ne babaanika n’okubaggulako emisango, emisango nga gino gijja kukendeera.

Njagala gavumenti enneegatteko tulabe engeri gye tusobola okulwanyisa embeera y’abafere bano era nasaba abagoberezi okubeera abagumu.

 

 

 


  

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 


  

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 


 
 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba