TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Engeri Buganda gye yalwaniriramu obwetwaaze bwa Uganda

Engeri Buganda gye yalwaniriramu obwetwaaze bwa Uganda

By Musasi wa Bukedde

Added 9th October 2018

Leero nga October 9, 2018, Uganda lw’ejaguza obwetwaze bwaayo obw’omulundi ogwa 56. Mu kiseera nga kino bingi ebyali bigenda mu maaso nga Bannayuganda beebuga okutuuka ku kkula ly’Ameefuga.

Abu1 703x422

Abu Mayanja ne Benedicto Kiwanuka nga boogerako eri abantu.

Bya PROSSY NABABINGE
 
Leero nga October 9, 2018, Uganda lw’ejaguza obwetwaze bwaayo obw’omulundi ogwa 56. Mu kiseera nga kino bingi ebyali bigenda mu maaso nga Bannayuganda
beebuga okutuuka ku kkula ly’Ameefuga.
 
Okutuuka ku bwetwaze lwali lutabaalo, kyali kyetaagisa amagezi n’obuvumu okuwangula Abazungu, era gye byaggweera Omuzungu yapondooka n’adda ewaabwe.
 
Ebitundu eby’enjawulo n’abantu baamu baalina ebintu eby’enjawulo n’omuwendo
omunene gwe baawaayo okufuna obwetwaze era ng’ekimu ku bitundu bya Uganda ekitabuusibwa maaso mu kulwanirira obwetwaze ye Buganda.
 
LWAKI BUGANDA YALI KU MWANJO MU LUTABAALO LUNO
Yusufu Lule omu kw’abo abaazaalibwa mu kiseera ky’olutabaalo luno, anyumya nti Buganda okusalawo okuwoma omutwe mu kaweefube w’okulwanirira Ameefuga,
kyali tekyewuunyisa anti okuviira ddala ku ntandikwa ensi Uganda teyaliiwo.
 
Ono annyonnyola nti, okuva ku ntandikwa, mu kifo kya Uganda, waliwo mawanga nga Buganda, Bunyoro, Toro, Busoga n’amalala okutuusa Abangereza lwe bajja ne
basala ensalo mu 1926 okukutulakutula Kenya n’ensi endala era bwetyo Uganda bw’ezze eweza okufaanana nga bw’ogiraba kati.
 
OLUTALO BUGANDA YALUTANDIKA NA BIBIINA
Okuva emabega, Abaganda baali basajja abalemera ku nsonga, abajagujagu era abaali bakola buli kimu n’obumalirivu. Kino, Isreal Mayengo akyesigamya ku bintu enkuyanja Abaganda bye baakolanga.
 
Mayengo agamba nti, okumanya Abaganda baali beetaaga obwetwaze bw’eggwanga lino, baavaamu omwasi ogwasooka bwe baatondawo ekibiina ekirwanirira obwetwaze mu mawanga ga East Africa ekyasookera ddala.
 
Kino kyayitibwanga ‘The League of African Citizen’ ng’omukulembeze waakyo eyasooka yali, Daudi Ssekkuma era kino yakiwandiisa nga March 10, 1944 olwo nno ne kifuuka ekibiina ekitongole.
 
Ono yali yasomera South Afrika era yali amaze okulaba ebbugumu ly’okwagala okwefuga era ng’olwadda awaka, naye kyeyatandikirako.
 
‘The League of African Citizen’ kyali kisaale mu kulwanirira obwetwaze era ng’omukulembeze waakyo Ssekkuma buli kiseera ng’awandiikira ekitongole kya
‘League of Nations’ okutuukira ddala we kyafuukira United Nations ng’ensonga enkulu gyakkatiriza ya kuwa Uganda bwetwaze. Ekitebe ky’ekibiina kino kyali mu Kampala.
 avuma aggwa Kavuma Kaggwa

 

 
ABAGANDA BEEGUGUNGA
Ebyakolebwa ekibiina kino byatandika mpola okusiga ensigo mu Baganda era oluvannyuma lw’emyezi emitonotono, Abaganda baatandika mpola n’okwegugunga
mu keediimo akaali kamanyiddwa nga NNAMBA 8 mu January wa 1945.
 
Akeediimo kano kaatandikira mu bibuga nga Masaka ne Kampala omwali mujjudde abantu era oluvannyuma ne kasaasaanira ebitundu nga Masaka, Mbale, Jinja,
Tororo, Gulu ne Lira. Kano nno ke kamu ku bintu ebingi ebyawaliriza Abazungu obwetwaze.
 
Kano kaali kagendereddwaamu okulaga obutali bumativu bwa Baganda ku nfuga eyaliwo n’engeri abaddugavu gye baali bakiikiriddwaamu mu Palamenti anti mu kiseera ekyo tewaaliwo muddugavu yenna yali ku kakiiko ka LEGCO.
 
Akeegugungo kano kaavaamu ebibala anti nga September 23, 1945, Gavana John Hall yalangirira ng’omuwandiisi w’ensi ezaali zifugibwa Abangereza bwe yali akakasizza
enteekateeka z’okulonda abaddugavu basatu okwegatta ku lukiiko.
 
Bwe kityo nga December 4, 1945, Michael Ernest Kawalya Kaggwa eyali katikkiro wa Buganda, Petero Nyangabyaki eyali katikkiro wa Bunyoro ne Yekonia Zirabamuzaale
eyali omuwandiisi wa Busoga balayizibwa ne bafuuka abaddugavu abaasooka okutuula ku kakiiko kano.
 
Bano baali baakukiikirira Abaganda, abantu b’e Bugwanjuba ne mu Buvanjuba.
 
OBUMU BW’ABAGANDA BWABONGERA AMAANYI
 
Olw’obumu bwe baayolesa nga beegatiddwaako Abaseveni abaali bava mu ssematalo owokubiri, Gavana Hall yatuuka n’okulangirira obwegugungo bukomekkerezebwe nga bwasuubiza nti yali wa kukola ku byali biruma abaddugavu okwali n’ekyemisaala emitono.
 
Mu kiseera kino abasajja nga Ignatius. Musaazi baali bamaze okwesowolayo okulwanirira obwetwaze era baakulembera obwegugungo bungi obwatiisa Abazungu
ne bamanyira ddala nti ebintu byali bitandise okubakaluubirira.
 
Musaazi amaanyi ge geeyolekera nnyo mu keediimo NNAMBA 9 akaaliiwo wakati wa 1948 - 1949, Abataka mwe beekalakaasiriza okwetooloola eggwanga nga baagala
baweebwe ebyagi bya ppamba.
 
Omutaka Kaggwa Kavuma ow’e Kyaggwe annyonnyola nti K. Musaazi yali omu kw’abo abeekalakaasa era gye byaggweera ng’atonzeewo ekibiina ekigatta abalimi mu ggwanga.
 
Kino yakituuma ‘Federation of Partnership of Uganda African Farmers’ era kyawangala okumala ebbanga. Yayita n’abantu ab’enjawulo okuva wabweru wa Buganda okwali;
Abwangoto, Okwerede, Yekosofati Engur ne Katembo, okusobola okwegatta ku kibiina kino okulwanirira Ameefuga ge tweyagaliramu kati.
 
Lule agattako nti olutalo luno olwatandika ng’olw’ebyobusuubuzi lwe lwafuuka olw’ebyobufuzi mu luvannyuma era Abaganda abaasooka okubeera mu bibiina by’obufuzi baava mw’abo abaali mu kibiina kino.
 
EBYOBUFUZI BIYINGIRA BUGANDA
Wadde ng’ekibiina kya’ The League of African Citizen kyali kikyaliwo era nga kikyali ku mulamwa gw’okulwanirira obwetwaze, Musaazi ekibiina ky’abalimi kye yali atandiseewo yakyongeramu amaanyi era ne kifuuka ekibiina ky’ebyobufuzi ekyasooka bwe yakifuula Uganda National Congress (UNC).
 
Omutaka Kavuma annyumya nti, okubeerawo kw’ekibiina kino n’ekya Bataka Bu (ekitegeeza abaana ba Buganda) kyawa Abaganda omwagaanya okwogera ku bwetwaze nga bali mu kitole ekyaleetera Abazungu okukakasa obumalirivu bwa
Baganda.
 
Ekibiina kino, Musaazi ye yali akikulira wamu ne Abubaker Kakyama Mayanja era nga bano bombi baali baana Baganda. Kino kyokka kiraga amaanyi n’obwetaavu bw’Ameefuga Abaganda bye balina.
 
Bano nno baakolagananga nga ne bannaabwe okuva mu bitundu ebirala okwali; Stefano Abwangoto (Bugisu), Ben Okwerede (Teso), Yekosofati Engur (Lango) ne S.B Katembo (Tooro).
 
Okutandikawo kw’ekibiina kino ye yali emmanduso ya Uganda okufuna obwetwaze era ng’enkiiko zaabwe zaabeeranga ku nyanja ya Kabaka mu maka g’omutaka
Kitamirike.
 
Ng’ekibiina kino kitongozeddwa, Musaazi ne Mayanja baatandika okubunyisa enjiri y’okulwanirira Ameefuga mu bitundu bya Buganda nga bayambibwako abaali
ku kakiiko ka ‘The Uganda Farmers Federation’.
 
Enjiri eno yacaaka n’etuuka ne mu masomero okuli ne yunivasite e Makerere. Mayengo anyumya nti mu kiseera ekyo, yali akyasoma e Buddo era ng’eno nayo waliyo ekibiina ekyali kimanyiddwa nga ‘Buddo Political Society’ nga kino kyakyazanga
abakulembeze nga Musaazi ne boogerako eri abayizi.
 
Kino nno ye yali akikulira era nga we baatuukira okuvaayo ng’omuyaga gw’ebyobufuzi gututte bangi era abakulembeze bangi abaamaanyi abaava mu kibiina kino okwali; Kintu Musoke, James Bwogi n’abalala.
 
Omutaka Kavuma anyumya nti, ebyobufuzi by’ayongera okusaasaanira mu ggwanga ng’ensibuko yaabyo enkulu eri mu Buganda.
 
Ebibiina by’obufuzi ebirala byeyongera okumerukawo nga kuno kwaliko n’ekya Democratic Party (DP) ekyatandikibwawo Matayo Mugwanya oluvannyuma eyakwasa
Ben Kiwanuka obukulembeze bwakyo.
 
Ono nno naye yatakuza nnyo Abazungu emitwe.
 
Mu bibiina ebirala ebyamerukawo mwe mwali n’ekya Uganda People’s Congress (UPC) ekyamala ne kyegattira wamu ne UNC. Bino byonna byali ku mulamwa gwa kulwanirira bwetwaze.
 odfrey ule Godfrey Lule

 

 
ENGERI OKUWA BUGANDA OBWETWAZE GYE KYAWANGULIRA UGANDA AMEEFUGA
Nga Ssekabaka Muteesa II amaze okuwahhangusibwa mu 1953, yakomezebwawo mu 1955 era okudda kwe kwayongera omuliro mu lutalo lw’okuwa Uganda obwetwaze
olw’endagaano empya muzzahhanda eyakolebwa wakati w’Abaganda n’Abangereza.
Lule agamba nti, eno yalimu akakwakkulizo nti Buganda yali yaakuweebwa Ameefuga gaayo mu bbanga eritali lya wala era baali baakuddamu okugyekenneenya buli
luvannyuma lw’emyaka etaano.
 
Kino kyawa Buganda amaanyi agasusse wadde nga teyalina busobozi bw’ogerera bitundu birala era mu kino, amawanga amalala gaatandika okwerwanako mu
kwagala okufuna ebintu bye bimu ne Buganda.
 
Oluvannyuma lw’emyaka etaano, endagaano empya yaddamu n’ekolebwa mu 1961 ng’eno yayongera okukkaatiriza nti Buganda yali yaakuweebwa Ameefuga, mu kino, n’amawanga amalala, gaabeeranga bulindaala okukakasa nga tegasigalira era buli Buganda kye yatuukako ng’olwo nabo bakisaba.
 
Mu 1962, Abaganda n’amawanga amalala beetaba mu lukuhhaana lwa Lancaster mu London, era nga buli ggwanga mu Uganda lyakiikirirwa, muno mwe mwava ekkula
ly’Amafega ga Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...