TOP

Abakazi bannamagye abatatya biduduma

By Musasi wa Bukedde

Added 7th March 2019

“Nava buto ng’omutima gwange gwegomba amagye. Nalina omutima ogwagala okulwanirira eggwanga lyange oba oli awo gye bujja mbalibwe mw’abo abalwaniridde eddembe lya Uganda.

Webritah 703x422

Ritah Ayebale

AMAGYE ky’ekitongole ky’ebyokwerinda ekisinga amaanyi mu ggwanga. Olw’amaanyi gaakyo n’abaserikale abatera okulabibwa mu bikwekweto n’okukakkanya obujagalaalo oyinza okulowooza nti abakulira ebitongole byakyo bonna basajja. Omusasi wa Bukedde Geral Kikulwe mu kujaguza olunaku lw’abakyala, akuggyiddeyo abakazi abeefunzizza emirimu n’ebifo ebyali eby’abasajja mu myaka gye 80.

 

Waliwo abakyala nga Lt. Gen. Proscovia Nalweyiso, Brig. Flavia Byekwaso, Cpt. Flavia Mulindwa, Col. Annette Nkalubo, Hon. Suzan Lakot Oruni, Hon. Evaryne Asiimwe Buregyeya n’abalala ababadde batera okwogerako. Kyokka waliyo n’abalala abafuuse yingini y’amagye kyokka nga tebamanyiddwa.

1. L/CPL. Ritah Ayebale 24, ali mu kitongole ekivuga ebimotoka by’amagye ga Uganda ebirwanyi (Armourous Brigade)  e Kasijjagira mu disitulikiti y’e Masaka era bw’aba ayogera ku mulimu gwe, ayogeza ssanyu na maanyi.

“Nava buto ng’omutima gwange gwegomba amagye. Nalina omutima ogwagala okulwanirira eggwanga lyange oba oli awo gye bujja mbalibwe mw’abo abalwaniridde eddembe lya Uganda.

Nayagalanga nnyo okukola ekyo abantu abalala kye batya, na kati njagala okubeera mw’abo abatono abakola ebintu ebizibu era ebitiisa abalala. Neebuuzanga muli, lwaki abasajja be basinga obungi mu magye, ddala balina ki abakyala kye batalina? 

Mu 2015 nga malirizza S4, nasalawo nnyingire amagye nga mpita e Boma mu Fortpotal ne nsaba okubeera omu kw’abo abataasa abali mu lutalo.Bantwala ku kkoosi ya “Tank Crew Course T72” ku ssomero lya “Armed Warfare Training School e Kalama mu disitulikiti y’e Mubende okumala omwaka gumu.

Obuvumu, obumalirivu n’obwagazi bye nayolesa byannyamba okuyiga amangu ate n’okusanyusa bakama bange ne bansindika okukolera  ku kitebe ky’e Masaka oluvannyuma lw’okukuguka.  

Nsobodde okugenda mu ntalo ez’enjawulo ng’e Somalia ne Sudan wabula okusoomooza kwe nsanze mu kuvuga ebimotoka bino naddala mu lutalo ng’emmundu ze zoogera. 

Okusitula bbomu, okuzitikka ku kimotoka mulimu munene kuba zizitowa nnyo ate nga tulina okutikkako eziwera okusobola okuzikasuukirira omulabe mu buli nsonda awatali kussa mukono”.

Ayebale agamba nti asuubira okwongera okusukkuluma atuukirize ebirooto bye by’alina  mu bulamu naddala mu magye.

Agattako nti tannaba kufumbirwa naye alina essuubi nti yadde aliba azadde tekigenda kumuggya ku mulamwa kuba kati yakola dda endagaano oba kufa oba bulamu waakulwanirira Uganda mu buli mbeera.

2. Ayebale akola ne Alice Achom 30, nga bonna bavuga bimotoka bino,nga bonna balina ekirooto kye kimu.

Ekibayambye okukwatagana gwe mutima gw’eggwanga gwe balina, tebafaayo ku ssente zibasasulwa naye amagye bakitwala nti buweereza nga Katonda y’alina empeera asinga oluvannyuma lw’okukola obulungi.

Bavuga n'okukanika ennyonyi z'amagye

 

MAJ. Naomi Karungi 30, y’avunaanyizibwa ku kuvuga ennyonyi z’amagye ezitambuza abajaasi nga bagenda ku misooni ez’enjawulo wano mu ggwanga n’ebweru ng’asinziira ku kitebe ekikulu ekye Entebbe Airforce Base era omulimu gwe agwenyumirizaamu.

“Neegatta ku magye mu 2004 oluvannyuma lw’okumaliriza diguli yange mu Social Work in Economics okuva ku yunivasite e Makerere.

Nali nnoonya mulimu ebiseera ebyo era omukisa ne gujja bwe baalanga emirimu gy’okuvuga ennyonyi z’amagye ate ng’obuyigirize beetaaga diguli yonna.Okusoomooza kwali kungi kubanga nasooka kutendekebwa mu magye nga sinnaba kuyiga bya nnyonyi.

Buli kintu neesanga nga kipya gyendi. Newankubadde nnali muwala muto nasobola okusoma kkoosi ya Cadet, ne nsoma eya Commander okutuusa bwe nakuguka mu by’ennyonyi.Newankubadde by’ali byetaaga obwongo bungi nnyo naye nakituukiriza kuba nali nkyagala.

Nsobodde okutambula amawanga mangi nga nvuga bajaasi bannange era mu 2015 nafuna omukisa okuvuga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuva e Rwakitula okutuukae Ntebbe. Kino nakissa mu  byafaayo 

Biraze ku 17 

byange era buli bwenkirowooza wae okukyogerako kimpa essanyu n’obuvumu.Ekirala kye sigenda kwerabira lwe lunaku bwe twali mu bbanga e Karamoja, bbaatule y’ennyonyi n’eggwaako omuliro olwo ennyonyi n’etabuka kyokka ng’empewo nnyingi mu bbanga. Neebaza Katonda nti nakozesa obukugu bwonna nengissa wansi mpola nga tekoze kabenje wade omuntu yenna okukosebwa. Akaseera kano kyali kyakuyiga n’okwongera okufuna obuvumu mu mulimugwange.

 

OBUBAKA BW’OLUNAKU LWAFFE

Abawala abato balina okufuna obuvumu n’obumalirivu ku kiki kye baagala, naddala mu mirimu egy’omu mutwe kubanga gisasula buli w’obeera. Nze kati ne bwenva mu magye era obukugu bwange nsigala nabwo ekirala bwe wabeerawo omukisa gw’okusoma bagukozese kubanga kati mu magye baagala ba S6 n’okweyongerayo.

 

EBIRUUBIRIRWA

Njagala nnyo okulaba ng’ekitongole ekivuga ennyonyi kikulaakulana okutuuka ku mutindo gw’ensi z’ebweru.

Nkola okunoonyereza ku ngeri amagye gye gayinza okwongera obukugu mu kulwanira mu bbanga.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano