TOP

Ebyokusengula abantu mu Lwera

By Musasi wa Bukedde

Added 5th November 2018

Lipoota eyakoleddwa akakiiko, Pulezidenti ke yasindise e Kamaliba mu Lwera, eyongedde okuteeka Kakande mu kattu bwe bakizudde nti mu ngeri ey’olukujjukujju yakozesa erinnya lya Muky. Janet Museveni okutiisa abatuuze n’abasengula mu ngeri ey’eryanyi.

Kakande1 703x422

Abamu ku batuuze abaagobwa ku mwalo gw'e Kamaliba nga batikka ebintu ku loole.

Bya RICHARD KAYIIRA

ABASAJJA ba Nabbi Kakande bwe baali basengula abantu mu Lwera tebaamanya nti ebintu binaalanda ne bibakyukira.

Pulezidenti Museveni olwabiyingiddemu, ttiimu ya Nabbi Samuel Kakande ne yeemulula mpola.

 abbi akande Nabbi Kakande

 

Lipoota eyakoleddwa akakiiko, Pulezidenti ke yasindise e Kamaliba mu Lwera, eyongedde okuteeka Kakande mu kattu bwe bakizudde nti mu ngeri ey’olukujjukujju yakozesa erinnya lya Muky. Janet Museveni okutiisa abatuuze n’abasengula mu ngeri ey’eryanyi.

Abaasengulwa nabo beesigamye ku lipoota eno okuteeka Kakande, owa Synagogue Church of All Nations ku Bbiri ku nninga, aliwe byonna ebyayonoonebwa nga babasengula kubanga lipoota eraga nti kyakolebwa mu ngeri etaagoberera mateeka.

Abamu ku baasengulwa batandise okudda mpolampola oluvannyuma lwa Kakande okulagirwa okwamuka ekifo ekyo, wabula abasinga obungi balinze ennyumba zaabwe zimale kuzzibwawo balyoke bakomewo mu bibanja byabwe.

Amayumba ge baateekera omuliro gaali gatudde ku yiika 12 okuliraana omwalo gw’e Kamaliba ku nnyanja Nalubale. Omwalo guno guli mu disitulikiti y’e Mpigi era guli kumpi n’ensalo eyawula Kalungu ne Mpigi mu Lwera.

 batuuze nga basitula alyango eyakutuka enkizi Abatuuze nga basitula Kalyango eyakutuka enkizi.

 

ABAAFUNA EBISAGO NGA BASENGULWA BAKYALI KU NDIRI

Mu kusengula okwalimu n’okwokya amayumba, ebisago abatuuze bye baafuna biviiriddeko abamu okufa ate abalala bakyali ku ndiri.

Ekibabu ekyabatuukako nga March 16, 2018 tebayinza kukyerabira.

Ekyabatuukako kyasukka ne ku ky’e Lusanja (mu Wakiso) gye baasengudde abantu, kubanga ab’e Kamaliba tebaakoma ku kubamenyera mayumba, wabula baagakumako n’omuliro n’ebyalimu ne bisirikka!

Bw’onoonya alina Densite (Endagamuntu) ku baasengulwa e Kamaliba, okaluubirirwa okumuzuula kubanga ebyo bye bimu ku biwandiiko eby’omugaso ebyasirikkira mu muliro ogwakumwa abavubuka abaali bapangisiddwa okusengula abantu abali mu 500.

alt=''

 

Vincent Kalyango takyasobola kutuula era n’okuyimirira bakwatirira mukwatirire. Agamba nti obudde bwali busaasaana abasajja ne bazinda ekitundu.

Bwe yawulira batandise okukuba oluggi, n’aggulawo alabe ogubadde. Tebaamulinda na kubako ky’ayogera ne bamukiika omuggo mu mbiriizi n’agwa wansi. Baatandika okumusotta n’okumukuba ensambaggere mu lubuto ng'ali ku ttaka alaajana.

Olubuto lwa Kalyango lukaluba nga ejjinja era ateebereza nti mu kumusamba, bandiba nga baakosa ensigo. Agamba nti n’olukizi lwakosebwa nnyo era lwe lumulemesa okuyimirira oba okutuula. Eby’embi, ebyo byonna ateebereza biteebereze kubanga talina ddwaaliro gye yali agenze bamukebere bazuule ekituufu.

Kalyango agamba nti banne bwe baamuyoolayoola okumuggya e Kamaliba baamutuusiza wa mukwano gwe e Kamuwunga (kiriraanye Kamaliba) era awo w’amaze emyezi musanvu ng’ali ku ndiri.

Agamba nti olw’obulumi obungi, olumu bamugulirayo obuweke obukkakkanya obulumi era obwo bw’akozesezza ebbanga eryo lyonna kubanga ssente ezimutwala mu ddwaaliro zaabula.

Omusajja eyali ow'ekiwago, yenna asowottose era takyalina ssuubi era n’abaana be abato eby’okusoma byakoma nga kati nnyaabwe amaanyi yagassa ku kimu, kunoonya kye banaalya.

  yamisango ku kkono nabaserikale be lwe baasengula abatuuze be amaliba DPC Nyamisango (ku kkono) n'abaserikale be lwe baasengula abatuuze b'e Kamaliba.

 

Justine Ssereve, alina omwana atalina magulu naye akyali mu nnaku kubanga abasajja tebaakoma ku kusaanyaawo nnyumba mwe baali babeera, wabula n’akagaali omwana Resty Ainembabazi 8, mwe yatambuliranga, abasajja baakasaanyaawo era kati omwana yeekulula bwekuluzi ku ttaka!

Justine Namata naye alojja ekyamutuukako. Yeerabira omu ku baana be emabega (Kirabo) era mu kuyandayanda ng’amugoberera, abasajja nti baamukwata ne bamukanyuga mu kidiba ekyali kiriraanye amaka Namata mwe yali abeera. “Abasajja baalinga abatujju, era Mukama yazza bibye okuba ng’omwana ono akyali mulamu.” 

Pulojekiti ya World Bank nayo baagikosa

SSENTEBE w’ekyalo, Sulaiman Kaweesi yagambye nti Kakande mu kubasengula teyalowooza ku pulojekiti eyitibwa 'Lake Victoria Environment Management Project II (LAVEMP II). ewagirwa World Bank erimu okulunda enkoko, embizzi n’embuzi.

Agamba nti abasajja we baabalumbira nga pulojekiti etinta era World Bank yali yaakamala okubasiima olw’okugiddukanya obulungi n’ebawa ekirabo kya kaabuyonjo ey’omulembe, eyamalawo obukadde 230.

Okubasengula kwagikosa nnyo nti we baabalumbira ng’ebigirimu bibalirirwa mu bukadde 600 wabula byonna byagootaana kubanga enkoko n’embuzi nnyingi zaatwalibwa bawannyondo ba kkooti.

Kaweesi n’abatuuze baagala Kakande aliyirire byonna ebyayonoonebwa.

 zimu ku nnyumba poliisi ze yateekera omuliro e amaliba mu wera Ezimu ku nnyumba poliisi ze yateekera omuliro e Kamaliba mu Lwera.

 

ENSIBUKO Y’OLUTALO KU TTAKA LINO

Kaweesi agamba nti baasenga ku kitundu ekyo emyaka mingi nnyo emabega era abamu ku baasengulwa baabazaalira awo. Baabeerangawo nga bakimanyi nti ettaka lya gavumenti era ligwa mu kitongole ky’obutonde bw’ensi ekya NEMA.

Oluvannyuma baasaba layisinsi okuva mu NEMA ne bagibawa nga bakkiriziddwa okukolerako obulunzi okumala emyaka 20.

Wabula nti baatandika okutiisibwatiisibwa abasajja abaali bakolera abagagga babiri; Simpson Birungi owa Movit ne Nabbi Kakande, abaali basima omusenyu mu Lwera. Oluvannyuma ekitundu Birungi kye yali akaayanira nti nakyo yakiguza Kakande, ne batandika kuttunka na basajja ba Kakande.

“Ekisinga obubi, baatulimba nti batusengulira ku biragiro bya maka g’Obwapulezidenti,” Kaweesi bwe yagambye.

Bwe beekubira enduulu ewa Pulezidenti n’aweereza akakiikoakakulirwa Lt. Col. Edith Nakalema, baafuna essuubi kuba kaazuula bingi ebyali bivulugiddwa akakiiko k’ettakaku disitulikiti, poliisi ne kkooti.

Pulezidenti bwe yeesitudde n’agenda mu kifo kino nga October 7, 2018 nakyo kyabongedde amaanyi kubanga yavuddeyo abasuubizza okuyambako okuzzaawo amayumba agatali ga nkalakkalira agakkirizibwa mu bifo eby’entobazzi.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu ky’e Mpigi (Katonga Region), Joseph Musana yagambye nti baataddewo obukuumi mu kitundu era abatuuze kati bali mu ddembe.

 

LIPOOTA BYE YASEMBYE BIKOLEBWE
 
Ebyazuuliddwa n’ebyasembeddwa akakiiko akakulirwa Lt. Col. Nakalema bitadde Kakande mu kattu kubanga biraga olukujjukujju olwakozesebwa mu kusengula abatuuze. Kakande yeegaana eky’okukozesa erinnya lya Janet Museveni mu kusengula kuno, kyokka abatuuze balumiriza nti basajja be kye baakulembezanga.
 
1. Okunoonyereza kwalaze nti ekyapa Kakande yakifuna mu ngeri ya lukujjukujju nga kimuweebwa abavunaanyizibwa ku by’ettaka mu disitulikiti y’e Mpigi era akakiiko kaasembye kisazibwemu kuba yakifuna ku ttaka eriri mu lutobazzi.
 
2. Eyali aduumira poliisi y’e Mpigi mu kiseera ekyo, Jane Diana Nyamisango (ku
ddyo) yakozesa eryanyi erisukkiridde mu kusengula abantu era akakiiko kaasembye akangavvulwe.
 
Omuduumizi wa poliisi Martin Okoth Ochola yalagidde Nyamisango n’awummuzibwa nga bwe bamunoonyerezaako. 
Musana yagambye nti okunoonyereza ku Nyamisango kugenda mu maaso.
 
3. Omulamuzi Naume Sikhoya naye akakiiko kaasembye abuulirizibweko ku ngeri gye yawa Kakande ekiragiro kya kkooti ekisengula abantu.
 
Ekimu ku bye beezinzeeko y’engeri gye yakkiriza okuyingira mu nsonga ze yamanya nti ssente ezoogerwako mu musango ziri obukadde 125 basajja ba Kakande ze bagamba nti ze baakozesa okuliyirira abantu, ate nga kkooti ye tewulira misango giri mu ssente ezo.
 
4. Akakiiko kaasembye abatuuze badde mu bifo byabwe mwe baali.
 
5. Pulojekiti ya LAVEMP II nayo egende mu maaso awatali kutaataaganyizibwa kulala.
6. Okussa NEMA ku nninga ennyonnyole engeri gye yayingizaawo Kakande ate nga yali emaze okuwa abatuuze layisinsi ekolerawo.
7. Baasembye akakiiko ka Bamugemereire okunoonyereza ku ngeri ettaka ly’entobazzi gye ligabwamu n’okukangavvula abali emabega w’okugaba ebyapa wamu n’ababifuna.
 
Abatuuze baagala n’akakiiko k’eddembe ly’obuntu okuyingira mu nsonga zino kubanga baatulugunyizibwa n’eddembe lyabwe ne lirinnyirirwa Kakande bwe ayali nga y’avunaanyizibwa ku kifo ekyo.
 
Basajja be baali bassaawo obuyumba obwakozesebwanga mu kubatulugunya.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...