TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abatta bazadde baffe nga tulaba bali ku kyalo bayinaayina!

Abatta bazadde baffe nga tulaba bali ku kyalo bayinaayina!

By Musasi wa Bukedde

Added 26th June 2017

Akawala akaggalanda kaafukamira ne keegayirira abatemu baleme okutema dadi ne mami kyokka abasajja baateeka envumbo mu matu ne batta Nangoma ne bba Kabali ng’abaana baabwe balaba.

Kabali3 703x422

Kabali ne mukyala we Nangoma be baatemaatema.

Bya Musasi waffe

GEORGE Kabali ne mukyala we Ezekia Nang’oma beesitula n’abaana baabwe bana okuva e Kabowa mu Kampala ne boolekera mu kyalo e Mityana okulima.

Ku lubimbi abatemu gye baabasanga ne babatemaatema amajambiya okutuusa lwe baakakasa nti tebakyalimu kanyeenya.

Akawala akaggalanda kaafukamira ne keegayirira abatemu baleme okutema dadi ne mami kyokka abasajja baateeka envumbo mu matu ne batta Nangoma ne bba Kabali ng’abaana baabwe balaba.

Olwo obwanga ne babwolekeza abaana babamalirize, omu kati alaga nkovu era Katonda yazza bibye.

Ssinga tebaakanya misinde, osanga nabo bandigoberedde bazadde baabwe. Bino biwulikika ng’olugero kyokka byaliwo ate wano mu Uganda.

Ekyewuunyisa abaakola ekikolwa kino tewali n’omu yakwatibwa n’eyaduumira abatemu ali ku kyalo kwe yattira abantu alya bulamu!

BAMULEKWA BANYUMYA

E Kabowa mu ggombolola y’e Lubaga we wasangibwa amaka g’omugenzi Kabali kati agalimu bamulekwa.

Asinga obukulu wa myaka 17, amuddako 15, ow’emyaka 14 n’asembayo wa myaka 10, abaaliwo nga bazadde baabwe battibwa.

Nga bazadde baabwe bakyaliwo, abaana bano baali basula ku ssomero, naye nga bwe baazogera nti bwe zikusanga ozigumira, kati bava waka okugenda ku ssomero.

Abaana bano ne bw’obazuukusa kuva mu tulo bakubuulira nti abatta nnyaabwe ne kitaabwe babamanyi: Godfrey Kigongo, Peter Kirumira ne Gyagenda be batta taata ne maama!

Akawungeezi k’Olwokutaano nga 23 September 2016 twatuuka mu kabuga Mutetema okumpi n’ettaka maama ne taata mwe battirwa.

Taata yali apangisizza omuzigo mwe twasulanga bwe twabanga tugenze okulima.

Akawunggezi k’olwo, Godfrey Kigongo yalumba maama n’amugamba nti “Onnemeddeko nti nkuviire ku ttaka lyo naye ku nze naawe kujja kubaako alireka”.

Maama yagenda ku Poliisi y’e Mutetema n’amuwawaabira kyokka Poliisi terina kye yakolawo.

 amulekwa Bamulekwa

 

BATTIBWA

Enkeera twakeera mu nnimiro kulima. Twagenda okutuukayo nga Kigongo atutte baganda be, Kirumira ne Gyagenda mu nnimiro, basimye ebinnya basiga kasooli.

Taata yabagamba nti kkooti yali emaze okusalawo nti ennimiro si yaabwe.

Taata yababuuza kye bava basaalimbira ku ttaka lyaffe. Okwalibadde ng’okwanukula Kigongo yagenda mu bibidde n’asowolayo ejjambiya empagale buli omu ku banne n’amukwasa eyiye.

Taata bwe yalaba ejjambiya n’asaba baleme kuyiwa musaayi wabula bateese waakiri babongereyo ebbanga bave ku ttaka.

Maama ye yatulagira tudduke tutaase obulamu ate ye muto waffe Wannyana olwo yali afukamidde ng’atunuulidde Kigongo mu bwenyi ng’amwegayirira aleme kutta maama ne taata.

Muganda wange anzirako yabyetegula n’adduka, ate mukulu waffe omuwala yali asigadde Mutetema ng’afumba,”. Bw’atyo mulekwa omu omulenzi bw’anyumya ebyaliwo ku lunaku bazadde be lwe baafa.

“Mu kadde kano Kigongo, Kirumira ne Gyagenda baali tebasalikako musale. Kigongo yatema maama ku luba ne ndaba omusaayi nga gutiiriika!

Yakozesa ejjambiya y’emu n’atema ne taata okugulu n’abagamba nti, ‘Nkooye eby’okummanyiira. Leeta olupapula owandiike nti otuguzizza wano.  Bwe kikulema kiggwa leero’.

Kigongo yayongera okutema taata mu mugongo nga taata adduka bw’awenyera, ng’akkirira ku kisagazi okutuusa lwe nalengera ng’agudde.

Kigongo yeeyongera okumutema nga tuwulira amaloboozi g’ejjambiya. Bwe nabuuza Kigongo lwaki atema Taata n’ansala omukono.

Bwe baava ku taata ne batemaatema maama eyali agudde wansi.

Nasitula muto wange Wannyana ne mmutuusa ku kkubo olwo ne nziruka ku Poliisi e Mutetema kyokka nabo ensonga baazikolako kasoobo era baagenda okutuuka nga Kigongo ne banne badduse,” bw’atyo omulenzi ow’emyaka 15 bw’abinyumya.

ABATEMU BAAWUDDIISA POLIISI

Bamulekwa bagamba nti engeri ettaka eryassa abantu baabwe gye liri ewala okuva ku kkubo, abatemu baakweka ebissi byonna bye baakozesa ne bagenda ku Poliisi ne bagiwuddiisa nti abatemu basse Kabali ne Nangoma era basaaliddwa nnyo okufiirwa landiroodi waabwe!

Bamulekwa bagamba nti tebaalina abayamba kugoba ku nsonga abatemu bakwatibwe.

ENNAKU Y’OBWAMULEKWA

Mukulu waabwe agamba nti abantu abaabattira bazadde baabwe baabakola bubi nnyo kuba okuva lwe baafa obulamu bwabwe bwakyuka kinene.

Ebyokulya byafuuka bya nkalu ate nga n’ebisale by’essomero bibeekubya mpi.

Yagambye nti waliwo omuzirakisa eyabalaba ku mikutu gy’amawulire oyo nno amuwaayo ekitundu ku fiizi kyokka tebamumanyi wabula abayamba ku lwa Katonda.

Agamba nti kitaabwe omuto Kabali ayagala nnyo era agezaako okubayamba kyokka enfuna ye ntono ate mulwadde ekigere.

Yagambye nti okumanya okufa kwa bazadde be kwabakosa kinene n’obwongo obusoma bwaddirira.

Yagambye nti bazadde be we baaafiira mu September wa 2016 yali amaze okubuuzibwa ebigezo bya Mock wa S.4, ng’abiyitidde mu ddaala erisooka kyokka ebibuuzo by’akamaliririzo tebyamutambulira bulungi ky’agamba nti ne bato be nabo baddiriramu ku mutindo gwe baasomerangako.

Yagambye nti n’awaka batyawo kuba balowooza nti osanga abaatemula bazadde baabwe balibabalumba ne babatuusaako obulabe kuba wadde abazadde baabatta, bamulekwa balowooza nti ekyassa bazadde baabwe ttaka ate likyaliwo.

Bagamba nti kibakuba ennyiike okulaba nga ne kojjaabwe Tamale eyatandiikiriza okutunda ettaka lya nnyaabwe eryavaako bazadde baabwe okuttibwa okuva lwe baafa talinnyangako Kabowa yadde okubaweereza kkiro ya ssukaali.

Omusasi ono bwe yabuuzizza oba batera okugendako ku ttaka lyabwe baagambye nti tebaddangayo era batyayo tebalwa kubattirayo.

Bagamba nti kibaluma okuwulira ng’abatemu abatta bazadde baabwe emisana ttuku tebakwatibwanga era kibasuza bubi kubanga baaliwo nga balaba abasajja batta abantu baabwe.

 nnyumba eri ku ttaka eryassa abagenzi ku kyalo abawoomya  utetema Ennyumba eri ku ttaka eryassa abagenzi ku kyalo Kabawoomya - Mutetema.

 

ETTAKA

Abaana bano bagamba nti ettaka eryavaako bazadde baabwe okuttibwa lisangibwa ku kyalo Kabawoomya mu ggombolola y’e Kalangaalo mu Disitulikiti y’e Mityana.  Liwerako yiika 10.

Bagamba nti jjajjaabwe omusajja Nelson Mponya azaala nnyaabwe nga tannafa yaliraamira abaana be (nnyaabwe) Ezekia Nangoma ne Feibe Nalukwago.

Kyokka Nangoma yalwawo okugenda ku ttaka okutuusa lwe yateesa ne bba lwe yamuwa amagezi bave mu kibuga bazimbe ku ttaka lyabwe.

Bwe baatuukayo baasanga Tamale, omusika wa kitaabwe aguzizzaako omukyala Kalikuso.

AFUNA EKYAPA

Nangoma yagoba ku kyapa ne kikyusibwa okuva mu mannya ga kitaawe ne kidda mu mannya ge.

Omukyala Kalikuso omusika Tamale gwe yali aguzizza bwe yalaba ku kyapa n’akivaamu poloti n’agiguza Kigongo oluvannyuma lwa Kigongo okumukakasa nti ye tatya biduduma.

Nangoma yeeyongera mu kkooti n’emukkiriza okugoba abasenze ku ttaka ng’abawaddeyo ebbanga.

Yawa Kigongo ebbanga eggere oluvannyuma amuviire kyokka wadde ebbanga lyali liweddeko Kigongo yagaanirako ng’agamba nti yali azimbyeko ennyumba ye nti era teyali mwetegefu kufiirwa nsimbi ze.

EDDOGO

Bukedde yakizudde ng’ekyasinga okwongera obutakkaanya wakati wa Kigongo ne Nangoma, kwe kuba nti bombi baali bakkiririza nnyo mu ndagu n’eddogo.

Nangoma we yagambira Kigongo okuva ku ttaka lye, muka Kigongo yali akuzizza ng’asulirira kuzaala kyokka bwe baabalaabalamu ne munne ne balaba olubuto lumuwangaaliddeko nnyo nga teruzaalwa ne bakkaanya nti tewaali mulala asibidde ku mukyala we lubuto okuggyako Nangoma.

Era yali amulabudde nti by’amukola byonna abiraba era ekikutte obudde kiributa.

Kyokka ne Nangoma yali akibassaako nti baali bayitirizza okumuteganga ettalo ate nga bamulanga bwemage kuba ettaka lyali lirye.

 

WE BAABATTIRA

Omusasi ono yagenze ku kyalo Kabawoomya awattirwa George Kabali ne mukyala we Nangoma n’akizuula ng'ettaka eryavaako okuttibwa kw’abafumbo bano lirimibwa n’ennyumba esulwamu mukyala wa Kigongo.

Ensonda zaategeezezza nti Kigongo eyaduumira abatemu mu kitundu mwali.

Ettaka lirimiddwaako omusiri gwa kasooli n’ekitundu ekirala kisambuddwa. Kyokka abatuuze ku kyalo kino beebalamira ddala okwogera ku nsonga zino.

POLIISI KY’EGAMBA

Bwe natuukiridde akulira bambega ku poliisi e Mityana, Twisiime Allan yantegeezezza nti yatuuka ku kifo awaali ettemu lino kyokka Kigongo ne banne badduka era baabula!

Bwe yategeezeddwa ku luvuuvuumo nti Kigongo yandiba nga mu Mityana mw’ali, Twisiime n’agamba nti takimanyiiiko kyokka bwe kiba kituufu ng’abantu bakwese omutemu nga Kigongo ne banne, kiba kya bulabe kubanga abatemu ng’abo obakweka ate enkya ne bakukolako obulabe oba okubukola ku muntu omulala.

Yagambye nti okubuuliriza ku Kigongo ne banne kwaggwa dda. Yasabye abo bonna abayinza okusobozesa Poliisi okukwata abatemu bano bakikole batwalibwe mu kkooti battunke n’ogw’obutemu.

Akulira Poliisi y’e Mutetema, Kigozi yagambye nti ye ne basajja be bateze amatu okuwulira amawulire agabategeeza Kigongo w’ali era tewali kuwannaanya ajja kukwatibwa.

Yawakanyizza ebyogerwa nti abatemu bano baawuddiisa Poliisi y’e Mutetema n’agamba nti tebalinnyangako ku Poliisi y’e Mutetema era ssinga baayitayo bandibakutte.

Alina amawulire ku batemu kuba ku 0752628931.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...

Mbuga1 220x290

Abavunaana SK Mbuga babawadde nsalessale...

Ayolekedde okuyimbulwa ssinga babulwa abajulizi

Kayihura1 220x290

'Eby'okutta Kaweesi byandeetera...

GEN. Kale Kayihura azzeemu okwogera ne Bukedde n’ategeeza nti, abamulumiriza okutta eyali omwogezi wa poliisi,...