TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Byaggwa bitya: Ettemu ku Ssendi, Kiki ekyaddusa nnamwandu n'abaana ku kyalo

Byaggwa bitya: Ettemu ku Ssendi, Kiki ekyaddusa nnamwandu n'abaana ku kyalo

By Musasi wa Bukedde

Added 10th March 2019

Ssendi eyali omutaka ku kyalo Jjimbo (mu yali disitulikiti y'e Mpigi kyokka kati Wakiso) yatemulirwa awaka we mu nfa eyaleka abatuuze nga beewuunya kyokka nga bakiteeka ku mukayala we Lovinsa Nagadya, muwala we Joyce Nannyanzi n'abatabani; Mawejje ne Fred Walonze. Bano baggulwako ogw'obutemu ku poliisi e Mpigi ku fayiro Sd Ref 28/15/06/1994. Gye byaggweera teri yamanya kyokka abakwate kuva lwe bayimbulwa ku kakulu ka poliisi ne ku kyalo ne basengukako kati awaka kifulukwa.

Jjimbogggg 703x422

Ssendi eyatemulwa

EKIKANGABWA ettemu omwafiira Ssendi kyeryakuba abatuuze  n’okutuusa leero bakyalirojja.  Ettemu lino lyali Jjimbo mu 1994 era lye lyaviirako mukyala we n’abaana okudduka ku kitundu.  

Omwana ku kyalo olutegeeramu ezimu ku mboozi ezisooka okutonnya mu kutu ziba ku maama agambibwa okwekobaana n’abaana ne batta kitaabwe. Agaali amaka ga Ssendi wadde aliraanyeewo akera n’aggulawo naye kiringa kifulukwa anti tewali asulamu. 

Lovinsa Nagadya n’abaana be  Joyce Nannyanzi, Mawejje ne Fred Waronze be bagambibwa okutta Eriyabu  Ssendi (yafiira ku myaka 70). Ekisinga okwewuunyisa abaaliwo kwe kulaba ng’okufa kwa mutuuze munnaabwe ate kubaviiriddemu okukuuma ekifulukwa kuba abaaliwo  amaka baagadduka.   

Nannyanzi muwala wa Ssendi mu kiseera kino ali ku ddya ew'omusajja gwe yafumbirwa nga wa myaka 75 newankubadde ye yali atemera mu myaka nga 27 ekiseera ekyo mu 1998.

Abaaliwo mu biseera ebyo bwebanasula mboozi ku byaliwo mu nfa ya Ssendi, na lwaki ettemu baliteeka ku mukyala we n’abaana  owuniikirira.

ABAALI KU KYALO JJIMBO BYE BOOGERA

Norah Namugga 83, amanyiddwa nga Namwandu wa Ddumba ku kyalo Jjimbo abinyumya bw’ati: “Ssendi yali dereeva wa baze omugenzi Ddumba. Ng’amaka bwe mutabula butakkaanya n’aga Ssendi bwe gaali ng’olumu atabuka ne mukyala we kyokka ensonga olumu baazireeteranga mwami (Ddumba) ne baddamu ne bakkaanya.    

Nnali sirowooza nti ensonga ziyinza n’okutuuka okuvaamu ettemu. Ffenna tufumbidde ku bugubi naye tugumye ne tukulana ne ba bbaffe okutuusa lwe bafudde. Nnalwawo okukkiriza nti abantu bano batta Ssendi naye anti abangi we basonga…….," Nnamwandu Namugga bwe yategeezezza.

Ate Erina Namuyanja 87, naye mutuuze ku Jjimbo agamba nti Ssendi yali "antwala nga maama nga ku nnaku enkulu angulira akanyama. Abasinga kuno bagamba yattibwa mukyala we n’abaana kyokka obutakkaanya bwabwe nali sibuwulirangako."

 oyce annyazi Joyce Nannyazi

SSENDI BYE YATEGEEZA NNYINA

Ludiya Nankumbi mutuuze ku kyalo Luwunga mu Wakiso bw’atandika okukaabira mutabani we Ssendi akuyungula ezziga.

“Ssendi yali mwana wange ddala. Nasikira nnyina ssenga wange naye eyali ayitibwa Ludiya Nankumbi eyaziikibwa e Bulemeezi” Nankumbi bw’atandika emboozi nga n’ettama alizizise ekibatu. 

Ettemu lino alissa ku Nagadya gw’ayita Nannono nti ye yamuttira omwana we Ssendi. “Bya mpuna kuba ate yali n’abazzukulu Ssendi b’azaala n’omukazi oyo. Abazzukulu (Nannyanzi, waronze ne Mawejje) bano  tebalinva ku mutima. 

SSENDI YANTEGEEZAAKO

Nankumbi ayongera n’ategeeza nti, “ Ssendi yantegeeza bwe twali mu kuziika e Bulemeezi nti mukyala we n’abaana balimutta era waayita mbale ne kituukirira. Be baamutta, baamuttira nsimbi ze era baazitwala. Nankumbi eyasangiddwa ku ndiri olw’obulwadde bw’ayogera.

Alaajana nti mu baana ba Ssendi kuliko  ow’e Gayaza gw’atumya agende amulabeko nga tannafa kuba oyo ye mwana amutwala ng’omuntu. Abasigadde batemu era mbatya Nankumbi bw’agamba.

ovinsa agadyaLovinsa Nagadya

EYALI OWA LC AYOGEDDE EKYAVAAKO ETTEMU

Eriabu Mutebi mu kiseera kino eyawummula obukulembeze bw’ekyalo, ebyaliwo ku ttemu eryatuusibwa ku Ssendi abinyumya n’alowoozesa omuwuliriza nti osanga baamutta alaba.

“Okuva obukukulembeze bw’ebyalo obwa RC lwe bwatandika mu 1986 nze nnali omukulembeze w’ekyalo Jjimbo.

Ssendi yali mukwano gwange n’ekiraamo kye tekyali mu buwandiike kyokka nakitegeeza ab'ekika kye era kyagobererwa.Yalaamira mutabani we Sendagala okumusikira era bwe kyali.

Ettemu eryatuuka ku Ssendi ssaalyewuunya. Yamala omwaka mulamba ng’ategeeza nga mu maka ge bwe mutaali mirembe. Mukyala we n’abaana baali bamunyiga ebitoliro ng'awaka alinga mupakasi.

Baamuteekanga ku nninga abawe ssente ze yali asirikidde okumala ebbanga. Baamuvunaananga obutaweerera baana, obutagula nva, n’ekyasingiranga ddala okubatabula ky’ekya Ssendi obutabalaga we yaterekanga nsimbi ze. Nze nga mukwano gwe nali nkitegeddeko nti yali aggaddewo akawunti mu bbanka.

SSENDI LW’ATEMULWA 

Ayongera n’ategeeza nti, "Mu ngalabi z’amaabya g’olumbe lw'omugenzi Christopher Musisi, Ssendi mwe yatemulirwa. Twali naye okuva akawungeezi kyokka mu kiro awo ku ssaawa 4:00 yatutegeeza bwe yali teyeewulira bulungi  era n’asituka adde ewuwe yeewunzikeko.

Mu ssaawa nga 6:00 ez'ekiro, Mawejje mutabani wa Nagadya yatuuka ku lumbe n’atutegeeza ababbi bwe baali batemyetemye kitaawe nti era omusaayi gwali gumuggwaamu. Tewali yasigala ku lumbe. Abaali ku lumbe beekuluumulula okwolekera ku maka ga Ssendi.

 riabu utebi Eriabu Mutebi

EBYATWEWUUNYISA

Twasanga Ssendi ali ku kitanda kyokka olwo ng’omukka abaka mubake. Ebimu ku bye yali ayogera kyokka ng’eddoboozi liva wala ng’alaajana nti temunzita kyokka tetwamanya be yali agamba obutamutta.

Mawejje eyatutegeeza ettemu bwe twatuukawo omusaayi tetwagulaba. Ku bulago bwe kwaliko nkwagulo entonotono.

Mawejje bwe yabuuzibwa engeri abatemu gye baali babayingiriddemu yatutegeeza bw’ataabawulira nga bamenya oluggi nti kuba yali ataddeko leediyo ng’ereekaanira waggulu.

Oluggi terwali lumenye era obukondo bwonna bw'aliko. Ekisenge Ssendi mwe yali kyali kumpi ddala n’ekyo Mawejje mwe yali.

Omuwala Joyce Nannyanzi ne nnyina Lovinsa Nagadya nabo batwewuunyisa bwe baategeeza abadduukirize nga bwe baali mu nnyumba  kyokka ne batawulira mutemu ng’ayingira nti kubanga leediyo yali ereekaanira waggulu. 

Ebyo byonna twasooka ne tubissa ebbali era nze nnaleeta ekirowoozo ekitwala omuyi mu ddwaaliro. 

Mu budde obwo entabula y’emmotoka teyali nnyangu kufunika kye twava tumussa ku ggaali amagulu ne tugasibira mu lukaayu ne tumukwatirira okumutuusa ku kalwaaliro e Bukasa.  Ebyembi twali twakamutuusa n’akutuka. 

LOVINSA, NANNYANZI NE MAWEJJE BAKWATIBWA

Ng’omukukembeze w’ekitundu ate mukwano gw’omugenzi natwala ensonga ku Poliisi e Bukasa.

Ku poliisi, nategeezebwa nti ensonga zaali nnene nga zirina kukolwako  kitebe kya Poliisi y’e Mpigi batufunire n’omukugu akebere ekyatuusibwa ku mugenzi.

Nga ndi ne Poliisi, twasanga abatuuze tebakyaganya nnamwandu Lovinsa n’abaana Nannyanzi, Mawejje ne Fred Walonze kuseetula kigere. Baali bakirumiriza nti be baali emabega w'ettemu lino.

 ayiro yomusango gwettemu eyaggulwa ku onvinsa annyanzi awejje ne alonze Fayiro y'omusango gw'ettemu eyaggulwa ku Lonvinsa, Nannyanzi, Mawejje ne Walonze

OMUSAWO WA POLIISI 

Omusawo wa Poliisi yabikkula omulambo nga wendi awataali kumbuulira. Yagwekebejja  buli wamu nge teguliiko kiwundu kinene. Yawakanya obuwundu obutono obwali ku bulago bw’omugenzi nti tekyali kyangu kumuviirako kufa. 

Yakwata ku ddokooli ly’omugenzi n’atutegeeza nti obulago bwali katebule  nti era  okufa kw’omugenzi tekwava ku kutugibwa.

Yanyiga ku bbeere lya Ssendi erya kkono nga likaluba. Yampita n’abaaliwo n’atutegeeza nti okusinziira ku nkaluba y’omubiri ku ludda okwali ebbeere, omugenzi yakubwawo ekintu ekizito ekyalabika okutuusa obuvune ku bitundu by'omunda. Yatutegeeza  nti kino kye kyamuviirako okufa.   

OMULAMBO TEGWATWALIBWA MULAGO

Mu biseera ebyo ng’omulambo okuguggyawo ne gutwalibwa mu ddwaaliro kikaluba kuba nnyini muntu yalinanga okusasula ensimbi ezigutwala, okusasulira abasawo abagwekebejja ate n'okusasula ezimuzza okuziika. 

Ffenna abatuuze twasaba etukkirize tuziike munnaffe okuziika ng'omulambo tegutwaliddwa Mulago. Olwatuwa olukusa, poliisi n'esimbula n’abasibe.

ABASIBE LWE BAZZIBWA KU KYALO

Mutebi ayongera n’alombojja olunaku abasibe abaali bagambibwa okutta Sssendi lwe baayimbulwa. 

“Sijjukira bbanga basibe lye baamala nga bakuumirwa e Mpigi.Kye nzijukira, nnali  mu mmwaanyi noga, omutuuze mutabani wange n’antegeeza nti Poliisi yali mu maka ga Ssendi ng’ enneetaaga.

Nabasanga bakutte enkumbi nga bava emmanga mu lusuku. Abansookawo baantegeeza nti abapoliisi olwatuuka bakkirira n’abasibe nti era bye baasima tewali yabimanya.

Buli omu yateekawo kye yalowooza. Abamu nti; baali bagenze kuziikula nsimbi ze baakukulira oluvannyuma lw’okuziggya ku mugenzi. Abalala  baateekawo kya Poliisi kuboogeza gye baali batadde ekissi kye baakozesa mu kutta Ssendi.

Kyokka ku byonna, tewali Poliisi kye yantegeezaako era ne kye baziikula tewali yakiraba yadde okukimanya. Poliisi yaddayo n’abasibe.

ABASIBE OLWABATA BAASITULA MU KIRO 

Nga wayise wiiki emu okuva Poliisi lwe yadda nabo, eyali akulira Poliisi y’e Bukasa mu biseera ebyo yadda n’abasibe. Yantegeeza nti abasibe baali bateereddwa ku kakalu, Poliisi esigale ng’ebuuliriza. 

Nategeezebwa okubalabirira  obutiribiri waleme kubaawo kutuusibwako buzibu bwonna okuva mu batuuze abaali bataamye obugo. Olwo buli kadde amawulire gaali gava ku buli luuyi nga nnamwandu bwe yali n’abaana mu kutta Ssendi.

Enkeera bwe nnatuuka mu maka g’omugenzi ndabe ku baali bavudde mu kkomera, nasanga ennyumba nzigule ng'ebisinga babitisse ne bagenda nabyo.  

Okuva olwo, tebaddanga ku kyalo! Mpulira nti nnamwandu Lovinsa yasenga eyoNamayumba ku kyalo Kanziro, omuwala Nannyanzi nti yafumbirwa omusajja omukadde e Kazo nti ate Mawejje alabibwa Busega nti era alinga eyalwalamu ku mutwe. 

 gaali amaka ga sendi ovinsa nabaana mwe badduka Agaali amaka ga Ssendi Lovinsa n'abaana mwe badduka


KU POLIISI E MPIGI

Nga tulandira ku byatutegeezeddwa abatuuze b'e Jjimbo ekiwejjowejjo kyabadde ku kitebe kya poliisi e Mpigi egambibwa nti abasibe gye baatwalibwa.

Oluvannyuma lw’okutaganjula empapula ez'emyaka 25 (okuva 1994) twagudde ku fayiro nnamba SD REF 28/15/06/1994 ensonga Nagadya, muwala we Nanyanzi 'n'abatabani  Mawejje ne Walonze kwe baggulibwako ogw'obutemu.

udiya ankumbi akutte ku ttama orah amugga wakati ne rina amuyanjaLudiya Nankumbi (akutte ku ttama mu kimyuufu), Norah Namugga (wakati) ne Erina Namuyanja.
 

NNAMWANDU LOVINSA AWAKANYIZZA EBYOKUTTA BBA

Ku kyalo Kanziro mu ggombolola y’e Namayumba Bukedde gye yasanze nnamwandu Nagadya ng’agalamidde ku buliri. Munyumya mulungi  kyokka bw’abuuzibwa ku by'enfa ya bba  emboozi agyebalama era agyogera bitono.

“Nalemala oludda lw’omubiri olumu era okutambula sisobola. Buli akula atta, nange banteekako okutta taata w'abaana bange. Tewaali bujulizi. 

Wano wendi kati muwala wange Nannyanzi ye yagula ekibanja kino  n’anzimbiramu ennyumba. Mutabnani wange Fred tuli naye kyokka omutwe gumutawaanya ekibi tayagala kumutwala mu ddwaaliro.  

Twatuuse mu maka ga Mukasa e Kazo Central zooni enfunda eziwera okwogerako ne Nannyanzi kyokka nga  tutegezebwa nga bw’ataliiyo. Twamukubidde ku ssimu ze 07063651xx ne 07823651xx enfunda eziwera nga nazo teziriiko.

BITABUKIRA NANNYANZI GYE YAFUMBIRA

Oluvannyuma lwa Nannyanzi okujja ng'assaawo embeera y’embiranye wakati we n'abaana ba Mukasa Malidaadi be yasanga mu ddya gye yafumbirwa, famire ezze egezaako okulaba ng'emukungira obutakozesa mukadde waabwe nsobi zimuweebuula mu bitajja.

Kino Nannyanzi abadde akyeyambisa okuteekawo embeera ebijjisa abaana eri kitaabwe. 

 uzeeyi alidaadi ne nannyazi lwe yamutwala ku valentayini yomwaka guno Muzeeyi Mukasa Malidaadi ne Nnannyanzi lwe yamutwala ku valentayini y'omwaka guno


Embeera okusajjuka, kigambibwa nti Nannyanzi bwe yalabye nga by'akola tebimala, yeesitudde n'agenda ku poliisi e Kawempe ng'ayagala okuggulawo omusango nti abazigu baabadde bamenye awaka nga bazze n'ekigendererwa eky'okutemula abaabadde mu nju.

 

Nti bano balese n'obutto obwabadde bunyikiddwa mu mazzi ku mulyango gw'ekisenge kye, abaana be n'ekyamusajjamukulu Mukasa  n'akissaawo nti abatemu balabika baabadde bazze kutta era nga yabadde abeetegerezza. Yakitadde ku bamu ku baana. Wabula, poliisi yamuwadde amagezi ensonga azizze ku LC gye yabadde abuuse ng'omutuuze. 

LC EYITA OLUKIIKO LW'EKYALO

Wadde olukiiko lwe yali alemesa okutuuza awaka lwali lulina kuba lwa famire yokka ku nsonga z'ebyo bye yali akozesezza muzeeyi Mukasa ku ttimbe za ttivvi ebyamuweebuula, lwagaziye bwe yasiinyizza ku by'ettemu LC n'eyitiramu n'abalala. 

 ugerwa                                   Mugerwa

 Ng'oggyeeko LC, ensonga zaayingiddwaamu bannaddiini n'abafum-bo b'ekisomesa kya Klezia ya St. Kalaala, akola ku nsonga za famire ku Poliisi y'e Kawempe, Bbaale ne RDC wa Wakiso, Rose Kirabira. Aba LC baanenyezza Nannyanzi  okubuuka essa ensonga ze yabadde ayogerako n'azitwala butereevu ku Poliisi  nga talina kyategeezezza LC.

 

Nannyanzi okusiinya ku byekuusa ku kutemula kitaabwe, aba famire kyabaleetedde okumwekengera kuba nti n'ebyafaayo bye ebyali bizze bimuwulirwako tebyali birungi nga yali yatuuka n'okuwandiika obubaka bwe yali agenda okwongerera ku lumbe lwa bba mu biseera we yalongooserezebwa nga byonna byalagiddwa mu lukiiko!  

 

RDC Kirabira ng'afundikira yasabye aboobuyinza ne poliisi okwongera okwetegereza ensonga zonna n'obwegendereza era zirondoolwe.  Ssentebe wa LC, Kazo Central Zone, Med Mugerwa yategeezezza nti ensonga za mutuuze munnaabwe bazikutte kannabwala oluvannyuma lw'okufuna okwemulugunya okuva mu famire ye.

 maka ga muzeeyi ukasa alidaadi e azo Amaka ga muzeeyi Mukasa Malidaadi e Kazo

  

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...