TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ameefuga ga Uganda: Eggwanga likyali ku mulamwa oba nedda?

Ameefuga ga Uganda: Eggwanga likyali ku mulamwa oba nedda?

By Musasi wa Bukedde

Added 9th October 2019

Okumanya nga we bakoma ffe ate we twatandikira kyeyolekera mu bintu bingi okugeza ng’okuba nti mu 1995 twasobola okwebagira Ssemateeka wa Uganda omupya sso nga mu kiseera kye kimu, leero ebintu bingi bye twesalirawo gamba ng’okulonda abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo.

Indep1 703x422

Ekijjukizo ky’Ameefuga mu Kampala.

Bya PROSSY NABABINGE ne STEPHEN KALULE LWANGA
EKIRO ekyakeesa Ameefuga ga Uganda nga October 9, 1962, bbaasi kabandole zaasula zitambuza abantu okubatwala e Kololo awaali wategekeddwa omukolo guno.
 
Ku Lwokubiri nga ziweze ssaawa 6:00 ez’ekiro, omulangira wa Bungereza yawanula bendera ya Bungereza eya “Union Jack” n’awanika eya Uganda.
 
Endagaano eyali ekakasa obwetwaze yakwasibwa Obote nga Katikkiro ate Kabaka Muteesa nga ye pulezidenti. Okutuuka ku kukkirizisa Abangereza okutuwa obwetwaze, tekwali kulya mmere wabula olutalo lw’ebigambo n’obwegugungo bwakulemberwa
abasajja abamalirivu enyo.
 
Leero, giweredde ddala emyaka 57 bukya Uganda efuna obwetwaze wabula nga we tutuukidde wano nga bangi beebuuza oba nga tukyali ku mulamwa gw’abo abalwanirira obwetwaze bwa Uganda.
 
Kino nno abantu ab’enjawulo bakyogeddeko bwe bati; Muwanga Lutaaya (mwogezi wa NRM mu disitulikiti y’e Wakiso): We tutuukidde ku meefuga g’omulundi guno nga
mu mazima ddala ettoffaali ddene nnyo lye tutadde ku maanyi g’abo abaalwanirira Ameefuga.

 

 
Okumanya nga we bakoma ffe ate we twatandikira kyeyolekera mu bintu bingi okugeza ng’okuba nti mu 1995 twasobola okwebagira Ssemateeka wa Uganda omupya
sso nga mu kiseera kye kimu, leero ebintu bingi bye twesalirawo gamba ng’okulonda abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo.
 
Nga tetunnafuna bwetwaze, amagye ge twalina mu ggwanga gali ga Bangereza wabula nga leero amagye gaffe gajjudde Bannayuganda.
 
Ebyo byonna byoleka nga bwe tutaddemu amaanyi okulaba nga tugenda mu maaso n’ekirooto ky’abo abalwanirira obwetwaze.
 
Kyokka nno mu ngeri y’emu, wadde nga byetutuuseko bingi, wakyaliwo obwetaavu bw’okukola ku kizibu ky’emirimu n’okukakasa ng’amakolero ge tw’alina mu
kiseera ky’Ameefuga agaasanaawo nga gaddizibwawo okugatta ku nkulaakulana gye tutuuseeko leero.
 
Levi Zimbe (mukungu wa Kabaka ate akozeeko mu gavumenti ya wakati okumala ebbanga: Bwe ntunuulira ekyalwanya bannaffe okututuusa ku kkula ly’Ameefuga, ndabira ddala nga tuddiridde nnyo.
 
Mu kiseera ky’okulwanira Ameefuga, twalwaniranga wamu ng’eggwanga wabula leero, ebintu byakyukira ddala era ng’omutima gw’okulumirirwa eggwanga awamu tegukyaliwo.
 
Twabeeranga ne gwe tujuliza era nga tekikwewuunyisa kuba nga n’abasobola babiteekamu engatto ne boolekera wabweru w’eggwanga okulaba ng’ebigendererwa by’eggwanga awamu bituukibwako.
 
Leero abantu batono nnyo abalowooza ku kigatta ku ggwanga era nga tekikwewuunyisa kulaba nti oluvannyuma lw’omuntu okufa, ne byalikoleredde bisanaawo!
 
Embeera eno esobola okuterereera ddala singa Bannayuganda naddala abavubuka
bamanya amaanyi gaabwe ne bava mu kukola entalo ku buli muntu olwo nno obwenyi ne babutunuliza ebyo ebiganyula eggwanga awamu.
 
Dan Muliika eyaliko Katikiro wa Buganda: Tetulina kyetwongedde ku baalwanirira Ameefuga kye baaleka. Nkakasa nga yonna gye bali bennyamivu olw’okubeera nti baayagala nnyo okutuggya mu mikono gy’Abangereza wabula nga we tutuukidde leero nga twefaananyirizaako abasibe.
 
Nze nayagala nnyo nfugibwe mu ngeri ya Federo wabula nga kino tekyasoboka. Wadde ng’Abangereza baatuleka twefuge, ndaba era be bafuna mu buli kigenda mu maaso mu ggwanga.
 
Bwe tubeera baakugenda mu maaso n’ebiruubirirwa by’abo abalwanirira Ameefuga, twetaaga olukiiko olukiikirira abantu si olukiikirira ebibiina byobufuzi era nga buli muntu alina okumanya obuvunaanyizibwa bwe we butandikira ne we bukoma.
 
Nga tetunneefuga mu 1962, Buganda yali nsale okulwanirira Ameefuga, Buganda yalina abasajja nga Leonard Basudde, Ssemakula Mulumba, Binayisa, Kamya, Ignatius Musaazi, Abu Mayanja, Mayanja Nkangi, Ben Kiwanika, Dr Kawanga Ssemwogerere n’abalala bangi era nga bano ly’eddoboozi ly’Ameefuga.
 
Kyokka leero Buganda eyali ku mwanjo mu byobufuzi by’ameefuga kati eri mabega era bw’otunula amangu kizibu okulaba bannabyabufuzi ba Buganda b’oyinza okugamba nti be basika b’abasajja nga Musaazi, Ben Kiwanuka, Ssemakula Mulumba n’abalala.
 
Israel Mayengo (yaliko minisita e Mmengo): Obuggya n’ensaalwa okuva mu bazze bakulembera Uganda kye kireetedde abantu ba Buganda okufuuka abagoberezi kuba embeera eriwo ng’enderere tegudde bugwi.
 
Olutalo lw’okulwanirira obwetwaze lwasinga kwetabwamu Baganda ne bawaayo buli kyabwe kyokka okuva Uganda lwe yeefuga, ebyobufuzi by’obukyayi ebyaddirira byatuleetera obuzibu.

 

 
Erias Lukwago (Loodi meeya): Ebyobufuzi byafuuka bya kirwanire kuba ow’amaanyi y’alya. Okuviira ddala ku bafuzi b’amatwale ng’abantu ba Buganda tebayingira magye.
 
Abantu abazze babeera n’emmundu n’amaanyi be bazze batwala obuyinza era eno ye nsonga lwaki Sir Edward Muteesa eyali omujaasi yateekawo olutalo olw’amaanyi ng’alumbiddwa.
 
Ky’ova olaba nga mu nteesaganya ezaali e Moshi mu 1980 ezeetabwamu Museveni ne Obote baabuuza Paul Kawanga Semwogerere amagye gye gali.
 
Kye tulina okukola kwe kulwana okuggya ebyobufuzi mu mikono gy’amagye, bisobole okuba nga bisalibwawo bannansi.
 
Maj. Gen. Kasirye Ggwanga
We twafunira obwetwaze nali ntegeera ng’abaana b’abakungu be beenyigira mu byobufuzi mu kiseera we twafunira obwetwaze, kyokka ffe ab’abakopi tetwabifunamu ssanyu.
 
Ebyobufuzi temuli mazima kuba banoonya byanfuna era ffe abamu awo we twakwatira emmundu tusobole okwerwanirira.
 
Bwe mpulira abagamba nti Abaganda baali ku mwanjo we twafunira obwetwaze mbewuunya kuba nze olw’okuba kitange yali mukinjaaji tewali gwe baawa ku bbasale.
Mu kiseera kino abantu ba Buganda baddiridde, kyokka ng’obuzibu buva ku butakola, ekiwadde abantu abava e bunaayira omukisa okutusensera.
 
Waliwo abagifudde enkola y’okukozesa ekitongole ky’ebibira okusaanyaawo ebibira byaffe byonna, eky’ennaku abaana baffe tebabawadde wadde emirimu.
 
Kyewuunyisa okuba nga mu bitundu gye twalwanira abantu tebalina kye bafunye, okuggyako okuleka abantu nga bali mu kyeya ekitagambika.
 
Eno y’ensonga lwaki nalangirira kaweefube w’okutaasa ebibira e Mityana, Gomba, Butambala ne Mawokota.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Abazigu balumbye omusomesa ne bamusalako...

Abazigu balumbye omusomesa ne bamusalako obulago

Full1 220x290

Abawagizi ba Kenzo beesunga kumwaniriza...

ABAWAGIZI ba Eddy Kenzo ab'omunda, leero basiibye beetala nga beetegekera okumwaniriza.

Blackwomancrying 220x290

Embeera ezireetera omukazi okuyungula...

Abakazi abo tobalaba kukaaba nga bali mu kikolwa n'olowooza nti beekaabya! Nedda, oluusi baba mu bulumi olw'embeera...

Deb1 220x290

Omumbejja Nassolo asiimye abaliko...

Omumbejja Nassolo asiimye abaliko obulemu

Pregnantworried1 220x290

Kandida taakose bbebi?

Ssenga bwe nafuna olubuto kandida yagaana okugenda, nkoze ntya, kubanga kati buli kiseera mbeera mu kwetakula olwa...