TOP

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba ewedde

By Ponsiano Nsimbi

Added 24th August 2019

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa bulungi okwewala okufuna obuzibu kubanga abantu abamu beesanga tebagoberedde bulungi ppulaani eziba zaabaweebwa.

Hse1 703x422

Bw’oba ogula ennyumba ng’eno olina okusooka okufuna omukugu n’asooka agyetegereza okulaba oba bye baakozesa bituufu.

Bya Ponsiano Nsimbi
 
NG’OGGYEEKO kkampuni ezimanyiddwa mu kuzimba ennyumba nga bwe bazitunda, waliwo n’abantu ssekinnoomu abettanidde enkola eno wabula bangi bagyevuma
olw’ebizibu ebitali bimu bye batamanyirawo mu ntandikwa.
 
Okuzimba ennyumba ey’amaka ey’omulembe ensaamusaamu n’eggwa bulungi kyetaagisa ssente ezitakka wansi wa bukadde 100 okusinziira ku bunene bwayo
n’amatiribona g’ogitaddemu.
 
Kyokka ennyumba eno bw’ogiteeka ku katale oyinza okusitaana nayo okufuna omuntu
agigula naddala ng’akuwa ssente z’oyagala.
 
Okunoonyereza kwe tukoze tukizudde ng’oluusi ba bbulooka b’amayumba n’ettaka be basinga okugula ennyumba eziwedde n’oluvannyuma ne bazitunda n’ekigendererwa ky’okukola amagoba oba okuterekamu ssente zaabwe.
 
Kyokka abantu abamu babeevuma okubadondola ate bbo bwe baba bazitunda ne baziseera. Abantu batono nnyo abazimba ennyumba z’amaka ate oluvannyuma ne bafuna ekirowoozo ky’okuzimba endala kubanga okuzimba ennyumba si kyangu naddala ku mulembe guno ng’ebizimbisibwa bya bbeeyi.
 
Ying. Fred Jjuuko Wavamuno owa Jjuuko Construction Uganda Ltd agamba nti tawagira muntu kugula nnyumba ewedde olw’ebizibu ebikirimu. Jjuuko agamba nti
buli muntu akozesa matiriyo wa njawulo n’abazimbi nga kizibu okumanya ebipimo ebituufu ebyakozesebwa kubanga bannannyini zo bazitunda ziwedde nga
bamaze n’okuzisiiga langi nga zirabika bulungi.
 
Pulaani y’enju: Buli muntu alina pulaani y’ekirooto kye era ssinga ogula ennyumba ewedde obeera tokyalina mukisa kutuukiriza pulaani y’ennyumba y’ekirooto kyo.
 
Omutindo gw’ebintu ebyakozesebwa munda okugeza eby’amasannyalaze n’amazzi
tegutera kubeera mulungi naddala ku bantu abamanyi nti bazimba nnyumba
z’akutunda. Ennyumba ogisulamu emyezi mukaaga gyokka ebintu ne bitandika
okufa ng’olina okuteekamu ebirala.
 
Enkaayana ku ttaka: Abantu abamu batunda ennyumba zaabwe olw’enkaayana ku ttaka era ssinga tokola kunoonyereza kumala emikisa mingi egy’okufiirwa ssente
oba okugwa mu ntalo zino obulamu bwo bonna. Jjuuko agamba nti ettaka erimu
bwe libeerako enkaayana liteekebwako envumbo era abamu bwe balaba bibalemeredde basalawo okuzitunda.
 
Emiriraano: Gino gikosa atunda n’agula naddala nga baliraanwa bakola ebintu ebitategeerekeka ng’obusamize, okuliraana kkanisa z’abalokole, ebibanda bya firimu n’ebintu ebirala.
 
Ensereka y’ennyumba: Ennyumba za mwamba ezisinga bwe siserekebwa omuntu atalina bukugu zitonnya oba okulabika obubi. Nnannyini yo bw’emutama asalawo
kugitunda kyokka olwokuba ebeeramu siriingi, gwe agula kino toyinza kukitegeererawo.
 ano baali mu bitundu bye yengera nga beerula empenda zettaka Bano baali mu bitundu by’e Kyengera nga beerula empenda z’ettaka.

 

 
BY’OLINA OKUGOBERERA NG’OGULA ENNYUMBA EWEDDE
Ekkubo erikutuusa ku nnyumba: Abantu abamu bagula ennyumba nga tebafuddeyo kumanya oba ennyumba ziriko ekkubo erikutuusa awaka.
 
Entambula okutuuka ku mulimu: Kikulu nnyo okumanya olugendo okuva ku nnyumba gy’ogula ne w’okolera okusinziira ku nnyingiza yo.
 
Olina okumanya ebbanga ennyumba ly’emaze okuva lwe yazimbibwa na lwaki etundibwa kubanga ennyumba ezimu zibeeramu ebizibu ebitali bimu ebiyinza okulemesa abantu okuziwangaaliramu.
 
Ebyokwerinda by’ekitundu: Eno nsonga nkulu nnyo kubanga tewali muntu yandyagadde kubeera mu kitundu kitaliimu butebenkevu.
 
Ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo okugeza amasomero, amalwaliro, amaduuka n’amasinzizo. Bino byonna tolina kubibuusa maaso ng’ogula ennyumba.
 
Obwannannyini ku ttaka: Olina okumanya ekika ky’ettaka okuli ennyumba gy’ogenda okugula okugeza lya kyapa oba lya kabaka. Bbeeyi y’ennyumba eyawukana okusinziira ku kika ky’ettaka kw’ezimbiddwa.
 
Ekika ky’ennyumba: Olina okumanya ekika ky’ennyumba gy’ogula ne ky’ogenda okugikozesa. Omuntu ayagala ennyumba ey’okukoleramu bizinensi yandibade yettanira ebifo ebiriraanye abantu oba amakubo ate ayagala ey’okusulamu yandibadde
anoonya ekifo ekisirifu.
 
Ying.Vincent Katende owa Treasure Invest and Contractors agamba
nti omuntu nga tannaba kugula nnyumba yandibadde asooka okunoonyereza
ku ttaka kw’etudde naddala eziri ku ttaka ly’ekyapa okumanya obutuufu bw’ekyapa kyayo. Ate ez’endagaano kirungi ne weebuuza ku ba LC oba Omutongole
wa Kabaka okusobola okufuna obutuufu bw’ettaka eryo. Ekiddako kwerula mpenda okumanyira ddala poloti gy’ogula weeyita nga  inokikolebwa omupunta.
 
Katende agamba nti nga tonnaba kugula nnyumba, wandibadde weekwata omukugu mu by’okuzimba n’asooka agirambula okumanya omutindo gw’ebintu ebyakozesebwa.
 
Katende ayongerako nti kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa bulungi okwewala okufuna obuzibu kubanga abantu abamu beesanga tebagoberedde bulungi
ppulaani eziba zaabaweebwa.
 
EBIWALIRIZA ABANTU OKUGULA ENNYUMBA EZIWEDDE
lAbantu abamu baweebwa amagezi okugula ennyumba eziwedde okwewala emitendera omuntu gyayitamu ng’azimba.
 
-Okutunda ennyumba eziwedde yafuuka bizinensi era waliwo abagukola ng’omulimu nga bateekamu ssente zaabwe.
 
-Bankubakyeyo abasinga tebeesiga banganda zaabwe kubakwasa ssente okubazimbira era basalawo mu kifo ky’okuzimba okugulira ddala ennyumba eziwedde. Ate abalala tebalina bugumiikiriza bwa kulinda bbanga ennyumba ly’emala ng’ezimbibwa.
 
Abeera n’oluwummula lwa myezi ebiri nga tasobola kuzimbiramu nnyumba n’eggwa bulungi.
 
-Abantu abamu balina endowooza nti bw’ogula ennyumba ewedde obeera okekkereza okusinga eyeezimbidde wabula kino kisinziira ku bunene bw’ennyumba n’ebintu by’okozesa ng’ozimba.
 
ETTAKA KWE NAGULA ENNYUMBA SAAMANYA NTI KULIKO ENKAAYANA
Mu 2013, Anthony Musaazi yali anoonya ennyumba ne poloti eby’okugula.
Mukwano gwe yamutemyako nti waliwo ennyumba etundibwa e Mutungo.
 
Olwokuba nali nninawo ku ssente, olwatuuka ku nnyumba nalaba ng’alonze olwa ssente ze bannamulira ne nsasula.
 
Baaginnamulira obukadde 15 ne nsooka nsasulako obukadde 7 endala ne nzisasula oluvannyuma lw’emyezi ebiri.
 
Ennyumba eno erimu ebisenge bina,eddiiro, ekinaabiro n’effumbiro. Temwali siriingi ne pulasita nga ne wabweru tewedde bulungi nga ne ggeeti tekuli.
 
Ennyumba etudde ku bugazi bwa ffuuti 20 ku 50. Bwe nnamala okumalayo ssente, natandika okuwulira enkaayana ku ttaka lino.
 
Dr. Muhammed Kasasa n’abaana ba Ssekabaka Muteesa II nga bakulembeddwaamu Omulangira David Wasajja be bakaayanira ettaka lino. Nasooka kutya kyokka oluvannyuma ne hhuma kubanga ettaka lino kuliko n’abagagga abalala bangi.
 
Wabula ekisinze okummalamu amaanyi ye nteekateeka ya gavumenti ey’okuzimba oluguudo lwa Southern Bypass ekyayongera okunneeraliikiriza kubanga simanyi oba
gavumenti enaasobola okundiyirira ssente ezisobola okugula poloti n’okuzimba ennyumba ey’ekirooto kyange oba okugulamu endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...