TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Mmotoka muka Mugabe z’abadde akukusa zigudde ku kabenje

Mmotoka muka Mugabe z’abadde akukusa zigudde ku kabenje

By Musasi wa Bukedde

Added 24th January 2018

MMOTOKA za Muka Mugabe ez’ebbeeyi ezibadde zivugibwa ku sipiidi ey’akafuufu mu matumbi budde nga zisomosebwa mu bubba okutwalibwa mu South Afrika zikoze akabenje , misoni n’egwa butaka.

Chatunga1 703x422

Grace Mugabe ne batabani be be yabadde atwalira mmotoka ez’ebbeeyi bacakaliremu.

HARARE, ZIMBABWE

MMOTOKA za Muka Mugabe ez’ebbeeyi ezibadde zivugibwa ku sipiidi ey’akafuufu mu matumbi budde nga zisomosebwa mu bubba okutwalibwa mu South Afrika zikoze akabenje , misoni n’egwa butaka.

Muka Mugabe, Grace Ntombizodwa Mugabe yabadde akoze Pulaani okusomosa mmotoka ssatu ez’ebbeeyi ze yagula ku ssente enzibe mu gavumenti ya Zimbabwe mu biseera nga bba Mugabe anaatera okuggyibwa mu buyinza.

Emikutu gy’amawulire egy’enjawulo mu Zimbabwe gyafulumiddemu amawulire nga galaga engeri emmotoka ez’ebbeeyi ssatu: Rolls Royce , Range Rover ne Porsche gye zaasomoseddwa ne zifulumizibwa Zimbabwe ku Lwokutaano mu matumbi budde ne ziyingira Botswana okwolekera South Afrika.

Kyokka z’abadde ziyingidde Botswana nga zibuzaayo 80km okutuuka mu kibuga Gaborone, ne zikola akabenje ku luguudo A1 Road mu kitundu ky’e Muchudi.

baafunye akabenje nga basobeddwaAbaafunye akabenje nga basobeddwa.

 

Akabenje kaavudde mu mmotoka ey’ekika kya Toyota Corolla okutomera emu ku mmotoka ezo n’endala ne zikoonagana.

Poliisi y’e Botswana ey’oku nguudo teyasoose kumanya bikwata ku mmotoka ezo okutuusa lwe baazudde omusajja Rusell Goreraza mw’emu ku mmotoka ezo era baagenze okumubuuza ebimukwatako nga mutabani we Grace Mugabe gwe yasooka okuzaala mu musajja Mugabe gwe yamubbako.

Eggulo poliisi y’e Botswana yakutte mmotoka zino n’eziwa gavumenti ya Zimbabwe era Muka Mugabe kati anoonyerezebwako olw’okugezaako okufulumya mmotoka ezo nga tayise mu mitendera emituufu.

 motoka za muka ugabe ze baabadde batolosa okutwala mu outh frica ne zifuna akabenje Mmotoka za muka Mugabe ze baabadde batolosa okutwala mu South Africa ne zifuna akabenje.

 

Kigambibwa nti mmotoka ezo, Gorereza yabadde azitwalira batabani ba Mugabe ababiri: Robert Peter Mugabe Jr. ne Chatunga Bellarmine Mugabe ababeera mu South Afrika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...