TOP
  • Home
  • Akezimbira
  • Ateekateeka okuzimba mu nkuba by’olina okutunuulira obutafiirwa

Ateekateeka okuzimba mu nkuba by’olina okutunuulira obutafiirwa

By Musasi wa Bukedde

Added 28th September 2019

ENKUBA waliwo lw’etonnya ennyingi n’oluusi okufudemba obutasalako abantu abali mu kuzimba n’abateekateeka okutandika ne basoberwa.

Papa 703x422

Amazzi amangi gakuluggusa ettaka. Azimba mu kifo nga kino weetaaga ssente nnyingi ng’osiba amayinja.

Kyokka abakugu mu by’okuzimba bagamba nti kino kye kiseera ekituufu okuzimbiramu ennyumba ey’obuwangaazi kubanga amazzi g’enkuba gayamba okugunya ebisenge.

EBINTU AZIMBA MU NKUBA BY’ALINA OKUGOBERERA

  • Jjuuko agamba nti bw’okozesa bbulooka ezitaggya obeera weeziika wekka kubanga lino libeera ttaka nga buli enkuba lw’etonnya kiviirako ebisenge okuzitoowererwa ekizimbe ne kikkamu n’oluusi okugwa.
  • Ying. Fred Jjuuko Wavammuno agamba nti okuzimba mu kiseera ky’enkuba tekirina buzibu ssinga obeera omanyi eky’okukola.
  • Mu ngeri y’emu kyandibadde kirungi omusingi ne gujjuzibwamu ettaka munda n’ebweru ne likoonebwa bulungi okwewala amazzi okuyingira ebisenge.
  • Weekwate abakugu mu by’obuzimbi bakuwabule ku ngeri gy’ogenda okutambuzaamu omulimu gw’okuzimba naddala omusingi n’okuyiwa enkokoto. Ate ku nnyumba za kalina buli kimu olina kukiyisa mu mitendera emituufu.
  • Bw’oba osazeewo okukomerera ennyumba mu kiseera ky’enkuba, fuba okulaba ng’amabaati gonna weegali okwewala bbuliti okwonooneka amazzi oba okuvunda.
  • Olina okusooka okuteekawo ekifo w’osobola okukuumira ebintu nga seminti, emisumaali n’ebirala obutayonooneka nkuba.
  • Kirungi okutandika okuzimba ng’olina ebintu ebisinga okugeza: omusenyu, bbulooka, amayinja n’ebirala kubanga mu kiseera kino amakubo gatera okuseerera ekireetera bbeeyi y’ebintu bino okulinnya ennyo.
  • Fuba okulaba ng’ekifo w’ozimba oba w’ogenda okuzimba si kkubo ly’amazzi ga mukoka naddala ng’ennyumba ekyali ku musingi.
  • Olina okwerinda obubenje obuyinza okuva ku nkuba n’okukeereyesa omulimu gw’okuzimba kubanga buli enkuba lw’etonnya ng’okuzimba kuyimirira.
  • Bw’oba oyiwa matiiriyo ng’omusenyu ne bbulooka, weewale okubiyiwa mu kkubo ly’amazzi obutakuluguka. Bbulooka bwe ziba tezajja bulungi toyonoona ssente kubanga zigenda kukusala.
  • Oteekeddwa okwerinda obubenje obuyinza okujja n’enkuba ne bukosa abakozi n’ekizimbe. Okugeza ssinga enkuba ebeeramu omuzira, kibuyaga n’okubwatuka kw’eggulu walina okubeerawo ekifo we basobola okweggama.
  • Abakozi balina okwambala ebintu ebibatangira okufuna obuvune mu kiseera kino. Okugeza ebyuma ebyokya enzigi birina kukuumibwa mu kifo ekisereke okwewala amazzi okubiyingiramu.
  • Ssinga enkuba etonnya nga waliwo omusenyu oba enkokoto ebitabule, olina okubibikkako.
  • lBw’oba osima omusingi gw’ennyumba mu kiseera ky’enkuba, kyandibadde kirungi ne gusimwa omulundi gumu okuzimba ne kutandikirawo okwewala amazzi okulegema mu musingi.
  • Agamba nti olina okwekenneenya omutindo gwa matiiriyo gw’ogenda okukozesa n’obukugu bw’omuzimbi oba abazimbi b’okozesa.
  • Jjuuko agamba nti bbulooka bwe ziba zaggya bulungi nga n’ettaka lye wakozesa lyali ddungi, bbulooka ne bw’emalawo emyaka esigala ekyali nnamu.

KAJJUBI ALI MU MAZIGA

Yadde abakugu bagamba nti ennyumba ezimbiddwa mu nkuba ebeera hhumu nnyo, Jonnah Kajubi ow’e Kyengera agyevuma olw’okutomezebwa n’agula poloti mu kifo awakung’anira amazzi.

woba ozimba mu nkuba kikwetaagisa okukozesa seminti omukaBw’oba ozimba mu nkuba kikwetaagisa okukozesa seminti omuka

Nga bw’omanyi akalimi ka babbulooka, omusajja yammatiza era olwagendayo okulambula ne nsiima. Enkeera nakeera mu bbanka kuggyayo ssente ne musasula.

Nasasula ku makya enkuba n’etonnya akawungeezi hhenda okutwalayo omuzimbi okumulambuza ekifo ampabule nasanga nnyanja katono ngwewo ekigwo.

Ffuuti ewezaako ffuuti 30 ku 40 nga nagigula 3,800,000/- kyokka n’okutuusa kati nkyalemeddwa okutandika okuzimba olw’amazzi.

Mu butuufu okuggyako nange okulinda omusana gwake mbeeko gwe ngisiba, siyinza kugizimbamu kubanga ndabira ddala nga nnyonoona ssente zange.

OKUSOOMOOZEBWA OMUNTU AZIMBA MU NKUBA KWASANGA

  • Bw’oba tolina wantu w’otereka ebintu ku sayiti, kyandibadde kirungi n’ofunayo muliraanwa gw’okolagana naye ayinza okukuyambako okutereka ebintu bino. Kyokka Jjuuko agamba nti oyinza okunoonya Yinginiya n’apatana ekitundu ky’ennyumba okugeza okuzimba okuva wansi okutuuka ku bbiimu.
  • Abakozi olina okubawa ebintu ebikozesebwa nga gamubuutusi, giraavuzi, erementi n’ebirala okwewala obubenje.
  • Kyangu abakozi okukumpanya ebikozesebwa naddala nga nnannyini nnyumba tali ku sayiti olw’enkuba etonnyatonnya. Mu kiseera kino kiba kizibu okumanya ensawo za seminti z’olina okukozesa buli lunaku.
  • Kontulakita bw’abeera ng’abakozi abasasula buli lunaku akosebwa kubanga buli enkuba lw’etonnya omulimu guyimirira obudde bw’okuzimba ne bweyongera. Kino kitegeeza nti omulimu gutambula kasoobo bw’ogeraageranya n’omuntu azimba mu musana.
  • Ssinga okozesa abazimbi abatalina bukugu n’obumanyirivu emikisa mingi egy’okukola ensobi naddala ng’ekizimbe kiri ku musingi oba ku bbiimu.
  • Emikisa mingi ebizimbisibwa okwonooneka olw’amazzi. Seminti asobola okwonooneka ssinga enkuba etonnya nga tolina w’otereka bintu okumpi.
  • Olina okwekwata abakugu mu by’okuzimba bakuwabule ku ngeri gy’ogenda okutambuza omulimu guno mu kiseera ky’enkuba.
  • Kino kiba kitegeeza nti y’amanya engeri gyasasulamu abakozi be. Bwe baba bakoze oba tebakoze yinginiya yaakafiiramu. Kyokka kino kitegeeza nti olina okuba ne ssente ezaawamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.