TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ekizungirizi kimaze emyaka 39 mu bwengula nga kitambuza obubaka mu Luganda

Ekizungirizi kimaze emyaka 39 mu bwengula nga kitambuza obubaka mu Luganda

By Musasi wa Bukedde

Added 21st June 2017

Bw’obanga ofunye omukisa oguyita mu bwengula n’owulira eddoboozi eribuuza ku bantu mu Luganda teweewuunya.

Kizungirizi1 703x422

Omu ku bannassaayansi ng’ali mu kizimbe mwe balondoolera ebizungirizi bino.

Bya MUSASI WAFFE

TUNUULIRA ekizungirizi ky’Abamerika ekimaze emyaka 39, emyezi 9 n’ennaku 16 nga kisiyagguka mu bwengula.

Mu kiseera kino ne kinnaakyo by’ebintu ebikoleddwa omuntu ku nsi (Earth) ekikyasinga okuba ewala ennyo nga kyava dda ne mu mbuga y’omusana (Solar system) oba ekitundu enjuba mw’erina enkizo era nga ssengendo endala zonna amaanyi gaayo gazisikiriza okuba nga gagyetooloola okumala ebbanga ery’enjawulo.

Ekizungirizi Voyager 2 (ne munne waakyo Voyager 1) biriko n’ejjinja okwasibwa eddoboozi mu Luganda ku nnimi 55 ezassibwako okusindika okulamusa abo bonna abandigudde ku kizungirizi kino mu bwengula.

Ekigambo Voyager kitegeeza mutambuze. Era bw’obanga ofunye omukisa oguyita mu bwengula n’owulira eddoboozi eribuuza ku bantu mu Luganda teweewuunya.

 jjinja olden record eryassibwako obubaka Ejjinja ‘Golden record’ eryassibwako obubaka.

 

Ebizungirizi bino byasindikibwa mu bwengula ab’ekitongole kya NASA mu nteekateeka bannassaayansi ze baaliko okuzuula oba nga mu bwengula ng’oggyeeko ensi yattu kwe tuli eriyo abantu abalala gye baayita ‘Voyager Program’.

Baayagala nti ssinga ekizungirizi ekyo kyali kisangirizibwa abantu abalala (bwe baba gye bali) era nga balina ne tekinologiya eyeekebejja ebiriko, banditegedde nti mu bwengula nabo tebaaliko bokka. Voyager 2 yasimbulwa August 20, 1977 ate mulongo waayo Voyager 1 n’asimbulwa nga wayise ennaku 16, nga September 5, 1977.

Pulogulaamu eno yakulirwa munnassaayansi, Polof. Carl Sagan eyakulira akakiiko akassibwawo okukola omulimu guno.

 kizungirizi nga kiri mu bwengula Ekizungirizi nga kiri mu bwengula.

 

BIKI EBIRI KU JJINJA LINO:

Ejjinja lino eryatumwa ‘Voyager Golden Record’ kuliko ennimi 55 ezaalondebwa oluvannyuma lw’okunoonyereza nti ze zimu ku zaali zisinga okwogerwa abantu abangi mu nsi yonna.

Mu Afrika: batwalamu ennimi 5 okuli: Oluganda, Nguni, Sotho, Illa ne Nyanja. Endala kuliko: Akkadian, Greek, Amoy (Hokkien/ Minnan), Arabic (Modern Standard), Aramaic Armenian, Bengali, Burmese, Cantonese, Czech, Dutch, English, French, Ganda, German, Gujarati, Hebrew, Hindi, Hittite, Hungarian, Ila (Zambia), Indonesian, Italian, Japanese, Kannada, Korean, Latin Mandarin, Marathi, Nepali, Nguni, Nyanja, Oriya, Persian, Polish, Portuguese, Punjabi, Quechua, Rajasthan, Romanian, Russian, Serbian,Sinhalese, Sotho, Spanish, Sumerian, Swedish, Telugu, Thai, Turkish, Ukrainian, Urdu, Vietnamese, Welsh, Wu.

 nnimi eziri ku jjinja olden ecord ku kizungirizi oyager Ennimi eziri ku jjinja ‘Golden Record’ ku kizungirizi Voyager

 

Eddoboozi limu lyokka mu lulimi Oluswayiri lye litaagendako nga kino kyava ku yali alina okuwa obubaka bw’okubuuza ku bantu okutuuka ekikeerezi we bassizzaako amaloboozi.

Obubaka bw’amaloboozi obwali bubuuza abantu mu bwengula n’okubalamusaako bwakulemberwa Pulezidenti wa Amerika ekiseera ekyo Jimmy Carter n’eyali omuwandiisi w’Amawanga Amagatte, Kurd Waldheim.

OBUBAKA BWA CARTER BWALI:

Kino kirabo okuva mu nsi entono ebunaayira. Karabo ka maloboozi gaffe, ssaayansi, ebifaananyi, ennyimba, ebirowoozo ne bwe tuwulira.

Tugezaako okubeerawo mu biseera byaffe tusobole okubeera mu bwammwe. Tulowooza olumu ga tuvvuunuse okusoomoozebwa kwa tekinologiya, tulisobola okuwuliziganya n’okuba obumu.

Ebiri ku jjinja lino biggyayo ebirowoozo byaffe, obumalirivu n’okwagaliza okuba obumu mu bwagaagavu  bw’obwengula ffenna mwe tuli.

Obubaka mu Luganda bwasomebwa Elijah Mwimamudeenya Bwali bugamba nti: Tubalamussizza mwenna abantu mu bwengula. Katonda abawe omukisa bulijjo.

kifaananyi ekiraga ebitundu byobwengula obwenjawulo oyager byemaze okuyitamu ne gyesuubira okutuukaEkifaananyi ekiraga ebitundu by’obwengula obwenjawulo Voyager byemaze okuyitamu ne gy’esuubira okutuuka.

 

Ku jjinja lino kwassibwako ebifaananyi 115 ebiraga ebintu ebyenjawulo ku nsi kuno.

Kuno kuliko ensozi, emigga, ebibira, omusajja, omukazi, omwana, ensolo ez’enjawulo, ssaayansi ow’enjawulo n’ebirala. Ku nnyimba Sagan, yasalawo okussaako oluyimba lwa ba ‘Beatles’ - Here comes the Sun oluvvuunulwa nti Omusana guggusse.

Wabula ku kifaananyi ky’enkula y’abantu, akakiiko ka Sagan kaaganibwa okussaako abantu abaali obukunya nga bwe baali baakola ku katambi k’ebizungirizi ebyali byasooka okugezaako pulogulaamu eyo (Pineer 10 ne 11).

Bassaako bafumbo nga banekedde.

Byakolebwa bitya

Ebizungirizi bino byakolebwa kkampuni ya Jet Propulsion Laboratory. Voyager 2 yasituka yetisse obuzito bwa kiro 825.

Mu July 9, 1979 kyali kumpi ne ssengendo Jupiter nga byombi byali byesudde mayiro 350,000.

Nga August 25, 1981 kyasemberera sseng’endo Saturn nga byombi byesudde obuwanvu bwa mayiro 63,000.

Mu January 24, 1986 kyasemberera Uranus nga byombi byesudde mayiro 50,600 ate nga August 25, 1989 kyasemberera Neptune ng’enjawulo wakati waabyo yali ya mayiro 3,076.

Empuliziganya

Ebizungirizi byombi byassibwako emirongooti emiwanvu okukwata ebintu eby’amaanyi n’okusika buli kimu ekiri mu bwengula era nga kino baakiyita Deep Space Network oba okukwata engeri yonna n’ebirala byonna ebiri eyo munda w’obwengula gye byasindikibwa.

Emirongooti egyo era bannassayansi ku bitebe bya NASA mu Amerika gye bakozesa okusika amaloboozi agakwatibwa, okumanya ebizungirizi bino gye bituuse n’ebirala wadde ng’essaawa eno, ekimu kyagenze wala nnyo nabo tebamanyi linnya lya kifo gye kituuse.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...

Owoyesigire 220x290

Ababbi balumbye Klezia ya Yowana...

ABABBI basatu balumbye ekifo awaterekebwa ebirabo ku Klezia ya Yowana Maria Mzee ku Lubaga Road n’amajambiya nga...

Abtexbajjohoima 220x290

Ttiyaggaasi n’amasasi binyoose...

Abbey Musinguzi owa Abtex promotions ne Andrew Mukasa owa Bajjo Events enjiri y’okununula abasibe abali ku misango...

Joycenakiryannamwanduwakasoziabaanabeyazaalagwebagobawebuse 220x290

Abaana bagobye nnyaabwe mu maka...

Abaana bafuuyidde ebirime bya nnyaabwe n'okumugoba awaka okutuusa ng'abawadde ekyapa kya kitaabwe