TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Emyaka 32 tugijaguza naye Luweero ‘Mecca’ wa NRM akyalimu obulumira

Emyaka 32 tugijaguza naye Luweero ‘Mecca’ wa NRM akyalimu obulumira

By Edward Sserinnya

Added 26th January 2018

Abava mu bitundu bya ‘Luweero Triangle’ mu bifo ewaayindira ennyo olutalo n’okutuusa kati bakyalwasimula bugolo, wadde nga wayise emyaka 32

Imarach1 703x422

Ssentebe w’eggombolola y’e Ziroobwe, Pascal Imarach ng’alaga ekijjukizo ekyazimbibwa e Ziroobwe okujjukira n’okussa ekitiibwa mu baafiira mu lutalo lw’ekiyeekera olwaleeta NRM mu buyinza.

Bya EDWARD SSERINNYA

LEERO lwe giweze emyaka 32 bukya Gavumenti ya NRM ewamba obuyinza mu 1986.

Buli mwaka wabaawo ebikujjuko eby’okujjukira ameenunula era eby’omulundi guno biri mu kisaawe e Boma mu Munisipaali ya Arua wansi w’omulamwa ogamba nti, ‘Okwenunula kwa Uganda kitundu ku nkulaakulana eriwo mu ggwanga n’eribaawo mu biseera eby’omu maaso’ era nga omujaguza omukulu ye Pulezidenti Yoweri Museveni.

Nga bwe kali akalombolombo, ne ku mulundi guno abantu 200 bagenda kufuna emidaali olw’okusiimibwa mu biti eby’enjawulo.

Olutalo lw’ekiyeekera lwogerwako nnyo nga olw’e Luweero era waliyo ebijjukizo by’obuwanga bw’abo abaafiira mu lutalo, kuba mu bitundu by’e Luweero gye lwasinga okuyindira.

Tukyaddeko mu bitundu omwali olutalo ne abaalulabako n’okulwetabamu ne batunyumiza biki bye bajjukira.

 

‘MECCA’ AKYABULAMU
Abava mu bitundu bya ‘Luweero Triangle’ mu bifo ewaayindira ennyo olutalo n’okutuusa kati bakyalwasimula bugolo, wadde nga wayise emyaka 32.

Era abamu wadde bagamba Luweero ye Mecca w’aba NRM naye ababeera e Luweero bagamba akyabulamu kuba n’abamu bakyabanja Gavumenti okubaliyirira olw’ente, embuzi, emmere, enkoko n’ebirala.

Enguudo, Ebyenjigiriza n’okutumbula ebyobulimi n’obulunzi bikyetaaga okubyongeramu amaanyi.

Bw’ogenda oyita mu Luweero abamu ku bakaawonawo bakyalaga enkovu z’olutalo ate abalala bakyakaabira ebintu byabwe ebyagenda n’olutalo.

Wadde nga guli gutyo, waliwo abamu abagamba nti bamativu ne Gavumenti ky’ebaddizza era eby’okukaaba baabivaako dda, kati beekolerera nga kye babanja Gavumenti kwongera kutereeza nguudo n’okubunyisa amasannyalaze mu bitundu eby’enjawulo bo beeyiiye ng’enjogera y’ennaku zino bw’eri.

NALIWO NG’EMMUNDU ETOKOTA
Sperito Kiroli ow’oku kyalo Buyondo mu Muluka gw’e Kyetume ggombolola Ziroobwe, agamba: Yaliwo ng’olutalo luyingira mu Ziroobwe era teyadduka okutuusa lwe lwaggwa. Kiroli bw’atandika okukunyumiza olutalo n’emmindi ezikira!


Olutalo twasooka kuluwulira nga luli Ssingo, waliwo omwami baali bamuyita Katabira yajja okutwogereza okuyingira obuyeekera naye ne tugaana.

Tuba tukyali awo nga tulaba abantu abajja nga beetisse emigugu, nga bw’obabuuza bakutendera kiri Ssingo ebyo byaliwo ku nkomerero ya 1981, RPG baali bazikazizzaako ‘Siba eggugu’ kuba bwe yavuganya ng’abantu bakwatamu ebyabwe nga badduka ku kyalo.

Twali awo nga bambega ba gavumenti ya Obote bajja muno ne bagenda mu katale ne batuuka ne ku poliisi nga babeera balawuna, kyabanga kizibu abayeekera okubalaba emisana nga tosobola kubalaba wabula bayitamu kiro.

December 1982, tugenda okuwulira nga Owessaza Wabusaana nga bamukutte nti abayeekera be baali bamukutte ne gye buli eno teyaddamu kulabika.

 

Lumu tuba tugenze okusuubula emmwaanyi e Kikyusa ne tugwa ku bayeekera, ne batugamba nti ‘ssinga mukola olugambo nti mutulabyeko mujja kukiraba’. Baatandika okuteekanga emisanvu mu mugga Lwamirindi oguli ku kkubo eriva e Ziroobwe okudda e Kikyusa.

December 24, 1982 abayeekera bajja ne bakwata omwami owoomuluka gw’e Nakigoza, Tibongori, ono yatema omuyeekera ejjambiya n’adduka n’ajja e Ziroobwe kuba aba Special Force baali mu Lwajjali ku ludda e Kasawo.

Awo byakkakkanamu katono, ne tuyingira January.

Nga January 10, 1983, abayeekera baalumba Ziroobwe wabula mu kabuga kano mwalimu David Ojom, ono yali muserikale wa Obote era mu maka ge tebaagendayo. Abayeekera babba bbaasi eyali eya Central nga nnannyini yo bamuyita Mohammad Ssemuwemba, era kw’olwo waliwo abantu abaafa. Ebintu byanyagibwa ne babitwala.

Ku olwo n’omwami Omuwooza naye yafa baamusala olubuto ne luyiika. January 14, eyali DC Nathan Kalema yava e Luweero n’akuba olukuhhaana mu Ziroobwe n’agamba nti, ‘Bannange bw’oba olinnya omuti, osookera ku nduli mpaka lw’otuuka ku busanso’ N’ayongerako nti, ‘Abange bw’oba otundula envunza, ekikwanso bwe kigaana oleeta lukato, noolwekyo buli alemedde mu buyeekera tugenda kuleeta lukato tubatundule’

Ku olwo waaliwo omwami eyali avuga mmotoka za East Mmengo, baali bamuyita Ludigi ne balinnya mmotoka ne bagenda mu Lukoola ne bakomawo mangu ne baleeta Kalinda, ku olwo baali basse n’omulala nga bamuyita Douglas ne baleeta ne Kanwagi ne mu lukiiko waaliwo omusajja omulala Joseph Kasenge ne bamukwata abo tebaddamu kulabika (bonna baali batuuze).

Kalinda ye baamuttira mu Ssezzibwa ate Kasenge twawulira nti baamuttira mu Nile Mansion nga balangibwa gwa kukolagana n’abayeekera.

Baayongera okuleeta aba Special Force ne bakuba Ditaaki e Ziroobwe amagye gano gaali gaduumirwa Peter Eregu, olwo emiruka ebiri okuli Bubuubi, Na­kigoza n’ekitundu ky’e Wabutun­gulu ku Kyetume ng’abayeekera bakiwambye.

Abajaasi ba Obote ne batandika okugenda mu nsiko ne banyaga ente nga buli lunaku bagenda ne baleeta ente ezisoba mu 100.

Twaddamu emabega ne tulowooza nti oba Obote balina kakodyo ne Museveni, kuba abajaasi ba Obote baagendanga mu nsiko eri abayeekera ne bakomawo nga bwe baagenze, wabula abayeekera baabangayo mu nsiko naye nga beekweka mu mpuku ne mu bibira munda bano gye baatyanga okutuuka.

Olutalo lweyongera okukaluu­birira amagye ga Gavumenti November 1984, ne bakyusa Special Force ne bagitwala e Kalagala ne baleeta ba Kiragala. Special Force baali beeyisa bubi nga babbi, okusobya ku bakazi n’emize emirala.

ABAYEEKERA BABBANGA EMMOTOKA

Saamanya bayeekera kye baali baagaza mmotoka, naye baazib­banga nnyo. Nzijukira Mwanje yali avuga pikipiki ya ‘Vesper’, oyo abaserikale ba Obote baa­mutta nga bamulumiriza okuwa­gira abayeekera.

Baamuttira Ziroobwe ku kisaawe, baamufumita ekiso n’afa ng’akaaba ng’eno n’abaserikale bwe bamugegeenya nga bw’agamba ‘Maama nnyabo nfudde’ nabo nga baddamu ‘maama nnyabo nfudde’.

Olutalo okugenda okuggwa abantu bangi baali bafudde ate ng’enjuyi zombi olwa Gavumenti n’olw’abayeekera nga babba ate nga batta. Kale oli bw’aba ayogera nti oba zivuga zivuge aba tamanyi ky’ayogerako, nze mmutunuulira ne mmusaasira.

OLUTALO NALUYINGIRA NSOMA P.6

Godfrey Kabali RA063851: Okuyingira amagye nali nsoma P.6 ku Kadongo P/S e Gayaza mu 1982 ng’olutalo lutambula. Wabula mu kiseera ekyo nalinga n’Omulamuzi Kavuma, naye olutalo mu 1983 nga lutabye namuddukako.

Nakwatagana n’omugenzi Kajebe eyo mu nsiko, nasooka kukola obwambega nga tutam­buza amawulire nga bwe tulaba embeera etali mbi olwo nga nny­ingidde Bulemeezi. Nga ndi mu nsiko, Kisegerwa kwe ku nkwasa Kaliimu Peter.

Mu 1984, twakwatagana ne Kakooza Mutale, nga ffe tumuwa amawulire agakwata ku misanvu gy’abajaasi ba gavumenti olwo nga Mutale babateega ne baba­kuba.

Nagendako n’e Lwengo okubega aba UPC era eno bangi battibwa, ekifo ekirala ekyali ekizibu yali Katonga. Ekimu ku bintu bye baatukuutira nga tuli mu lutalo bwe butakwata ku kintu kya muntu waabulijjo.

Wabula Luweero ekimu ku binaamuyamba kwe kulaba nga Gavumenti eyongera okujjukira abalwanyi baayo, bangi ku bantu abaalwana si basanyufu kuba te­bagabanye kyenkanyi ku mugaati gwe baalwanirira.

 kanisa ye alasa abajaasi ba bote mwe battira abantu okwali ne ev dward sembiro mu 1981 bangi baayiwa omusaayi era lyeddembe lye tulabako kati Kkanisa y’e Kalasa abajaasi ba Obote mwe battira abantu okwali ne Rev. Edward Ssembiro mu 1981, bangi baayiwa omusaayi era ly’eddembe lye tulabako kati.

 

 LWE BAALUMBA KKANISA E KALASA

Goliath Lumbuye omutuuze w’e Kalasa y’omu ku baali mu kkanisa ya St. Peters C/U Kalasa nga Rev. Edward Ssembiro ng’ali mu kuliisa endiga ekigambo n’enjiri ebagumya n’okubakuutira okunywerera ku Katonda mu biseera ebya kazigizigi ng’olutalo lugenda mu maaso.

Teri yamanya oba nga bano abaafiira mu kkanisa Katonda ye yabayita abawonye olutalo lw’ensi oba baabulamu kukkiriza!

Ku ntandikwa ya 1981, lwali lwa Ssande ng’endala zonna bwe zibeera era twakeera kwam­bala kugenda Kalasa kusaba, wabula tuba tukyali mu kusaba wakati nga tulengera abajaasi nga bakyama ku ssomero awaali ekkanisa, jjukira ekiseera kyali kya bunkenke era nga tusaba tutunudde bweru.

Olwabalengera ffe abamu ne tuyitamu ne tudduka, naye wali­wo abaasigalamu ndowooza baali bagamba nti ‘ffe abantu baabuli­jjo ate abali mu kkanisa bayinza batya okutuyita abayeekera?’

Gye twali twekwese twa­genda okuwulira omusinde

 gw’emmundu, nga tukomyewo twasanga emirambo etaano, to­laba nti essasi limu litta omuntu, naye ndowooza buli muntu baamukuba amasasi nga 20!

Mu maaso, ennyindo, mu kamwa, emikono, amagulu emirambo gyonna ne gisogonyoka! Bali abasajja baali batemu!

Ku be batta kwaliko: Rev. Ssembiro, eyali abuulira, Wil­son Kizito, Edward Ssemanda, Samuel Kasule (ono yali mukubi­riza w’Abakristaayo) ne Nathan Kipanda.

LUWEERO AKYUSEEMU

Danstan Kigemuzi Walusimbi, omutuuze w’e Kalasa mu Lu­weero agamba: Bw’otunuulira Luweero okuva olutalo lwe lwaggwa akyuseemu, nga kati bazimbye amasomero ga siniya mu buli ggombolola n’abantu abasobola okwettanira mu bulimi bakikoze.

Wabula Gavumenti ky’erina okuteekako amaanyi kati oku­tumbula Luweero, gwe mutindo mu buli kintu okugeza Ebyenjigi­riza abaana basoma naye omutu­indo gukyali wansi, bwe guli ku malwaliro, ebyobulimi n’ebirala singa omutindo gwongerwamu mu buli kimu kijja kuyamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa