TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Tuweebwe omukisa nga bannansi okufuna mu nnyanja yaffe

Tuweebwe omukisa nga bannansi okufuna mu nnyanja yaffe

By Musasi wa Bukedde

Added 19th January 2018

Pulezidenti alowooza nti omuyoolerero gw’abantu abeeyiye mu mulimu gw’obuvubi guteekwa okukendeezebwako, ennyanja bw’eba yaakutereezebwa.

Fish1 703x422

Ebyennyanja ebipakiddwa mu mmotoka mwe bikuumirwa nga tebyonoonese.

ABABAKA ba Palamenti abakiikirira ebitundu omuli emyalo bateekateeka okusisinkana Pulezidenti Museveni okumwanjulira bye baazudde mu kwebuuza ku bavubi n’abantu abalala abakozesa ennyanja mu kaweefube ow’okulwanyisa envuba embi n’okwonoona ennyanja.

Omusasi waffe Ahmed Mukiibi yayongeddeko n’Omubaka David Mutebi akiikirira Buikwe South omusangibwa emyalo 24 okuli; Kiyindi, Ssenyi, Nkombwe, Muyugwe n’emyalo emirala n’amunnyonnyola ku nsonga ze yazudde mu kwebuuza ku bavubi, na biki ebiteekwa okukolebwa gavumenti n’abantu abakozesa ennyanya okutereeza ebyenvuba:

Biki by’ozudde mu kwebuuza ku bavubi nga weetegekera olukiiko Pulezidenti Museveni lwe yayiseemu ababaka abava mu bitundu ebirimu abantu abakozesa ennyanja?

Njagala okutegeeza Bannayuganda nti enkulaakulana y’eggwanga esinziira kinene nnyo ku byobugagga byayo Katonda bye yagiwa.

Uganda yeesimye nti Katonda yagiwa n’emikono ebiri ennyanja ez’enjawulo ezisobola okukozesebwa okukulaakulanya eggwanga.

 mubaka avid utebi Omubaka David Mutebi

 

Eky’obugagga ekiri mu nnyanja zaffe si kirala wabula byennyanja ebisobola okuvaamu ensimbi ennyingi, kyokka tulina obuzibu ng’eggwanga nti ebyennyanja kumpi biwedde mu nnyanja nga kino kivudde ku nvuba n’enkozesa embi ey’ennyanja.

Enkola eriwo kati ya buli muntu asanze okugenda mu nnyanja n’avuba nga yeeyambisa ebikozesebwa ebitali mu mateeka gye biggweera ng’obwennyanja obuto bwe buvubiddwa Wabaddewo kaweefube azze akolebwa Gavumenti mu myaka egiyise okukuuma ennyanja n’okulwanyisa envuba embi kyokka kaweefube oyo avuddemu ebibala bitono era ne bwe wassibwawo obukiiko obwa Beach Management Units (BMU) tewali nnyo kyatuukibwako okutuusa Pulezidenti bwe yasalawo okuwera obukiiko buno kubanga bwali busajjula mbeera.

Pulezidenti Museveni mu bubaka bwe obw’omwaka yagamba nti si buli muntu nti alina okukkirizibwa okuvuba era ayagala wabeewo okukkiriziganya ku b’ani era kiseera ki lwe balina okuvuba.

Abavubi kino bakyogerako ki?

Abavubi n’abantu b’oku nnyanja abalala bantegeezezza nti tebalina buzibu bwonna ku kya Pulezidenti okugamba nti wateekwa okubaawo okusengejja abantu abalina okubeera n’okukolera ku nnyanja kubanga nabo bakkaanya nti wabaddewo era wakyaliwo abantu abakyamu abatalina mwoyo gwa kulumirirwa n’okufaayo ku nnyanja ng’abo be bantu abakozesa enkola ey’ekivandulo okukokota ennyanja nga balinga abatali bannansi.

Naye abantu balina eddembe okwetaaya mu nsi yaabwe nga bwe baagala?

Pulezidenti alowooza nti omuyoolerero gw’abantu abeeyiye mu mulimu gw’obuvubi guteekwa okukendeezebwako, ennyanja bw’eba yaakutereezebwa.

Agamba (Pulezidenti) nti, wateekwa okubaawo okusengejja mu bantu abakkirizibwa ku nnyanja era kino abavubi b’ewaffe mu Buikwe bakkaanya nakyo wabula obuzibu bwabwe buli ku nkola ey’abali mu bikwekweto n’amateeka agabanyigiriza.

Nnina ekyokulabirako ekiraga nti Pulezidenti yeetaaga okuwagirwa mu kaweefube gw’aliko okugogola ennyanja; Omwalo gw’e Kiyindi gwaleetanga ebyennyanja bya buzito bwa ttani 500 kyokka olw’abantu abakyamu n’omuyoolerero gw’abantu abali ku nnyanja, kati omwalo gw’e Kiyindi tegukyaweza wadde ttani z’ebyennyanja 200.

Ebikwekweto by’amagye ga UPDF Pulezidenti ge yawa obuyinza okulwanyisa envuba embi birina enjawulo gye bireeseewo e Buikwe?

Ng’oggyeeko ebirumira ebitonotono, amagye ga UPDF gakoze omulimu mu bbanga ettono lye gakoledde ebikwekweto ku nnyanja.

Amagye gasobodde okuzza empisa mu bavubi kubanga bagatya era bakimanyi nti tegasaaga bwe gasalawo okukola.

Mpozzi obuzibu obuliwo nti amagye tegalina busobozi kubuna nnyanja yonna olw’omuwendo gwabwe omutono so ng’abavubi bangi n’emyalo mingi naddala egitamanyiddwa mu mateeka.

Biki bye weenyumiriza mu bikwekweto bya UPDF ku nnyanja?

Ebikwekweto bya UPDF ku nnyanja birina ebirungi bingi bye bireese okuva mu March 2017 lwe byatandika.

Nga bwe nkugambye nti amagye galina empisa ze gasize mu bavubi nga kati tokyamala gasanga bavuba bwennyanja obuto era enjawulo erabikira mu byennyanja ebinene ebikwatibwa mu nnyanja n’obungi bwabyo bweyongeddeko okusinga bwe gubadde.

Olina obuzibu bwonna bw’osanze mu bikwekweto bya UPDF?

UPDF yokka tesobola kumalawo nvuba mbi, okuggyako nga naffe Bannayuganda naddala abakolera ku nnyanja tutegedde omugaso gw’ennyanja yaffe ne tutandika okugiwa ekitiibwa.

Abantu balina okufuna omwoyo gw’eggwanga ne beekubiriza bokka okukuuma ennyanja nga bakozesa obutimba obutuufu kubanga ennyanja yaabwe.

Era bateekwa okukimanya nti buli lwe bakola ekityoboola n’okwonoona ennyanja beefiiriza bokka kubanga Pulezidenti Museveni si yaaganyulwa mu nnyanja obutereevu.

Abavubi balina nsonga ki ze baakutisse okwanjulira Pulezidenti: Abavubi n’abakolera ku nnyanja balina ensonga zaabwe ezibanyiga eziwerako okuli;

l Okwemulugunya ku bantu abeeyita aba UPDF n’abakwasisa amateeka kyokka nga bafere. Bano bakoze ebikolobero bingi ku bavubi mu linnya lya UPDF ne gavumenti era baagala ensonga eno Pulezidenti agimanye n’omuduumizi w’ebikwekweto ku nnyanja Maj. Nuwagaba bagitunulemu.

l Baagala gavumenti etongoze n’emyalo egy’enjawulo egikolebwako emirimu kyokka nga Minisitule tegitongozanga so nga giriko abantu bangi abakolerako era kiyambe okulwanyisa envuba embi n’okuyambako mu kutereeza ennyanja.

l Ekirala by’ebiragiro ebyassibwawo bye balina okugoberera kyokka nga balowooza nti bigendererwa kubalemesa mirimu gyabwe. Ekyokulabirako bwe bunene bw’eryato erikkirizibwa okuvubibwako ery’obuwanvu bwa ffuuti 28.

Eryato erya Sayizi eryo nga lissiddwaamu buli ekyetaagisa limalawo obukadde nga 20, abavubi abasinga ze batalina era bangi amaato gaabwe agataweza buwanvu bwa ffuuti 28 gakwatiddwa ne gasaanyizibwawo amagye ga UPDF.

l Baagala ensonga ey’obunene bw’amaato eddemu okwekenneenyezebwa waakiri n’amaato aga ffuuti 25 gakkirizibwe.

Ababaka ba Palamenti kiki kye mukozeewo naddala ku kulongoosa amateeka ag’ebyobuvubi? Kituufu amateeka agalungamya eby’obuvubi agaliwo mu kiseera kino tegakyalina makulu kubanga gassibwawo mu myaka gya 1960 ng’ebyobuvubi tennafuuka bizinensi era galina ebibonerezo ebisesa obusesa.

Okugeza omuntu asobola okukwatibwa n’obwennyanja obuto nga bubalirirwamu obukadde nga 80 kyokka bw’asimbibwa mu kkooti bamukuba engassi ya mitwalo nga musanvu zokka n’ayimbulwa, ate omulamuzi tomunenya kubanga etteeka eririwo bwe ligamba.

Mu kafubo ke twasooka okubaamu ne Pulezidenti twasaba nti gavumenti erongoose mu mateeka ag’ebyobuvubi gatuukane n’embeera era twamuwa nsalessale etteeka mwe lirina okulongoosebwa oba si ekyo ffe ng’ababaka ba Palamenti tugenda kweyambisa obuyinza bwaffe obutuweebwa mu konsitityusoni tuleeta ennongoosereza Omubaka David Mutebi

Ebyennyanja ebipakiddwa mu mmotoka mwe bikuumirwa nga tebyonoonese.  mu tteeeka ly’obuvubi.

Ekirala kye twasabye Pulezidenti Museveni kyabadde kya kulonda Minisita Ow’ebyobuvubi kubanga okuva May 2016, tewali Minisita mubeezi avunaanyizibwa ku by’obufuzi nga Minisita eyaliwo Polofeesa Zubaberi Nyira bwe yaggyibwawo tewalondebwanga mulala.

sentebbe amayirira ziz asujja assius tege ne onny sambaSsentebbe Namayirira, Aziz Kasujja, Cassius Ntege ne Bonny Nsamba

 

Obutimba obumenya amateeka bukyaleetebwa mu ggwanga era gavumenti ebufunamu omusolo, ekyo si kye kisibyewo envuba embi? Waaliwo ekirowoozo nti kkampuni eya Uganda Fishnet yokka y’eba ekkirizibwa okukola obutimba naye ng’obuzibu obuliwo eyinza obutabeera na busobozi okukola obwo obunaamatiza akatale ka Uganda.

Twakkaanyizza ne Pulezidenti nti, obutimba obuva ebweru nga tebunnawerebwa, busooke okwekebejjebwa nga tebunnakkirizibwa mu ggwanga, obutatuukana na mutindo busaanyizibwewo.

Ekisembayo Bannayuganda balina okwekubiriza bokka okukuuma ennyanja yaffe awatali kulinda kubalondoola kubanga gye banaakoma okwonoona ennyanja bo be bafiirwa. Ennyanja erina obusobozi okukyusa embeera za Bannayuganda, naffe ne tufuuka eggwanga eryakula ng’obugagga tubujja mu nnyanja. 

Tuweebwe omukisa nga bannansi okufuna mu nnyanja yaffe

Bya PROSSY NABABINGE

Wiiki ejja Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni waakusisinkana ababaka ba Palamenti okuva mu bitundu by’eggwanga ebirimu emyalo. Baakuteesa ku bbago eppya erikwata ku nkozesa y’ennyanja era nga lino lyakusunsula mu bantu abavubira ku nnyanja mu ngeri y’okukendeeza envuba embi.

Omusasi waffe PROSSY NABABINGE yatuukiridde abavubi ne bamuwa endowooza yaabwe ku tteeka lino: Ronald Namayirira, ssentebe w’abavubi ku mwalo gw’e Kasenyi annyonnyola nti ensonga esinga okuleeta obunkenke ku nyanja y’ey’okwagala okubaggyako olukusa ku byennyanja bye beevubira nga baluwa abagwira.

Yagambye nti, abalina okusooka okuweebwa omukisa ku bintu by’eggwanga be bannansi era nga kino ayagala pulezidenti aveeyo akirwaneko.

“Ennyanja w’etuuse ebadde eteredde era ng’envuba embi twagivaako, kyokka ate ebyennyanja bituuse we twabirindira ate abavunaanyizibwa ku nvuba ku myalo baagala kutusenza luti,” Namayirira bwe yagambye.

Yayongeddeko nti, baagala Pulezidenti adddemu yekkaanye ekitongole ekivunaanyizibwa ku nvuba ekya ‘Fisheries’ kubanga kino kyerabira dda omulimu gwakyo era ne alipoota ze kiwa si ntuufu kuba tebatuuka ku myalo ate oluvannyuma ne bavaayo okucankalanya engeri emyalo gye giddukanyizibwa.

Mu birala abavubi bye baagala pulezidenti abakolere mu tteeka eppya bwe butatunuulira nnyo kyakutunda byennyanja

ENKOLA YA MAJ. NUWAGABA N’AMAGYE GA UPDF

Aziz Kasujja, muvubi: Enkola ya Maj. Nuwagaba etuyambye era tumusiima kubanga olw’amaanyi n’okwagala kw’ataddemu, ennyanja esobodde okulongooka era n’abantu abaali baagobwa mu mulimu guno kati basobola okwenyigira mu mirimu emirala egyekuusa ku kuvuba n’okusuubula ebyennyanja.

Wabula tumusaba agogole obukiiko bwe yateeka ku myalo okumuyambako kubanga obusinga bwava ku nkola entuufu gye yaleka alagidde so nga n’abamu abali ku bukiiko buno bakikola mu bugenderevu okufiiriza abavubi era nga bw’akwata obwennyanja obuto n’ebikulu, ate byonna abitwala nga kw’agasse n’okubasasuza ensimbi ekireeseewo okuttihhana.

Mu ngeri y’emu obukiiko buno bwe yateekawo busaanidde okukolera mu bisanja kiyambeko ababuliko okusigala ku mulamwa gw’okutaasa ennyanja mu kifo ky’okutulugunya abavubi.

Mu kiseera kye kimu, abavubi bamanyidde enkola ey’okukubwa emiggo era nga ky’ekiseera Maj. Nuwagaba n’amagye ge bayiiye engeri endala gye basobola okulwanyisa envuba embi.

ENSONGA Y’OKUSUNSULAMU ABAKKIRIZIBWA OKUVUBA

Frank Luboyera: Eky’okugoba abantu abamu ku myalo naddala abo abatali nzaalwa ya ku kitundu ebyo tetukiwagira olw’ensonga nti omuntu bw’abeera asobola okugoberera amateeka g’envuba ennungi nga n’ebisaanyizo byonna abirina, tewali nsonga lwaki obeera omulemesa okukola.

Cassius Ntege Kabaata: Eky’okusunsula abakozesa ennyanja nkisanyukidde kubanga buvunaanyizibwa bw’abazaaliranwa okukuuma ekyo kye bafunamu.

Mu ngeri eyo, abantu abatava mu bitundu ebirimu emyalo basaanye bagobwe ku myalo oba beenyigire mu mirimu emirala egitali gya kuvuba.

Kino kyakuyamba ennyanja okuddawo nga bwe yali kubanga n’engeri ez’okuvuba ezimu ezaagaanibwa zaaleetebwa bantu abava mu bitundu ebirala, gamba nga Ponyoka yaleetebwa Baluulu n’Abalugwala.

ENNONGOOSEREZA MU MATEEKA AGABADDEWO

Kizza Mpagi: Etteeka eribaddewo libadde linyigiriza abavubi b’engege olw’ensonga nti okusinziira ku maato agakkirizibwa, geego abavubi b’empuuta ge beetaaga so ng’abavuba basobola okusigala nga bavubira mu bwato bwabwe obutono engege.

Pulezidenti atunuulire n’abavubi b’engege abaali beeyambisa obwato obutono kubanga bangi tebalina ssente zimala kugula maato gatuukana ne fuuti ezaateekebwawo.

Bonny Nsamba: Gavumenti tetaddeewo mbeera eyagazisa muntu kuva ku nvuba embi olw’ensonga nti amateeka agaliwo ekiseera kino galiko ebintu eby’enjawulo bye galagira okukozesa kyokka nga si buli omu nti asobola okugula ebintu ebyo ebyassibwawo.

Waakiri Pulezidenti ateekewo ekitongole ekiwola abavubi basobole okwetuusako ebyo ebikkirizibwa ku nkola eya kibanjampola. Tusaba Pulezidenti n’abamuyambako okussa amateeka mu nkola.

Be bakwatira mu misango bave mu kubasasuza 2,000,000/- oba okubasiba emyezi mukaaga kuba abavubi ebyo tebakyabirabamu.

EBYETAAGISA OKUTANDIKA BIZINENSI ENO

  • 4 Emmotoka ezitambuza ebyennyanja, ezo ezitikka wansi wa ttani 5 zisasula 250,000/-; ate ezitikka wakati wa ttani 5 ne 10 basasula 500,000/-; abo abasussa ttani 10 basasula 750,000/-.
  • 2 Omusubuuzi w’ebyenyanja asasula 500,000/-, eno layisinsi nayo ebeera ya mwaka mulamba.
  • 1 Osasula 100,000/- eza layisinsi y’eryato, ne 25,000/- eza layisinsi y’omuvubi. Eno layisinsi ya mwaka mulamba.
  • 3 Abatundira ku mwalo, layisinsi bagisasulira 50,000/-.
  • 5 Okutandika bizinensi eno nga buli kimu kiwedde, weetaaga obukadde 25.

EMISOSO EMIRALA EGIRI MU BIZINENSI ENO

  • Ebyennyanja we biwummuzibwa nga bivudde ku lyato wasasulirwa empooza ya 3,000/-. 
  • 98 ku buli 100 ku byennyanja ebikwatibwa bitwalibwa wabweru ng’ebitundu 2 ku 100 bye bitundibwa wano.
  • Buli lyato lisasula 10,000/- buli mwezi.
  • Buli kkiro 100 ez’ebyennyanja ziggyibwako 100/- ezigenda ku ggombolola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...

Jmcweb 220x290

Kyetume ekutudde JMC Hippos

Kyetume evudde emabega n'ewangula JMC Hippos mu Big League mu ddakiika ezisembayo

Joshuaweb 220x290

Cheptegei ataddewo likodi ng'awangula...

Joshua Cheptegei ataddewo likodi y'ensi yonna empya, ng'awangula kiromita 15 mu misinde gya 2018 NN Seven Hills...

2016manujoseshout1 220x290

Veron ayogedde lwaki ManU evumbeera...

Veron akubye ebituli mu kisanja kya Mourinho mu ManU.

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.