TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Effujjo erizze likolebwa aba boda boda 2010

Effujjo erizze likolebwa aba boda boda 2010

By Musasi wa Bukedde

Added 13th October 2017

Godfrey Mubiru akyalaga enkovu oluvannyuma lw’okukubwa abavubuka b’alumiriza okubeera aba boda boda 2010.

Jamilkiragga 703x422

Jamil Kiragga agambibwa okukubibwa aba bodaboda 2010 bwe yali n’abayizi ba Winterland Primary School.

BYA KIZITO MUSOKE, ALI KIZZA, DEO GANYANA ne VIVIEN NAKITENDE

BW’OWULIRIZA ebyogerwa ku kibiina kya Boda Boda 2010 omuli; okulwanyisa be bavuganya nabo, okulemesa kkooti okuwozesa emisango, okulemesa KCCA okuwandiisa boda boda, ne poliisi okulemwa okubakolako oolaba nga kino kisinga ku kuba ekibiina obubiina ekya boda boda.

Godfrey Mubiru avugira ku Samona siteegi e Nateete akyalaga enkovu oluvannyuma lw’okukubwa abavubuka b’alumiriza okubeera aba boda boda 2010.

Yagambye nti, nga June 17, 2016 ku ssaawa ssatu ez’ekiro omusajja yamupangisa okuva ku siteegi amutwale ku Ssekabaka okuliraana ewa Loodi Meeya.

Kyokka olwali okuyimirira abavubuka basatu ne bava mu nsiko ne batandika okumukuba nga bwe bamubuuza lwaki yali mu kibiina kya Century Boda Boda Association.

Alumiriza nti abavubuka bano bwe baalaba nga takyavaamu kigambo ne balowooza nti afudde ne badduka.

Abazirakisa baamutwala e Mulago mu ddwaaliro era bwe yavaayo n’aggulawo omusango ku poliisi ya Old Kampala oguli ku fayiro nnamba SD 23/18/06/2016.

Wadde ng’abaamukuba bonna yali abamanyi era nga yaboogera n’amannya, kyokka Muhammad Kirumira eyali aduumira poliisi ya Old Kampala yakimugamba kaati nti abaamukubye balina emirandira minene era tebakwatibwako. 

Yatambula mu ofiisi eziwerako ne batuuka ewa Gen. Salim Saleh eyabayita okubatabaganya, kyokka era temwavaamu kalungi.

 

Edrine Akankwasa agamba nti, mu 2016 abavubuka ba 2010 baamusanga Busega ku Kasumba Square ne bamukuba bubi ne densite y’eggwanga ne bagenda nayo.

Baamulanga butabeera na kaadi yaabwe, kwe kutandika okumukubisa batuuni.

Ibra Kasanga: Nze bankubira ku lw’e Masaka nayimirira okuteekako omuntu ne bambuuza kaadi yaabwe nga sigirina kwe kunkuba.

Tebaakoma okwo baakwakkula akalabirwamu ku pikipiki yange ne bagenda nako.

Sula Lubega: Nkubiddwa abavubuka ba 2010 enfunda eziwera wabula ensonga ezizze zinkubya kutandikawo kibiina kigatta aba boda ekya Century kye baalowooza nti kigenda kubamalako emirimu.

Twatandika ekibiina nga tukooye okutulugunyizibwa bannaffe abo. Nakubwako olumu ne ntuuka nokuzirika naye nga bankuba poliisi eri awo etunula kubanga n’omuserikale omu omukyala gwe nagenda naye ku woofiisi yaabwe e Wakaliga baamuyisaamu empi.

Naggulawo omusango ku CRB 122/16 tewali yali akwatiddwa kuvunaanibwa.

Batte Sam; Bankuba ne ntuuka n’okuweebwa ekitanda okumala wiiki nnamba nga simanyi biri ku nsi. Baatwala pikipiki yange, era bwe nagenda okugikimayo ne bankuba bubi. Omusango gwaggulwawo ku fayiro SD 35/19/08/2016 naye tewali yakwatibwa.

Lubega yagambye nti akabinja kano kalina abakubi b’emiggo n’okutulugunya era abamu ku bano kuliko; Kasim Masembe, Huzairu Kiwalabye, Ephraim Mugisha, Seezi Tumwesigye, Deo Yiga, Alex Bukenya, Godfrey Bukenya yakazibwako (Tanka), Joseph Ssemwanga (Bigigi), Ssaalongo Ndugga Rayan, Vincent Semanda n’abalala bangi.

Abavuzi ba Bodaboda mu munisipaali y’e Kawempe baakedde kwekalakaasa nga bawakanya akabinja ka Boda Boda 2010 akakulirwa Abdalah Kitatta okubatulugunya n’okukwata piki piki zaabwe buli kiseera.

Baagambye nti bwe baamala okubakuba baabaggyako pikipiki zaabwe ze baatwala ku ofiisi zaabwe e Makerere Kikoni.

Okugiggyayo obeera olina okusasula emitwalo 10 ekitono ennyo. 

 ba bodaboda nga balaga kaadi zekibiina kya 2010 Aba bodaboda nga balaga kaadi z’ekibiina kya 2010.

 

Abdul Karim Musaasizi omu ku baakubwa akabinja kano nga ne kati akyanyiga biwundu yategeezezza nti baamusanga ava Bwaise ng’adda ku siteegi y’e Kawempe ku ttaano ne bamuyimiriza ne bamubuuza ebimwogerako.

Kyokka yali tannaba na kubiggyayo ne batandika okumukuba n’okumukulula ku koolaasi nga nakati akyanyiga biwundu.

Wadde yawaaba ku poliisi baamugamba kimu bateese addizibwe pikipiki ye kyokka era baamusaba ssente wadde nga baali bamukubye.

Wadde nga poliisi ng’ekulembeddwaamu agikulira e Kawempe, Adord Ampiire yagezezzaako okubakkakkanya naye baasigadde beewera nga bagirumiriza okukolagana nabo kubanga ne bwe batwala okwemulugunya kwabwe gyeri tewali kyekolawo .

Abraham Bbaale, omuserikale eyali ku mmotoka eyali etambuza abayizi ba Winterland Primary School e Busega akyalojja engeri abavubuka gye baamukuba wadde nga yabalaga kaadi ekakasa nti muserikale.

Peter Mandela, ssentebe wa siteegi ya Boda boda ku kisaawe e Wankulukuku, yagambye nti aba 2010 bwe baabalumba mu lukiiko lwabwe olwa SACCO kyamwewuunyisa okuloopa kyokka ne batayambibwa.

Ensonga yazitwala ewa minisita wa Kampala Beti Kamya ne Deborah Mbabazi amyuka RDC we Lubaga kyokka n’atayambibwa.

Gerald Lukwago, ssentebe wa boda boda siteegi emu mu Lubaga, yagambye nti y’omu ku baatulugunyizibwa aba boda boda 2010, balina kaadi za siteegi ze bagaba naye ne kakutanda n’eggwaako nga tonnagendayo bakukwata nga mubbi wa nkoko.

Balina amakomera gaabwe mwe basibira be batakkiriziganya nabo.

Paul kyalimpa; “Bankuba emiggo ne pikipki yange yonna ne bagyonoona na kati ekyagongobadde, era ku olwo pikipiki z’abaana ezisukka mu nnya zabbibwa.

Baatulugunya abavuzi ba boda boda, okukusaba kaadi ya boda boda, bawambye pikipiki z’abaana nyingi era bazirina.”

Jamil Kiragga yakubwa abavubuka ba boda boda 2010 era ali mu bulumi obutagambika. Abasawo baamugambye nti alina kulongoosebwa olw’omusaayi ogwesiba mu mutwe naye tebalina ssente.

Kiragga ajjanjabirwa wa ssenga we Bitijjuma Namiiro e Kawempe Ttula. Yeetaaga obukadde bubiri okusobola okulongoosebwa wabula nga ssente zino tazirina ate nga yeetaaga okukolebwako mu bwangu okusobola okussuuka addemu okulabirira famire ye.

EFUJJO ERIZZE LIKOLEBWAABA BODA BODA 2010

Ku Lwokusatu nga July 13, 2017, omubaka Waira Kyewalabye (Bunya East) yeemulugunya mu Palamenti ku kibiina kya Boda Boda 2010 ekyali kisusse okutwalira amateeka mu ngalo.

Yakiggya ku ngeri ekibiina kino gye kyali kirumbye bannaabwe aba Century Boda Boda Assocaition ne kibagumbulula nga bali mu lukiiko lwabwe olwa SACCO.

Ekyasinga okumwewuunyisa kwe kuba nga poliisi bwe yajja yalemwa okubakwata, wadde nga baali bakubye baannaabwe emiggo n’okuboonoonera piki piki.

Obiga Kania, minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu ggwanga yategeeza Palamenti nti ekibiina kya Boda Boda 2010 tekiri waggulu wa mateeka.

Yasaba buli muntu eyali atulugunyiziddwa ekibiina ekyo aloope mu b’obuyinza.

Yategeeza nti okulwana okwaliwo kwaddirira poliisi okuwa amagezi aba Century Boda Boda Association okusooka okufuna olukusa okuva ku poliisi basobole okubawa obukuumi ekintu kye baagaana. Aba Century bwe baali batuuzizza olukiiko lwa SACCO yaabwe, baalumbibwa aba Boda Boda 2010, kyokka poliisi n’ebalemesa, olukiiko ne lusasika.

Yategeeza nga poliisi bwe yali ekyakola okunoonyereza nga kyali kizibu okusalira ekibiina kyonna omusango ng’okunoonyereza tekunaggwa. l Gye buvuddeko ekitongole kya KCCA kyafuna obuzibu oluvannyuma lw’okulangirira okuwandiika boda boda zonna mu Kampala.

Kyokka ekibiina kya 2010 ekigambibwa nti kyayambibwako poliisi kyalemesa KCCA okuwandiika. Baatandika okukuba bannaabwe abaali basazeewo okuwandiisa pikipiki zaabwe.

Owa boda boda akolera ku Namirembe Road ataayagadde kumwatuukiriza mannya yagambye nti aba Boda Boda 2010 baawamba boda boda ye ne bagiteeka ku poliisi ya Old Kampala gye yagiggya oluvannyuma ng’amaze okusasulayo ssente.

 Mu August wa 2016 ekibinja ky’abavubuka abeeyogerako nga aba boda boda 2010 baalumba kkooti y’e Makindye, Gen. Kale Kayihura gye yali ayitiddwa okwennyonnyolako ku bikolwa by’okutulugunya abantu.

Baaziba emiryango gyonna egiyingira kkooti nga bakutte ebipande nga bwe bagamba nti Kayihura ku bintu byakoledde ensi tayinza kutwalibwa mu kkooti.

Baali bagajambudde ne Loodi Meeya Erias Lukwago. Era wadde poliisi yaliwo, kyokka yali ebatunuulidde era teyasobola kubagobawo, okutuusa lwe baalemesa kkooti okutuula.

 bdullah itatta Abdullah Kitatta

 

Ffe tetukola ffujjo - Boda Boda 2010

Joel Kibirige, akulira 2010 mu Lubaga, yagambye nti talina ky’ayinza kunnyonnyola ku byabaddewo, kuba Bukedde yabadde abawandiiseeko bubi.

Atanansi Kafeero, akulira 2010 mu Kampala Central yagambye nti kye yalabye tewali muyizi yenna yakubiddwa nga bwe byogererwa.

Yagambye nti, abalala abaakubiddwa poliisi esaanye enoonyereze era gwe banaasanga nga yabadde mukyamu avunaanibwe. 

Nnina obuvunaanyizibwa okukuuma poliisi–Kitatta

Okusinziira ku ggulire eryafulumira mu New Vision mu August wa 2016, Abudallah Kitatta omuyima wa Boda Boda 2010 bwe yabuuzibwa gy’ajja amaanyi mu by’akola yategeeza nti; “nnina obuvunaanyizibwa okutaasa omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura n’ekitongole kya poliisi kyonna okulaba nga tebalumbibwa mulabe yenna.

Ne bwe nfiira wano nnina bakitatta abawera 1000 abasobola okutaasa Gavumenti eno”.

Bwe yabuuzibwa ku by’okulumba kkooti yagambye nti abantu abakola emirimu gya nnakyewa be baali beekozeemu omulimu.

Yagamba nti wadde teyaliiyo ng’omuntu, kyokka yali wamu nabo mu mwoyo era n’awolereza nti ekyali kikoleddwa tekyalina buzibu kuba Kayihura akoleredde nnyo eggwanga.

Ku bigambibwa nti ekibinja kyakulembera kya bamenyi b’amateeka, yategeeza nti ye ng’omuwagizi w’ekibiina kya NRM, yayingira mu boda boda ng’abakolamu omulimu bawagire Gavumenti.

Ku bigambibwa nti bakuba abantu yagamba nti aba 2010 bwe balumbibwa babeera balina okwerwanako okutuusa ow’amaanyi lw’awangula.

Kitatta yavumirira n’enkola ya Gen. Henry Tumukunde gye yali atandise okutegekera aba Boda Boda.

Yalabula nti omuntu k’abeere minisita oba Genero, talina buyinza kumala gawa biragiro ku nzirukanya ya boda boda mu kibuga.

Yalabula okukola ku kibinja kya Century Boda Boda Association nga bw’azze akola ku bubiina obulala obuzze bumerukawo.

Yagambye nti ebibiina bino byali bikoleddwa obubiina bwa bamafia.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Myu 220x290

Akatale k’obumyu kagguse

OBUMYU kimu ku bintu ebirimu ssente wabula abalunzi abamu bagenze babuvaako okubulunda olw’akatale akatono bwe...

Rolls1 220x290

Isaac Nasser yeeyiyeemu Rolls Royce...

ABAVUBUKA batandise okwetegekera amasappe ga Ssekukkulu. W’osomera bino g’omuvubuka Isaac Nasser ayingizzaawo...

Rolls1 220x290

Isaac Nasser yeeyiyeemu Rolls Royce...

ABAVUBUKA batandise okwetegekera amasappe ga Ssekukkulu. W’osomera bino g’omuvubuka Isaac Nasser ayingizzaawo...

Golola1 220x290

Golola akoze omubiri n’atiisa abawagizi...

OMUKUBI w’ensambaggere Moses Golola ‘Of Uganda’ kuno okutendekebwa kwaliko kwandimufuula omulema.

Ssape1 220x290

Ab’e Kamuli baliko DPC ow’amasappe...

Naye bw’aba agenda ku mikolo naddala nga guliko abanene alina engeri gye yeesabikamu n’afanaanira ddala Sam Omala...