TOP
  • Home
  • Emboozi
  • KIWAMIREMBE: Ddala abalamagayo balabikirwa Bikira Maria?

KIWAMIREMBE: Ddala abalamagayo balabikirwa Bikira Maria?

By Scovia Babirye

Added 4th September 2017

ABANTU bangi boogera ku bifo eby’ekyewuunyo naye ensangi zino Kiwamirembe tava ku mimwa gy’abantu!

Kiwa1 703x422

Abakristu nga beegayirira mu kifo awanyinddwa nga ennimiro y’e Getesimaani.

Bya SCOVIA BABIRYE

ABANTU bangi boogera ku bifo eby’ekyewuunyo naye ensangi zino Kiwamirembe tava ku mimwa gy’abantu!

Ate Pulezidenti Museveni bwe yagenzeeyo omwezi oguwedde okulamaga ne lukoya, nga bagamba nti naye yagenze yeefunire ku maanyi ag’enjawulo agali ku lusozi luno.

Ekiri ku mimwa gy’abantu kwe kuba nga Biikira Maria yatandise okulabikirayo, naye ddala kituufu?

Maanyi ki agaliyo agalaga Bikira Maria era abagamba nti bamulaba abalabikira mu ngeri ki?

Bw’oba ogenda e Kiwamirembe, oyita Kajjansi n’oyambukira ku katale.

Bw’otuuka ku kkubo eryambuka ku Klezia amaaso ogasookeza ku kipande ekisoma nti, ‘Our lady Queen of Peace Kiwamirembe Catholic Shrine’ ekikulaga oba okkuwa essuubi nti gy’ogenda mirembe gyereere.

 madaala abantu ge balinnyalinnya okugenda okwegayirira e iwamirembe Amadaala abantu ge balinnyalinnya okugenda okwegayirira e Kiwamirembe.

 

Bw’oba oyambuka okutuukira ddala mu kifo kino, olusozi oluliwo n’abeebidduka abamu balutya obuwanvu n’okuseerera.

Bw’oba otambudde butambuzi oteekeddwa okuba ne sitamina, ng’enjogera y’abavubuka bw’eri.

Bangi abalwambula bagenda boogera ebigambo nti ‘Maria linnya’, bibawe amaanyi okumalako era w’otuukira waggulu ku klezia ddala oba olamaze bulamazi!

Ng’otuuse mu luggya lw’ekifo kino, bwe weetegereza obulungi oyinza okugamba nti kiri mu makkati g’ekibira.

Ebukiikakkono eriyo ennyumba enyirira nga zzaabu, ebuvanjuba olaba ekkubo eriyita mu miti emiwanvu emingi mu makkati nga likkirira ewala ddala ate bw’ogazza e bugwanyuba n’olaba oluguudo oluwanvu ennyo nga lwambuka olusozi oluwanvu ddala nga nalwo era luli mu makkati ga miti nga lugobererwa ebifaananyi ebiraga okubonaabona kwa Yezu Kristu.

Weebuuze nti amakubo gano gonna gaggweera wa era waliyo ki?

Ennyumba enyirira ennyo nga zzaabu bwe weetoloola n’olinnya amadaala ng’ayingira ku mulyango w’osanga abantu nga bafukamidde beegayirira Biikira Maria abayambe naye buli omu mu kasirise era wano we wali ekifaanayi kya Biikira Maria.

Abantu beeyiwa buli kiseera nga basaba ewa Maama Maria era awo tewaggwa bantu, mu maaso gaayo we wasabirwa emmisa eya buli lunnaku.

Ebuvanjuba bwe nnatambudde ne mpita mu kkubo eryo nga ntyanamu gye lyaggweereddeko gye nnasanze ekifaananyi nga kuliko abantu abafukamidde abasaba era bwe nnabuuzizza Bwanamukulu w’ekifo kino, Fr. Edward Kabanda yaηηambye: Eno gye tuyita ennimiro y’e Getesimaani, etujjukiza Yezu ng’ali mu nnimiro nga tannaba kugenda gye baamukwatira nga bwe tulaba mu Matayo 26;36, Makko 14:32 ne mu Lukka 22:29-46 Yezu bwe yali agenze okwegayirira Katonda ng’ayagala okwagala kwe kumweyoleke mu nnimiro eyo gye yagenda.

 kipande ekikuwa essuubi nti e iwamirembe gyolaga yensibuko yemirembe egyolubeerera Ekipande ekikuwa essuubi nti e Kiwamirembe gy’olaga y’ensibuko y’emirembe egy’olubeerera.

 

Kati naffe twagiteekawo nti abantu abatasobola kugenda mu nsi ntukuvu e Yerusaalemi bajje wano beegayirire nga Yezu bwe yakola era kye kiruubirirwa ky’ennimiro eno. Waliwo n’essaala oyo yenna asabirawo gy’asoma nti, ‘’Mukama nzigyako eky’okubonaabona nga ggwe bw’oyagala so si nga nze bwe njagala oba bwe nsalawo.’’

Ate bwe twatambudde ne tudda ku ludda olw’ebugwanjuba, twalinnye olusozi oluwanvu naye nga neesunga kimu kumanya kiri gye luggweerako.

Bwe twalumazeeko twasanze amadaala amawanvu era twagalinnye nze ne ntuuka ekiseera ne nkoowa.

Faaza n’aηηamba nti nga bw’olaba bw’okooye ne Yezu bwe yakoowa ng’alinnya amadaala okugenda ewa Piraato okumusalira omusango era ekigendererwa kyago kutujjukiza amadaala 28, Yezu ge yalinnyako ng’agenda ewa Piraato.

 ude ukenya ajjansi Jude Bukenya,- Kajjansi.

 

Kino kituyamba okwongera okwegayirira nga twebuulirira ku kubonaabona kwa Yezu Kristu kwe yayitamu ng’agenda okumusalira omusango.

Gano tugatwala nga tugenda okwegayirira atukwatirwe ekisa bw’aba atulamula abeere waakisa era buli agendayo agalinnya afukamidde nga bw’asaba nti, ‘’Yezu bw’oba onnamula nkwatirwa ekisa’ nga bwe kiri mu Matayo 27:11 ppaka bwe twatuuse ku kifaananyi kya Yezu kiri galikwoleka waggulu ddala, kati gano gayamba oyo yenna atasobola kugenda Yerusalemu alinnye gano nga bwe yeegayirira.

Bwe twavudde eyo ne tudda ewa Maria, ne wano Fr. Kabanda era yannyonnyodde: Ekigendererwa kya Maama Maria ono ,ffe ffenna okumwekwata nga twegayirira Mukama waffe atuwe emirembe, obutabanguko obuli mu maka ne mu nsi okutwaliza awamu buggweewo kuba ye yatuzaalira Yezu ow’emirembe era y’ensonga lwaki abantu bamweyunira nnyo kuba banoonya mirembe.

Wano we waava erinnya lya Klezia eno ‘’Queen of Peace ‘’kuba ekigendererwa kyayo kusabira mirembe mu nsi yonna naye nga ffe mu kifo kino tukyali ku ddaala lya kwegayirira, tetunnatuuka ku ssa ligamba nti kino kyalabise kuba tetunnafuna bubaka bwonna bulaga nti oba Maria agenda kulabika kubanga tava mu bbanga na’alabika.

Bwaba anajja ategeeza ekimuleeta era abeerako omuntu gw’alonda n’amutegeeza nga bwe yalonda Natalia e Kibeho mu Rwanda n’amutegeeza naye obubaka obwo bubeera bufaanana n’ebiri mu Baibuli, okugeza yagamba nze maama wa kigambo e Kibeho.

Biikira Maria bw’aba asazeewo okulabika ye yeesalirawo ngeri ki gy’alabikiramu naye ebiseera ebisinga bw’asalawo alabikira ddala ng’omuntu yennyini nga bwe yalabikira abaana e Fatimah mu ttuntu ne bamulabira ddala.

Okulabika kwa Maama kubeerako obubaka naye tannaba kutulaga bubaka bwonna nga e Kibeho yagamba nti, ‘Baana bange munzimbire wano musome ne ssappule ey’ebibonoobono omusanvu’. Ssappule eno eraga Maria bye yayitamu ebitujjukiza okubonaabona kwe n’okwa Yezu.

 

Mu kitabo ky’Okubikkulirwa 12:1, Yoanna Katonda yamubikkulira ekiri mu Ggulu, ayogera ku Maria eyamulabikira ng’ayambadde emmunyeenye 12 ku mutwe ng’ali lubuto era awo we tutandikira okugamba nti Maria ali mu Ggulu kati n’abo abagamba nti balaba Biikira Maria balinga Yoanna.”

‘Kiwamirembe kifo kya kwegayirira nga twegayirira Omukama abantu bafune emirembe mu nsi ne mu maka era buli yenna agamba nti yalaba Maama Maria ekyo akyogera ku lulwe so si ng’ekifo era Klezia tennabaako ky’ekakasa nti Maria yalabikira e Kiwamirembe.’’Fr. Edward Kabanda bw’agamba.

Era waliwo n’abagamba nti ku Lwokutaano olutukuvu baalaba Yezu omusaasizi mu njuba ng’ali mu wositiya naye era ffe nga Klezia tetunnakikakasa naye era tetuyinza kugamba nti tasobola kulabika kuba amaanyi gasinziira ku ssaala omuntu gy’awanjaga eri Katonda naye wano e Kiwamirembe tetunnatuuka kulabikirwa, tukyali ku ddaala lya kwegayirira.

Wano tukkiriza buli kikula kya muntu n’enzikiriza zonna era ababeera baagala okusulawo tubakkiriza okumala ennaku mwenda ne tubabuulirira ne badda ewaabwe .

Tetukkiriza muntu yenna kusaba ng’aleekaana oba ng’awoggana, ebya wano bya kasirise buli omu mu mwoyo gwe. Kino twakiggya ku Makko 9; Yezu bwe yali ku lusozi nga yeegayirira yekka nga tewali kiwoggana.

Naffe kino kituyamba okwebuulirira ku kwagala kwa Katonda mu bulamu bwaffe n’okunyumya ne Katonda kuba essaala ebeera ya mu mutima gwo.

ABALABIKIDDWA

Nze Stephania Nakaaki, Kansanga;

Nakoma okusoma mu P.7 ne seeyongerayo wadde okusoma ebyemikono naye mu 2004 lwe nnatandika okujja wano nga nfa kimu Biikira Maria annyambe nfuneyo omulimu gwe nsobola okukola.

Namala ebbanga nga neegayirira naye mu March wa 2009, Mukama amagezi ge namala ebbanga nga mmusaba yagampa nga tuli na mu kisiibo era nafuna nnyo omwoyo gw’okuyiga okutimba era ne neeyigiriza nzekka nga ngezeseza ku woolotaali .

Okuva olwo siddangako mabega era buli mmisa oba omukolo ogubeera wano n’e Masaka ewa Fr. Ngobya nze mutimbi waayo ne Pulezidenti bwe yakyala era nze natimba ate nga kati n’emikolo mingi nnyo gye bampa emirimu ne mbatimbira ate nga minene.

Nze sirabangako ku Maama Maria wadde ne Yezu naye kye nnafuna nga ntandika olugendo lw’okutimba nnali nfukamidde ewa Maama Maria ne mpulira eddoboozi nga limbuuza nti ‘’Wansaba amagezi wali onkoledde ki ?’’

Era awo natandikirawo ne ssente entono ze nalina naye kati ne kapito yawera dda.

Wano e Kiwamirembe bw’osaba ng’olina obugumiikiriza n’okukkiriza ofuna era kati nze wano waafuuka hanemuunu yange.

 

Jude Bukenya ow’e Kajjansi

Nze wano we nasookera okulaba ekyamagero ky’okulaba ku Maama Bikira Maria ku Lwokutaano olutukuvu mu njuba ng’obudde bwa lwaggulo.

Maria yalabika ng’ayanjadde emikono ne Yezu ow’obusaasizi ku mabbali ge n’embeera y’obudde n’ekyukirawo era natunula mu njuba okumala eddakiika nga 50 naye ng’amaaso tegaalinaako buzibu bwonna bwe gaafuna ,naye nakyewuunya nnyo kuba nze nali sikirabangako.

Wano nze era sijja kukoma kutenderezaawo kubanga Maria yanfunirawo n’omukyala omulungi ate omugumiikiriza mu buli kimu okuva mu kkwaaya ya klezia.

Okumanya nga ebya wano byewuunyisa oli omukyala teyanneetoolozaako wadde era yantwala n’ewaabwe, kati tutegeka kwanjula na kufuna bufumbo butukuvu nga September 15.

Embeera zange zonna zaakyuka, omulimu gwatereera , amaka gange gali bulungi kale nze sirina kye neevuma wabula okusiima obusiimi buli kimu Maama Maria ky’ankoledde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?