TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Zitujja eηηoma zitujja lwa ssente .... ez’abavubuka!

Zitujja eηηoma zitujja lwa ssente .... ez’abavubuka!

By Alice Namutebi

Added 27th June 2017

GAVUMENTI yatandika okugabira abavubuka ssente ezitakka wansi wa bukadde butaano ez’okwekulaakulanya naye nga ssente zino zigabibwa abeekozeemu ebibiina.

Zivuga1 703x422

Bano ssente obukadde 5 ze baafuna baagulamu bivuga.

Bya ALICE NAMUTEBI

 GAVUMENTI yatandika okugabira  abavubuka ssente ezitakka  wansi wa bukadde butaano  ez’okwekulaakulanya naye nga  ssente zino zigabibwa abeekozeemu  ebibiina.  

Abavubuka abagezigezi olwategeera  kino ne beekolamu obubiina  ne bafuna ssente ez’amangu.  

Wabula mu kifo kyokwekulaakunya  abamu baazeegabanya obulamu,  abamu ne bawasa era bangi ssente  ezaali ez’okubayamba ate zaabaleetera  bizibu ng’endwadde n’okusibwa  n’ebibiina bye baakola ne bigwa.  

Wabula waliwo abamu abaganyuddwa  mu ssente zino nga Martin  Kinene, ssentebe w'ekibiina  kya Lucky Stars ekisangibwa e  Wankulukuku.

Mu kibiina kino bazina  amazina g'ekinnansi, okuzannya  emizannyo n'okuyimba ssaako  okusanyusa abantu ku mikolo.  

Kinene y’omu ku bavubuka abasoba  mu 100,000 abaganyuddwa mu  ssente z’abavubuka era anyumya  bwati;  Ekibiina kino nakitandika emyaka  musanvu egiyise era tulimu abavubuka  abasoba mu 45 n'abaana.

 Bwe twawulira omukisa gw'okufuna  ssente okwekulaakulanya nalabira  ddala nga mukisa kubanga ebintu  bye twali kuzozesa byali tebitumala ate nga  mu bizinensi y’okusanyusa abantu ebivuga  bya mugaso.  

FFE SSENTE ZITUBBUDDE

Ebintu nga jjenereeta, eηηoma twali tweyazika  byeyazike era nga kino kitutwalako  ssente mpitirivu.  

Ku ntandikwa ya 2015 ekibiina kyaffe  twakiwandiisa mu mateeka era ne tusaba  ssente z'abavubuka ku munisipaali e  Lubaga ne tufuna obukadde butaano.  

Ku zino twagulako seeti z'eηηoma  eηηanda bbiri ku bukadde bubiri, ne  tugulako jjenereeta, ebidongo ebitabula  emiziki (amplifi er) abantu bye batupangisaako  bya bukadde bubiri n'engoye ze  tukozesa okutungamu engoye zaffe ze  tukoleramu emirimu.  

Luli bwe twali tukyeyazika ebintu nga  tufi irwa ssente ne diiru nnyingi kubanga  abantu abamu baagaananga okutuwa  emirimu olw’okutya nti tuyinza obutafuna  bikozesebwa biri ku mutindo ne twonoona  emikolo gyabwe.  

Kati buli kye tukozesa kyaffe era  n’emikono gye tugendako gyeyongedde  obungi .

Oluusi tweyawuzaamu ebibinja  buli kimu ne kibaako omukolo gwe kikolako  kuba kati ebikola tulina ebimala era  ne ssente tufissa eziwera kati lwa ssente  ezaatuweebwa.”

Mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo,  abavubuka babadde beekolamu ebibiina  ne bafuna ssente zino.

Okugeza mu mwaka  2014/2015 pulojekiti lwe yatandika, abavubuka  15 abeegattira mu kibiina kya Nyabitote  Goat Rearing Project ekisangibwa mu  ggombolola y’e Nyabubare e Rukungiri  baafuna 5,486,511/- ne bagulamu embuzi  40.

We twogerera bakyalinawo embuzi 25  naye nga baakasasulako 2,470,000/-.  

Ate bammemba 10 ab’ekibiina kya Katikamwe  Goat Rearing Project ekisaangibwa  mu ggombolola y’e Kyabugimbi e Bundibugyo  baafuna 6,150,300/- mu mwaka gwe  gumu.

Bano baagulamu embuzi 30, naye  kati balinawo embuzi 20 era baakasasulako  2,080,000/-.

 Diana Naturinda akwanaganya  pulogulaamu ya Youth Livelihood  Programme eyamba abavubuka agamba  nti okusinga baluubirira abali wakati  w’emyaka 18 ne 30.

 “Abanaafuna ssente zino bateekwa  kubeera nga bali mu bifo eby’omugotteko,  oba abavubuka bazadde abeerabirira  abaana baabwe, abalina obulemu, abamalirizza  siniya oba amatendekero aga  waggulu oba abavudde mu masomero nga  tebamalirizza.  “Ssente ze twakasaasaanya mu bavubuka  ziwera obuwumbi 256 era abavubuka  11,503 be baakazeewola,” Naturinda  bwe yagambye.

Yadde ng’ebiseera  by’eggwanga eby’omu maaso biri mu  mikono gy’abavubuka era nga ne Gavumenti  yateekawo ssente okwongera  okutumbula embeera zaabwe bangi ku  bo omukisa guno guyinza okubayita mu  ngalo.  

ABAVUBUKA BAKYALI KIZIBU

 Muky. Ruth Biyinzika ow’ekibiina  kya Private Sector Foundation ekiwabula  abantu mu bya bizinensi agamba nti obuzibu  obusinga mu bavubuka kwe kwagala  okufuna amangu n’okumansamansa ssente  ne balowooza nti mu mwaka gumu osobola  okuba ne ssente ennyingi ezikugaggawaza.  

Agamba nti abavubuka bafuna  ssente nga balina bizinensi ze batandika  n’ebirowoozo by’okuzikulaakulanya naye  oluzifuna baagala mu myaka ebiri babeere  ku ddaala limu n’abamaze emyaka 10 mu  bizinensi emu.

 “Ekintu bwe kitakola mu bbanga ettono  bakivaako buvi kubanga tebalina mwoyo  gwa kuguminkiriza ate abamu bw’obawa  omulimu ebiseera babimala ku ssimu,  facebook ne whatsApp n’okwogera ne  mikwano gyabwe mu kifo ky’omulimu okuguwa  obudde bwabwe bwonna,” Biyinzika  bwe yagambye.  

Naturinda yagambye nti ekimu k,u  bizibu bye basanze, abavubuka basaba  ssente nnyingi okusinga ze bagenda  okukozesa; ku magombolola bazudde  abalya ssente zino oba okuwandiisa  ebibiina by’abavubuka eby’empewo; ate  n’abavubuka abaasaba ssente okukola  ebyobulimi n’obulunzi ekyeya ekibaddeyo  omwaka oguwedde kibakosezza nnyo nti  abamu ssente zaabayamba kitono.  

Sam Kisitu eyawummula obusomesa  e Nabbingo agamba: Nga tukyalina abavubuka  abataayaaya ku nguudo ate nga  bamanyi engeri yokka gye balina okwebeezaawo  ya kubba bantu ne bw’obagabira  ssente mpaawo ky’okyusa.  

EBIZIBU  

Gavumenti etandikewo pulojekiti  ey’okuyamba abali ku nguudo era babatwaleko  mu babudaabuda babayambe  okukyusa mu ndowooza zaabwe eyambe  ku kizibu ky’obubbi n’okukozesa ebiragala.  

Swaibu Lubega Wagwa, RDC w’e  Mpigi yagambye nti ekiremesezza ssente  z’abavubuka, bangi bwe bazifuna tebazissa  kw’ekyo kye baazisabira, bangi bakolamu  byabwe.

Yagambye nti abamu bawasaamu  bakazi, okuzeegabira oba okuzirwanira. Mpigi  y’emu ku disitulikiti ezirina ekizibu ky’abavubuka  obutazza ssente ze baabawa mu pulogulaamu eno.

January w’omwaka guno we yatuukira ng’ebibiina  43 biweereddwa ssente obukadde 354.3.

Kyokka  ng’obukadde 18.8 ze zaali zikuηηaanyiziddwaako.

 Ekizibu kye kimu kye kiri ne mu disitulikiti endala  nga Masaka, Kalungu, Bukomansimbi ne Lyantonde  ekyawaliriza n’abakulira pulojekiti eno okukwata  abamu ku bavubuka abaakozesa obubi ssente  zino.

Omwaka oguwedde, abakulembeze b’ebibiina  by’abavubuka e Tororo nabo baakwatibwa lwa kubulankanya  obukadde 632.  

Omuwandiisi w’enkalakkalira owa minisitule  y’ekikula ky’abantu, Pius Bigirimana,  gye buvuddeko yawandiikidde ba CAO ku disitulikiti  ng’abalaalika okuyimiriza okuwa disitulikiti  ssente zino bwe kiba ng’omwaka guggwaako nga  tebakung’aanyizza waakiri ebitundu 50 ku buli 100  ku ssente abavubuka ze baweereddwa.  

Omubaka De nis Obua (Ajuli County) era naye  eyali akiikirira abavubuka b’obukiikakkono mu  Palamenti yagambye nti ebisaanyizo birina okumyumyulwamu.  

“Olaba ekibiina nga kifunye obukadde 10, kyokka  nga kikola ebintu bye bimu n’ekirala ekifunye obukadde  obutaano ne weewuunya!,” bwe yagambye.  

Kyokka Julius Tamale, omunoonyereza okuva  mu yunivasite e Makerere alowooza nti ssente  z’abavubuka zandissiddwa mu bibiina bya bwegassi,  olwo zijja kuyamba abavubuka abasinga obungi.

 “Bw’oba toziwadde bibiina bya bwegassi, waakiri  ziweebwe abavubuka kinnoomu, abakakasizza nti  balina omwoyo gw’okutandikawo emirimu kubanga  si buli omu nti alina obukugu obwo,” bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sky2 220x290

URA eggaddewo SkyLight Arcade abasuubuzi...

WAABADDEWO akassattiro mu kibuga abasuubuzi abakolera ku kizimbe kya Sky Light Arcade bwe baasanze ng'amaduuka...

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.