TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Omuyaga gukubye Abamerika ne gubafukamiza

Omuyaga gukubye Abamerika ne gubafukamiza

By Musasi wa Bukedde

Added 6th September 2017

ABAMERIKA mu ssaza ly’e Texas ne Louisiana, ge bakaaba ge bakomba olw’omuyaga ogw’amaanyi ogubagoyerezza wiiki bbiri ne gubaleka nga bafumbya miyagi.

Mataba3 703x422

Amataba nga ganjadde mu nguudo ng’abantu bakozesa maato okutuuka mu mayumba gaabwe.

Bya MUSASI WAFFE

ABAMERIKA mu ssaza ly’e Texas ne Louisiana, ge bakaaba ge bakomba olw’omuyaga ogw’amaanyi ogubagoyerezza wiiki bbiri ne gubaleka nga bafumbya miyagi.

Omuyaga guno ‘Hurricane Harvey’, ogufukamizza Abamerika ku maviivi gwatandika nga August 13, 2017 nga gwasimbuka ku lubalama lw’oguyanja Atlantic mu West Afrika okumpi ne Senegal.

 ano baasobeddwa eka ne mu kibira ngabamu baagala na kukaaba Bano baasobeddwa eka ne mu kibira ng’abamu baagala na kukaaba.

 

Gwatandiikiriza mpolampola nga gukunta ku sipiidi ya mayiro 40 buli ssaawa ne guyita mu mawanga ag’ebizinga eby’e St. Lucia, Barbados, St. Vincent Grenadines ne gutuuka mu Caribbean Sea ne Gulf of Mexico nga August 22, 2017 nga gwongeddemu sipiidi.

Nga August 23, 2017 lwe gwatuuka mu ssaza ly’e Texas. Gwali gwongeddemu amaanyi mu kukunta nga guli ku sipiidi ey’obulabe ya mayiro 130 buli ssaawa era bwe gwegattamu enkuba ekyaludde okutonnya mu Amerika, ne gujabagira!

 mu ku badduukirize ngaweese omukazi okumuyisa mu mataba Omu ku badduukirize ng’aweese omukazi okumuyisa mu mataba.

 

Okuva August 23, n’okutuuka eggulo ku Lwokubiri, ze wiiki nga bbiri, omuyaga Harvey kye gukoze Abamerika mu ssaza ly’e Texas ne Louisiana, nkoko baana.

Ebibuga eby’omulembe, eby’ebbeeyi era ebiyooyoote obulungi byonna byabulidde mu mazzi, amayumba g’abantu ago gaakulukuse n’enkuba ey’amaanyi ennyo ebadde telabwangako mu Amerika mu myaka 12 egiyise.

 baana baabatuuzizza mu bbaafu ne baseeyeeyeza ku mazzi okwetegula ekibabu Abaana baabatuuzizza mu bbaafu ne baseeyeeyeza ku mazzi okwetegula ekibabu.

 

Ebintu ebyayonooneddwa omuyaga Hurricane Harvey bibalirirwamu doola obuwumbi 75 eza Uganda obuwumbi 270,000.

Amaka agasoba mu 20,000 gaasanyiziddwawo ng’abantu nga 30,000 baasigadde tebalina we beegeka luba.

 no omwana baamwebasizza ku kasolya kennyumba ne bamubikka ettundubaali Ono omwana baamwebasizza ku kasolya k’ennyumba ne bamubikka ettundubaali.

 

Abantu abaafa bali 66 kyokka omuwendo gusuubirwa okulinnya olw’omuyaga omulala ogujja oguyitibwa ‘ Hurricane Irma’.

Omuyaga Hurricane Irma gusuubirwa okugoyagoya amasaza okuli Florida , North Carolina n’amalala mu nnaku ntono ezijja era abantu baatandise okwetegula amaka gaabwe olwekyo kye baalabye e Texas ne Louisiana.

Pulezidenti Donald Trump yasabye Palamenti ya Amerika ddoola obuwumbi 7 n’obukadde 900 (eza Uganda obuwumbi 28,440) , zisooke zeeyambisibwe mu kudduukirira abantu abaakoseddwa omuyaga e Texas ne Louisiana .

 basajja nga basindika mmotoka yaabwe okugiggya mu mazzi Abasajja nga basindika mmotoka yaabwe okugiggya mu mazzi.

 

Omuyaga oguzze gugoya ensi

April 30-31, 1991.

Omuyaga ogw’amaanyi ogwakunta e Bangladesh okumala ennaku bbiri gwatta abantu 131,000 n’okutaataaganya abalala obukadde mwenda ne gusaanyaawo n’amayumba gaabwe.

Bangi ku bantu obukadde omwenda abaawona okuttibwa ate baafa ndwadde nga kkolera n’ekiddukano.

musajja ngasitudde embwa ye beetegula ekibambuliraOmusajja ng’asitudde embwa ye beetegula ekibambulira.

 

August 29, 2005:

Omuyaga ‘Hurricane Katrina’ gwagoya essaza ly’e New Orleans mu Amerika ne gutta abantu 1,833 n’okutaataaganya 500,000 abaasigala nga bafumbya miyagi

March 27, 2011;

Omuyaga nga gulimu ne musisi oguyitibwa Tsunami gwayita e Japan abantu kumpi 30,000 ne bafa e Fukushima.

Emirambo 10,668 gye gyazuulibwa, abantu 16,574 n’okutuusa kati tebamanyiddwaako mayitire

 mataba nga gasazeeko ekibuga nenguudo zonna zijjudde amazzi Amataba nga gasazeeko ekibuga n’enguudo zonna zijjudde amazzi.

 

December 18, 2012:

Omuyaga gwayita mu Philippines ne gutta abantu 1,987 n’okusengula abasoba mu 100,000 .

December 26, 2004:

Omuyaga Ssemayaga nga gulimu ne musisi gwakunta okuva mu Gguyanja Indian Ocean ne gukuba amawanga 14 okuli: Indonesia, Sri Lanka, Buyindi, Thailand, Maldives, Malaysia, Madagascar, Somalia, Kenya, Tanzania ne South Afrika ne gutta abantu abasoba 280,000 n’okusaanyawo ebintu ebibalirirwa mu butitimbe bwa ssente.

 musajja ngasitudde mukyala we ne bbebi abayisa mu mataba Omusajja ng’asitudde mukyala we ne bbebi abayisa mu mataba.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba...

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba okuwangula

Deb2 220x290

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku...

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku ky’ebifaananyi Ekisiibo lwe kitandika

Fut2 220x290

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya...

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya mu minisitule n’ebitongole byayo

Tip2 220x290

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka...

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka ne kkooti ya LC III

Hop2 220x290

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo...

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo n’Omulangira