TOP

Mukama yanvuba mu nnyanja eyali emmize

By Musasi wa Bukedde

Added 26th November 2017

Omugoba w’eryato yalagira tutandike okusuula embaawo, Amanda n’ebyennyanja mu mazzi tuwewule eryato kyokka omugagga nnyini lyato era nnyini bintu bino yagaana n’atiisatiisa okusuula mu nnyanja omuntu yenna gwe katanda n’asuulayo wadde ekyennyanja ekimu.

Nyanja1 703x422

Walukeita atenda Mukama bwe yamunnyulula mu nnyanja nga Yonah.

Bya PADDY NSOBYA

PETER Walukeita, musawo akebera omusaayi mu ddwaaliro lya gavumenti erya Mpunge Health Centre III e Mukono.

Musajja mubuulizi wa njiri mu kibiina ky’abavubuka ekya Bethesda Ministries mu Lutikko y’Obulabirizi bw’e Mukono ate era mwegayirizi.

Okujeema okusaba kaabula kata akugulemu obulamu era mu ntaana eyiye baasimbamu kitooke eryato bwe lyabayiwa mu nnyanja Nalubaale banne abasoba mu 14 ne bafa, kyokka ye Mukama n’amubikkako akasubi.

Ne ku ssaawa ya leero akyejjusa obujeemu obwamutuusa ku kibambulira kino omwafi ira n’abantu so ng’osanga bandiwonye ssinga yagondera Katonda n’asaba ng’eryato terinnasimbula.

Anyumya engeri Mukama gye yamusena ku ntobo y’ennyanja eryato gye lyamuyiwa:

“Abooluganda Yesu yeebazibwe nnyo. Katonda mulungi kuba buli kiseera atukolera ebikulu ebitatugwanira olw’obujeemu bwe tubeera nabwo mu mitima.

Mukama mmutenda obudde bwonna era mmwebaza kuba yamponya okufiira mu nnyanja Nalubaale mu 2012.

Ku ntandikwa ya 2012 disitulikiti y’e Mukono yampa omulimu mu bizinga by’e Kkoome ku ddwaaliro. Nga ndi eyo eby’omusaala gwange byaggyamu emigozoobano ne nsalawo okulinnya eryato okugenda ku kitebe kya disitulikiti ndabe obuzibu we buva.

Buli lunaku nga sinnagenda ku mulimu nsooka kusaba ne bwe mba ηηenda kutambula nsooka kusabira lugendo Mukama antambuze bulungi.

Ku lunaku luno olw’akabenje simanyi kyandiko kuba olwazuukuka nakwata bukwasi kasawo kange ne nnessa mu ddene.

Mba ndi ku mwalo, eryato ne ligoba. Lino lyali ddene nga likubyeko embaawo ezijjuza loole, ensawo z’amanda kungulu, ebyennyanja n’abantu.

Mba sinnalinnya, muli mu mutima ne mpulira ekirowoozo nga kiηηamba nti tewasabye ng’ogenda okutambula, kyokka saakifaako.

Nafuna ekirowoozo ekirala nga kiηηamba nti sabira olugendo luno, kyokka natya okusaba nga ntya abantu okundaba.

Obudde bwali bulungi ku nnyanja nge teri mpewo era nga tosuubirayo kabi konna. Ku lyato kwaliko abasajja abaali bawakanira omupiira gwa Arsenal ne Man U, abo ne mbeegattako eby’okusaba ne mbyerabira.

Ku lyato twali tuwerako abantu 40 era lyasimbula ne twolekera omwalo gw’e Kiziru.

Mu kulaba okwangu lyali litisse kabindo era abantu nga 20, baalina okuvaako balinde eddala. Kyokka olw’okuba lyali lya maanyi nga ne nnyiniryo atugumya nti erirye lya maanyi tetweraliikirira.

Twatuuka ku mwalo gw’e Kimi nnyiniryo n’ayongerako ebyennyanja. Ku luno nawulira

Omwoyo ng’aηηamba nti va ku lyato lino osigale wano kyokka olw’emboozi gye twalimu, ebyo saabifaako ne lisimbula.

Twamala essaawa nnya nga tuseeyeeya naye tuba tubuzaayo mayiro emu tugobe era nga we tulaga tulengerawo, emberenge n’egaga.

 

OMUYAGA GUTULUMBA

Omuyaga ogw’amangu ate ogw’amaanyi gwajja amayengo ne gasituka n’ebire ebikwafu ne bikwata obudde ne bubeera nga obugenda okuziba ate ne wasitukawo n’olufu nga tolaba bulungi biri wala.

Eryato amayengo gaaliremesa okweyongera mu maaso ne litagalira mu kifo kimu ng’omugoba bw’alwana okulivuga lyeyongereyo.

Amaaso gaatumyuka ne tulaajana, omugoba n’atulagira buli omu asabe Katonda we kuba akabi kaali kalabise ng’omuyaga gusukkiridde amaanyi ga yingini z’eryato olw’obuzito bwe lyali lyetisse.

Yali yaakakiggya mu kamwa yingini emu n’ezikira waayita mbale n’eyookubiri nayo n’ezikira.

Omugoba w’eryato yalagira tutandike okusuula embaawo, Amanda n’ebyennyanja mu mazzi tuwewule eryato kyokka omugagga nnyini lyato era nnyini bintu bino yagaana n’atiisatiisa okusuula mu nnyanja omuntu yenna gwe katanda n’asuulayo wadde ekyennyanja ekimu.

Yalagira omugoba asale amagezi atuuse eryato ku lukalu nti kuba twali tulusemberedde.

Omugoba teyawuuna muka maawe wabula yalagira abantu babuuke ku lyato bawuge bawone okufa kuba eryato lyali ligenda kubbira.

Nabuuka ne ntandika okuwuga. Mba nnaakawugako akabanga katono ejjengo ne likuba eryato mu mabutobuto ne litandika okuwandagaza abantu bonna abaali basigaddeko mu nnyanja n’ebintu.

Ejjengo eddala lyajja ne lyera abakyala basatu n’omwana amazzi ne gabamira nga ndaba. Okutemya n'okuzibula ηηenda okuwulira nga nange nzikirira mu mazzi ne mpulira ng’ebigere birinnya ku ntobo y’ennyanja ate mba ndi eyo amazzi ne geesiikuula ne nzibulukuka.

Olwadda waggulu nalaba ensawo y’amanda empitako ne ngibaka ne nneekwata okwo era abadduukirize kwe bansanga.

Bannamawulire baategeeza nti abantu 14 be baafa kyokka nkakasa nga baasingawo kuba bwe twatuuka ku lukalu twali batono ddala wadde saababala olw’entiisa gye nalimu.

Abeewaffe nabasanga batema miranga nga bategeka byakuziika na kunoonya mulambo kuba baali bategeezeddwa nti eryato kwe nzijidde ligudde mu nnyanja.

Mukama bwatyo bwe yamponya era nkubiriza bannange tugonderenga eddoboozi lya Mukama.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.