TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ekyama ky'amaanyi ga Bobi Wine kiri waka

Ekyama ky'amaanyi ga Bobi Wine kiri waka

By Kizito Musoke

Added 6th July 2017

YAZAALIBWA ye Robert Kyagulanyi Ssentamu bwe yatandika okuyimba ne yeegattako erya His Excellence Bobi Wine, Omubanda wa Kabaka , kati ate abalonzi b’e Kyaddondo East baamugasseeko erinnya lya “Taata Kyaddondo” ne mukyala we Barbie Itungo Kyagulanyi ne bamubatirizaawo erya “Maama Kyaddondo” .

Sanga1 703x422

Bakyagulanyi lwe baatongoza ekitabo kya Barbie ate waggulu ge maka gaabwe agasangibwa e Magere.

Abafumbo bano balaze ebiwonvu n’ebikko bye bazze bayitamu okuva lwe baasisinkana emyaka 16 emabega n’engeri gye bazze beenyigira mu mirimu gye bakola okutuusa abalonzi lwe baabongeddeko “amayinja”.

Obutafaanana ng’obufumbo bwa basereebu obuzze buyuuga era ne bulabibwa ne mu mawulire, obwa bano bubadde bwa njawulo olw’okuba bateredde ntende.

Bano balina ne pulogulaamu gye baali bakola bombi emanyiddwa nga Ghetto President Reality TV Show.

Ekibiina kya Twaweza kyalonda Bobi Wine okubeera ambasada waakyo olw’okubeera taata ow’obuvunaanyizibwa.

Wadde ng’abafumbo bano tebali mu mbeera mbi mu byenfuna, kyokka bakuza abaana baabwe mu mbeera nga basobola okukola emirimu.

Bw’oyingira mu maka gaabwe agasangibwa ku kyalo Magere oyanirizibwa olusuku awamu n’ebiyumba mwe balundira ebisolo awaka.

 obi ine ne famire nga bava mu nnimiro kukolera awamu gemaanyi Bobi Wine ne famire nga bava mu nnimiro. Okukolera awamu g’emaanyi.

Amaka ga Bakyagulanyi gatudde ku bugazi bwa yiika ezikunukkiriza mu16, ze yagula mu 2003.

Barbie Kyagulanyi alaze engeri gye beezimbye n’omukono gwe mu buwanguzi bwa bba.

“ Twalabagana mu 2001 ne tugattibwa mu bufumbo obutukuvu mu 2011 mu Lutikko e Lubaga. Twasooka kubeera baamukwano nga tuzannya fenna omuzannyo ku National Theatre.

Mu kiseera ekyo waaliwo abantu abaali bataagala tubeere fenna nga balaba tuyinza obutakwatagana bulungi olw’embeera zaffe.

Kyokka olw’okuba nze nali nsiimye omulenzi wange ssaabawuliriza okutuusa nabo lwe baabivaako nga balaba tutambula bulungi.

Okusooka embeera teyali nnungi, era kyali kyetaagisa okukola emirimu egiwerako okusobola okufuna ssente.

Emirimu egisinga baze gy’akoze mbadde ngyenyigiramu butereevu n’okutuusa olwaleero.

E Busaabala mbeerayo nnyo nga tukwasaganya emirimu era kitukoledde.

Obufumbo bwaffe tufuniddemu ezzadde lya baana bana okuli; Solomon Sekaayi Kampala 12, ng’asoma P.7. , Shalom Namagembe 9, asoma P.3, Shadraq Mbogo 7, asoma P.1 ne Shine Ssuubi Nakaayi wa omwaka gumu n’ekitundu.

 obi ne baganda be batambulira wamu nga famire ne mu kampeyini bwe kibadde Bobi ne baganda be batambulira wamu nga famire ne mu kampeyini bwe kibadde.

KYAGULANYI NGA TAATA

Baze ye musajja w’ekirooto kyange era taata ow’obuvunaanyizibwa eri abaana. Akoze kinene okukyusa ebiseera byange eby’omu maaso kuba ankozeemu omulimu ne nfuuka ow’omugaso.

Okubeera mukyala wa Bobi Wine kinyambye okumanyibwa abantu bangi n’emikwano.

Olumu ebizibu by’afuna nange babinteekamu naddala mu kisaawe ky’okuyimba naye tubivvuunuka anti twafuuka omuntu omu.

Waliwo ebintu bye baba bakusuubiramu ng’oli muka sereebu, okugeza bakusuubira nti olina okuba omusanyufu ekiseera kyonna.

Bwe balaba nga toli nga batandika okwebuuza obuzibu obukuliko.

ENGERI BARBIE GY’ANOONYEZZA AKALULU

Akalulu kano okuva lwe kaatandika, mbadde sikyakola, nga nnina okuzuukuka ku ssaawa 11:00 ku makya ne ntegeka abaana ne bagenda ku ssomero.

 arbie yagulanyi abadde mpagi mu kampeyini ano ngasaba abalonzi akalulu Barbie Kyagulanyi abadde mpagi mu kampeyini. Wano ng’asaba abalonzi akalulu.

Ekirungi waliwo abantwalira, olwo ne nsobola okutegekera omwami omuli engoye z’agenda okwambala n’ekyokulya.

Ekiseera ky’okunoonya akalulu kikosezzaamu abaana bange kuba babadde balwayo ku ssomero, era nga sikyasobola kubalabirira nga bakola ebibaweereddwa ku ssomero kuba emirundi mingi mbadde nsangibwa siriiwo.

Mbadde nnina okukwasaganya buli mulimu gwonna nga muno mulimu okulaba nga mmanya ekifa mu bantu baffe ab’enjawulo, wamu n’okubaperereza batuwe akalulu.

Wadde mubaddemu ebigambo mu kampeyni, kyokka nga ffe tebituggya ku mulamwa. Bibadde tebirina kye bitukolako okuggyako okwesekera.

Bino tebyenkana bigambo biri mu kisaawe kya kuyimba era ffe tubadde tusangiddwa nga twaguma dda kuba eno y’embeera gye tuwangaaliddemu.

Ekirungi omwami wange musajja mugezi, mugumiikiriza, alumirirwa ekitundu kye awamu n’abantu bonna abali mu mbeera gye yavaamu.

 utabani wabwe ampala ngakutte essaawa akabonero ke baakozesezza mu kunoonya akalulu Mutabani wabwe Kampala ng’akutte essaawa akabonero ke baakozesezza mu kunoonya akalulu.

OBUVUNAANYIZIBWA BWAFFE

Sirabawo kipya kuba tubadde tukolagana n’abantu bangi. Wadde ku luno tugenda kweyongerako abantu, kyokka tekijja kutumenya nnyo kuba si kipya. Kati kye nnina okulaba, y’engeri y’okugabanyaamu obudde.

Mu kiseera kino nsangiddwa nga nnina ekibiina ky’obwa nnakyewa ekya Caring Heart Uganda mwe tuyita okuyamba abaana abawala abatalina mwasirizi, n’abo abawanduka mu masomero olw’okubulwa fi izi.

OBUVUMU BUVA WAKA

Tutambulira wamu nga famire ekiseera kyonna era ne mu kalulu babadde tebandekerera.

Omukyala ambadde ku lusegere ssaawa bina olumu nga ne mutabani waffe Kampala atwegattako n’akwata akabonero kaffe ak’essaawa ng’akalaga abantu.

Kino kiraga nti tukolera wamu nga famire mu buli kimu era amaka bwe galina okuba okusobola okwekulaakulanya.

 baana ba arbara ne obi ine Abaana ba Barbara ne Bobi Wine

Ekiseera kyonna tebandekeredde, era nga tusaba fenna Katonda asobole okwanukula essaala zaffe.

Ekirungi kya famire yange bakimanyi nti ndi muyimbi era babadde tebansuubira kwambala masuuti.

Mpozzi kati nga bwe nafuuse omubaka nja kugambala. Bwe nkomawo awaka mbeera taata wa baana, so si muyimbi gwe mumanyi”.

Mu kiseera kino Bobi Wine ali mu mwaka ogusooka, asoma byamateeka ku Cavendish University. Ng’oggyeeko okuyimba, musajja mulimi era musuubuzi.

Bobi Wine yagambye nti okusinga byalinga bizibu bya ssente bye byamuleetera okukyusanga amasomero buli kaseera. Yasomera mu masomero 12.

OKIKOLA OTYA?

Tulina ennimiro awaka era tugenda ffenna n’abaana ne tulima, buli lwe tubeera n’obudde.

Kino nkikola kuba njagala bakule nga bamanyi obulamu bw’abantu baabulijjo, nga tebeeyibaala nti baana ba sereebu.

Nga taata ow’obuvunaanyizibwa, nnina okuyigiriza abaana okweyimirizaawo mu nsi.

Ewaffe mmange teyalina ssente, kyokka yafuba okunjigiriza emirimu egy’enjawulo era kinnyambye mu bulamu.

Abaana bange simanyi kye balibeera enkya, noolwekyo nnina okubaluηηamya nga nkyaliwo.

Tuyigirizza abaana okulima era emmere esinga tugiggya mu nnimiro yaffe awaka.

Abaana mbakuza nga mbateekamu eddiini era mu maka gange tukeera kusaba. Ku wiikendi tumanyi okugendako ku bbiici e Busaabala ne banyumirwa”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”