TOP

Mutabani wa pulezidenti bamufunzizza

By Musasi wa Bukedde

Added 16th October 2019

Batunze emmotoka ze ez’ebbeeyi ku nnyondo!

Nguema1 703x422

Teodoro Nguema Obiang Mangue, mutabani wa pulezidenti wa Equatorial Guinea bamubuulirizaako mu misango gy’okukukusa ssente z’omuwi w’omusolo n’agulamu ebyobugagga mu mawanga ag’enjawulo mu Bulaaya.

GAVUMENTI y’e Switzerland etunze emmotoka za mutabani wa Pulezidenti wa Equatorial Guinea ez’ebbeeyi ku nnyondo, ng’egamba nti yazigula mu nsimbi za muwi wa musolo.

Teodoro Nguema Mangue, nga mutabani wa Teodoro Obiang, afugidde Equatorial Guinea emyaka 40, ye yawambibwako emmotoka ze 25, oluvanyuma lwa gavumenti ya Switzerland okukola okunoonyereza n’ekizuula nti yazigula mu nsimbi za muwi wa musolo mu ggwanga lye.

Emmotoka zino ezitunula ng’omuntu aboobuyinza mu Switzerland baategeezezza nti zaavuddemu obukadde obusukka mu 20 obwa ddoola, nga zino zaakuzzibwa mu Equatorial Guinea ziweebwe ebibiina by’obwannakyewa ebiyamba abantu baabulijjo abatalina mwasirizi.

 amborghini eneno roadster emu ku mmotoka omwenda zokka ezaakolebwa mu nsi yonna yemu ku zaasinze okucamula abaguzi badde yaakagivugako mayiro 201 ngesuubirwamu pawundi obukadde 43 Lamborghini Veneno roadster, emu ku mmotoka omwenda zokka ezaakolebwa mu nsi yonna y’emu ku zaasinze okucamula abaguzi. Abadde yaakagivugako mayiro 201, ng’esuubirwamu pawundi obukadde 4.3.

 

Nguema ye mumyuka wa kitaawe Obiang, wabula ssente z’eggwanga baazifuula za kwejalabya nga bagula ebintu omuli emmotoka, amayumba, engoye n’ebirala naye nga bannansi beerya nkuta.

Okutunda emmotoka zino kwabadde ku Bonmont Golf & Country Club mu Cheserex okuliraana ekibuga Geneva.

Bino okubaawo, kyaddiridde aboobuyinza mu Switzerland okulangirira mu February w’omwaka guno nti baali bamaze okukola okunoonyereza ku Nguema ne banne abalala babiri kuby’okudiibuuda n’okukumpanya  ensimbi z’omuwi w’omusolo era emmotoka ze amatiribona ne ziboyebwa.

Emmotoka zino zaabadde zisuubirwa okuvaamu obukadde 15.2 obwa Euro wabula gye byaggweeredde nga muvuddemu obukadde 21.9 obwa pawundi.

 errari aerrari eya kyenvu2015  ne ugatti eyron 164 oupe eya bbululu nga ziri mu luggya lwa onmont olf and ountry lub mu heserex okuliraana eneva ekya witzerland we zaatundiddwa ku nnyondo Ferrari LaFerrari eya kyenvu(2015 ) ne Bugatti Veyron EB16.4 Coupe eya bbululu nga ziri mu luggya lwa Bonmont Golf and Country Club mu Cheserex okuliraana Geneva ekya Switzerland we zaatundiddwa ku nnyondo.

 

EMMOTOKA EZAATUNDIDDWA

Emmotoka ezaatundiddwa ku nnyondo, za bbeeyi nnyo nga muno mwabaddemu ebika nga Lamborgin, Ferrari, Rolls Royce n’ebirala.

Emmotoka ekika kya Lamborgin Veneno Roadster, y’emu ku zaatundiddwa era nga yabadde esuubirwa okuvaamu obukadde buna n’okusoba obw’ensimbi za Bungereza (pawundi), kubanga yali yaakavugibwako mayiro 201 zokka.

Emmotoka endala ekika kya Ferrari ‘LaFerrari’ yabadde esuubirwa okuvaamu obukadde bubiri n’okusoba obwa pawundi.

Ebika ebirala ebyatundiddwa mwabaddemu;

  • Bugatti Veyron EB 16.4 Coupe sit. (yafulumizibwa mu 2016)
  • Ferrari F12tdf ( ya nzigi bbiri nga yafulumizibwa mu 2015)
  • Aston Martin One-77 Coupe, nga yaakafulumizibwa yali egulwa ssente ezikunukkiriza mu kakadde akamu aka Pawundi.
  • Koenigsegg One:1 (yafulumizibwa 2015).
 errari aerrari eya kyenvu2015  ne ugatti eyron 164 oupe eya bbululu nga ziri mu luggya lwa onmont olf and ountry lub mu heserex okuliraana eneva ekya witzerland we zaatundiddwa ku nnyondo Ferrari LaFerrari eya kyenvu(2015 ) ne Bugatti Veyron EB16.4 Coupe eya bbululu nga ziri mu luggya lwa Bonmont Golf and Country Club mu Cheserex okuliraana Geneva ekya Switzerland we zaatundiddwa ku nnyondo.

 

ENGERI NGUEMA GY’AZZE YEEJALABYA

Mutabani wa pulezidenti wa Equatorial Guinea ate era nga ye mumyuka we guno ssi gwe mulundi ogusoose nga babowa ebyobugagga bye mu nsi endala naddala eza Bulaaya.

Omwaka oguwedde aboobuyinza e Brazil baawamba ensimbi ezibalirirwamu obukadde 16 obwa doola n’amasaawa ag’omulembe ebyaggyibwa ku ttiimu y’abagenyi gye yali akulembeddemu, nga babateebereza okuba nga baali baziggye mu ggwanika lya ggwanga.

Mu 2017, kkooti mu kibuga Paris ekya Bufalansa yasingisa Nguema omusango nga taliiwo ogw’okubba obulindo n’obulindo bw’ensimbi mu ggwanika lya Equatorial Guinnea. Yasalirwa emyaka esatu mu kkomera n’okusasula obukadde 35 obwa doola. Kkooti era yawamba ebyobugagga bye mu Bufalansa ebibalirirwamu obukadde 100 obwa Euro. Wabula Nguema yajulira mu musango guno.

Akatabo ka Forbes Magazine kaakola okunoonyereza mu 2006 ne kakizuula nti Teodoro Obiang ebyobugagga bye bibalirirwamu obukadde 600 obwa doola, era nga y’omu ku bakulembeze abagagga ffugge.

Mu 2007, America yatandika okumunoonyerezaako, olw’okulya enguzi n’okudiibuuda ensimbi z’omuwi w’omusolo.

ulezidenti guema taata wono eyakwatiddwaPulezidenti Nguema taata w'ono eyakwatiddwa.

 

Akozesa ensimbi z’eggwanga amayumba amatiribona n’okugula ebintu by’okwejalabya ng’ali ne famire ye. Kigambibwa ye ne mutabani we balina ebyobugagga ebirimu obulindo bw’ensimbi mu Bufalansa.

Mu 2011, America ne Bufalansa zaawamba ebyobugagga bya Obiang ne mutabani we omuli amayumba n’emmotoka.

Mu 2012, ekitongole kya Transparancy Internantional kyakola okunoonyereza ne kizuula nti Equatorial Guinea y’emu ku nsi ezisingamu obuli bw’enguzi.

Obiang yafuna obukulembeze bw’eggwanga lino mu 1979, oluvannyuma lw’okumaamulako kkojjaawe, Francisco Macias Nguema.

Okuva olwo eggwanga azze alifugisa omukono ogw’ekyuma era mu 2013.

Yeerangirira nti ye Katonda alina amaanyi ku bantu n’ebintu ebiri ku nsi!

Eggwanga lya Equatorial Guinea lye limu ku mawanga agasima amafuta munsi yonna, wabula nga ssente eziva mu mafuta zigabanibwa abantu aboolubatu abalya Obiang mu ngalo.

Bannansi abasinga obungi baavu lunkupe, abaana bangi bafa tebannaweza myaka etaano, nga n’amazzi amayonjo okugafuna kwa bulumi, ekibasibyeko endwadde eziva ku bicaafu.

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano