TOP

Omuvubuka teweenyooma naawe osobola okuzimba

By Musasi wa Bukedde

Added 20th January 2018

Abavubuka abasobodde okuzimba bakulaga ebibayambye naawe osobole okubayigirako olwanyise obupangisa mu 2018.

Nju1 703x422

Amaka g’omuyimbi Ameria Nambala agasangibwa e Kiteezi.

Bya KIZITO MUSOKE, JOANITA NANGONZI ne VICKY NABUKEERA

AKYALI mu myaka gy’ekivubuka tolowooza nti okyalina obudde mu maaso mw’olina okuzimbira kuba tomanya biyinza kugwawo enkya.

Abavubuka abasobodde okuzimba bakulaga ebibayambye naawe osobole okubayigirako olwanyise obupangisa mu 2018.

 nnyumba ya lex igongo mu katono gyazimbye e awanda Ennyumba ya Alex Kigongo (mu katono) gy’azimbye e Kawanda.

 

KIGONGO OKUWASA KWAMUYAMBA NNYO

Akubiriza abavubuka okuwasa amangu bwe baba bafunye abantu b’obuvunaanyizibwa kubanga bayamba nnyo mu kuzimba.

Bwe zaawerangawo nga tugula omusenyu, amayinja n’eby’okuzimbisa ebirala. Nga tumaze okubifuna, twafuna atuwola seminti n’ebizimbisibwa ebirala ebyali bisigaddeyo ne tutandika okuzimba.

Ndi mubazi wa bitabo, ku musaala gwe nfuna naterekangako ekitundu okulaba nga ngula poloti n’okuzimba.

Alex Kigongo 35, ow’e Kawanda agamba nti okuwasa kyamuyamba okutuukiriza ekirooto ky’okuzimba.

 Mu myaka esatu nali mpezezza obukadde 7 ne ngula poloti ffuuti 100 ku 100. Nafuna abantu ne bankubira bbulooka 20,000 ne nzookya.

Naddako okukubisa pulaani y’ennyumba ne ngitereka. Bino byonna nabikolanga ne mukyala wange nga ne ssente ezimu y’azitereka.

Ekikulu kye nazuula kwe kubeera omwesigwa n’amazima nga bw’ofuna ssente osasula era ennyumba gye natandika mu 2015 we twatuukira mu 2017 nga kirabika endiddeko obukadde nga 80.

Erimu ebisenge bisatu ebisulwamu, amadiiro abiri, effumbiro ne galagi.

Apangisa ennyumba esukka mu mitwalo 10 tewali nsonga ekugaana okuzimba. Funa akawunti kwoteeka ssente.

 aniel sennyonjo poloti taata gye yamuwa mwazimbye Daniel Ssennyonjo poloti taata gye yamuwa mw’azimbye.

 

OKUWABULA KWA MAAMA KWANNYAMBA OKUZIMBA

Daniel Ssennyonjo 30, ow’e Bulenga agamba nti amagezi maama we ge yamuwa gaamuyamba okuzimba.

Taata omugenzi Fred Sengali ye yampa poloti eri ku ffuuti 50 ku 70. Nasooka kwagala kugitunda kyokka maama n’annemesa nga simanyi nti annyamba.

Nasooka kukola gwa kupoota okutuusa lwe nayiga okuzimba. Wano maama we yampitira n’ang’amba nti nga bwe njize okuzimba nkozese omukisa guno okukubisa bbulooka nzimbe ennyumba ne bw’ebeera ya kisenge kimu.

Bwe namala okukubisa bbulooka nnaggulawo akawunti mu banka ne ntandika okuterekako ssente z’okugula ebizimbisibwa era nga buli wiiki nteekako 100,000/-. Kino nakikolera emyaka ebiri okutuusa lwe naweza obukadde butaano ne ngula ebizimbisibwa.

Nalaba mbuzaako eby’okukomerera kwe kuwasa omukazi ng’eno bwe ngula amabaati ge naterekanga mu kazigo kange okutuusa lwe gaawera.

Nafuna bazimbi bannange ne mbasaba bankwasizeeko ne tutandika okuzimba nga bwe mbasasulayo akasente akasaamusaamu.

Nasitula emizigo ebiri mwensula kati nga ntegeka kuzimba mizigo mirala egy’abapangisa nfunemu ssente.

 Nkubiriza bavubuka okwewala okutunda ettaka eribaweereddwa kuba ebeera ntandikwa nnene.

 akim ateregga teyeevuma kuvuga bodaboda Hakim Kateregga teyeevuma kuvuga bodaboda.

 

OMULIMU GWA BODABODA MWE NAJJA SSENTE EZAAZIMBA

Hakim Kateregga 28, ow’e Maganjo agamba nti landiroodi we ataalina bugumiikiriza ye yamuwaliriza okuzimba. Omwezi gw’alinga tegunnaba kuggwaako ng’akukonkona.

Engeri gye nali nguze bodaboda n’afuna ekirowoozo ekitereka ssente ng’era buli lunaku ntereka 10,000/-mu kabookisi.

Bwe nawezaawo obukadde 15 mu 2003, nagula poloti ku kyalo Mawu e Maganjo. Naddamu okusonda endala ne mpeza emitwalo 40 ne ngulayo obusawo bwa seminti 33 kubanga buli kamu kaali ku 12,000/-.

Oluvannyuma nayongerako obulala 63. Nazzaako okusonda ssente z’amabaati agammalako emitwalo 90.

Kuno nazzaako ez’abazimbi emitwalo 40 era nakozesanga ba mu kitundu be nnali nkwatagana nabo obulungi.

Mu 2007 ennyumba yange ey’ebisenge 4 yali ewedde ne ngiyingira ng’emmazeeko obukadde 20.

Kuno nagattako emizigo gy’abapangisa ena mu maaso g’ennyumba yange nga kati nange ndi landiroodi.

 nnyumba za waha semakula zazimbye Ennyumba za Twaha Ssemakula z’azimbye.

 

BWE NATANDIKA OKUZIMBA TAATA N’ANGOBA KU MULIMU

Twaha Ssemakula, 29 ow’e Bulaga ku lw’e Mityana agamba nti okuzimba kuva ku mutima kubanga nze natandika okuzimba nga nnina emyaka 23.

Bwe najja e Kampala nasooka kukola ne taata mu bbuca y’ennyama e Bulaga. Buli lunaku yali ampa 10,000/- ng’era ssente ezo nnyingi ku muntu atalina famire.

We nali nsula waaliwo Nnaalongo Margaret Nakazibwe eyatuyingiza mu kibiina kye yali atandiseewo nga buli lunaku tutereka 2,000/- ate ku wiikendi nga tuteekayo 10,000/- era ssente zino zannyamba okwekulaakulanya.

Mu 2006 mukwano gwange Ali Ssemanda yansoomooza bwe yagula poloti n’atandika okuzimba. Nange nafuna poloti ku bukadde busatu kyokka eyanguza nasooka kumuwaako kakadde kamu n’ekitundu n’oluvannyuma ne musasulanga emitwalo 30 buli mwezi.

Bwe nagimalaayo ne ntandika okuzimba.

Nafuna ‘hardware’ ku kyalo ne nsonda ssente z’amabaati. Bwe gaawera ne ntunda ente zange bbiri mu kyalo ne nfuna ssente z’okuzimba.

Nagula amabaati ga mitwalo 80, seminti wa kakadde kamu n’ekitundu, amatoffaali 1300, enzigi n’amadirisa bya mitwalo 90, okuyingiza amasannyalaze emitwalo 70 ng’era yantwalira emyaka esatu okugimaliriza.

Poloti eyasigalawo nazimbawo emizigo esatu. Kyokka nazimbanga abantu b’oku kyalo banjogerera nga bagamba nti nziba taata ekyamuwaliriza okungoba ku mulimu. Ekyamazima nali seejalabya era ng’okuzimba kwava mu kwerumya nnyo.

AMAGEZI ERI AYAGALA OKUZIMBA MU BUVUBUKA

Okuzimba tekuliiko myaka, ssente z’ofuna mu kiseera kino bwokendeeza amasanyu osobola bulungi okuzimba.

Kendeeza ku bintu by’okwejalabya eby’ebbeeyi. Ssente z’ofissa zisobola okukuyamba okugula poloti oba okuzimba.

Emyaka gy’ekivubuka obeera olina amaanyi n’obuyiiya era ssinga otandika ku nnyumba kibeera kizibu okukulemerera.

Ebizimbisibwa ebimu osobola bulungi okwenyigiramu okubifuna. Osobola okwekubira bbulooka oba okuweereza nga bazimba n’okendeeza ssente ze wandikozesezza.

Bulijjo akeezimbira tekaba kato, tewali kintu kijja kukuweesa kitiibwa mu bantu ng’okumanya nti olina ewuwo wooteredde.

Wuliriza amagezi g’abantu abakuzeemu nga balina ke beekoledde, tomanya osobola okuyigira ku nsobi ze baakola ng’obeebuuzizzaako.

Obulamu bujja kukwanguyira nnyo ssinga onaafuna obuvunaanyizibwa bw’okuweerera nga wamala okuzimba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup

Human 220x290

Rema atambula akaada: Abatimbi...

Ebimu ku binaakozesebwa mu kwanjula kwa Rema Namakula bitandise okutuuka awanaabeera omukolo.

Got2 220x290

Abafumbo batabuse ne baanika obuziina...

Abafumbo batabuse ne baanika obuziina bwabwe

Hit2 220x290

Maama tonzita ebbinika nagiryamu...

Maama tonzita ebbinika nagiryamu ekikomando

Basezone3 220x290

Enseenene: Omugano gwa November...

AKEETALO akali mu Kampala n’emiraano kati ka nsenene. Enseenene kye kimu ku by’okulya ebisinga okuwoomera Bannayuganda...