TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Godfrey Kkaaya Kavuma omwagalwa w'abangi otulekedde eddibu ddene

Godfrey Kkaaya Kavuma omwagalwa w'abangi otulekedde eddibu ddene

By Musasi wa Bukedde

Added 7th August 2019

ABANTU bangi babadde babumanyi ng'omusajja Katonda gwe yajjuza ekisa, obuntubulamu, okwagala, obugonvu n’obukkakkamu, okusaaga kwe, okwaniriza abagenyi, okusomesa, omukulembeze omulungi, wamu n'okusaaga.

Li 703x422

Omugenzi Kaaya Kavuma

Nange bw'onsanga n'ombuuza biki bye mmanyi ku mugenzi Godfrey Kkaaya Kavuma ebyo byennyini bye nkugamba. Abadde mukwano gwange ddala.

Olumu twali tuva okuziika omugenzi Christopher Nsamba eyakolanga ku CBS FM e Luweero eyo, nga tuli mu mmotoka emu, n'antegeeza ebigambo bino: "Ndi musanyufu olw'abavubuka baffe abeesozze ebyobufuzi ate nga balabika babitegeera bulungi, kale tubalinamu essuubi nti gye bujja bajja kugasa eggwanga lyaffe ku ludda lw'ebyobufuzi.

Yakoona ku mannya gano wamanga wadde nga kirabika be yali ayogerako baali bangi ddala. Moses Kasibante, Ssozi Kaddu Mukasa ne Medard Lubega Sseggona.

So nga ku ludda olw'emirimu abadde yeenyumiririza mu bantu bano wammanga: Mw. Micheal Kawooya Mwebe, Mw. Robert Kasozi ne Mw. Abbey Mukiibi.

ABADDE MUKKAKKAMU

Mubadde mumumanyi bulungi nga muntu wa kitiibwa era nange ekyo nkimanyi. Ate naye yennyini abadde akimanyi era nga akyewa bulungi.

Naye olumu yampita ng'ali mu Bulange mu ofi isi ye, n'anteeka mu mmotoka ye ne tugenda mu makaage agasangibwa e Buwaya era wano we yakola faamu kw'abadde alundira ebisolo bye n’okulima.

Bwe twatuuka eyo ebisumuluzo by'ennyumba yali abyerabidde awaka e Mutungo. Yakuba essimu ne babimuleetera.

Njagala okubategeeza nti, omukulu oyo yassa ebitiibwa bye ku bbali, n'aggyayo sigiri n'agikuma n'afumba emmere bulungi era bwe yaggya n'agisoosootola ne tulya.

Kye yava ambuuza nti, owoomeddwa? Ekituufu nali mpoomeddwa era namuddamu nti, yee mpoomeddwa mukama wange. Yambuuza nti, okkuse? Olw'okuba nali nzikuse bulungi era namuddamu nti, yee nzikuse mukama wange.

Ebyo olwaggwa ne tuserengeta ku faamu okulambula ebisolo by'alunda n'ennimiro. Nze ne mukyala wange Slyvia Bukirwa bwe twazaala omwana waffe owookusatu, twamubuulira.

Yajja mu ddwaaliro, n'asasula ebisale by'eddwaaliro byonna kubanga mukyala wange yali asumulukukidde ku kiso, era yatuwa amannya ga nnyina gonna n'atulagira tugatuume omwana waffe oyo era ne tukikola.

Omwana bwe yakula n'atandika okusoma twalabira awo ng'ebisale by'essomero Oweek. Godfrey Kkaaya Kavuma abisasula okutuusa w'afi iridde ng'akyakikola.

Oyo ye Godfrey Kkaaya Kavuma ow'ekisa. Kkwaaya yaffe eyitibwa Solomons Choir tuludde nga tuyimba ennyimba ezitendereza Katonda, ne tuziteeka ku ntambi naye ng'oluusi tukaluubirirwa mu by’ensimbi naddala nga tuliko kye twagala okukola nga kyetaagisa ssente.

Kale buli lwe tubaddenga tufuna obuzibu nga tuddukira wa Godfrey Kkaaya Kavuma era naye nga tatweganya ng'atuyamba era ne tutuukiriza bulungi pulogulaamu zaffe.

Olumu twali tugenda Rwanda ku buweereza nga Solomons Choir, naye nga abantu munaana ku ffe tebalina ssente za ntambula.

Oweek. Godfrey Kkaaya Kavuma bonna yabasasulira ne tugenda era ne tudda. Abantu ababadde bakuba ku ssimu ye nnamba 0772718270 mubadde muwulira oluyimba oluli mu ssimu ye oluyitibwa 'Ky'ekiseera'.

Olwo luyimba lwa Solomons Choir gy'abbade alabirira ng’omuyima waayo. Jjukira nti kkwaaya eyo ya Seventh Day Church so nga ye abadde muntu wa Church of Uganda.

Oyo ye Godfrey Kkaaya Kavuma. Ku ntandikwa y'omwaka guno, nze Henry Lubaliita Mwesigwa nakulembera Bishop George Sinnabulya omulabirizi eyawummula owa Central Buganda Diocese ne mmutwala mu ofi isi ya Oweek. Godfrey Kkaaya Kavuma esangibwa e Kitintale. Bp. Sinnabulya yali ateekateeka ekijaguzo eky’emyaka 60 mu bufumbo obutukuvu.

Entegeka zonna yazimuyitiramu era n'azisiima. Yeeyama okumukwasizaako naye olunaku lw’ekijaguzo we lwatuukira nga May 18, 2019 yali mulwadde ng'ali mu ddwaaliro e Nairobi.

Mbeera ndi awo jjuuzi ku Lwokusatu nga July 24, Oweek. Kkaaya Kavuma yankubira essimu ku ssaawa ez’enkya. Twabuuzaganya bulungi era n'antegeeza ekimukubizza essimu eyo.

Yaηηamba bw'ati, "Omukolo gwa Bishop George Sinnabulya gwagenda bulungi? Ne muddamu nti, ye ssebo gwatambula bulungi ddala. Naηηamba nti, ansonyiwe saasobola kujja kubanga nali mugonvu era ssaali mu ggwanga nali Nairobi nga nfuna bujjanjabi.

Naye nnina ensonga gye njagala okumugamba. Kati nkusaba onkubireko ku Mmande nga July 29 ku ssaawa ez’enkya nkubuulire olunaku ondeetere Bishop George Sinnabulya mbeeko bye mmugamba.

Ensonga eyo nagitegeeza Omulabirizi oyo era n'aηηamba nti, kale olwa Mmande bwe lunaatuuka onontegeeza ky'agambye.

Mbeera ndi waka nga nteze CBS FM omukutu ogwa 88.8 ku Lwomukaaga nga July 27 obudde obw'ekiro, ηηenda okuwulira nga baleeta amawulire agaakagwaawo. Ne batutegeeza nti, Oweek. Godfrey Kkaaya Kavuma afudde. Haa bannange, nalinga aloota oba nga nninga alaba fi rimu naye eky'amazima omwagalwa w’abangi G.K.K. yali afudde.

Kye yali ayagala okugamba Bishop George Sinnabulya tewali n'omu eyakimanya n’okutuusa kati, ate era tewali agenda kukimanya oba kyali ki nze naawe. Tujja kulwawo nga tumujjukira olw’ebirungi enkumu by'akoledde abantu awatali kweganya.

Obulamu bwa Kkaaya Kavuma bubadde kyakulabirako kirungi. Atulekedde okusoomooza kunene era tusaba Katonda naffe atuwe obuvumu tusobole okwaηηanga okusoomooza okunene okutwolekedde nga tukyali mu bulamu buno.

Nsobola okuwandiika ebisingako awo ku mukulu oyo naye ka nkome awo. Twebaza Katonda eyamutuwa n'ebbanga lye tubadde naye mu nsi muno. Bwe kuliba nga kwe kusiima kwa Katonda, tulimulaba mu bwakabaka obw’omu Ggulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...