TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Famire ya bantu 15 n’ebuzibwawo poliisi n’eterabawo musango!

Famire ya bantu 15 n’ebuzibwawo poliisi n’eterabawo musango!

By Musasi wa Bukedde

Added 10th August 2017

Olumu omusajja oyo eyatwala abantu baffe yatukubirako essimu n’andabula nti bwe siva ku nsonga zino, nandifiirwa obulamu!

Wahab1 703x422

Bano baabula

Famire ya bantu 15 yabula lumu, omusajja omugezigezi bwe yabasomba ng’asomba emmwaanyi okuva mu maka gaabwe e Kinaawa ng’abadyesedyese nti abatwala kukuba kyeyo e Dubai kati emyaka musanvu.

Bonna baabulako effiire era Kalondoozi wa Bukedde alaze engeri ne poliisi gye yeesuulirayo ogwa nnaggamba.

 EKIROOTO ky'abantu bangi wano mu ggwanga kwe kugendako mu mawanga g'ebweru bakole ku ssente, bakwate ku doola ze boogerako nti ziwera mangu okusinga siringi ya Uganda eyeeveera! Era oli bw'afuna omukisa okugenda ebweru, bangi tebafaayo kumanya binaddirira kasita alinnya ebbaati.

Naye obadde okimanyi nti Abaddugavu bangi batulugunyizibwa mu nsi ezo, abamu ne batuuka n'okufiirayo ne babulako effiire?

 

Abamu bakozesebwa emirimu egyesittaza omuli obwamalaaya n'ebirala ate abalala ne bagaana okubasasula ate nga baagenda kunoonya ssente!

Sisinkana famire y'abantu 15, omusajja be yalimba nti abatwala e Dubai okukola ssente, kati wayise emyaka musanvu tebalabikako.

Abantu baabwe abaasigala kuno tebamanyi mayitire gaabwe, bukya bagenda tebaddanga, wadde okubawulizaako ku masimu!

David Sserunga, omutuuze w'e Kyengera attottola bw’ati ku bantu baabwe abaabulira e Dubai; Nze siri waaluganda lwa bantu abaabulira e Dubai naye nawasaayo mukyala wange Hadijah Nakabugo era y’omu ku baalugenderamu.

Nakabugo namuwasa mu 2008 era nga tulina abaana babiri abalenzi.

Mu 2011 mukoddomi wange Wahab Ssali yafuna mukwano gwe gwe tutaamanya eyamupangira n’agenda e Dubai, naye okugenda kwe yabula bubuzi ffenna tetwamanya era teyasiibula.

Bwe yatuuka eri omusajja gwe tutamanyi yakuba essimu n'atutegeeza nti Ssali yali yatuuse bulungi e Dubai era akola ssente, kyokka ye Ssali tetwayogerako naye.

Mu 2012 omuntu eyatwala Ssali yaddamu n'akubira muka Ssali ayitibwa Hajara Nabukenya essimu nti naye agenda kumunona amutwale awali bba n'abaana baabwe abasatu era nabo n'abatwala mu 2012.

Ebbanga eryo lyonna nga buli agenda tewabaawo mpuliziganya yonna n'abantu abasigadde eno okuggyako oyo omusajja abatwala yekka y'akuba essimu okutubuulira ebifaayo, naye nga buli lwe bamusaba ku bantu baabwe yeebuzaabuza nti bali bbize nnyo!

Mu 2013 mukyala wange Nakabugo yantegeeza nti mukulu waabwe Ssali yali akubye essimu nti nabo bonna aba famire abaasigala beetegeke abanona, kyokka era omusajja oyo gwe tutamanyi ye yakuba essimu okubategeeza ebyo.

Aba famire baacamuukirira ne batabuuza na bibuuzo bingi ku musajja ono wabula nga bo bafa kimu kugenda Dubai.

Nagezaako okugaana mukyala wange, nga ndaba waliwo ekitali kituufu ku musajja oyo abanona buli kaseera ne bataddamu kuwulikika, naye kyali kizibu nnyo kuba mukyala wange yali ayagala nnyo okugenda ebweru nti akole ku doola.

Nasooka ne mmulemesa n'okumwegayirira aleme kugenda naye yagaana, ng'antegeeza nti yali tasobola kusubwa mukisa guno kuba ne famire yonna yali egenda bweru.

Yantegeeza nti tujja kuba tuwuliziganya nti era bw’alikolayo ssente ezeegasa ajja kudda twezimbe.

 adinah akabugo  ku ddyo ne nnyaabwe baabula Madinah, Nakabugo ( ku ddyo) ne nnyaabwe baabula.

Nabuuzaako ku bantu abakulu n'omusumba wange mu kkanisa gye nsabira ne bahhamba mmuleke agende kuba yali asazeewo nange ne mmuleka.

Yansaba agende n'omwana waffe omuto David Mukisa Sserunga nze ne nsigaza omukulu. Aba famire bonna beekungaanya n'abaali mu bufumbo baavaayo ssaako ne nnyaabwe bonna ne basimbula okugenda ne basisinkana omusajja nti abatwale e Dubai ewali mukulu waabwe Ssali.

Bonna abaagenda tekuli yalina paasipooti, ekyasinga okuntiisa ne mbuuza mukyala wange biki bye bagenda okutambulirako, yantegeeza nti ebya paasipooti omusajja oli abatwala yabategeezezza nti byonna agenda kubikolako.

Nayagala okubiremerako nga ndaba ekyo tekisoboka, naye olw'okuba nange nali nnina obusungu bwange omukazi okusalawo okundekawo saanonooza, yali agaanye okumpuliriza ate ng’ayinza okulowooza nti ngezaako kumufiiriza mukisa gwe.

Nga August 8, 2013 mukyala wange n’abehhanda ze lwe baasitula ne bagenda basisinkane omusajja oli okwolekera Dubai ku ssaawa 11 ez'oku makya.

Baapangisa emmotoka okuva ewaabwe mu Kinaawa ne bagenda e Ntebe, wabula tewali yabawerekera kuba baali bagenze bangi kumpi bonna abaali eno Kampala nga bagenze.

Mukyala wange yankubira essimu ku ssaawa 11 ez'oku makya nti basimbudde era yaddamu okunkubira ng'antegeeza nti batuuse ku kisaawe e Ntebe ne basisinkana omwami oli abatwale e Dubai.

Nagenda okuddamu okukuba ku ssimu ye oluvannyuma lw'essaawa nga emu nga teriiko n'okukuba ku z'abalala bonna abaagenda nga nazo teziriiko.

Nasooka kutyamu ne nneebuuza nti wadde mukoddomi wange gye yagenda waliyo emirimu, naye n’asomba abantu bonna bw'atyo!

Mwalimu mukyala wa Wahab, Hajara Nabukenya eyagenda n'abaana baabwe bana okuli; Ryan, Latif, Wahab ne Wahid, mukyala wange Hadijah Nakabugo eyagenda n'omwana omu David Mukisa Sserunga eyali ow'emyaka ebiri, balamu bange basatu baagenda n'embuto buli omu kuba baava mu bufumbo gye baali baakafumbirwa ne bajja okugenda e Dubai.

Kuno kwaliko Nakato, Madinah ne Amina, kwaliko ne Kojja wa mukyala wange Womar Kiwanuka eyagenda n'abaana be babiri okwali Arafa 10 ne Sarah 7 ne maama naye n’agenda omuwendo ne guwera abantu 15 abaagenda mu famire emu! Naloopa ku poliisi y’e Kyengera ennyambeko okubuuliriza naye n’omusango tebaaguwandiika, nga bagamba nti tebalina we basobola kutandikira.

 minah babazi yafa ate mar iwanuka yabula Aminah Mbabazi yafa ate Umar Kiwanuka yabula

 

Buli agenda teri akuba ssimu

Angel Kalungi, muto wa Hajara Nabukenya mukyala wa Wahab agamba; Mulamu waffe Ssali ye yasooka okugenda olwo mukulu waffe n'abeera nga bazadde baffe be bamulabirira.

Mulamu waffe teyatukubirako ku ssimu wadde okuweereza obuyambi bwonna naye waaliwo omusajja eyakubanga essimu okututegeeza nti ali bulungi era ayagala kunona mukyala we (mukulu wange) n'abaana.

Kyokka ne be yanona tetwaddamu kubawuliza. Maama waffe omugenzi Amina Mbabazi yeekengera nga mukulu waffe naye amaze okugenda, eyali omusuubuzi e Sudan yatandika okwekengera kuba yaweerekerako ku mukulu waffe n’alaba omusajja oyo eyabatwala.

Yatugamba nti "Omusajja oyo simwesize, bwe mutunuddeko nfunye okutya alabika si mutuufu".

Wakati awo, era omussajja y'omu n'aba famire ya Ssali abalala nabo n’abanona era n’abatwala nga nabo abagambye nti Ssali abatumizza bagende bakolere e Dubai.

Omusajja oyo yaddamu n’akuba ku ssimu nga yeefudde nti ye Ssali naye ng'enjogera ye ndala ate nga n'ennamba gye yakubirangako yali y'e Kenya, si Dubai nga bwe yagamba.

Maama yatandika okunoonyereza ku mayitire ga mukulu waffe n'aba famire abaagenda, twagenda ku mukutu gwa yintaneeti kwonna ne tubanoonyerezaako naye ne tubulwa.

Maama yatandika okweraliikirira ng'agamba nti okusinziira ku mpulira n'entegeera ye, awulira ng'abantu bano bonna baali battibwa.

Olw'okweraliikirira okwo kwe yafuna yagwirwa obulwdde mangu n’afa.” Enyumba baazirekamu ab'emikwano, naye nabo tebabawuliza.

Isma Kalule, mukwano gwa Umar Kiwanuka, omu ku baagenda e Dubai agamba; Kiwanuka yali mukwano gwange nfa nfe, bwe yali agenda e Dubai yantegeeza nga mukulu waabwe Ssali bwe yali asindise omuntu abatwale nabo bakole ku ssente ennyingi eziri eri era n'ansaba nti nsigale mu nnyumba ye ngirabirire. Nga waakayitawo wiiki bbiri, omusajja yankubira essimu nga yeefudde Kiwanuka wabula bwe nzijukira obulungi eddoboozi teryali lya Kiwanuka.

 

 David Sserunga anyumya

Yantegeeza nti baatuuka bulungi e Dubai nti era bagenda kutandika okukola n’angamba nti nange mbeere mugumu bw'atereera ajja kunnona hhende e Dubai.

Tetwayogera bingi n'aggyako essimu, nasigala nneewuunya kuba eddoboozi nga si lya Kiwanuka lye mmanyi, naye ne mbireka nga mmanyi ajja kuddamu ankubire naye n'okutuusa kati takubanga ku ssimu.

Aba zadde baa fa beeraalikirivu Safina Nabuuma, muto wa Hajara Nabukenya mukyala wa Ssali, ye yasigala mu nnyumba ya Ssali okugikuuma agamba; Mukulu wange bwe yali agenda e Dubai nze gwe yaleka mu nnyumba ne maama waffe omugenzi Amina Mbabazi.

Naye naffe okuva bwe baagenda tetwaddamu kubawuliza, twakoma mu 2013 ate nga muntu oli eyabatwala y’atukubirako okututegeeza nti gyebali, bali bulungi naye nga bo tetubawulizaako yadde kati naffe ekikyamu ekibaliko tetukimanyi kuba nze bandeka mu nnyumba yaabwe naye tebankubirako wadde okumbuuza biki ebiri eno.

Maama waffe yafa tebaamanya, naye yafa yeeraliikiridde nti abaana be baafa.

Yali yaakafa ne jjajjaffe omukazi naye n’afa era naye yafa alaajana kimu nti; abazzukulu be baattibwa, embeera eno etusobedde naffe tetumanyi kigenda mu maaso.

Omusajja ayagala n'abaasigala kubatwala. Olumu twafuna essimu ku nnamba eno; +254739758427 mu 2014, omusajja n'atutegeeza nti abantu baffe gye baagenda e Dubai bali bulungi, nti wabula baagala naffe abaasigala eno kututwala tugende tubeere nabo! Bwe twamugamba abatuwe twogereko nabo n'aggyako essimu kyokka ennamba gye yakubirako y’e Kenya.

Twasigala tugikubako wabula ng'omusajja ayogera Luswayiri. Olumu omusajja oyo eyatwala abantu baffe yatukubirako essimu n’andabula nti bwe siva ku nsonga zino, nandifiirwa obulamu!

Nagendako ew’akulira ekitongole ekikola ku nsonga z’okukukusa abantu, Moses Binoga naye bantambuza okumala ebbanga ne mbivaako nga tewali kigenda mu maaso.

Kyokka Binoga yagambye: Njagala bajje mu ofiisi yange ku Mmande tutandike okunoonya.

Bajja kumbuulira engeri abantu abo gye batwalibwamu, tulabe we tutandikira okunoonyereza, era tuyinza n’okukozesa essimu eyo eyabakubiranga ne tukolagana n’ensi mwe yasinziira.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo