TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ab’e Njeru balumiriza ssentebe okukolagana n’abababbako ettaka

Ab’e Njeru balumiriza ssentebe okukolagana n’abababbako ettaka

By Musasi wa Bukedde

Added 13th November 2018

ABASUUBUZI 430 mu katale k’oku Nile mu Munisipaali y’e Njeru tebamanyi kiddako ku nsonga z’ettaka okutudde akatale kaabwe.

Njeru2 703x422

Bawannyondo ba kkooti nga basiba sseηηenge n’okusimba ebikondo ku ttaka ly’e Nkokonjeru-Bujowali eririko enkaayana.

 

Bya EMMANUEL BALUKUSA
 
ABASUUBUZI 430 mu katale k’oku Nile mu Munisipaali y’e Njeru tebamanyi kiddako ku nsonga z’ettaka okutudde akatale kaabwe.
 
Kiddiridde abamu ku bannaabwe okukwatagana n’abakozi ku disitulikiti e Buikwe, ne babayita emabega ne bafuna ekyapa ky’ettaka lino ne balitunda.
 
Balumiriza ssentebe w’e Buikwe, Matia Kigongo, okubeera mu kkobaane. Gye buvuddeko, ensonga baazitutte mu kakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka.
 
Omulamuzi Catherine Bamugemereire yayise enjuyi zombi ne zinnyonnyola nga kati balindirira ekinaasemba okukolebwa balabe oba banaafuna obwannannyini ku
ttaka lino.
 
Akatale kano kasangibwa Njeru okumpi n’omugga Kiyira nga waakaweta ku lidda e Bugerere. Abasinga bakayita Nile Market wabula mu biwandiiko baawandiisaayo
Njeru Central Market.
 
Kali mu munisipaali y’e Njeru, disitulikiti y’e Buikwe.
 
Ssentebe w’abasuubuzi mu katale kano, Steven Koboy yategeezezza nti mu 2011 ettaka lino we baatandikira okulisalamu poloti. Baagenda okubuuza nga waliwo abaalifunako ekyapa.
sentebe igongoSsentebe Kigongo

 

 
Abaasooka okuligabana kwe kuli Omuyindi Singh Rana eyafuna
ekitundu we baali balina okuzimba kaabuyonjo z’akatale n’ateekawo ebbaala.
 
Abdallah Bogere omusuubuzi era yali ssentebe w’akatale, yategeezezza nti mu 2016 waliwo akakundi k’abasuubuzi mukaaga, abeegatta ne bakola ekibiina kya Njeru Lockup Owners Association.
 
Bano be baakwatagana ne ssentebe wa disitulikiti, Kigongo ne bafuna ekyapa ng’abasuubuzi abalala 430 tebamanyi olwo ettaka ne balitunda.
 
Robert Jjuuko omu ku basuubuzi omukaaga abalina ekyapa yategeezezza Bukedde
nti okufuna ekyapa baali bagudde mu lukwe nga waliwo abamu ku bakozi ku kkanso y’e Njeru abaali baagala okubayita emabega bafune ekyapa ng’abasuubuzi tebamanyi nabo kwe kubatebuka.
 
Ssentebe wa divizoni y’e Njeru, Resty Nanteza; Emivuyo gy’ettaka mu Njeru giva ku bakozi ba gavumenti n’abagagga abakolagana ne kkooti.
 
Ettaka erisinga mu Njeru lyatundibwa naddala erya gavumenti, ekyennyamiza
nti n’enguudo ezimu bazizibye ne bazisalamu poloti.
 
“Abantu abo batunze buli kimu kuba n’ekisaawe kye tubadde nakyo mu Njeru ekya Nile, ettaka ly’abavubuka, ettaka ly’ekkuumiro ly’amata byonna byatundibwa
abakulembeze abaatusookawo.
 
Tebaakoma awo baayagala n’okutunda ettaka okuli ekitebe kya poliisi y’e Njeru wamu
n’essomero lya Njeru Primary,” Nanteza bwe yannyonnyodde.
 
KIGONGO AYOGEDDE
Ssentebe Kigongo gwe balumiriza okubeera mu mivuyo gvy’ettaka yagambye nti ababyogera bamulwanyisa lwa byabufuzi.
 
Yagambye nti ku ttaka ly’e Kinyara lye bamulumiriza, ekyapa ky’ekyalo kino kiri mu mannya ga bawala ababiri ate nga bano baana ba bakulembeze mu disitulikiti.
 
Abatuuze bwe baamutuukirira nga baagala asazeemu ekyapa ky’e Kinyara bwe yagaana okukikola ne bamuwaabira ewa kaliisoliiso wa gavumenti ne mu kakiiko k’Omulamuzi Catherine Bamugemereire era eno yonna yamala okwewozaako.
 
Ettaka ly’akatale ka Nile, Kigongo akakasizza ng’abantu omukaaga bwe balina ekyapa
wabula yawandiikira minisitule ya gavumenti z’ebitundu n’evunaanyizibwa ku kukulaakulanya ebibuga n’amayumba ng’abasaba basazeemu ekyapa kino wabula tezimuddangamu.
 

 

KINYARA-BUGUNGU BULAMBA BASATTIRA
 
Abatuuze b’e Kinyara-Bugungu Bulamba ekisangibwa mu divizoni y’e Njeru be bamu ku bakyasinze okukosebwa n’emivuyo gy’ettaka mu Njeru.
 
Mohammed Owundo ssentebe w’ekyalo yategeezezza nti baazaalibwa ku kyalo kino era kwe kuli n’ebiggya byabwe.
 
Wabula mu February 2015 abantu ab’enjawulo nga bakulembeddwaamu eyali akulira akakiiko k’ebyettaka ku disitulikiti y’e Buikwe, Noah Sennyonjo baatandika okulambula ettaka lyabwe ne bafundikira nga balitutte.
 
Peter Muzigu omutuuze yategeezezza nga Sennyonjo bwe yakolagana n’abakulembeze ku disitulikiti okuli ssentebe, Matia Kigongo, Peggie Kiggundu eyali omumyuka wa Kigongo, Yunusu Kiwalyanga eyali kansala wa Njeru ku disitulikiti era nga kati
ye mumyuka wa meeya w’ekibuga kye Njeru, eyali akulira ebyettaka mu Njeru Saleh
Sebwato ne ssentebe w’ekyalo James Musoke bwe beekobaana ne babba ettaka eriweza yiika 22 okuva ku batuuze era ne baliteeka mu mannya ga Barbara Lujwala
Birungi ng’ono muwala wa Peggie Kiggundu ne Aziza Nansubuga muwala wa Saleh Ssebwato.
 
Abatuuze baategeezezza nga bwe baagezaako okuddukira mu ofi isi ya RDC, Kyeyune Sennyonjo eyaliwo mu kiseera ekyo n’agezaako okubayamba.
 
Yazuula nti ssentebe Kigongo ne banne baali babbye ettaka eryo ne balyezza era nga balina ekyapa.
 
“Kigongo yajja n’atugamba nti buli nnyumba eri ku ttaka lino agenda okutusasulamu 400,000/- era nga tetulina kufi irwa mukisa ogwo. Wabula twamugoba ne tumugaana n’okudda ku kyalo n’okutuusa olwaleero era tukaaba n’okujojoba lw’abakulembeze be
twerondera kuba be baatugula,” Muzigu bwe yategeezezza.
 
AB’E NKOKONJERU NABO BAKAABA
 
Ab’e Kinyara si be bokka abakaaba olw’ekibbattaka mu Njeru wabula n’abatuuze b’e Bujowali- Nkokonjeru nabo bakaaba kye kimu olw’abakulembeze n’abakozi ba gavumenti abeekobaana n’abagagga ne babajojobya n’okubagoba ku ttaka lyabwe.
 
Ssentebe w’ekyalo, Edirisa Isiko yategeezezza nga Geoffrey Wasswa bwe yavaayo mu 2005 n’abawawaabira olw’okwesenza ku ttaka lye eriweza yiika 25 era okuva olwo tebafunanga ku mirembe.
 
Wasswa yawawaabira abantu bana okuli ssentebe Edirisa Isiko, Shaban Kalulu, Nickson Asega ne Twaha Kazingirizi. Bano baakwattibwa ne baggalirwa mu kkomera ly’e Kauga mu disitulikiti y’e Mukono nga bavunaanwa kusaalimbira ku ttaka lye.
 
Mu 2008 kkooti y’e Mukono eyali ekulirwa Omulamuzi Kagoda yafulumya ekiragiro ekigoba abatuuze ku ttaka eryo wabula eyali aduumira poliisi y’e Njeru, Christopher Katumba yagaana okukiteeka mu nkola.
 
Wabula nga October 22, 2015 ekiragiro kino kyateekebwa mu nkola era abaserikale 70 baayiibwa ku ttaka lino ne bawannyondo ba kkooti ne bakoona amayumba n’okwonoona ebintu by’abantu ne basimba n’ebikondo.
 
Abamu ku batuuze okuli Edirisa Isiko, Barbara Asega ne Victoria Asega baakwattibwa ne baggalirwa ku poliisi y’e Njeru. Baggulwako omusango gw’okugezaako okulemesa poliisi okukola emirimu gyayo.
 
Abubakari Kakaire omutuuze yategeezezza nga RDC Nasser Munuro eyaliwo mu kisera ekyo bwe yayingira mu nsonga z’ettaka eryo era n’alagira DPC, Katumba okuyimbula abasibe n’agaana.
 
Mu 2016 kkooti y’e Mukono yagoba omusango gwa Geoffrey Waswa era ng’ono yali talina ttaka lyonna ku kyalo. Kkooti yalagira abantu bonna abaakwatibwa okuyimbulwa, wabula mu mwaka gwe gumu omugagga omulala William Bagya yavaayo n’awawaabira abatuuze mu kkooti y’e Njeru ng’agamba nti ettaka lirye, era bonna baliriko mu bukyamu.
 
Mathew Njebe omutuuze ku ttaka lino yategeezezza nti Bagya akolagana ne poliisi era abantu basatu okuli Hajji Mohammed Ssempala, Onesmus Kiwanuka ne Amos Pasita baakwattibwa ne baggalirwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...