TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Fayiro ya AK47, Sera ne Danz Kumapeesa bwe kiba kyoto tekyali kanyooka!

Fayiro ya AK47, Sera ne Danz Kumapeesa bwe kiba kyoto tekyali kanyooka!

By Musasi wa Bukedde

Added 11th February 2018

Abaffe gyo emisango gy’abayimbi bano poliisi egikomya wa? Tukuleeted­de abayimbi abazze bafa kyokka ng’emisango gyabwe gyagaana okuggwa.

Ak1 703x422

AK47 yagwa mu bbaala e Kabalagala n’afa.

ABAYIMBI bangi abazze battibwa mu ngeri ey’efanaanyirizaako eya Moses Ssekibogo amanyiddwa nga Moze Radio eyafudde gye buvuddeko.

Moze yafiira mu ddwaaliro lya Case mu Kampala oluvannyuma lw’ebigambibwa nti Kanyama wa bbaala ya Da Bar e Ntebe, God­frey Troy Wamala yamusindika n’akubawo omutwe era oluvan­nyuma n’afiira mu ddwaaliro lya Case Hospital mu Kampala.

Okufa kwa Moze si kwe kusoose okukuba abantu en­cukwe, kuba waliwo abayimbi abalala bangi abazze bafa mu nfa gy’oyinza okuyita ey’ekisaazisaazi, era ne wabaawo be balumiriza okwenyigira mu ku batta. Abaffe gyo emisango gy’abayimbi bano poliisi egikomya wa? Tukuleeted­de abayimbi abazze bafa kyokka ng’emisango gyabwe gyagaana okuggwa.

 muyimbi era yafa mangu ate mu ngeri etategeerekeka Omuyimbi Sera yafa mangu ate mu ngeri etategeerekeka.

 

SARAH NAMPIJJA ‘SERA’

Yali ayimbira mu kibiina kya ‘Swangs Avenue’, yafa July 31, 2012, azaalibwa John Kakooza ne Elizabeth Woliru ab’e Nansana mu Wakiso. Yali muyimbi muto kyokka ng’ekitone kye kitandise okwogeza bangi obwama.

Sera okufa, yasooka kulu­mizibwa mu lubuto ne bamutwala mu kalwaliro e Masaka gye yali ava okuziika nga balowooza nti alusa ze zimunyoola. Bagenda okumu­tuusa ng’avaamu omusaayi ne bamusindika mu ddwaaliro e Kitovu nabo abaamu­weereza e Mulago, eno teyatuuka n’afiira mu kkubo.

Bingi byayitingangana nti Sera baamuwa butwa, wabula byalekerwa poliisi okuzuula ekituufu ekyavaako enfa ye, kuba yali ekutte omu ku bakulira Swangz Avenue n’emuggalira ku CPS okubaako by’annyonnyola. Wadde ono yamuyimbula oluvan­nyuma, ku kakalu kaayo.

We yafunira obuzibu yali ne bayimbi banne okwali Viboyo Oweyo. Ono twayogeddeko naye okumanya eby’omusango gye byakoma yagambye nti: ‘Muganda wange ebintu bya Sera bizibu, sirina kye ngenda kwogera wabula oyinza okuteekamu ebyo bye nnayogera nga yaakafa!’

Yagamba: Sera yasooka kuzirika ne bamutwala ku kalwaliro ne bamulemererwa ne bamusindika e Mulago n’afiira mu kkubo.

Julius Kyazze, akulira Swangz Avenue bwe yatuukiriddwa ku ssimu ku nsonga za Sera ne we baakoma ku by’omusango yagambye nti: Ensonga baazirekera abazadde ne poliisi nti kyokka nabo baali baagala okuman­ya ekituufu ekyatta munnaabwe naye tebaweebwa mukisa.

Bazadde ba Sera, baateeka poliisi ku nninga okukebera omulambo gw’omwana waabwe bazuule ekituufu ekyali kimusse wabula baamali­riza ebivudde mu musaayi tebabifunye.

Eddwaaliro ly’e Mulago, lyakwasa poliisi ebyali bivudde mu kukebera omusaayi era ne biteekebwa ku fayiro eyali n’egenda mu mikono gy’owa poliisi Simon Oumo eyali atuula ku CPS mu Kampala, naye abazadde ba Sera bo tebaafunako kkopi ate ne bataweebwa  na nsonga nnambulukufu lwaki tebaagifuna!

Kyazze yagambye nti, nabo baali balinda aba famire babawe kkopi ku byali bivudde mu kuke­bera omulambo gwa Sera wabula baakanda kulinda nga buteerere.Ekibiina kino, kyali kisongebwamu olunwe okumanya ku nfa ya Sera ng’ababyanguya babisala nti, abakulu balabika omu yali ateze munne obutwa Sera n’abugwamu kyokka kino tewali yali avuddeyo kukikakasa.

Kyazze yagambye nti, tewali muntu yenna mu Swangz Avenue yakwatibwa ku kufa kwa Sera era ng’ekibiina, nabo okutuusa kati tebamanyi kituufu kyamutta.

Fayiro y’omusango eyali ekoler­wako ku CPS mu Kampala, Oumo bwe baamukyusa tewali amanyi gy’eri, mu kkooti teyagendayo n’aba famire baggwaamu amaanyi nga tewali abayamba!

 kufa kwa oze kigambibwa anyama yamusindika nagwa nayatika omutwe Okufa kwa Moze kigambibwa Kanyama yamusindika n’agwa n’ayatika omutwe.

 

EMMANUEL MAYANJA ‘AK47’

Yafa March 16, 2015, mu ddwaal­iro e Nsambya oluvannyuma lw’okusangibwa mu kinaabiro ky’ebbaala ya Denjavu e Kabala­gala eyali eya maneja we Jeff Kiwa ng’akyali mu kibiina kya Team No Sleep (TNS) ku ssaawa nga 4:00 ez’ekiro ng’afudde.

Kigambibwa nti, yagwa naakuba enkoona ku kisenge. Kitaawe Gerald Mayanja kyabuusabuusa n’okutuusa kati. Ono akyewuunya engeri omuntu gy’ayinza oku­genda mu kiyigo okufuka ate mu kugwa n’akyuka n’akuba enkoona ku kisenge! Ekyo kisoboka kitya?

AK47 yasangibwa wansi ng’agudde ng’alina ekiwundu ku nkoona nga ku kisenge ky’ekiyigo, kuliko omusaayi ogukulukuse awagambibwa nti we yakuba

 enkoona. Okuva lwe yafa, nnyina, kitaawe ne bagandabe Douglas Mayanja ‘Weasel’ ne Joseph Mayanja ‘Dr. Jose Chameleon’, Pallaso n’abalala, baagaana okuk­kiriza bakyasonga ku Jeff Kiwa okubeera ng’aliko ky’amanyi ku nfa ya AK47 newankubadde nga ye abyesammula.

Waliwo omuvubuka eyali alongoosa ku bbaala eno eyat­egeerekekako erya Mumbere ey­ategeeza nti yali yalaba ekyaliwo, era ono poliisi gwe yatwala ng’omutemu! Naye okuva olwo tewali amanyi Mumbere gy’ali!

FAYIRO YA AK47 YABULA

Buli March 16, famire n’emikwano bategeka okusabira omwoyo gw’omugenzi. Kino okukikola, Muzeeyi Mayanja asooka ku poliisi okumanya omusango we gutuuse. Ku Lwokuna lwa wiiki eno, Mayanja yakedde ku poliisi e Katwe okumanya ekigenda mu maaso ku musango gwa mutabani we.

Abaserikale be yasanze mu ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Kampala South okwabadde ne Bitali Ssentamu baamutegeezezza nti, ‘Ekimu ku bikyasibye omusango gwa AK47 kwe kuba nga Mumbere akyabuze nga yaddukira mu Congo, ssinga akwatibwa, wajja kubaawo eki­tambula!’

Kyokka baabadde bakyamun­nyonnyola n’agamba nti bye bam­ulimbye bimala akimanyi bulungi fayiro y’omusango tebagirina yababulako.

Yagambye nti, abaserikale baagaana okuggya sitatimenti ku bantu abaaliwo ng’obutemu bukolebwa ate balinga abaakikola mu bugenderevu kuba nsonga ki ebagaana! Yagasseeko nti, we battira AK47, yali atumizza ebyokulya wabula omuwala gwe yali abitumye tebaamuggyaako sitatimenti, abaliraanye ebbaala nabo tebaggyibwako sitatimenti, olwo kati banoonyereza biki?

Omwogezi wa poliisi ya Kam­pala n’emiriraano, Luke Owoyesi­gyire, yakubidde Ssentamu essimu nga Bukedde yeetaaga okumanya ku fayiro ya AK47, wabula yamutegeezezza nti, yabadde tagi­rina mu kaseera ako nga yetaaga okusooka okuginoonya!

 anz umapeesa abazigu bamuteega adda waka ne bamukuba nafiira e sambya Danz Kumapeesa abazigu bamuteega adda waka ne bamukuba n’afiira e Nsambya.

 

DANZ KUMAPEESA

Yali polodyusa wa nnyimba ng’akolera abayimbi abanene okuli Rehema Namakula, Bebe Cool, Winnie Nwagi n’abalala.

Abantu abataategeerekeka, baamuteega ng’adda awaka nga June 4, 2017 ne bamukuba ku mutwe era yamala akaseera mu ddwaaliro e Nsambya gye yafiira nga October 07, 2017.

Ruth Namirembe, mwanyina wa Danz yategeezezza nti: Omu­sango gwa Danz twaguggulawo ng’amaze okufa kuba bwe yali ku kitanda tewali yafaayo ku bya mu­sango anti obudde twabumala mu kumujjanjaba. Era baayita maama ku poliisi y’e Katwe okukola sitatimenti.

Poliisi yatugamba nti ekyanoo­nyereza ate tebasobola kugikaka kwanguya musango, munnange tulinze tulabe kye batugamba oba bakutteyo omuntu tewali kavaayo.

Kyokka, ensonda ezaali zigob­erera Danz ng’amaze okutwalibwa mu ddwaaliro, zaatutegeezezza nti waliwo fayiro poliisi gye yali yasooka okuggulawo wabula tebamanyi wa gye yalaga.

DIZZY NUTS

Denis Oscar Mubuuke Galiwango Kamya ‘Dizzy Nuts’ baamutomer­era Kireka mu maaso g’ebbaala ya New Victoria Club, ono yali agenze kuyimba ne mukama we, Bebe Cool eyali ava okuyimbira mu bbala eno.

Dizzy Nuts yali yaakayimbulwa okuva mu kkomera n’agenda ayimbe ne Bebe, wabula mmotoka yamutomera n’edduka mu ka­benje abamu ge bagamba nti kaali kapange!

Herbert Kiyinga amanyiddwa nga Cuber eyali ayimba ne Dizzy Nuts, yagambye nti: Mu ttumbi nga Bebe amaze okuy­imba, yafuluma ebbaala n’ebbiina ly’abantu okuli ne bakanyama, ku bbali okuliraana Sports View Hotel (etunuuliganye ne Victoria Club) waaliwo mmotoka kika kya Harrier eyali esimbyewo.

Bebe bwe yayingira mmotoka ye, Harriar eyali ku bbali nayo yasimbula n’esaabala abantu okuli kanyama wa Bebe, maneja w’ebbaala Saka n’etwaliramu ne Dizzy Nuts.

Mmotoka yabulawo ne gye buli eno tewali yali azzeemu kugira­bako! Mu kuyoolayoola abaali bakoseddwa, Dizzy Nuts baali bamwerabidde kuba ye yagwa mu mwala era abaali ebbali be bajjukiza nti waliwo agudde mu mwala bagenda okumwetegereza nga Dizzy Nuts.

Omuduumizi wa poliisi y’e Kira, Shifa Kiribwa yategeezezza nti, mu kusooka, abanoonyereza ku misango baagendayo nga bategee­zeddwa nti yali atemuddwa, naye oluvannyuma lw’okukitegeera nti kaali kabenje era omusango ne gutwalibwa aba poliisi y’ebidduka e Kireka.

 

MASTER BLASTER

Cornelius Oloya ‘Master Blaster’, yali muzannyi wa katemba ate nga muyimbi, yamanyika nnyo olw’akayimba ke ‘Teacher’. Yafa December 30, 2015, nga yakubwa masasi ku bbaala ya Eden Service Park e Bwaise. We yafiira yali afulumizza akayimba akapya ‘Ekibala’.

Waasookawo akacankalano wakati w’abavubuka Bannayu­ganda ne bannansi ba South Sudan abaali bapangisizza ebbaala eno nga bataddewo ekivvulu ky­abwe ne bagaana Bannayuganda okuyingira.

Akavuyo kaatandika kiro ne bagugulana okutuusa ng’obudde busaasaana poliisi we yatuukira era mu kavuyo awo, omuserikale wa poliisi we yakubira amasasi agaakwata Master Blaster n’afa ng’atuusibwa mu ddwaaliro e Mulago.

Omwogezi wa poliisi ya Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, fayiro y’omusango gwa Master Blaster, yagenda mu kkooti e Nabweru, omuserikale wa poliisi eyamukuba essasi n’ayimbulwa ku kakalu ka kkooti nti kyokka omusango gukyagenda mu maaso.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”