TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abakyala mukole ebiraamo okutangira ebintu byammwe okubbibwa nga muvuddewo

Abakyala mukole ebiraamo okutangira ebintu byammwe okubbibwa nga muvuddewo

By Musasi wa Bukedde

Added 19th July 2019

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Img20190718132844webuse 703x422

Omukyala ng'awandiika ekiraamo

Bya Norah Mutesi

Edda, abakyala nga tebateeka kulaama kwabwe mu buwandiike kubanga baabanga tebalina bintu byakulaama, mpozzi oluusi bwe baabanga n’engoye nga ze balaamira mikwano gyabwe oba baganda baabwe.

Ebintu ebinene ng’ettaka n’amayumba byabanga bya baami baabwe nga be bokka ababirinako obuyinza.

Mu mulembe guno, abakyala bangi basomye, ekibaleetedde okubeera n’ebintu ng’amayumba, ettaka n’ebirala. Ate abalala wadde tebasomye basobodde okwetandikirawo bizinensi ezibasobozesezza okugula ebintu eby’omuwendo.

 uli mukyala alina okuwandiika ekiraamo naddala ngolina ebyobugagga Buli mukyala alina okuwandiika ekiraamo naddala ng'olina ebyobugagga

 

Olw’ensonga eyo abakyala bakakaatibwako okuwandiika ekiraamo era ng’abaami bwe bakola, olwo ebintu byabwe bisobole okusigala mu mikono emituufu nga bafudde.

Okusinziira ku Succession Act Cap162 Section 36, omuntu okuwandiika ekiraamo, ateekeddwa okuba ng’ategeera bulungi era nga wa myaka 21 n’okusingawo, weewaawo konsitityusoni ya Uganda erambika emyaka 18 omuntu okuba ng’akuze.

Ebimu ku by’olina okuteeka mu kiraamo

  1. Dr. Fiona Muhwezi Mpanga, asomesa byamateeka ku yunivaiste e Makerere agamba nti, ekiraamo kyo kiteekeddwa okubeeramu ebintu byo byonna by’olinako obwannannyini.

2. Kiteekeddwa okubeerako ennaku z’omwezi kw’okiwandiikidde okuleetera abantu okumanya ddi lwe wakiwandiika.

3. Ssinga oba omaze okuwandiika ekiraamo, teekako omukono gwo oba ekinkumu.

“Bw’oteeka omukono ku kiwandiiko oba ekinkumu, kireetera okukakasa nti ekiwandiiko ekyo kikyo,” Mpanga bw’agamba.

5. Wateekwa okubeerawo omujulizi alijulira mu kkooti ng’ekiraamo kyo kisomebwa eri abo bonna be kikwatako.

 lina okumanya byolina okukola obutakola kiraamo kifu Olina okumanya by'olina okukola obutakola kiraamo kifu

 

6. Christine Birabwa Nsubuga, The access to Justice Advisor, agamba nti ekiraamo kyo kirina okubeera mu buwandiike so si kukyogera na mumwa gwo gwokka, kubanga kkooti tekkiririza mu kiraamo ekikoleddwa n’omumwa.

7. Birabwa era agamba nti ekiraamo kyo kirina okubeeramu amannya g’abantu bonna abanaaganyulwa mu kiraamo ekyo, era amannya gombi oteekedwa okugawandiika obulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600