TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Obunkenke bweyongedde mu kalulu k’e Kenya

Obunkenke bweyongedde mu kalulu k’e Kenya

By Musasi wa Bukedde

Added 19th July 2017

NG’EBULA ennaku 20 Bannakenya okutuuka ku kalulu k’Obwapulezidenti, ebbugumu lyeyongedde wakati mu bunkenke anti Ssekawuka kaali kakulumye!

Kenyatta1 703x422

Pulezidenti Uhuru ng’ali mu ttanka eriko emizinga n’emmundu sseruwandula masasi.

Bya AHMED MUKIIBI  

NG’EBULA ennaku 20 Bannakenya  okutuuka ku kalulu  k’Obwapulezidenti, ebbugumu  lyeyongedde wakati mu bunkenke  anti Ssekawuka kaali kakulumye!

Ku lwa August 8, Bannakenya  tebagenda kukoma ku kulonda  Pulezidenti wabula n’ababaka  ba Palamenti 416, Bagavana 47  n’abamyuka baabwe wamu ne bammemba  1,450 abatuula ku nkiiko  z’amasaza 47 agali mu Kenya.

Ababaka 416 abagenda okulondebwa  kuliko 349 abatuula mu  Palamenti eya ‘National Assembly’,  n’ababaka 67 abatuula mu Palamenti  ey’oku ntikko eyitibwa ‘Senate’.  

Kuno kwe kulonda kwa Kenya  okusoose mu byafaayo okubeera  n’abantu abangi abeesimbyewo  okuvuganya ku bifo ebyenjawulo  okuviira ddala ku bwa Pulezidenti  okutuuka ku bammemba b’enkiiko  z’amasaza ng’abeesimbyewo basukka  mu 5,500.  

Konsitityusoni ya Kenya empya  eyakolebwa mu 2010 eragira mu  katundu 101 n’akatundu 102 nti  okulonda kwa bonna kujjanga  kubaawo ku Lwokubiri olwa wiiki  eyookubiri mu mwezi ogwa August  buli luvannyuma lw’emyaka etaano.  

 aila dinga bwe bali ku mbiranye ne huru nganoonya akalulu Raila Odinga bwe bali ku mbiranye ne Uhuru ng’anoonya akalulu.

 

18 BEESIMBYEWO KU BWA PULEZIDENTI  

Akakiiko k’Ebyokulonda mu Kenya  akayitibwa ‘Independent Electoral  and Boundaries Commissions’  (IEBC) kaasunsulamu abantu 18  okuvuganya ku bwapulezidenti.  

Ku bano abantu 7 beesimbiddewo  mu bibiina by’obufuzi n’abalala 11  tebalina.  

ABEESIMBYEWO MU BIBIINA BY’OBUFUZI  

  • Pulezidenti Uhuru Muigai  Kenyatta owa JUBILEE PARTY.  
  • Raila Amolo Odinga wa  ORANGE DEMOCRATIC MOVEMENT.  
  • Dida Mohamed Abduba  ow’ekibiina kya ALLIANCE FOR  REAL CHANGE PARTY.  
  • Juma Justus Zachaos Onyango  owa JUSTICE AND FREEDOM  PARTY. Amram Musungu Inyambuku  akulembera MAENDELEO DEMOCRATIC  PARTY.
  • Ekuru Aukot Kenya ow’ekibiina  kya THIRDWAY ALLIANCE party.  Shakhalaga Khwa Jirongo  ow’ekibiina kya UNITED DEMOCRATIC  PARTY n’abalala abeesimbyewo  nga tebalina bibiina.  
  • Wadde Raila Odinga yeesimbyewo  ku tikiti y’ekibiina kya ODM,  ab’ebibiina ebyenjawulo ebiri ku  ludda oluvuganya byakoze omukago  oguyitibwa National Super Alliance  (NASA), ne bakkaanya bonna  okumuwagira.  
  • Omukago gwa NASA gulimu  abasajja ebikonge mu  byobufuzi okuli: Kalonzo  Musyoka, Musalia Mudavadi,  Moses Wetangula ne  Isaac Ruto.
  • Pulezienti Kenyatta  yeesimbiddewo mu kibiina  kya Jubilee Party of Kenya  ekyatondeddwawo nga  September 2016 oluvannyuma  lw’omukago wakati  w’ebibiina 11.  
  • Bino bye bibiina  ebyakola omukago ogwa  ‘Jubilee Alliance Party’,  Pulezidenti Kenyatta gwe  yawanguliramu okulonda  kwa 2013.
  • Kenyatta  okugenda mu mukago  ogwo yayitira mu kibiina  kya The National Alliance  (TNA) ekyatandikibwawo  mu 2000. Kino Uhuru  mwe yayita mu kulonda  kwa 2007 n’akola omukago  gwa Party of National Unity  (PNU) ne Pulezidenti Mwai Kibaki.  
     baserikale abakakkanya obujagalalo nga bagobaganya omuvubuka Abaserikale abakakkanya obujagalalo nga bagobaganya omuvubuka.

     

ENGERI BANNAKENYA GYE  BASALAWO ANI ALYA OBWAPULEZIDENTI

  •  Mu kulonda Pulezidenti, Bannakenya  balonderako n’omumyuka  wa Pulezidenti kubanga buli muntu  eyeesimbawo ku bwapulezidenti,  abeera n’omumyuka we okufaananako  nga bwe kikolebwa mu Amerika  n’amawanga amalala.
  • Okuwangula obwapulezidenti  mu Kenya, oteekwa okufuna obululu  obusukka mu bitundu 50 ku  100 okufaananako bwe kikolebwa  wano.  
  • Omuwanguzi takoma ku  kufuna bitundu bisukka mu 50  ku 100 eby’obululu obukubiddwa  wabula ateekwa n’okufuna obululu  obusukka mu bitundu 25 ku 100  mu masaza agasukka mu 24 ku  masaza 47.  
  • Ssinga wabulawo omuntu  afuna obululu obusukka mu bitundu  50 ku 100 n’okufuna obululu  obusukka mu bitundu 25 ku 100 mu  masaza, olwo wabaawo okuddamu  okulonda wakati w’abantu ababiri  ababeera basinze okusalawo ani,  awangula.  

UHURU NE ODINGA ANI ALYA?  

  1. Okufaananako ng’okulonda  kwa 2013, n’okulonda kuno okwa  August 2017 kuli wakati wa Raila  Odinga 72 ne Uhuru Kenyatta 55.  Uhuru ayagala kisanja kye ekyokuburi  era ekisembayo ate Odinga eyaliko  Katikkiro wa Kenya wakati wa  2008 ne 2013 anoonya kisanja kye  ekisooka nga Pulezidenti wa Kenya  atuukirize ekirooto kye ekyalema  kitaawe omugenzi Jaramogi Ajuma  Oginga Odinga eyaliko Omumyuka  wa Pulezidenti wa Kenya wakati wa  1964 ne 1966.  
  2. Akalulu ka 2013, Uhuru ke  yawangula katono kaddibwemu  kubanga yawangula n’obululu ebitundu  50.07 ku 100 ng’ate Odinga  yafuna ebitundu 43.7 ku 100.  Okunoonyereza okufulumizibwa  kulaga okuvuganya okw’amaanyi  ennyo wakati wa Uhuru ne Odinga  kyokka nga Uhuru amulinako  enkizo.
  3. Ssinga Bannakenya babadde  baakulonda leero, okusinziira mu  kunoonyereza kw’ekitongole ekya  Ipsos kulaga nti Uhuru awangula  n’obululu 47 ku 100 ate Odinga  n’afuna ebitundu 42 ku 100.
  4. Ate  okulala okwafulumiziddwa gye  buvuddeko okwakoleddwa ekitongole  kya Infotrak Research and  Consulting kulaga nti Bannakenya  bwe balonda kati Kenyatta awagula  n’ebitundu 44.5 ku 100, Odinga  n’afuna ebitundu 27.8 ku 100.  Kino kitegeeza nti baba balina  okuddamu okulonda kubanga  Odinga ne Uhuru tekuli agenda  kuwangula butereevu n’ebitundu  ebisukka mu 50 ku 100.  
 beekalakaasi lwe baayokya ebipiira mu kulonda kwa 2007 Abeekalakaasi lwe baayokya ebipiira mu kulonda kwa 2007.

 

OBUNKENKE: POLIISI ETUUSIZZA  EMMUNDU EMPYA NE TTIYAGGAASI  

Embeera eno eyongedde okuleetawo  obunkeke olw’okutya mu  Bannakenya nti bwe wabulawo awangula  akalulu obutereevu, okulonda  ne kuddibwamu, eggwanga liyinza  okuddayo mu kuyiwa omusaayi  okwaliwo mu 2007.  

Mu 2007, omusaayi gwayiika  ebitagambika abawagizi ba Odinga  n’aba Pulezidenti Mwai Kibaki bwe  baatemagana ne batting’ana ng’aba  Odinga balumiriza Kibaki okubba  obuwaguzi bwabwe bwe yeerayiza  mu ngeri ey’amankwetu.

Abantu abasoba mu 1,300 be  battibwa ate 10,000 ne batuusibwako  ebisago n’abalala 600,000  ne badduka mu maka gaabwe mu  bbanga lya myezi ebiri egy’okuyiwa  musaayi wakati wa December 27,  2007 ne February 28, 2008.  

Raila odinga ne Uhuru Kenyatta bayiwaayiwa omusimbi  ebyenjawulo naddala  ebikola ku kukkakkanya  obujagalalo n’okwekalakaasa  ebyatuusiddwa mu Kenya ku  wiikendi.  

Kigambibwa nti byaguliddwa  South Korea nga mulimu emmundu  empya ezikuba amasasi ag’ebikoba  n’amasasi agattirawo gattako Tiyaggaasi,  mmotoka ezikuba ttiyaggaasi,  ezikuba amazzi n’ebintu ebikozesebwa  amagye ne Poliiisi mu kwang’anga  abeekalakaasi.  

Okutya okuli mu bantu kwesigamiziddwa  ku kuwera okuva mu  nkambi eya National Super-Alliance  (NASA) abawera nti ssinga wabaawo  okubba obululu bwa Raila Odinga,  bajja kufiira ku muntu. N’ab’enkambi  ya Jubilee nabo bawera nti tebalina  kukkiriza muntu yenna kuzannyira  mu bululu bwa Pulezidenti Uhuru  Kenyatta era beetegefu okubukuuma  okutuusiza ddala ng’azzeeyo mu  State House.

EBIGENDA OKUSALAWO AKALULU

Bwe yali yaakamala okukakasibwa  omukago gwa NASA, Raila  Odinga yeegeraageranya ku Joshua  ow’omu Bayibuli. Mu Bayibuli,  Joshua ye yakulembera abaana ba  Yisirayiri okubatuusa mu nsi ensuubize.  

Olwo Odinga yali agasse ebintu  bibiri bye yali ategeeza: Okuba omununuzi  wa Bannakenya abanyigiriziddwa  emyaka etaano obukulembeze  bwa Uhuru Kenyatta n’okugezaako  okusika Abakristaayo b’omu Kenya  okumukkiririzaamu.  

 mumyuka wa ulezidenti wa enya uto ne ulezidenti useveni nga banoonya akalulu mu 2016 Omumyuka wa Pulezidenti wa Kenya, Ruto ne Pulezidenti Museveni nga banoonya akalulu mu 2016.

 

EDDIINI  

Mu Kenya, eddiini erina  omusingi omunywevu era ebyobufuzi  mu ggwanga eryo birina engeri gye bibbulukukira mu by’enzikiriza.  

Kino Odinga ne Uhuru bombi  bakimanyi era balina engeri  gye beekutte abalonzi nga  bayita mu nzikiriza zaabwe  okulaga nti buli omu afuna  obululu obw’Abakristaayo,  Abasiraamu n’abalala.

Uhuru yatuuka  n’okweyambisa ekifo kye  nga Pulezidenti okugezaako  okugatta Abasiraamu b’omu  Kenya bwe yabayita mu biwayi  byabwe okuli: The Supreme  Council of Kenya Muslims,  The National Muslim Leaders  Forum ne the Jamia Mosque  era bonna baagenda okuva mu  State House nga bamaze okuwa  obweyamo ng’Abasiraamu  bwe bagenda okulonda Uhuru.

Kenya erina Abakristaayo  83 ku 100, nga kuliko  abapoletesitanti 47.7%, Roman  Catholic 23.4%, n’Abakristaayo  abalala 11.9%. Abasiraamu mu  Kenya bali ebitundu 11.2 ku  100 ate abakkiririza mu kinnansi  bali 1.7 ku 100.  

Okulonda kwa Kenya okuzze  kubaawo okuva mu myaka gya 1990,  Pulezidenti Daniel Arap Moi lwe yakkiriza  ebibiina byobufuzi okwetaaya,  bizze byesigamizibwa nnyo ku mawanga.

 Raila Odinga ow’eggwanga  erya Abajaluwo, alina obuwagizi  mu bugwanjuba, omuli abantu bwe  bawuliziganya mu lulimi ate Kenyatta  alina obuwagizi mu masekatti  n’obuvanjuba bwa Kenya.  

Uhuru wa ggwanga ly’aba Kikuyu  abasinga obungi mu Kenya nga  bakola ebitundu 22 ku 100 singa  Odinga Mujaluwo, abakola ebintu 13  ku 100 mu Kenya.

Amawanga amalala gayimiridde  bwe gati mu bungi bw’abantu: Luhya  14%, Luo 13%, Kalenjin 12%, Kamba  11%, Kisii 6%, Meru 6% n’amalala.

SSENTE ZIVULUUJA  

Uhuru ne Odinga batadde  Raila odinga ne Uhuru Kenyatta bayiwaayiwa omusimbi  Poliisi eyingizzaawo emmamba ne ttiyaggaasi omuka  obutitimbe bwa ssente mu kampeyini  nga buli ludda lugenderera okuwangula  emitima gya Bannakenya.

Odinga  yaakakuba enkung’aana 450 ate Uhuru  enkung’aana 400 okuva Kampeyini lwe  zaatandika mu May 29, 2017.

Enkambi  zombi zikoze enteekateeka ssinziggu  okukola akatiisa mu nnaku 19 ezibulayo  okulonda era kisuubirwa nti ssente  ezigenda okusaasaanyizibwa zigenda  kumenya likoda.  

 Akatabo ka Forbes Magazine  akasengeka abagagga mu nsi yonna  kaalaga nti ebyobugagga bya Uhuru  bibalirirwamu ddoola obukadde 500  era nga ye munnabyabufuzi asinga  obugagga mu Kenya.

Tewali kunoonyereza kutongole ku  bugagga bwa Odinga kyokka Bannakenya  balumiriza nti ng’oggyeeko Uhuru,  tewali munnabyafuzi mulala amusinga  bugagga era nga enkambi zombi zitadde  ssente nnyingi mu kalulu.

Odinga yaguze ebyuma ebyempuliziganya  eby’omulembe bye yatadde  mu kifo omugattirwa obubulu okuli  n’essimu empya 41,000 n’aziwa abantu  abagenda okukulira okukuuma obululu mu bifo omulonderwa. Uhuru  naye akoze enteekateeka y’emu  okukuuma akalulu.  

 mamba ezaaleeteddwa okukuuma emirembe mu kulonda Mmamba ezaaleeteddwa okukuuma emirembe mu kulonda.

 

ENGERI EBINAAVA MU KALULU K’E  KENYA BWE BIYINZA OKUKOSA UGANDA  

l Waliwo enjogera mu Bannayuganda  nti, “ Buli Kenya  lw’efuna ssenyiga, Uganda  y’ekuba emyasi n’okunyiza.”.  

Kino Bannayuganda bakyesigamizza  ku nkolagana  n’enkwatagana Uganda ne  Kenya gye zirina naddala  mu by’obusuubuzi  n’Obwasseruganda kubanga  ebintu ebikozesebwa mu Uganda  nga biva bweru wa ggwanga ebitundu  kumpi 70 ku 100 biyitira  Kenya okutuuka wano. Kenya  ly’eggwanga erisinga amaanyi  mu byenfuna mu mawanga aga  East Afrika omuli Uganda , Kenya  Tanzania, Rwanda ne Burundi.  

 Bannakenya bwe baafuna  obuzibu mu 2007, Uganda ye  yasinga okukozesebwa mu  mawanga gonna agakolagana n’e  Kenya y’ensonga lwaki okulonda  kw’e Kenya okubindaabinda  kulina akakwate ku Uganda.  

Obusambattuko obwali e Kenya  mu 2007, abasuubuzi baffe baafiirwa  ebyamaguzi bya buwumbi  era n’okutuusa kati babanja. Gavumenti  ya Uhuru yasuubiza okutunula  mu nsonga eno kyokka  ekisanja kye ekisooka kiweddeko  nga tennagonjoolwa.  

Pulezidenti Museveni alina  enkolagana ne Pulezidenti Uhuru  kyokka abooludda oluvuganya  balina bingi bye batakkaanya ne  Pulezidenti era ssinga bawangula  okulonda, waliwo bingi ebirina  okukyukamu.

Eno y’ensonga  lwaki mu Kampeyini za 2016  ez’obwapulezidenti mu Uganda,  omumyuka wa Pulezidenti wa  Kenya yakubira Pulezidenti  Museveni kampeyini mu bitundu  by’e Sebei.  

Mu kampeyini ze, Pulezidenti  Uhuru akyogera lunye nti Kenya  ejja kwongera okukolagana ne  Uganda mu by’obusuubuzi.  w, mu byobulambuzi, enkulaakulana,  n’ebyokwerinda  n’obutebenkuvu bw’ekitundu.  

Odinga mu kampeyini ze  azze akisimbako amannyo nti  bw’awangula okulonda, akazinga  k’e Migingo, Kenya k’ekaayanira  ne Uganda, agenda kukanunula  kubanga si ka Uganda.  wabula kazinga ka Kenya  

Ab’enkambi ya Odinga  balina obukyayi ku Pulezidenti  Museveni gwe balumiriza okuyamba  Kibaki okwerayiza ku bwa  Pulezidenti mu December 2007  era balumiriza Uganda okusin

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup