TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Embaga za ba ssereebu; Eya Rebecca Jjingo ne Isabirye yamenya likodi 5

Embaga za ba ssereebu; Eya Rebecca Jjingo ne Isabirye yamenya likodi 5

By Josephat Sseguya

Added 18th October 2019

BW’OBALABALAMU embaga za basereebu, eya Joel Isabirye ne Rebecca Jjingo yekyasinze okumenya likodi.

Jingo1 703x422

Rebecca Jjingo ne Isabirye baatuukira mu nnyonyi e Lugogo.

BYA JOSEPHAT SSEGUYA

 

BW’OBALABALAMU embaga za basereebu, eya Joel Isabirye ne Rebecca Jjingo yekyasinze okumenya likodi.

 

 ssanyu lya jingo lyali lya kiyita mu lujja u bufumbo teyawezaayo yadde omwaka Essanyu lya Jjingo lyali lya kiyita mu lujja. Mu bufumbo teyawezaayo yadde omwaka.

 

Yamenya likodi ttaano omuli;

•    Yekyasinze okussibwamu ssente kyokka mu nnaku 270 zokka yali esasise.

•     Batenda ekyalo Buddo okubaako amasomero ag’ebbeeyi n’ebyafaayo ebikulu, naye tekikunganyangako bassereebu nga bwe kyakola mu November wa 2013 nga Rebecca ayanjula Isabirye. Namungi w’abayimbi, bannakatemba, abawandiisi b’ennyimba, abakubi b’ebivuga, bapulomoota, bannanyini mabbaala, abali ba ssente n’abalala.

 imousine ezaavuga jingo ne sabirye Limousine ezaavuga Jjingo ne Isabirye.

 

•     Kwe kwanjula kwa ssereebu eyasooka okugendera mu nnyonyi ya namunkanga ku buko n’agivaamu n’alinnya emmotoka za limousine bbiri ezaali zimulinze okumuyingiza ekidaala kyokka nga we zimugya n’ennyonyi w’emutadde tewawera buwanvu bwa kisaawe kya mupiira.

Katono ayagale emmotoka emuyingize mu kidaala ate nga tegyamu ate n’aamala obudde ng’agiremeddemu.

 

 ingo baali bamuyisaawo ngomuyimbi itie tabitegeera nti kigambibwa nti sabirye yali muninkini we Jjingo baali bamuyisaawo ng'omuyimbi Titie tabitegeera. Anti kigambibwa nti Isabirye yali muninkini we. Titie y'ooyo asibye enviiri eza kakobe (purple)

 

•      Obukuumi bwasukka ne bwagala okukunukkiriza obwali ku kwanjula kwa Maureen Nantume e Mityana awaali abapoliisi ne bakanyama abangi nga buli muko aliko aliko omukuumi owuwe.

 

 esach ne ukyala we arah akaayi nomuyimbi ngela alule ku mbaga ya jingo Mesach ne Mukyala we Sarah Nakaayi n'omuyimbi Angela Kalule (ku ddyo) ku mbaga ya Jjingo.

 

•        Mu naku ntono, jJingo yali amaze okwetegekera embaga era nga 5 December, 2013 baagattibwa ku lutikko e Namirembe wabula omwawule yagaana okubagatta ng’agamba nti Isabirye yali mugatte ne mukyalawe eyasooka, Grace Naisamula.

 

 aasita amutebi ne bba ula nabo baaliyo Paasita Namutebi ne bba Kula nabo baaliyo.

 

•        Embaga yaabwe yaliwo ku Lwakuna era lwennyini olwo, baasembeza abagenyi baabwe 2,000 e Lugogo ku UMA Show Grounds ku mukolo ogwali ogw’ebbeeyi era namunkanga eri eyatwala Isabirye mu kwanjula e Buddo yeyaleeta abagole wakati mu mizira.

 

Abaagalana abo baagenda bulungi kyokka wakati awo ne watandika okubaawo obuzibu nga Isabirye agamba nti Rebecca jJingo tamuwulira ate nga Rebecca ng’alumiriza Isabirye okumukuba entakera.

 

 

Ekyavaamu Isabirye kwe kuloopa ku poliisi e Najeera gye baali babeera mu disitulikiti y’e Wakiso nga Rebecca bwe yamubbye obukadde 30 ekintu ekyalema poliisi okufunako obujulizi ne basaba Isabirye akimenyewo.

 

 am ne ophie ombya nabo tebaalutumira mwana Sam ne Sophie Gombya nabo tebaalutumira mwana.

 

Twali tuli awo Isabirye n’alabibwako n’omuwala gwe bayita Lilian Mukasa ng’agambibwa nti gwe yali awooye ate olwava awo ng’abyegaanye nti oyo yali mukozi we bukoziwe.

 arim saava naye yaliyo Karim Ssaava naye yaliyo.

 

 

Tuba tuli awo ne zireeta omulala Hipscious Nattie gwe yabba ku DJ Nimrod.

Okumanya Nimrod yakolima, Nattie yazaalayo omwana mu mwaka gumu n’ekitundu yali adduseeyo era kigambibwa nti yaddayo ewa Nimrod.

 

Kinajjukirwa nti Joel Isabirye ono yaliko bba wa Ritah Kaggwa era baayawukana Kaggwa n'agenda e Bulaaya. Bino byaliwo nga tanafuna Jjingo.

 

 Ruth Wannyana (ku kkono) n'omuyimbi Irene Namatovu (mu Red) n'abagenyi abalala. Namatovu yasiba ne kkeeki! 

Rebecca okuva olwo talina nnyo muntu wabula alinawo omulangira gw’acakala naye wabula ebya Isabirye obutawangaaza bakazi nabyo byasobera abantu abafaayo okulondoola ebitabakwatako.

 

 bagenyi nga balindiridde ingo ne sabirye Abagenyi nga balindiridde Jingo ne Isabirye.

 

 r ee ngabuuza ku ba ombya Dr. Tee ng'abuuza ku ba Gombya.

 

Ebirala ku Rebecca Jjingo

Isabirye bba wa Jjingo akoze likodi y'okuwasa nga bw'agoba: Aleesi nnamba 7

Isabirye bba wa Jjingo akoze likodi y'okuwasa nga bw'agoba: Aleesi nnamba 7

 

 mbassador sali ne banne nga balinze ennyonyo eyaleeta jingo ne sabirye Ambassador Ssali (mu galubindi)ne banne nga balinze ennyonyo eyaleeta Jjingo ne Isabirye.

 

Rebecca Jjingo anobye ewa Isabirye

Rebecca Jjingo aleese Omusumaali

 

Akamasu ka Jjingo kakwasizza Isabirye

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano

Babiryecuttt 220x290

Tunoonya abasajja ateemotyamotya...

Twagala abasajja abamalirivu nga tebeemotyamotya batuwase. Tetwagala bayaaye.

Uganda4 220x290

Onyango n'abawagizi basiimye ebitone...

Bayo, yazannye eddakiika 90 so nga Okello yazannyeko 25 oluvannyuma lw’okuyingira mu kifo kya Kizito Luwagga.

Villapolice04 220x290

Villa ekaabirizza Onduparaka omwayo...

Ggoolo ya Emma Kalyowa mu ddakiika eyookutaano, Faizol Muwawu (14) ne Fahad Bardiro (91), ze ziyambye Villa okuwangula...