TOP
  • Home
  • Emboozi
  • MZEE ZEDDE: Yeewuunya namugingaayingidde mu bakuumaddembeokudda ku be bakuuma ate okubabba!

MZEE ZEDDE: Yeewuunya namugingaayingidde mu bakuumaddembeokudda ku be bakuuma ate okubabba!

By Musasi wa Bukedde

Added 13th July 2019

MZEE Zedde yewuunya abamu ku baserikale mu bitongole ebikuuma ddembe gye beegumbulidde omuze gw’okwenyigira mu bikolwa eby’obumenyi bw’amateeka ng’okubba.

1562669206841981 703x422

Omugenzi Arnoll Ainebyoona Mugisha

Luno jjo lya balamu kyatubuseeko OC wa poliisi mulamba bwe yakwatiddwa nga kigambibwa nti yabadde yekobaanye okubaako omusuubuzi omu gwe bateega bamubbeko ssente.

Omusuubuzi ono yalumirizza nti guno si gwe gwabadde omulundi ogusooka ofiisa ono okumubba era ng’ensonga yali yaziroopa dda kyokka tewali kyamukolwako.

Gye buvuddeko pulezidenti Museveni yasinziira e Mityana n’ategeeza nti poliisi yalimu kawukuumi naye kye yayogera kirabika kituufu.

Ddala kawukuumi mwali ggwe ate ono ofiisa eyakwatiddwa bwotomuyita kawukuumi onomuyita ki?

Edda twagambanga nti ekimu ku bizibu ebyali mu bitongole ebikuuma ddembe, kwe kuwandiika abantu abatali bayigirize kimala naye mwattu guno omulembe gussa nnyo essira ku buyigirize era bwoba eby’obuyigirize bwo butankanibwa tebawakuwandiika.

Naye ekyewuunyisa nti abantu abamala okusunsulwa bwe batyo ate wayita ekiseera kitono ne bakwatirwa mu bikolwa eby’obumenyi bw’amateeka.

Kimanyiddwa nti ekimu ku muserikale kyassaamu ekitiibwa, ye yunifoomu ye naye tegereza OC omulamba bwayambala yunifoomu n’ateekako n’ennyotaze n’agenda okwenyigira mu bubbi nga tafuddeeyo kutattana linnya lya poliisi?

Abantu bazzenga beemulugunya ku baserikale ba poliisi ab’enjawulo era kino kyawaliriza poliisi okuteekawo ekitongole ekikwasisa empisa.

Kyokka era wadde weekiri kikola, tekinnabaako nnyo kye kikyusa.

Twewuunya bwe twawulira nti abamu ku baserikale bekobaana n’ababbi ne babapangisaako emmundu ne bagenda ne babba oluvannyuma ne bagabana omunyago.

Kitiisa abakuuma ddembe bwe beenyigira mu bikolwa nga bino kubanga gye tulina okuddukira tuyambibwe.

Mu bitundu ebimu kizze kyogerwa lunye abantu kati batya n’okuwaabira abamenyi b’amateeka eri poliisi olw’enkolagana eriwo nabo ng’emirundi mingi omuntu bwabbibwa n’atwala omubbi ku poliisi, abeera tannatuuka waka ng’omubbi yeriira butaala.

Naye wadde bino byonna weebiri, obudde tebunnayita okutereeza buli ekisobye.

Ekizzaamu amaanyi nti abantu abalungi bebasinga obungi mu poliisi lwakuba nti ababi babeera batono kyokka ebikolwa byabwe ne bireekaana nnyo okukira eby’abalungi.

Mpa amagezi nti okugogola ebitongole ebikuuma ddembe naddala poliisi, kusaana kutandika na baserikale bo bennyini nga baloopa bannaabwe bebamanyi nti bakola ebikyamu.

Eky’amazima kiri nti abantu abakyamu bamannyiddwa era singa basalawo okubasunsulamu tekitwala kiseera kiwanvu.

Kijja kuba kibi nnyo singa abantu baneeyongera okuggya obwesige mu poliisi kubanga embeera eriwo ya semusota guli mu ntamu bw’ogukuba tolya era ne bw’otogukuba tolya.

Abakuuma ddembe bandibadde beegendereza nnyo mu buli kyebakola kubanga bo nkoko njeru kyangu okulaba ensobi zaabwe kubanga abantu bebakuuma babateekako eriiso ery’enjawulo olw’obuvunaanyizibwa bwe balina.

Kituufu embeera mbi naddala mu by’enfuna naye kino tekisaanidde kubeera kyekwaso baakuuma ddembe kukozesa bubi buvunaanyizibwa bwe balina nebatandika okwenyigira mu bikolwa eby’obumenyi bw’amateeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.