TOP

UNBS eraze ebyamaguzi eby'ebicupuli ku katale

By Herbert Musoke

Added 4th September 2018

EBYAMAGUZI EBITATUUKIRIDDE EBYAKWATIDDWA Eby’okwekolako Ebizigo bya Hajati Lususu, Mama Lususu, Sure Deal, Serious Herbal, Skin Doctor, Zero Pimples, Zonei Imported Caro light toning, Caro light body lotion, Caro light cream, Citrolight body cream, Eclaire cream, Elegance Rico cream, New Santana, Light Cream, Super Claire Cream, Elegance Rico cream.

Kolawo 703x422

Ebimu ku bizigo ebitali ku mutindo

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku mutindo mu ggwanga ekya Uganda National Bureau of Standards (UNBS) kitegeezezza ng’ebyamaguzi ku katale ka Uganda ebisinga bwe biri ebicupuli ekirese bannansi nga beebuuza wa gye balina okufuna okuyambibwa.

Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa UNBS okwetooloola eggwanga, mu July 2018, kwalaga nti ebyamaguzi ebitundu 71.4 ku 100 ku katale ka Uganda, bijingirire ate ebirala bicupule nga tebisobola kukola mulimu guba gubiguzizza.

Lipoota eyafulumizibwa ku kunoonyereza kuno, abakugu baalonda ebyamaguzi 249 ebyatwalibwa mu laabu z’ekitongole okwekebejjebwa nga ku bino ebikozesebwa ku kwekolako (ebikola ku nsusu) byonna ebyalondebwa tekwali kyayita mutindo.

Godwin Bonge Muhwezi, omwogezi wa UNBS agamba nti eby’okwekolako ebyagwa omutindo byalimu ekirungo kya hydroquinone ekyokya nga kino kikozesebwa mu bizigo eby’okweyerusa.

Kino kigambibwa okuvaako olususu okumyuukirira, okubabuukirira, okubaamu obufunita, olususu okukala, okwatika, okuvaamu omusaayi ne kookolo w’olususu.

Sabbuuni akozesebwa okutta obuwuka ye yaddako mu by’asinga okugwa okugezesebwa ng’ono yali ku bitundu 71.4 ku 100, amataala agakekkereza amasannyalaze ku 62.5 ku 100 n’ebikookooma ebizungu 55.5 ku 100.

Dr. Ben Manyindo akulira UNBS, agamba nti ekitongole kyafulumizza olukalala lw’ebika by’ebyamaguzi byonna ebyagudde okugezesebwa n’ekigendererwa ky’okutegeeza abaguzi okubyewala era nga ttani z’ebyamaguzi 400 ebitatuukana na mutindo ebibalirirwamu obuwumbi 3.5 bye byakakwatibwa.

Mu bikwekweto ebyakolebwa mu July, baakwata ttani 6.2 ez’ebiriibwa, 1.2 ebikozesebwa mu kwekolako, emifaliso 2,051, kiro 410 ez’ebyamasannyalaze, n’ez’ebikookooma ebizungu 450.

“Olutalo lw’okumala ebikozesebwa ebyamaguzi ebitatuukiridde na mutindo ku katale ka Uganda kyetaaga okukolera awamu ng’ekitongole ne kkampuni ezibikola, abasuubuzi, abaguzi n’ebitongole bya gavumenti ebirala byonna,” Dr. Manyindo bw’agamba.

EBYAMAGUZI EBITATUUKIRIDDE EBYAKWATIDDWA

Eby’okwekolako Ebizigo bya Hajati Lususu, Mama Lususu, Sure Deal, Serious Herbal, Skin Doctor, Zero Pimples, Zonei Imported Caro light toning, Caro light body lotion, Caro light cream, Citrolight body cream, Eclaire cream, Elegance Rico cream, New Santana, Light Cream, Super Claire Cream, Elegance Rico cream.

EBIKOOKOOMA EBIZUNGU:

Local Eden Brand, Cozy, Hemico, Kleena, Lovely, Luxury, Nannies, Facial Tissue, Relax Blended Tissue, Silkee Jambo, Soft Nap, Softee Toilet Tissue, Super Silk, Swan Soft, Wisper and Luxury Imported Piao, Piao Piao, Virony, Cosy White, Rosy, Sifa, Tena, Soft Wind Piao Piao.

EMIFALISO: Eco Foam ne Rio Foam

AMATAALA AGAKEKKEREZA AMASANNYALAZE:

Imported Canny, CIXING, DXBZ, Long stay, Nomi, Semco, Tedex, UNITEC, ne Val Light.

EBIKWEKWETO EBIZZE BIKOLEBWA

Ku nkomerero y’omwezi gwa April, 2018 ekitongole ky’omutindo kw’ebyamaguzi (UNBS), nga kiri ne poliisi y’ensi yonna (Interpol Police), ekitongole ekiwandiisa bizinensi mu ggwanga ekya Uganda Registration Services Bureau (URSB) n’abalwanyisa ebintu ebitali bya mutindo (Anti-counterfeit Newtwork) baakola ekikwekweto kye baatuuma ‘Operation Fagia”, mwe baakwatira ebyamaguzi eby’enjawulo ebitali ku mutindo.

Ekitongole era kyakwata ebyamaguzi ebibalirirwamu akawumbi kamu n’obukadde 700 okuva ku katale omwali; ebizigo, sswiiti, butto, bbiya, obuwunga bwa kasooli n’ebirala.

Mu May, 2016 ekitongole ky’omutindo kyafulumya ekiwandiiko nga kiwera okutunda omunnyo gwa Bahari ne Sunsat nga kigamba nti bino nabyo tebituukana na mutindo era katoni z’omunnyo gwa Malijndi 578 n’ez’ogwa Sunsat 219 zaakwatibwa okuva e Gulu ne Kampala.

 ba  nga beekebejja ebintu ebiyiseeko mu supamaketi emu Aba UNBS nga beekebejja ebintu ebiyiseeko mu supamaketi emu.

 



EBYAMAGUZI EBY’EBICUPULI BIVA WA

Dr. Manyindo agamba nti ebyamaguzi ebitatuukanye na mutindo ebisinga bimanyiddwa kuva China wadde ng’era ekola eby’omutindo omutuufu n’amawanga agaakula ne gagigulako.

Annyonnyola nti wabula olw’obwavu, mu Uganda, abasuubuzi basalawo kusuubulayo bintu bya mutindo gwa wansi.

Agamba nti ebyamaguzi bino biyisibwa ku nsalo za Uganda awatali bakungu ba UNBS okusooka okufuna omukisa okukakasa nti bituukana n’omutindo.

Agamba nti, ebyamaguzi bino bwe bituusibwa mu Uganda bisaasaanyizibwa eggwanga lyonna kyokka ng’amasoso g’ebyalo gali bubi okusinga ebibuga kuba aba UNBS balwawo n’oluusi obutatuukirayo ddala kuba bakyali batono.

EKIKOLEDDWA

Dr. Manyindo agamba nti ekitongole kiriko enkola gye kitandise okulaba nga buli kyamaguzi ekikolebwa mu Uganda kituukana n’omutindo eyitibwa “Distinctive Mark’ era ng’ebyamaguzi byonna byakuweebwanga akabonero okuva mu kitongole okukakasa nti ddala bya mutindo.

“Tugenda kutandika n’ebyamaguzi ebirabika nga by’ebisinga okussa obulamu bw’ababirya mu katyabaga omuli; ebyokulya n’okunywa, omubisi gw’enjuki, ebizigo, emifaliso n’ebizimbisibwa olwo tudde ku byamaguzi ebirala byonna”, Dr. Manyindo bw’agamba.

Mu ngeri y’emu baliko ebitongole ebirina ebifo omukebererwa (laabu) okuli Chemiphar Uganda e Kansanga, Uganda Industrial Research Institute (UIRI) e Kyambogo, Smart Uganda, Reco Industries ne Roofing group omuntu gy’asobola okutwala ebyamaguzi bye okukeberebwa olwo n’aleeta empapula ku kitongole okukakasibwa singa bibeera nga biyise.

‘ABASUUBUZI TUFIIRIZIBWA’

Samuel Muyomba omwogezi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Kikuubo agamba nti, gavumenti evunaanyizibwa kinene okukakasa nti ebyamaguzi ebitundibwa ku katale ka Uganda by’ebyo ebiri ku mutindo ogwetaagisa.

“Ensonga y’omutindo gw’ebyamaguzi bya Uganda, gavumenti yennyini y’erina okugikwatako. Ng’abasuubuzi era Bannayuganda ababikozesa kitwewuunyisa okulaba ebyamaguzi bino ku katale nga gavumenti erina amateeka n’obusobozi okubirwanyisa”, Muyomba bw’agamba.

Agattako nti, ng’oggyeeko okuyambako okulwanyisa ebicupuli, embeera y’ebyenfuna nayo erina okutunuulirwa ennyo kuba abantu buli lwe babeera abaavu buli omu anoonya ngeri ya kwebeezaawo n’ekivaamu kuyiiya bintu bitali ku mutindo ye kasita afuna ssente.

Isa Ssekitto omwogezi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Uganda ekya KACITA agamba nti ebyamaguzi bino okusookera ddala bifiiriza abasuubuzi kuba omusuubuzi asuubula ekintu ky’omutindo omutuufu agenda kutunda ku bbeeyi ya waggulu ate ow’ebicupuli atunde ya wansi.

“Abaguzi baffe abasinga tebasobola kwawula byamaguzi bino kuba bibeera bifaanagana ekitegeeza nti omusuubuzi aleeta ebyamaguzi ebituufu tagenda kutunda n’oluusi bizinensi zigwe”, Ssekitto bw’agamba.

Ayongerako nti ng’oggyeeko omutindo omufu, abalala batunda biweddeko nga waliwo abamu abakyusa ennaku z’omwezi abalala ne bakyuusa mwe bisibwa okubizza mu birala okubiraga nti bikyaliko ne babizza mu maduuka”.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eddwalirolyebutengahealthcentreiv 220x290

Eddwaaliro ly'e Bukomansimbi lisaliddwaako...

Abatuuze b'e Bukomansimbi bali mu katuubagiro olw'eddwaliro erisinga obunene mu disitulikiti eno okusalibwako amasannyalaze...

Omuyimbi Branic bamukutte mu liiso...

EKUBA omunaku tekya naye eri ku muyimbi Branic Benzie, baasula nabo be bamutegeera.

Very 220x290

Muwala nze wendi okukuteekamu ebinusu...

OMUYIMBI Nicklass amanyiddwa nga Kabaka wa Ghetto mu Uganda yatuuse ku mukolo ogumu e Zzana gye yabadde yayitiddwa...

Flavia1 220x290

Omukazi avuuniddwa kuguza abayeekera...

Akech kigambibwa nti y'omu ku bantu abaludde nga baguza abayeekera mu South Sudan emmundu ng'ono azijja mu Uganda....

Komera 220x290

Omuserikale w'ekkomera akubye omusibe...

Okello olumaze okukuba Nyorwani amasasi musanvu naye ne yeekuba essasi mu bulago n'afiirawo.