TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ab’omu Buyindi bakaaye ku bayizi ababba ebigezo!

Ab’omu Buyindi bakaaye ku bayizi ababba ebigezo!

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd October 2019

EKITONGOLE ky’ebigezo ekya UNEB nga kikyasala entotto okutangira obubbi bw’ebigezo, yo mu Buyindi bambazizza abayizi ebibokisi ku mitwe okuziyiza buli omu okutunula mu lupapula lwa munne okumukoppa!

India1 703x422

Abayizi nga bababisse ebibookisi ku mitwe baleme kukoppa.

EKITONGOLE ky’ebigezo ekya UNEB nga kikyasala entotto okutangira obubbi bw’ebigezo, yo mu Buyindi bambazizza abayizi ebibokisi ku mitwe okuziyiza buli omu okutunula mu lupapula lwa munne okumukoppa!

Wano mu Uganda ebigezo bya S4 bwe byabadde bitwalibwa mu bifo gye biggyibwa okukolebwa ku disitulikiti ez’enjawulo, byabadde bikuumibwa butiribiri abaserikale ba poliisi y’amagye nga bali wamu n’aba SFC.

Mu Buyindi enkola yabadde ndala era waliwo abaagivumiridde nti yabaddemu okutulugunya abayizi.

Waabadde wabula ennaku ntono abayizi bakole ekigezo kya Chemistry, abakulira essomero ne batuukirira abamaduuka agaliraanyeewo okubaguza bbookisi ze baggyamu ebyamaguzi.

Abayizi bwe baalabye bazituusa ku ssomero ne balowooza nti oba olyawo bagenda kubasibiramu birabo.

Bano bayizi abali ku ddaala erya S6 abaabadde mu kigezo eky’okugezesa (practical) wabula kyababuuseeko buli gwe baamaze okwaza nga bamuwa ekibookisi akyambale ku mutwe.

Abakulira essomero baakutte ebbookisi ne bagisalako ekituli ku ludda lumu olwo ne bagiteeka ku buli mutwe gwa muyizi eyabadde ayingira nga baleseewo ekituli w’asobola okulabira ku lupapula lwe nga tatunudde bbali okulaba munne by’awandiika.

Abayizi beemulugunyizza ku bibookisi nti byabamazeeko emirembe ne bagamba nti ng’oggyeeko obutalaba bulungi (anti baabadde balabira mu katuli ke baasaze ku bbookisi) n’okussa baabadde bakaluubirizibwa.

BABAVUMIRIDDE KU KIKOLWA KINO

Bino byabadde ku ssomero lya Bhagat Pre-University College mu disitulikiti y’e Haveri, essaza ly’e Karnataka mu Buyindi.

Ebigezo nga bigenda mu maaso, waliwo eyebbiridde n’akuba ebifaananyi n’abiteeka ku yintanenti olwo ne bitandika okusaasaanira emikutu gya yintaneti abantu ne bavumirira ekikolwa kino.

Tebaakomye ku kuvumirira kwokka, baalagidde abakulira essomero beetonde. Akulira essomero MB Satish, teyalinze kwongera kumukaka n’avaayo mu lujjudde ne yeetonda ng’agamba nti kino baakikoze kugezesa kulaba oba kiyinza okumalawo omuze gw’okubba ebigezo kubanga waliwo ebitundu ebirala gye baalabye nga kikola.

Yasigadde yeemulugunya olw’okubafuula enkoko enjeru erengerwa akamunye buli weeyita kubanga abalala bazze bambaza abayizi ebibookisi bino nga tewali abagambako kyokka bo olwakigezezzaako ensi yonna n’esitula amaloboozi okubavumirira

Abazadde b’abayizi nabo bacwanye 

Yannyonnyodde nti engeri gye kwabadde okugezesa, abayizi abamu baakyambaddemu okumala eddakiika 10 ne bakiggyako kyokka bo ng’abakulira essomero baalagidde abayizi okubyambala okumala essaawa emu yokka byonna ne babiggyako.

Bazadde b’abayizi nabo olwalabye embeera abaana baabwe mwe baakoledde ebigezo, baacwanye nga bagamba nti kwabadde kulinnyirira ddembe ly’abayizi.

Beebuuzizza nti ssinga abaana baabwe baafunye ekizibu okugeza ng’okuziyira, bandibannyonnyodde batya?

Wabula ng’ensi bw’etaggwaamu byewuunyisa, omuntu asigala yeewuunya nti omukulu w’essomero bye yannyonnyodde bituufu; ye yabadde enteekateeka oba kwabadde kwekaza naye ng’akazito ke baabataddeko ke kaabawalirizza okulagira abayizi okuggya ebibookisi ku mutwe?

Omumyuka w’akulira ekitongole kya pre- University Education Board, SC Peerjade bino olwamugudde mu mantu n’alumba ab’essomero n’abalagira bakikomye bunnambiro.

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano